Ani Asingayo Okuba ow’Omuwendo mu Bulamu Bwo?
Ani Asingayo Okuba ow’Omuwendo mu Bulamu Bwo?
“Oli waggulu nnyo ng’ofuga ensi yonna.”—ZAB. 83:18.
1, 2. Bwe kituuka ku bulokozi bwaffe, lwaki okumanya obumanya erinnya lya Yakuwa tekimala?
OBOOLYAWO omulundi gwe wasooka okulaba erinnya lya Yakuwa waliwo omuntu eyalikulaga mu Zabbuli 83:18. Kiyinza okuba nga kyakwewuunyisa okulaba ebigambo bino: “Balyoke bategeerenga nga ggwe wekka, erinnya lyo Yakuwa, Oli waggulu nnyo ng’ofuga ensi yonna.” Tewali kubuusabuusa nti okuva olwo, naawe obadde okozesa ekyawandiikibwa ekyo okuyamba abalala okumanya Katonda waffe ow’okwagala, Yakuwa.—Bar. 10:12, 13.
2 Wadde nga kikulu abantu okumanya erinnya lya Yakuwa, ekyo ku bwakyo tekimala. Weetegereze ekintu ekirala omuwandiisi wa Zabbuli ky’alaga ekyetaagisa okusobola okufuna obulokozi. Agamba nti: “Oli waggulu nnyo ng’ofuga ensi yonna.” Yee, Yakuwa y’asingirayo ddala okuba ow’omuwendo. Ng’Omutonzi w’ebintu byonna, ebitonde bye byonna bigwanidde okumugondera. (Kub. 4:11) Bwe kityo, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Ani asingayo okuba ow’omuwendo mu bulamu bwange?’ Kikulu nnyo okulowooza ku ky’okuddamu mu kibuuzo ekyo!
Ensonga Eyabalukawo mu Lusuku Adeni
3, 4. Sitaani yasobola atya okulimba Kaawa, era biki ebyavaamu?
3 Ebyo ebyaliwo mu lusuku Adeni bituyamba okulaba ensonga lwaki kikulu nnyo okwebuuza ekibuuzo ekyo. Mu lusuku olwo, malayika omujeemu oluvannyuma eyamanyibwa nga Sitaani Omulyolyomi yasendasenda omukazi eyasooka, Kaawa, okukulembeza okwegomba kwe mu kifo ky’okugondera etteeka lya Yakuwa eryali libagaana okulya ku bibala eby’omuti ogumu. (Lub. 2:17; 2 Kol. 11:3) Kaawa yekkiriranya n’alya ku bibala ebyo, bw’atyo n’alaga nti yali tassa kitiibwa mu bufuzi bwa Yakuwa. Kaawa yalemererwa okukiraga nti Yakuwa ye yali asingayo okuba ow’omuwendo mu bulamu bwe. Naye Sitaani yasobola atya okulimba Kaawa?
4 Sitaani yakozesa obukoddyo obwekusifu ng’ayogera ne Kaawa. (Soma Olubereberye 3:1-5.) Akasooka, Sitaani teyakozesa linnya lya Yakuwa. Yayogera naye ng’akozesa ekitiibwa “Katonda.” Obutafaananako Sitaani, omuwandiisi w’ekitabo ky’Olubereberye yakozesa erinnya lya Yakuwa mu lunyiriri olusooka olw’essuula eyo. * Ak’okubiri, mu kifo ky’okwogera ku ‘kiragiro’ kya Katonda, Sitaani yabuuza Kaawa ekyo Katonda kye yali “yayogera.” (Lub. 2:16) Mu ngeri eyo enneekusifu, Sitaani yagezaako okulaga nti ekiragiro ekyo tekyali kikulu nnyo. Ak’okusatu, wadde nga yali ayogera na Kaawa yekka, Sitaani yakozesa ebigambo ebiraga nti yali tayogera ku muntu omu yekka. Mu kukola bw’atyo, Sitaani ayinza okuba nga yali ayagala Kaawa afune amalala, awulire nga wa kitalo—alowooze nti yali asobola okweyogerera n’okwogerera omwami we. Biki ebyavaamu? Kaawa yeetulinkiriza ne yeefuula omwogezi w’amaka gaabwe ng’agamba omusota nti: “Ebibala by’emiti egy’omu lusuku tulya.”
5. (a) Kiki Sitaani kye yaleetera Kaawa okumalirako ebirowoozo bye? (b) Kaawa okulya ku bibala ebyagaanibwa kyalaga ki?
5 Sitaani era yanyoolanyoola amazima. Mu kubuuza Kaawa obanga Katonda yali abalagidde ‘obutalya ku miti gyonna egy’omu lusuku,’ Sitaani yalinga agamba nti Katonda teyali mwenkanya. Ate era, Sitaani yaleetera Kaawa okutandika okwerowoozaako ennyo n’okulowooza ku ‘ky’okuba nga Katonda.’ N’ekyavaamu, Sitaani yaleetera Kaawa okumalira ebirowoozo bye ku muti awamu n’ebibala byagwo mu kifo ky’okulowooza ku Oyo eyali amuwadde buli kimu kye yalina. (Soma Olubereberye 3:6.) Eky’ennaku kiri nti, mu kulya ku bibala by’omuti ogwo, Kaawa yalaga nti Yakuwa si ye yali asingayo okuba ow’omuwendo mu bulamu bwe.
Ensonga Eyabalukawo mu Kiseera kya Yobu
6. Sitaani yabuusabuusa atya obugolokofu bwa Yobu, era Yobu yaweebwa kakisa ki?
6 Nga wayise ebyasa by’emyaka, omusajja omwesigwa Yobu yafuna akakisa okulaga ani gwe yali atwala okuba nti y’asingayo okuba ow’omuwendo mu bulamu bwe. Yakuwa bwe yabuulira Sitaani ku bugolokofu bwa Yobu, Sitaani yamuddamu ng’agamba nti: “Yobu atiira bwereere Katonda?” (Soma Yobu 1:7-10.) Sitaani teyakiwakanya nti Yobu yali muwulize eri Katonda. Naye, yabuusabuusa ebiruubirirwa bya Yobu. Mu ngeri ey’obukuusa, Sitaani yalaga nti Yobu yali aweereza Yakuwa si lwa kuba nti yali amwagala, naye lwa kuba yali alina bye yeenoonyeza. Yobu yekka ye yali asobola okulaga nti ebyo Sitaani bye yali amwogeddeko byali bya bulimba, era yaweebwa akakisa okukikola.
7, 8. Bigezo ki Yobu bye yayolekagana nabyo, era yayoleka atya obugumiikiriza n’obwesigwa?
7 Yakuwa yaleka Sitaani okuleetera Yobu ebizibu eby’omuddiriŋŋanwa. (Yob. 1:12-19) Yobu yeeyisa atya ng’ali mu mbeera eyo eyali enzibu ennyo? Bayibuli egamba nti ‘teyayonoona, so teyavuma Katonda busirusiru.’ (Yob. 1:22) Naye ekyo Sitaani tekyamumala. Yeeyongera n’agamba nti: “Eddiba olw’eddiba, weewaawo, byonna omuntu by’alina alibiwaayo olw’obulamu bwe.” * (Yob. 2:4) Sitaani yakiraga nti Yobu bwe yandikwatiddwa ku mubiri gwe, teyandyeyongedde kutwala Yakuwa ng’oyo asingayo okuba ow’omuwendo mu bulamu bwe.
8 Yobu yafuna obulwadde obw’amaanyi ennyo era ne mukazi we n’amugamba okwegaana Katonda afe. Oluvannyuma, mikwano gye abajja okumubudaabuda baamugamba nti yali abonaabona olw’enneeyisa ye embi. (Yob. 2:11-13; 8:2-6; 22:2, 3) Kyokka ebyo byonna tebyaleetera Yobu kulekera awo kukuuma bugolokofu bwe. (Soma Yobu 2:9, 10.) Obugumiikiriza n’obwesigwa Yobu bye yayoleka by’alaga nti Yakuwa ye yali asingayo okuba ow’omuwendo mu bulamu bwe. Era Yobu yakiraga nti n’abantu abatatuukiridde basobola okulaga nti ebyo Omulyolyomi bye yayogera byali bya bulimba.—Geraageranya Engero 27:11.
Yesu Yasigala nga Mwesigwa
9. (a) Sitaani yagezaako atya okukema Yesu ng’akozesa okwegomba okw’omubiri? (b) Yesu yakola ki ng’akemeddwa?
9 Yesu bwe yali yakabatizibwa, Sitaani yagezaako okumusendasenda okwenoonyeza ebibye ku bubwe mu kifo ky’okutwala Yakuwa ng’Oyo asingayo okuba ow’omuwendo mu bulamu bwe. Omulyolyomi yaleetera Yesu ebikemo bisatu. Ekisooka, yagezaako okusendasenda Yesu akkuse okwegomba kwe okw’omubiri, ng’amugamba okufuula amayinja emmere. (Mat. 4:2, 3) Yesu yali amaze ennaku 40 ng’asiiba era mu butuufu enjala eteekwa okuba nga yali emuluma nnyo. Bw’atyo Omulyolyomi yali ayagala Yesu akozese bubi amaanyi ge yalina ag’okukola eby’amagero okwewonya enjala. Yesu yakola ki? Obutafaananako Kaawa, Yesu yalowooza ku ebyo ebiri mu Kigambo kya Yakuwa era amangu ago n’aziyiza ekikemo ekyo.—Soma Matayo 4:4.
10. Lwaki Sitaani yagamba Yesu okwesuula wansi okuva waggulu ku kisenge kya yeekaalu?
10 Sitaani era yagezaako okukema Yesu ng’ayagala okumuleetera okwerowoozaako ennyo. Yagamba Yesu yeesuule wansi okuva waggulu ku kisenge kya yeekaalu. (Mat. 4:5, 6) Sitaani yalina kigendererwa ki? Sitaani yakiraga nti Yesu bw’atandituukiddwako kabi konna, ekyo kyandiraze nti yali ‘mwana wa Katonda.’ Tewali kubuusabuusa nti Omulyolyomi yali ayagala Yesu yeerowoozeeko nnyo, atuuke n’okweraga. Sitaani yali akimanyi nti amalala gasobola okuleetera omuntu okukola ekintu ekiyinza okuba eky’akabi gy’ali olw’obutayagala kuswala. Sitaani yagezaako okunyoolanyoola ekyawandiikibwa, naye Yesu yakiraga nti yali ategeera bulungi Ekigambo kya Yakuwa. (Soma Matayo 4:7.) Mu kuziyiza ekikemo ekyo, Yesu era yakiraga nti Yakuwa ye yali asingayo okuba ow’omuwendo mu bulamu bwe.
11. Lwaki Yesu yagaana okukkiriza obwakabaka bwonna obw’omu nsi Omulyolyomi bwe yali amusuubizza?
11 Bwe yalaba nga Yesu agaanye okwekkiriranya, Sitaani yasalawo okumusuubiza obwakabaka bwonna obw’omu nsi. (Mat. 4:8, 9) Era n’ekyo Yesu yakigaanirawo. Yakiraba nti okukkiriza ekintu ng’ekyo kyandiraze nti agaanyi obufuzi bwa Yakuwa—obuyinza Katonda bw’alina ng’oyo Ali Waggulu Ennyo. (Soma Matayo 4:10.) Ku buli mulundi, Yesu yaddamu Sitaani ng’akozesa ebyawandiikibwa ebyalimu erinnya lya Yakuwa.
12. Kiki ekyaleetera Yesu okweraliikirira ennyo, naye kiki kye yasalawo okukola, era ekyo kyalaga ki?
12 Bwe yali anaatera okufundikira obuweereza bwe ku nsi, Yesu yayolekagana n’okusalawo okw’amaanyi ennyo. Mu buweereza bwe bwonna, Yesu yakiraga nti yali mwetegefu okuwaayo obulamu bwe nga ssaddaaka. (Mat. 20:17-19, 28; Luk. 12:50; Yok. 16:28) Kyokka, Yesu yali akimanyi nti Abayudaaya baali bagenda kumuwaayiriza, bamusalire omusango, era oluvannyuma attibwe ng’omuvvoozi. Kino kyamuleetera okweraliikirira ennyo. Yasaba Katonda ng’agamba nti: “Kitange, bwe kiba kisoboka, nzigyako ekikopo kino.” Naye yagattako nti: “Naye si nga nze bwe njagala wabula nga ggwe bw’oyagala.” (Mat. 26:39) Yee, Yesu okusigala nga mwesigwa okutuukira ddala okufa kyalaga ani gwe yali atwala okuba nti y’asingayo okuba ow’omuwendo mu bulamu bwe!
Engeri Gye Tweyisaamu Eraga Ki?
13. Kiki kye tuyigidde ku kyokulabirako kya Kaawa, Yobu, ne Yesu?
13 Kiki kye tuyize? Ekyokulabirako kya Kaawa kitulaga nti abo abagoberera okwegomba kwabwe era abeerowoozaako ennyo baba balaga nti Yakuwa si y’asingayo okuba ow’omuwendo mu bulamu bwabwe. Ku luuyi olulala, Yobu okusigala nga mwesigwa eri Katonda kituyigiriza nti n’abantu abatatuukiridde basobola okulaga nti Yakuwa gwe bakulembeza mu bulamu bwabwe nga bafuba okugumira ebizibu ebitali bimu—ne bwe kiba nti tebamanyi nsibuko yaabyo. (Yak. 5:11) N’ekisembayo, ekyokulabirako kya Yesu kituyigiriza okuba abeetegefu okugumira okuswala n’obutalowooza nnyo ku ngeri abalala gye batutunuuliramu. (Beb. 12:2) Naye ebyo bye tuyize tuyinza tutya okubikolerako mu bulamu bwaffe?
14, 15. Engeri Yesu gye yeeyisaamu ng’akemebwa yayawukana etya ku ngeri Kaawa gye yeeyisaamu, era tuyinza tutya okukoppa Yesu? (Yogera ku kifaananyi ekiri ku lupapula 18.)
14 Tokkiriza bikemo kukuleetera kwerabira Yakuwa. Kaawa bwe yali akemebwa, ebirowoozo bye byonna yabimalira ku kikemo kye yali ayolekagana nakyo. Yalaba ng’ekibala ‘kirungi okulya, era nga kisanyusa amaaso, n’omuti nga gwa kwegombebwa okuleeta amagezi.’ (Lub. 3:6) Nga Yesu yeeyisa mu ngeri ya njawulo nnyo bwe yali ayolekagana n’ebikemo ebisatu! Teyakkiriza bikemo bye yali ayolekagana nabyo kumuleetera kwerabira ebyo ebyandivudde mu ebyo bye yandisazeewo okukola. Yeesigama ku Kigambo kya Katonda era yakozesa erinnya lya Yakuwa.
15 Bwe tukemebwa okukola ebintu ebitasanyusa Yakuwa, kiki kye tussaako ebirowoozo byaffe? Gye tukoma okussa ebirowoozo byaffe ku kikemo, gye tukoma okwegomba okukola ekintu ekikyamu. (Yak. 1:14, 15) Tulina okubaako kye tukolawo mu bwangu okweggyamu okwegomba okubi wadde ng’ekyo kiyinza obutaba kyangu, nga bwe kitaba kyangu kweggyako kitundu kyaffe eky’omubiri. (Mat. 5:29, 30) Okufaananako Yesu, naffe twetaaga okulowooza ennyo ku ebyo ebiyinza okuva mu bintu bye tusalawo okukola—engeri gye binaakwata ku nkolagana yaffe ne Yakuwa. Kikulu okujjukira ebyo ebiri mu Kigambo kye, Bayibuli. Bwe tunaakola bwe tutyo tujja kuba tulaga nti Yakuwa y’asingayo okuba ow’omuwendo mu bulamu bwaffe.
16-18. (a) Bintu ki ebiyinza okutuleetera okuggwaamu amaanyi? (b) Kiki ekinaatuyamba okwaŋŋanga embeera enzibu mu bulamu?
16 Tokkiriza bizibu by’ofuna kukuleetera kunyiigira Yakuwa. (Nge. 19:3) Gye tukoma okusemberera enkomerero y’ensi eno embi, abantu ba Yakuwa bangi beeyongera okufuna ebizibu eby’amaanyi. Kyokka tetusuubira kukuumibwa mu ngeri ya kyamagero mu kiseera kino. Wadde ng’ekyo tukimanyi bulungi, okufaananako Yobu, naffe ebiseera ebimu tusobola okuwulira nga tuweddemu amaanyi olw’okufiirwa abaagalwa baffe oba olw’ebizibu ebirala bye twolekagana nabyo.
17 Yobu yali tamanyi nsonga lwaki Yakuwa yali alese ebintu ebibi okumutuukako, era naffe ebiseera ebimu tuyinza obutamanya nsonga lwaki ebintu ebibi bitutuukako. Oboolyawo waliwo baganda baffe abeesigwa be twawulirako abaafiira mu musisi, gamba ng’oyo eyayita mu Haiti, oba abaafiira mu butyabaga obulala. Oba tuyinza okuba nga tulina ow’oluganda omwesigwa gwe tumanyi eyattibwa mu ngeri ey’obukambwe oba eyafiira mu kabenje. Naffe tuyinza okwesanga mu mbeera enzibu ennyo oba nga tuyisibwa mu ngeri gye tulaba ng’etali ya bwenkanya. Obulumi bwe tubaamu buyinza okutuleetera okugamba nti: ‘Yakuwa, Lwaki nze? Kikyamu ki kye nnakola?’ (Kaab. 1:2, 3) Kiki ekiyinza okutuyamba okugumira embeera enzibu ng’ezo?
18 Tusaanidde okwewala okulowooza nti ebizibu ng’ebyo bwe bitutuukako kiba kiraga nti Yakuwa aba atunyiigidde. Yesu yatangaaza ku nsonga eno bwe yayogera ku bintu bibiri ebibi ebyaliwo mu kiseera kye. (Soma Lukka 13:1-5.) Ebizibu bingi bye tufuna biva ku ‘biseera n’ebigambo ebigwa obugwi.’ (Mub. 9:11) Naye ka kibe ng’ebizibu bye tuba tufunye bivudde ku ki, tusobola okubyaŋŋanga singa twesiga “Katonda ow’okubudaabuda kwonna” okutuyamba. Ajja kutuwa amaanyi ageetaagisa okusobola okweyongera okumuweereza n’obwesigwa.—2 Kol. 1:3-6.
19, 20. Kiki ekyayamba Yesu okugumira embeera eziswaza, era kiki ekiyinza okutuyamba okumukoppa?
19 Tokkiriza malala na kuswala kukulemesa kukuuma bugolokofu bwo. Obwetoowaze bwaleetera Yesu ‘okweggyako buli kye yalina n’afuuka ng’omuddu.’ (Baf. 2:5-8) Yasobola okugumira embeera nnyingi eziswaza olw’okuba yali yeesiga Yakuwa. (1 Peet. 2:23, 24) Mu kukola bw’atyo, Yesu yakulembeza ebyo Yakuwa by’ayagala era ekyo kyamuviirako okugulumizibwa n’ateekebwa mu kifo ekya waggulu ennyo. (Baf. 2:9) Yesu yakubiriza abayigirizwa be okumukoppa mu nsonga eno.—Mat. 23:11, 12; Luk. 9:26.
20 Ebiseera ebimu, ebigezo bye tufuna biyinza okutuleetera okuswala. Wadde kiri kityo, tusaanidde okuba n’endowooza ng’ey’omutume Pawulo eyagamba nti: “Kyenva mbonaabona olw’ebintu ebyo, naye sikwatibwa nsonyi. Kubanga gwe nzikiririzaamu mmumanyi era ndi mukakafu nti asobola okukuuma kye mmuteresezza okutuusa ku lunaku luli.”—2 Tim. 1:12.
21. Wadde ng’abantu bangi mu nsi leero balina omwoyo gw’okwerowoozaako, ggwe omaliridde kukola ki?
21 Bayibuli yalaga nti mu kiseera kyaffe abantu bandibadde “beeyagala bokka.” (2 Tim. 3:2) N’olwekyo, tekitwewuunyisa kulaba nti abantu bangi leero balina omwoyo gw’okwerowoozaako. Tetusaanidde kukkiriza kutwalirizibwa mwoyo ogwo! Mu kifo ky’ekyo, ka tube nga twolekagana na bikemo, nga tulina ebizibu, oba nga tuli mu mbeera ezituleetera okuswala, ka tube bamalirivu okukyoleka nti Yakuwa y’asingayo okuba ow’omuwendo mu bulamu bwaffe!
[Obugambo obuli wansi]
^ Mu nkyusa za Bayibuli nnyingi, mu Olubereberye 3:1, erinnya lya Katonda, Yakuwa, lyaggibwawo mu kifo kyalyo ne muteekebwamu ekitiibwa “Mukama.”
^ Abeekenneenya Bayibuli abamu bagamba nti ebigambo “eddiba olw’eddiba” bitegeeza nti Yobu yali mwetegefu okuleka abaana be okufiirwa olususu lwabwe oba obulamu bwabwe n’ebisolo bye okufiirwa eddiba lyabyo oba obulamu bwabyo, kasita kiba nti olususu lwe oba obulamu bwe tebukwatiddwako. Abalala bagamba nti ebigambo ebyo biraga nti omuntu aba mwetegefu okufiirwa olususu lwe okusobola okuwonya obulamu bwe. Ng’ekyokulabirako, omuntu ayinza okusalawo okuteekayo omukono gwe okukubibwa mu kifo ky’okuleka omutwe gwe okukubibwa, bw’atyo n’aba ng’asazeewo okufiirwa olususu olumu asobole okutaasa olulala. Ka kibe ki ekyo kye kyali kitegeeza, kyeyoleka lwatu nti ebigambo ebyo byali biraga nti Yobu yali mwetegefu okuwaayo ekintu kyonna kye yalina okusobola okuwonya obulamu bwe.
Kiki Kye Tuyigira . . .
• ku ngeri Sitaani gye yalimbamu Kaawa?
• ku ngeri Yobu gye yeeyisaamu ng’ayolekagana n’ebizibu?
• ku ekyo Yesu kye yali atwala ng’ekisinga obukulu mu bulamu bwe?
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Kaawa yalemererwa okussa ebirowoozo bye ku nkolagana ye ne Yakuwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Yesu yaziyiza ebikemo bya Sitaani era yassa ebirowoozo bye ku ebyo Yakuwa by’ayagala
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 20]
Ab’oluganda nga babuulira oluvannyuma lwa musisi eyayita mu Haiti
Mu biseera ebizibu, tusaanidde okwesiga “Katonda ow’okubudaabuda kwonna”