Goberera Kristo, Omukulembeze Omulungi
Goberera Kristo, Omukulembeze Omulungi
ABO abagoberera abakulembeze abantu obuntu batera okwejjusa. Naye tekiri bwe kityo eri abo abagoberera Kristo ng’omukulembeze waabwe. Yesu yagamba nti: “Mujje gye ndi mmwe mwenna abategana era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. Mwetikke ekikoligo kyange era muyigire ku nze, kubanga ndi muteefu era muwombeefu mu mutima, mulifuna ekiwummulo mu bulamu bwammwe.” (Mat. 11:28, 29) Obukulembeze bwa Yesu buleetera abantu obumativu n’essanyu. Afaayo nnyo ku bantu abatwalibwa ng’aba wansi era abanyigirizibwa, era abayita okwettika ekikoligo kye ekitazitowa. Kati olwo, biki ebizingirwa mu kugoberera Yesu ng’Omukulembeze waffe?
Omutume Peetero yagamba nti: “Kristo yabonaabona ku lwammwe, ng’abalekera ekyokulabirako mulyoke mutambulirenga mu bigere bye.” (1 Peet. 2:21) Lwaki kikulu nnyo okutambulira mu bigere bya Yesu? Kuba akafaananyi ng’oli mu kibinja ky’abantu nga muyita mu kitundu omutegeddwa bbomu ez’omu ttaka era ng’omu yekka ku mmwe y’amanyi wa we musobola okuyita okusobola okwewala bbomu ezo okubakuba. Tewandifubye okulaba nti ogoberera butiribiri omuntu oyo, si na kindi n’ogenda ng’olinnya awo w’aba aggye ekigere? Mu ngeri y’emu, obulamu bwaffe obw’ebiseera eby’omu maaso bwesigamye ku kufuba okugoberera ekyokulabirako kya Yesu mu bulamu bwaffe. Kino kitwetaagisa okumuwuliriza, okumugondera, n’okugondera abo abamukiikirira.
Muwulirize era Omugondere
Bwe yali anaatera okufundikira Okubuulira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yagamba nti: “Buli muntu awulira ebigambo byange era n’abikolerako, alifaanana ng’omusajja ow’amagezi eyazimba ennyumba ye ku lwazi. Enkuba n’etonnya, amataba ne gajja, embuyaga n’ekuntira ku nnyumba eyo, naye teyagwa kubanga yazimbibwa ku lwazi.”—Mat. 7:24, 25.
Yesu yakiraga bulungi nti omuntu awulira ebigambo bye era n’abikolerako aba wa ‘magezi.’ Tufuba okukyoleka mu bulamu bwaffe nti tugondera Kristo era nti twagala okugoberera ekyokulabirako kye, oba kyandiba nti tumugondera mu biragiro ebyo byokka bye tuwulira nti tebitukaluubiriza kukwata? Yesu yagamba nti: ‘Bulijjo nkola ebintu ebisanyusa Katonda.’ (Yok. 8:29) Ka tufube okukoppa ekyokulabirako kye.
Mu kyasa ekyasooka, abatume bateekawo ekyokulabirako ekirungi mu kugondera Kristo ng’Omukulembeze waabwe. Lumu, Peetero yagamba Yesu nti: “Laba! Twaleka ebintu byonna ne tukugoberera.” (Mak. 10:28) Mu butuufu obukulembeze bwa Yesu, abatume baali babutwala nga bwa muwendo nnyo ne kiba nti baali beetegefu okwefiiriza ebintu byonna okusobola okumugoberera.—Mat. 4:18-22.
Gondera Abo Abakiikirira Kristo
Bwe yali anaatera okuttibwa, Yesu yalaga engeri endala gye tuyinza okumugoberera ng’Omukulembeze waffe. Yagamba nti: “Oyo asembeza omuntu yenna gwe ntuma nange aba ansembezza.” (Yok. 13:20) Mu butuufu, abagoberezi be abaafukibwako amafuta abamukiikirira, Yesu yabayita “baganda” be. (Mat. 25:40) Oluvannyuma lwa Yesu okuddayo mu ggulu, “baganda” be baalondebwa okuba ababaka “mu kifo kya Kristo” okuyamba abantu okutabagana ne Yakuwa Katonda. (2 Kol. 5:18-20) Bwe tugondera “baganda” ba Kristo, tuba tulaga nti tukkiriza obukulembeze bwe.
N’olwekyo tusaanidde okwekebera okulaba obanga tukolera ku bulagirizi obw’omu Byawandiikibwa obujjira mu kiseera ekituufu bwe 2 Peet. 3:1, 2) Tulaga nti tusiima emmere ey’eby’omwoyo gye tufuna nga tufuba okugirya obutayosa. Naye twandyeyisizza tutya singa tuweebwa obulagirizi ku nsonga y’emu enfunda n’enfunda? Ng’ekyokulabirako, Ekigambo kya Katonda kikubiriza Abakristaayo okuwasa oba okufumbirwa “mu Mukama waffe mwokka.” (1 Kol. 7:39) Ensonga eno eyogeddwako enfunda n’enfunda okumala emyaka egisukka mu kikumi mu magazini ya Watchtower. Mu butuufu baganda ba Kristo bakyolese nti bafaayo nnyo ku mbeera yaffe ey’eby’omwoyo nga bafulumya ebitundu bingi ebikwata ku nsonga eyo awamu n’ebyo ebikwata ku nsonga endala. Okukolera ku bulagirizi ng’obwo ye ngeri emu gye tusobola okulagamu nti tugoberera Omukulembeze waffe omulungi, Yesu Kristo.
tufuna okuyitira mu bitabo byaffe ebinnyonnyola Bayibuli. Okusoma Ebyawandiikibwa n’okubaawo mu nkuŋŋaana kituyamba okujjukira ebigambo bya Kristo. (Engero 4:18 wagamba nti: “Ekkubo ery’abatuukirivu liriŋŋanga omusana ogwakayakana, ogweyongerayongera okwaka okutuusa obudde lwe butuukirira.” Yee, Omukulembeze waffe Yesu agenda yeeyongera okutuyamba okutegeera ebintu ebirala bingi. Engeri endala gye tulagamu nti tugondera “baganda” ba Kristo kwe kuba n’endowooza ennuŋŋamu ku kutangaazibwa okukwata ku nnyinyonnyola y’Ebyawandiikibwa kwe tufuna okuva eri “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” okuyitira mu bitabo by’akuba.—Mat. 24:45.
Ate era tulaga nti tugondera “baganda” ba Kristo nga tukolagana bulungi n’abalabirizi mu kibiina Ekikristaayo. Omutume Pawulo yagamba nti: “Muwulirenga abo ababakulembera era mubagonderenga, kubanga batunula olw’obulamu bwammwe.” (Beb. 13:17) Ng’ekyokulabirako, omukadde ayinza okutulaga ensonga lwaki kikulu okuba n’Okusinza kw’Amaka obutayosa oba okutuwa amagezi ku ngeri gye tusobola okulongoosaamu mu buweereza bwaffe. Omulabirizi atambula ayinza okutuwa amagezi okuva mu Byawandiikibwa ku kintu kye twetaaga okukolako ng’Abakristaayo. Bwe tukolera ku magezi ng’ago, tuba tulaga nti tugoberera Yesu, Omukulembeze waffe.
Abantu mu nsi babuliddwa omukulembeze asobola okubakulembera obulungi. Kyokka abo abagoberera Kristo ng’Omukulembeze waabwe bafuna ekiwummulo! N’olwekyo, ka tukole kyonna ekisoboka okugondera Omukulembeze waffe n’okugondera abo baakozesa leero.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 27]
Weewala okwegatta n’abantu abatali bakkiriza ng’Ebyawandiikibwa bwe bitukubiriza?