Onyumirwa Okusoma Ekigambo kya Katonda?
Onyumirwa Okusoma Ekigambo kya Katonda?
MWANNYINAFFE omu ayitibwa Lorraine agamba nti, “Bwe nnali nnaakatandika okusoma Bayibuli obutayosa, yali tennyumira kugisoma. Yali enzibuwalira okutegeera, bwe kityo ebirowoozo byange byawugukanga.”
Waliwo n’abalala bangi abagamba nti nabo bwe baali baakatandika okusoma Bayibuli, yali tebanyumira. Kyokka tebaalekera awo kugisoma olw’okuba bakimanyi nti okusoma Ebyawandiikibwa Ebitukuvu kye kintu ekituufu okukola. Marc agamba nti: “Kyangu okukkiriza ebintu ebirala okutuwugula ne tulemererwa okusoma Bayibuli n’okwesomesa. Kyali kinneetaagisa okusaba ennyo n’okufuba okusobola okunywerera ku nteekateeka yange ey’okusoma Bayibuli buli lunaku.”
Kiki ekiyinza okukuyamba okwongera okwagala okusoma Ekigambo kya Katonda, Bayibuli? Kiki ky’oyinza okukola okusobola okunyumirwa okukisoma? Lowooza ku magezi gano wammanga.
By’Oyinza Okukola
Saba era osseeyo omwoyo ku ebyo by’osoma. Saba Yakuwa akuyambe okwagala okusoma Ekigambo kye. Mwegayirire akuyambe okutegeera obulungi ebyo by’oba ogenda okusoma. (Zab. 119:34) Singa tokola bw’otyo, oyinza okwesanga ng’osoma Bayibuli kutuusa butuusa mukolo, bwe kityo n’oba nga tokyayagala kweyongera kugisoma. Lynn agamba nti: “Oluusi nnesanga nga Bayibuli ngisoma mangu mangu ne sifuna biseera kulowooza ku nsonga endala eziri mu nnyiriri ze mba nsoma. Ebiseera ebisinga obungi, n’ensonga enkulu sizitegeera bulungi. Naye nfuba okusaba Katonda annyambe okwefuga, era ekyo kiyamba ebirowoozo byange obutawuguka.”
By’oyiga bitwale nga bya muwendo. Kijjukire nti okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo kikwetaagisa okutegeera amazima agali mu Bayibuli n’okugakolerako. N’olwekyo, fuba nnyo okulaba engeri gy’oyinza okukolera ku ebyo by’oyiga. Chris agamba nti: “Bwe mba nsoma, ngezaako okunoonya ebintu ebiyinza okunnyamba okulaba obunafu bwange we buli. Kinzizzaamu nnyo amaanyi okulaba nti ebyo ebiri mu Bayibuli ne mu bitabo byaffe binnyamba mu bulamu bwange, wadde ng’abawandiisi baabyo tebandabangako.”
Weeteerewo ebiruubirirwa by’osobola okutuukako. Fuba okubaako ebintu ebipya by’oyiga ku bantu aboogerwako mu Bayibuli. Ebitabo gamba nga Insight on the Scriptures oba Watch Tower Publications Index bisobola okukuyamba mu nsonga eyo. Bw’oneeyongera okutegeera abasajja n’abakazi aboogerwako mu Bayibuli ng’abantu abaaliwo ddala, ebyo by’onoosoma ku bantu abo bijja kukukwatako nnyo.
Gezaako okulaba engeri endala gy’oyinza okukozesaamu Ebyawandiikibwa. (Bik. 17:2, 3) Sophia yeeteerawo ekiruubirirwa ekyo. Agamba nti, “Ekiruubirirwa kyange kwe kulaba engeri endala gye nnyinza okukozesaamu obulungi Ebyawandiikibwa nga mbuulira oba mu biseera ebirala, kinsobozese okunnyonnyola amazima ga Bayibuli mu ngeri etegeerekeka obulungi. Omunaala gw’Omukuumi gunnyambye nnyo mu nsonga eno.”—2 Tim. 2:15.
Kuba akafaananyi ku bintu by’osoma mu Bayibuli. Abebbulaniya 4:12 wagamba: “Ekigambo kya Katonda kiramu.” Bw’oba osoma Ebyawandiikibwa, gezaako okweteeka mu bigere by’abantu aboogerwako mu Bayibuli. Gezaako okuwulira ebyo bye baali bawulira n’okulaba ebyo bye baali balaba. Gezaako okukwataganya ebyo bye baayitamu n’embeera yo. Baako ky’oyigira ku ngeri gye beeyisaamu nga bali mu mbeera gy’oba osomako. Ekyo kijja kukuyamba okwongera okutegeera obulungi ebintu ebyogerwako mu Bayibuli n’obutabyerabira.
Funa ebiseera ebimala okusoma ebyawandiikibwa ebizibu okutegeera n’engeri gye binnyonnyolwamu osobole okubitegeera obulungi. Buli lw’otuula okwesomesa, waayo ebiseera ebimala. Bw’oba weesomesa, oyinza okusanga ebintu bye weetaaga okunoonyerezaako. Noonyereza ku bigambo by’otategeera bulungi, soma obugambo obwa wansi, era soma n’ennyiriri endala ezoogera ku nsonga gy’oba osomako mu Bayibuli. Gy’onookoma okutegeera n’okussa mu nkola ebyo by’oyiga, gy’ojja okukoma okunyumirwa okusoma Ekigambo kya Katonda. Bwe kityo, ojja kuwulira ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba Yakuwa nti: “Bye wategeeza mbitutte okuba obusika obutaliggwaawo; kubanga ebyo bye binsanyusa omutima gwange.”—Zab. 119:111.
Weewale okusoma ng’oyanguyiriza. Kakasa nti ebiseera by’otaddewo okwesomesa bimala. Fuba okulaba nti okwesomesa tekukulemesa kweteekerateekera nkuŋŋaana. Raquel agamba nti, “Ebiseera ebimu ebirowoozo byange biba tebiteredde olw’okuba mba mpulira nga nnina eby’okusoma bingi. Naye nkizudde nga kya muganyulo okusomangako ekitonotono. Kino kinnyambye okuganyulwa mu ebyo bye nsoma.” Chris agamba nti: “Bwe nsoma nga nnyanguyiriza, omuntu wange ow’omunda annumiriza kubanga mba mpulira nga ku bintu bye mba nsomye mba nkutteko bitono nnyo. Bye mba nsomye tebintuuka ku mutima.” N’olwekyo, bw’oba osoma toyanguyiriza.
Weeyongere okwagala ekigambo kya Katonda. Omutume Peetero yagamba nti: “Okufaananako abaana abaakazaalibwa, mwegombenga amata amalongoofu ag’ekigambo kya Katonda, gabasobozese okukula okutuuka ku bulokozi.” (1 Peet. 2:2) Abaana abawere tebeetaaga kuyiga kwagala mata, kubanga ekyo kijja kyokka. Naye Ebyawandiikibwa biraga nti tulina okuyiga okwagala ekigambo kya Katonda. Singa osoma olupapula lwa Bayibuli lumu lwokka buli lunaku, ojja kugenda weeyongera okwagala okugisoma. Wadde nga mu kusooka ekyo kiyinza okulabika ng’ekizibu, oluvannyuma lw’ekiseera ojja kutandika okunyumirwa okukisoma.
Fumiitiriza ku ebyo by’osoma mu Byawandiikibwa. Ojja kuganyulwa nnyo singa ofumiitiriza ku bintu by’osoma. Ekyo kijja kukuyamba okukwataganya ebintu eby’enjawulo by’osoma. Oluvannyuma lw’ekiseera ojja kuba n’eby’obugagga Zab. 19:14; Nge. 3:3.
bingi eby’omwoyo ebijja okukuleetera essanyu.—Tojja Kwejjusa
Kyetaagisa okufuba okusobola okunywerera ku nteekateeka ey’okwesomesa, naye ekyo kivaamu emikisa ntoko. Ojja kweyongera okutegeera Ebyawandiikibwa. (Beb. 5:12-14) Amagezi g’onoofuna okuva mu Byawandiikibwa gajja kukusobozesa okufuna essanyu, obumativu, n’emirembe. Amagezi agali mu Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa ‘muti gwa bulamu’ eri abo abagafuna era ne bagakolerako.—Nge. 3:13-18.
Okusoma ebintu eby’ebuziba ebiri mu Kigambo kya Katonda kisobola okukuyamba okufuna omutima omutegeevu. (Nge. 15:14) Ekyo kijja kukuyamba okuwa abalala amagezi ageesigamiziddwa ku Bayibuli. Singa okolera ku magezi agali mu Byawandiikibwa awamu n’ebitabo ebikubibwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” ng’oliko by’osalawo, ojja kufuna emirembe egiva mu kukolera ku ebyo ebiri mu Kigambo kya Yakuwa ekyaluŋŋamizibwa. (Mat. 24:45) Ojja kuba n’endowooza ennuŋŋamu, ojja kuba n’essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso, era ojja kuba munywevu mu by’omwoyo. Ate era, Katonda ajja kukuwa omukisa mu buli kimu ky’okola ng’ofuba okunyweza enkolagana yo naye.—Zab. 1:2, 3.
Okwagala Katonda n’omutima gwo gwonna kijja kukukubiriza okubuulira abalala ku nzikiriza yo. Ne kino kirimu emiganyulo mingi. Ekintu kati Sophia ky’akolako kwe kulaba nti ajjukira ebyawandiikibwa ebitali bimu era n’afuba okubikozesa ng’abuulira asobole okusikiriza abo b’abuulira. Agamba nti, “Okulaba engeri amazima ga Bayibuli gye gakwata ku bantu, kindeetera essanyu lingi.”
Omuganyulo ogusinga gyonna oguli mu kunyumirwa okusoma Ekigambo kya Katonda, kwe kufuna enkolagana ey’okulusegere ne Yakuwa. Okwesomesa Bayibuli kisobola okukuyamba okutegeera emitindo gye, n’okukimanya nti alina okwagala kungi, mugabi, era mwenkanya. Tewali kintu kirala kyonna kisobola kukuganyula mu ngeri eyo. Nyiikirira okusoma Ekigambo kya Katonda. Bw’onookozesa ebiseera byo mu ngeri eyo, tojja kwejjusa.—Zab. 19:7-11.
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
OKUSOMA EKIGAMBO KYA KATONDA: BY’OYINZA OKUKOLA
▪ Saba era osseeyo omwoyo ku ebyo by’osoma.
▪ By’oyiga bitwale nga bya muwendo.
▪ Weeteerewo ebiruubirirwa by’osobola okutuukako.
▪ Gezaako okulaba engeri endala gy’oyinza okunnyonnyolamu Ebyawandiikibwa.
▪ Kuba akafaananyi ku bintu by’osoma mu Bayibuli.
▪ Funa ebiseera ebimala okusoma ku byawandiikibwa ebizibu okutegeera n’engeri gye binnyonnyolwamu osobole okubitegeera obulungi.
▪ Weewale okusoma ng’oyanguyiriza.
▪ Weeyongere okwagala ekigambo kya Katonda.
▪ Fumiitiriza ku ebyo by’osoma mu Byawandiikibwa.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Bw’oba osoma Bayibuli, kuba akafaananyi ng’oli mu mbeera eyogerwako mu ebyo by’oba osoma