Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Baalindirira Okujja kwa Masiya

Baalindirira Okujja kwa Masiya

Baalindirira Okujja kwa Masiya

“Abantu baali balindirira, era nga bonna beebuuza mu mitima gyabwe ebikwata ku Yokaana, obanga ye yali Masiya.”​—LUK. 3:15, THE EMPHATIC DIAGLOTT.

1. Mawulire ki ag’essanyu malayika ge yabuulira abasumba?

 OBUDDE bwa kiro. Abasumba bali ku ttale bakuuma endiga zaabwe. Amangu ago malayika wa Yakuwa ayimirira we bali era ekitiibwa kya Katonda kyakaayakana wonna okubeetooloola! Batya nnyo naye bawuliriza amawulire ag’essanyu malayika oyo g’abaleetedde: “Temutya, kubanga mbategeeza amawulire amalungi ag’essanyu abantu bonna lye balifuna, kubanga leero Omulokozi, Kristo Mukama waffe, azaaliddwa,” oyo ajja okufuuka Masiya. Malayika agamba abasumba nti basobola okusanga omwana oyo omuwere ng’azazikiddwa mu lutiba ebisolo mwe biriira mu kibuga ekiriraanyewo. Amangu ago, “bamalayika abalala bangi ab’omu ggye ery’omu ggulu” batandika okutendereza Yakuwa nga bagamba nti: “Ekitiibwa kibeere eri Katonda mu ggulu, n’emirembe gibeere ku nsi mu bantu Katonda b’asiima.”​—Luk. 2:8-14.

2. Ekigambo “Masiya” kitegeeza ki, era abantu banditegedde batya Masiya omutuufu?

2 Kya lwatu nti abasumba bano Abayudaaya bakimanyi nti ekigambo “Masiya,” oba “Kristo,” kitegeeza “Eyafukibwako Amafuta.” (Kuv. 29:5-7) Naye abasumba bano awamu n’abantu abalala bandikakasirizza ku ki nti omwana ono, Yakuwa gwe yali alonze okuba Masiya? Nga beekenneenya obunnabbi obuli mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya obukwata ku Masiya era ne balaba obanga bwandituukiriziddwa ku mwana oyo.

Lwaki Abantu Baali Basuubira Okujja kwa Masiya?

3, 4. Obunnabbi obuli mu Danyeri 9:24, 25 bwatuukirira butya?

3 Nga wayise emyaka mingi, Yokaana Omubatiza yatandika omulimu gwe ogw’okubuulira. Ebyo bye yayogera ne bye yakola byaleetera abamu okulowooza nti ye yali Masiya. (Soma Lukka 3:15.) Kisoboka okuba nti abantu abamu baali bamanyi ebikwata ku bunnabbi obwa “s[s]abbiiti ensanvu.” Bwe kiba bwe kityo, bateekwa okuba nga baali bamanyi ekiseera Masiya we yandirabikidde. Obunnabbi obwo bugamba nti: “Kasooka ekiragiro kifuluma okuzzaawo n’okuzimba Yerusaalemi okutuusa ku oyo afukibwako amafuta, omulangira, walibaawo s[s]abbiiti musanvu: era walibaawo s[s]abbiiti nkaaga mu bbiri.” (Dan. 9:24, 25) Abeekenneenya Bayibuli bangi bagamba nti zino si ssabbiiti za nnaku wabula za myaka. N’olwekyo, buli emu ku ssabbiiti ezo erimu emyaka musanvu. Enkyusa ya Bayibuli eyitibwa Revised Standard Version yo egamba nti: “Ssabbiiti ensanvu ez’emyaka ziragiddwa.”

4 Leero, abaweereza ba Yakuwa bakimanyi nti ssabbiiti 69, oba emyaka 483, ezoogerwako mu Danyeri 9:25 zaatandika mu 455 E.E.T. kabaka wa Buperusi Alutagizerugizi bwe yakkiriza Nekkemiya okuddayo okuzzaawo n’okuzimba Yerusaalemi. (Nek. 2:1-8) Ssabbiiti ezo zaggwaako oluvannyuma lw’emyaka 483, mu mwaka gwa 29 E.E., Yesu ow’e Nazaaleesi bwe yabatizibwa era n’afukibwako omwoyo omutukuvu, bw’atyo n’afuuka Masiya.​—Mat. 3:13-17. *

5. Bunnabbi ki bwe tugenda okwetegereza?

5 Mu Bayibuli mulimu obunnabbi bungi obukwata ku Masiya. Tugenda kwetegerezaayo obumu ku bwo obukwata ku kuzaalibwa kwe, ku bulamu bwe, ne ku buweereza bwe. Kino kijja kwongera okunyweza okukkiriza kwaffe mu kigambo kya Katonda eky’obunnabbi era kituyambe okukakasiza ddala nti Yesu ye Masiya abantu gwe baali bamaze ebbanga nga balindirira.

Obunnabbi Obukwata ku Bulamu Bwe

6. Obunnabbi obuli mu Olubereberye 49:10 bwatuukirira butya?

6 Masiya yandivudde mu kika kya Yuda ekya Isiraeri. Bwe yali awa omukisa abaana be ng’anaatera okufa, Yakobo yagamba Yuda nti: “Omuggo gwa kabaka teguuvenga mu Yuda, n’omuggo gw’oyo afuga teguuvenga wakati wa bigere bye, okutuusa Siiro lw’alijja, era abantu balimugondera.” (Lub. 49:10, NW) Abayigiriza bangi Abayudaaya ab’edda baali bakkiriza nti ebigambo ebyo bikwata ku Masiya. Okuviira ddala ku Dawudi, kabaka eyasooka okuva mu kika kya Yuda, omuggo gwa kabaka (obuyinza obw’okufuga) n’omuggo gw’oyo afuga (obuyinza obw’okuwa ebiragiro) byatandika okuba mu kika kya Yuda. Ekigambo “Siiro” kitegeeza “Oyo Akirinako Obwannannyini; Nnyini Kyo.” Olunyiriri lwa bakabaka okuva mu kika kya Yuda lwandikomye ku “Siiro” eyandisikidde entebe y’obwakabaka emirembe gyonna, kubanga Katonda yagamba Zeddeekiya, kabaka eyasembayo eyali ava mu kika kya Yuda, nti obufuzi bwandikwasiddwa oyo abulinako obwannannyini. (Ez. 21:26, 27) Oluvannyuma lwa Zeddekiya, Yesu ye muntu yekka eyali ava mu lunyiriri lwa Dawudi eyasuubizibwa okuweebwa obwakabaka. Yesu bwe yali tannazaalibwa, malayika Gabulyeri yagamba Maliyamu nti: “Yakuwa Katonda alimuwa entebe ya Dawudi jjajjaawe, era alifuga nga kabaka ennyumba ya Yakobo emirembe gyonna, era obwakabaka bwe tebuliggwaawo.” (Luk. 1:32, 33) Siiro ateekwa okuba nga ye Yesu Kristo, eyali muzzukulu wa Yuda ne Dawudi.​—Mat. 1:1-3, 6; Luk. 3:23, 31-34.

7. Obunnabbi obukwata ku kuzaalibwa kwa Masiya bwatuukirira butya?

7 Masiya yandizaaliddwa mu Besirekemu. Nnabbi Mikka yagamba nti: “Naye ggwe Besirekemu Efulasa, ggwe omuto okuba mu nkumi za Yuda, mu ggwe mwe muliva gye ndi aliba omufuzi mu Isiraeri; okutambulatambula kwe kwa dda na dda, emirembe nga teginnabaawo.” (Mi. 5:2) Masiya yali wa kuzaalibwa mu kibuga Besirekemu ekya Yuda, ekyali kimanyiddwa nga Efulasa. Wadde nga maama wa Yesu, Maliyamu, n’omwami we, Yusufu, baali babeera Nazaaleesi, baagondera ekiragiro ky’omufuzi w’e Rooma ekyali kyetaagisa abantu okwewandiisa ne bagenda e Besirekemu, Yesu gye yazaalirwa mu 2 E.E.T. (Mat. 2:1, 5, 6) Bwe kityo okuzaalibwa kwa Yesu kwali ddala ng’obunnabbi bwe bwali bwalaga!

8, 9. Obunnabbi bwayogera ki ku kuzaalibwa kwa Masiya n’ebyo ebyandibaddewo ng’amaze okuzaalibwa?

8 Masiya yandizaaliddwa omuwala embeerera. (Soma Isaaya 7:14.) Olunyiriri luno lulaga nti omuwala atamanyi musajja yandizadde omwana ow’obulenzi. Waliwo ebigambo bibiri eby’Olwebbulaniya, bethu·lahʹ ne al·mahʹ, ebitegeeza omuwala atamanyi musajja oba embeerera. Olunyiriri luno lukozesa ekigambo al·mahʹ ekisobola okutegeeza omuwala era ng’ekigambo kino kye kyakozesebwa ku Lebbeeka bwe yali nga tannafumbirwa. (Lub. 24:16, 43) Omwoyo gwa Katonda omutukuvu gwaluŋŋamya Matayo okuwandiika nti obunnabbi obuli mu Isaaya 7:14 bwatuukirira nga Yesu azaaliddwa. Matayo yakozesa ekigambo ky’Oluyonaani par·theʹnos ekitegeeza embeerera. Abawandiisi b’Enjiri, Matayo ne Lukka, baagamba nti Maliyamu yafuna olubuto ku bw’omwoyo gwa Katonda omutukuvu.​—Mat. 1:18-25; Luk. 1:26-35.

9 Abaana abato bandittiddwa oluvannyuma lw’okuzaalibwa kwa Masiya. Ekyo kifaananako n’ekintu ekyaliwo ebyasa bingi emabega nga Masiya tannazaalibwa, Kabaka Falaawo ow’e Misiri bwe yalagira abaana Abebbulaniya ab’obulenzi basuulibwe mu Mugga Kiyira. (Kuv. 1:22) Obunnabbi obuli mu Yeremiya 31:15, 16, bwogera ku Laakeeri ng’akaabira abaana be abaatwalibwa “mu nsi y’omulabe.” Bwe yali akaaba, eddoboozi lye lyatuuka n’okuwulirwa e Laama, mu kitundu kya Benyamini ekiri ebukiika kkono bwa Yerusaalemi. Matayo alaga nti ebigambo bya Yeremiya ebyo byatuukirira Kabaka Kerode bwe yalagira abaana bonna ab’obulenzi abaali mu Besirekemu n’ebitundu ebiriraanyeewo okuttibwa. (Soma Matayo 2:16-18.) Lowooza ku nnaku ey’amaanyi abantu abaali mu bitundu ebyo gye baawulira!

10. Obunnabbi obuli mu Koseya 11:1 bwatuukirira butya?

10 Okufaananako Abaisiraeri, Masiya yandiyitiddwa okuva e Misiri. (Kos. 11:1) Kerode bwe yali tannalagira baana battibwe, malayika yalagira Yusufu atwale Maliyamu ne Yesu addukire e Misiri. Baasigala eyo “okutuusa Kerode bwe yafa. Kino kyali bwe kityo Yakuwa kye yayogera okuyitira mu nnabbi [Koseya] kiryoke kituukirire, ekigamba nti: ‘Nnayita omwana wange okuva e Misiri.’” (Mat. 2:13-15) Kya lwatu nti ebintu ebyaliwo nga Yesu azaalibwa n’oluvannyuma lw’okuzaalibwa kwe Yesu yali tabirinaako buyinza.

Masiya Atandika Obuweereza Bwe!

11. Ekkubo lya Masiya lyateekebwateekebwa litya?

11 Wandibaddewo omubaka eyanditeeseteese ekkubo lya Masiya. Malaki yagamba nti “Eriya nnabbi” ye yandikoze omulimu ogwo, n’ateekateeka emitima gy’abantu basobole okukkiriza Masiya. (Soma Malaki 4:5, 6.) Yesu yakiraga nti Yokaana Omubatiza ye yali “Eriya” Malaki gwe yayogerako. (Mat. 11:12-14) Era ne Makko yagamba nti obuweereza bwa Yokaana bwatuukiriza obunnabbi obuli mu Isaaya. (Is. 40:3; Mak. 1:1-4) Yesu si ye yagamba Yokaana okumuteekerateekera ekkubo. Katonda yali ayagala abantu bamanye Masiya. Bwe kityo, Katonda ye yalonda Yokaana okukola omulimu ogufaananako ogwa Eriya era ateeketeeke abantu okukkiriza Masiya.

12. Mulimu ki Katonda gwe yawa Masiya ogwandiyambye abantu okumutegeera?

12 Omulimu Katonda gwe yandiwadde Masiya gwandiyambye abantu okumutegeera. Ng’ali mu kkuŋŋaaniro e Nazaaleesi gye yakulira, Yesu yasoma obunnabbi bwa Isaaya era n’alaga nti bwali butuukiridde ku ye: “Omwoyo gwa Yakuwa guli ku nze, kubanga yanfukako amafuta okubuulira abaavu amawulire amalungi, yantuma okubuulira abasibe nti bajja kuteebwa n’abazibe b’amaaso nti bajja kulaba, okusumulula abo abanyigirizibwa, n’okubuulira omwaka gwa Yakuwa ogw’okukkiririzibwamu.” Olw’okuba ye yali Masiya, Yesu yali mutuufu okugamba nti: “Leero ekyawandiikibwa kino kye muwulidde kituukiridde.”​—Luk. 4:16-21.

13. Isaaya yalagula atya ku buweereza bwa Yesu mu Ggaliraaya?

13 Obunnabbi bwayogera ku buweereza bwa Masiya mu Ggaliraaya. Isaaya yayogera ku “nsi ya Zebbulooni n’ensi ya Nafutaali . . . Ggaliraaya ey’amawanga.” Yagamba nti: “Abantu abaatambuliranga mu kizikiza balabye omusana mungi: abo abaatuulanga mu nsi y’ekisiikirize ky’okufa, omusana gubaakidde.” (Is. 9:1, 2) Yesu obuweereza bwe yabutandikira Ggaliraaya, mu kabuga akayitibwa Kaperunawumu, era abantu bangi ab’e Zebbulooni ne Nafutaali baaganyulwa mu kitangaala eky’eby’omwoyo kye yabatwalira. (Mat. 4:12-16) Mu Ggaliraaya, Yesu gye yaweera Okubuulira kwe okw’Oku Lusozi, gye yalondera abatume be, gye yakolera ekyamagero ekyasooka, era kirabika eyo gye yalabikira abayigirizwa be abasukka mu 500 ng’amaze okuzuukira. (Mat. 5:1–7:27; 28:16-20; Mak. 3:13, 14; Yok. 2:8-11; 1 Kol. 15:6) Bwe kityo, yatuukiriza obunnabbi bwa Isaaya ng’abuulira mu “nsi ya Zebbulooni n’ensi ya Nafutaali.” Kya lwatu nti Yesu yabuulira amawulire g’Obwakabaka ne mu bitundu ebirala ebya Isiraeri.

Obunnabbi Obulala Obukwata ku Masiya

14. Obunnabbi obuli mu Zabbuli 78:2 bwatuukirira butya?

14 Masiya yandikozesezza engero n’ebyokulabirako. Omuwandiisi wa Zabbuli Asafu yagamba nti: “[Nnaayasamya] akamwa kange mu lugero.” (Zab. 78:2) Matayo atuyamba okutegeera engeri obunnabbi obwo gye bwatuukirizibwamu. Oluvannyuma lw’okwogera ku ngeri Yesu gye yakozesaamu olugero lw’akasigo ka kalidaali n’olw’ekizimbulukusa okuyigiriza abantu ku Bwakabaka, Matayo yagamba nti: “[Yesu] teyayogeranga nabo nga takozesezza ngero; ebyo nnabbi bye yayogera ne bituukirira, ebigamba nti: ‘Ndyogera nga nkozesa ngero, ndimanyisa ebintu ebyakwekebwa okuva ku kutondebwa kw’ensi.’” (Mat. 13:31-35) Yesu yakozesanga engero n’ebyokulabirako okuyigiriza abantu ebikwata ku Yakuwa.

15. Obunnabbi obuli mu Isaaya 53:4 bwatuukirira butya?

15 Masiya yandiwonyezza abantu. Nnabbi Isaaya yagamba nti: “Mazima yeetikka obuyinike bwaffe n’asitula ennaku [y]affe.” (Is. 53:4) Matayo yagamba nti Yesu bwe yamala okuwonya nnyina wa muka Peetero, yawonya n’abantu abalala, “ebyo nnabbi Isaaya bye yayogera ne biryoka bituukirira, ebigamba nti: ‘Ye kennyini yatwala obulwadde bwaffe era yeetikka obulumi bwaffe.’” (Mat. 8:14-17) Ebyawandiikibwa biraga nti Yesu yawonya abantu ne ku mirundi emirala mingi.

16. Omutume Yokaana yalaga atya nti obunnabbi obuli mu Isaaya 53:1 bwali bukwata ku Yesu?

16 Wadde nga Masiya yandikoze ebintu ebirungi bingi, abantu bangi bandigaanye okumukkiriza. (Soma Isaaya 53:1.) Ng’alaga nti obunnabbi buno bwali butuukiridde, omutume Yokaana yagamba nti: “Wadde nga [Yesu] yali akoze ebyamagero bingi nga balaba, tebaamukkiriza. Ebigambo bya nnabbi Isaaya ne bituukirira bwe yagamba nti: ‘Yakuwa, ani akkiririzza mu bye twawulira? Era ani abikkuliddwa omukono gwa Yakuwa?’” (Yok. 12:37, 38) Ne mu kiseera kya Pawulo, abantu batono nnyo abakkiriza nti Yesu ye yali Masiya.​—Bar. 10:16, 17.

17. Obunnabbi obuli mu Zabbuli 69:4 bwatuukirira butya?

17 Masiya yandikyayiddwa awatali nsonga. (Zab. 69:4) Yesu yagamba nti: “Singa [abantu] saabakoleramu bikolwa ebitakolebwangako mulala, tebandibadde na kibi; naye baabiraba ne bankyawa era ne bakyawa ne Kitange. Naye kyali bwe kityo ekyawandiikibwa mu Mateeka gaabwe kituukirire, ekigamba nti, ‘Bankyawa awatali nsonga.’” (Yok. 15:24, 25) ‘Amateeka’ Yesu ge yali ayogerako bye Byawandiikibwa byonna ebyaliwo mu kiseera ekyo. (Yok. 10:34; 12:34) Ebitabo by’Enjiri biraga nti abantu baakyawa Yesu, naddala abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya. Ate era Kristo yagamba nti: “Ensi terina nsonga lwaki ebakyawa, naye nze enkyawa kubanga njogera ku bikolwa byayo ebibi.”​—Yok. 7:7.

18. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

18 Abayigirizwa ba Yesu abaaliwo mu kyasa ekyasooka baali bakakafu nti Yesu ye yali Masiya, kubanga obunnabbi bwonna obukwata ku Masiya obuli mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya bwatuukirira ku ye. (Mat. 16:16) Mu kitundu kino, tulabye obumu ku bunnabbi obwali bukwata ku bulamu bwa Yesu n’obuweereza bwe obwatuukirira. Naye era waliwo n’obunnabbi obulala obukwata ku Masiya bwe tujja okulaba mu kitundu ekiddako. Okufumiitiriza ku bunnabbi obwo kijja kwongera okutukakasa nti Yesu Kristo ddala ye Masiya, Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa, gwe yalonda.

[Obugambo obuli wansi]

^ Okumanya ebisingawo ebikwata ku ssabbiiti oba wiiki ensanvu, laba essuula 11 ey’akatabo Ssaayo Omwoyo ku Bunnabbi bwa Danyeri!

Wandizzeemu Otya?

• Bunnabbi ki obukwata ku kuzaalibwa kwa Yesu obwatuukirira?

• Ekkubo lya Masiya lyateekebwateekebwa litya?

• Obunnabbi obuli mu Isaaya essuula 53 bwatuukirira butya?

[Ebibuuzo]