Baazuula Masiya!
Baazuula Masiya!
“Tuzudde Masiya.”—YOK. 1:41.
1. Kiki ekyaleetera Andereya okugamba nti: “Tuzudde Masiya”?
YOKAANA OMUBATIZA ayimiridde n’abayigirizwa be babiri. Bw’alaba Yesu ng’ajja gye bali, Yokaana agamba nti: “Laba Omwana gw’Endiga owa Katonda!” Andereya n’omuyigirizwa omulala batandikirawo okugoberera Yesu era ne babeera naye ku lunaku olwo. Oluvannyuma, Andereya asanga muganda we, Simooni Peetero, n’amugamba nti: “Tuzudde Masiya,” era n’amutwala eri Yesu.—Yok. 1:35-41.
2. Okwekenneenya obunnabbi obulala obukwata ku Masiya kinaatuganyula kitya?
2 Ekiseera bwe kyandigenze kiyitawo, Andereya, Peetero, n’abalala bandyekenneenyezza Ebyawandiikibwa ne bakakasa nti Yesu ow’e Nazaaleesi ddala ye Masiya eyasuubizibwa. Okukkiriza kwaffe mu Kigambo kya Katonda awamu ne mu Oyo Katonda gwe yafukako amafuta kujja kweyongera okunywera bwe tuneekenneenya obunnabbi obulala obukwata ku Masiya.
“Laba, Kabaka Wo Ajja gy’Oli”
3. Bunnabbi ki obwatuukirira Yesu bwe yayingira Yerusaalemi nga kabaka?
3 Masiya yandiyingidde Yerusaalemi nga kabaka. Nnabbi Zekkaliya yagamba nti: “Sanyuka nnyo, ggwe omuwala wa Sayuuni: yogerera waggulu, ggwe omuwala wa Yerusaalemi; laba, kabaka wo ajja gy’oli; ye mutuukirivu era alina obulokozi; muwombeefu era nga yeebagadde endogoyi, n’akayana omwana gw’endogoyi.” (Zek. 9:9) Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.” (Zab. 118:26) Yesu bwe yali ayingira mu Yerusaalemi, ekibiina ky’abantu baayogerera waggulu n’essanyu. Naye Yesu si ye yabagamba okukola ekyo. Ekyo kyali kyayogerwako mu bunnabbi. Ng’osoma ennyiriri eziraga ebyo ebyaliwo ku olwo, kuba akafaananyi nga naawe w’oli era ng’owulira amaloboozi g’abantu abo abasanyufu.—Soma Matayo 21:4-9.
4. Obunnabbi obuli mu Zabbuli 118:22, 23 bwatuukirira butya?
4 Wadde nga bangi tebandimukkirizza nga Masiya, Yesu wa muwendo eri Katonda. Ng’obunnabbi bwe bwalaga, Yesu ‘yanyoomebwa era n’agaanibwa abantu’ abataalina kukkiriza. (Is. 53:3; Mak. 9:12) Kyokka, Katonda yali yaluŋŋamya omuwandiisi wa Zabbuli okugamba nti: “Ejjinja abazimbi lye baagaana lifuuse ekkulu ery’oku nsonda. Ekyo Mukama ye yakikola.” (Zab. 118:22, 23) Yesu yayogera ku bunnabbi buno bwe yali ayogera n’abakulembeze b’eddiini abaali bamuziyiza, era Peetero yalaga nti bwatuukirira ku Kristo. (Mak. 12:10, 11; Bik. 4:8-11) Yesu yafuuka “ejjinja ery’omusingi ery’oku nsonda” ery’ekibiina Ekikristaayo. Wadde nga yagaanibwa abantu abatatya Katonda, ‘Katonda yamulonda, era wa muwendo nnyo gy’ali.’—1 Peet. 2:4-6.
Yandiriiriddwamu Olukwe era Yandyabuliddwa!
5, 6. Obunnabbi bwayogera ki ku Masiya okuliibwamu olukwe, era bwatuukirira butya?
5 Kyalagulwa nti omu ku abo abandibadde ku lusegere lwa Masiya yandimuliddemu olukwe. Dawudi yalagula nti: “Munnange mukwano gwange nze, gwe nneesiga, eyalyanga ku mmere yange, ansitulidde ekisinziiro kye.” (Zab. 41:9) Mu biseera bya Bayibuli, abantu okuliira awamu emmere kyalaganga nti ba mukwano. (Lub. 31:54) Bwe kityo, Yuda Isukalyoti okulyamu Yesu olukwe kyali kikolwa kibi nnyo. Yesu yalaga nti ekyo kyali kituukirizza obunnabbi obuli mu bigambo bya Dawudi. Yayogera ku oyo eyali agenda okumulyamu olukwe ng’agamba abayigirizwa be nti: “Soogera ku mmwe mwenna; mmanyi be nnalonda. Naye Ekyawandiikibwa kirina okutuukirira ekigamba nti, ‘Oyo eyalyanga ku mmere yange anneefuukidde.’”—Yok. 13:18.
6 Oyo eyandiriddemu Masiya olukwe yandiweereddwa ebitundu bya ffeeza 30—ssente ezaagulanga omuddu! Ng’ajuliza obunnabbi obuli mu Zekkaliya 11:12, 13, Matayo yalaga nti oyo eyalyamu Yesu olukwe yaweebwa obusente butono nnyo. Naye lwaki Matayo yagamba nti kino kyali kyayogerwa “okuyitira mu nnabbi Yeremiya”? Mu kiseera kya Matayo, ekitabo kya Yeremiya kirabika kye kyali kisooka mu nsengeka y’ebitabo bya Bayibuli omwali ekitabo kya Zekkaliya. (Geraageranya Lukka 24:44.) Yuda teyakozesa bitundu bya ffeeza ebyo ebyamuweebwa, kubanga yabisuula mu yeekaalu n’agenda ne yeetuga.—Mat. 26:14-16; 27:3-10.
7. Obunnabbi obuli mu Zekkaliya 13:7 bwatuukirira butya?
7 N’abayigirizwa ba Masiya bandimwabulidde. “[Kuba] omusumba, n’endiga zirisaasaana.” (Zek. 13:7) Nga Nisani 14, 33 E.E., Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mwenna mujja kwesittala olw’ekyo ekigenda okuntuukako ekiro kino, kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Ndikuba omusumba era endiga ez’omu kisibo zirisaasaana.’” Ekyo kyennyini kye kyaliwo, kubanga Matayo agamba nti ‘abayigirizwa bonna baayabulira Yesu ne badduka.’—Mat. 26:31, 56.
Yandiwaayiriziddwa era n’Akubibwa
8. Obunnabbi obuli mu Isaaya 53:8 bwatuukirira butya?
8 Masiya yandiwozeseddwa era n’asalirwa ogw’okufa. (Soma Isaaya 53:8.) Obudde bwe bwali bunaatera okukya nga Nisani 14, ab’Olukiiko Olukulu bonna baatuula, ne balagira Yesu asibibwe, era aweebweyo eri gavana wa Rooma Pontiyo Piraato. Oluvannyuma lw’okubuuza Yesu ebibuuzo, Piraato yakizuula nti teyalina musango gwonna. Kyokka Piraato bwe yasalawo okuta Yesu, ekibiina ky’abantu baayogerera waggulu nti: “Mukomerere!” era ne basaba abateere omumenyi w’amateeka Balabba. Olw’okuba yali ayagala okusanyusa abantu, Piraato yata Balabba, n’alagira Yesu akubibwe kibooko, oluvannyuma n’amuwaayo akomererwe.—Mak. 15:1-15.
9. Obunnabbi obuli mu Zabbuli 35:11 bwatuukirira butya?
9 Abajulizi ab’obulimba bandirumirizza Masiya. Omuwandiisi wa Zabbuli Dawudi yagamba nti: “Abajulirwa abatali batuukirivu bagolokose; bambuuza ebigambo bye ssimanyi.” (Zab. 35:11) Ng’obunnabbi bwe bwalaga, “bakabona abakulu n’ab’Olukiiko Olukulu bonna baali banoonya obujulizi obw’obulimba kwe [bandisinzidde] okutta Yesu.” (Mat. 26:59) Mu butuufu, “bangi baamuwaako obujulizi obw’obulimba naye nga tebukwatagana.” (Mak. 14:56) Wadde kyali kityo, ekyo abalabe ba Yesu tebaakifaako kubanga baali bamaliridde okumutta.
10. Obunnabbi obuli mu Isaaya 53:7 bwatuukirira butya?
10 Masiya teyandyanukudde abo abandimuwaayirizza. Nnabbi Isaaya yagamba nti: “Yajoogebwa, naye ne yeetoowaza n’atayasam[y]a kamwa ke; ng’omwana gw’endiga ogutwalibwa okuttibwa, era ng’endiga esirika mu maaso g’abo abagisalako ebyoya; weewaawo, teyayasam[y]a kamwa ke.” (Is. 53:7) ‘Bakabona abakulu n’abakadde bwe baali balumiriza Yesu, teyaddamu kigambo.’ Piraato yamubuuza nti: “Towulira ebintu ebingi bye bakulumiriza?” Naye Yesu “[teyamuddamu] kigambo na kimu, gavana ne yeewuunya nnyo.” (Mat. 27:12-14) Yesu teyavuma abo abaali bamuwaayiriza.—Bar. 12:17-21; 1 Peet. 2:23.
11. Obunnabbi obuli mu Isaaya 50:6 ne Mikka 5:1 bwatuukirira butya?
11 Isaaya yalagula nti Masiya yandikubiddwa. Nnabbi Isaaya yagamba nti: “N[n]awaayo amabega gange eri abakuba, n’amatama gange eri abo abakuunyuula enviiri: saakweka maaso gange nsonyi na kuwanda malusu.” (Is. 50:6) Mikka yalagula nti: “Balikuba oluyi omulamuzi wa Isiraeri n’omuggo.” (Mi. 5:1) Ng’alaga nti obunnabbi obwo bwali butuukiridde ku Yesu, omuwandiisi w’Enjiri Makko yawandiika nti: “Abamu ne batandika [okuwandulira Yesu] amalusu, ne bamubikka ku maaso era ne bamukuba ebikonde nga bamugamba nti: ‘Bw’oba oli nnabbi, tubuulire akukubye!’ Abaweereza b’omu kkooti ne bamutwala nga bamukuba empi mu maaso.” Makko agamba nti abasirikale “ba[a]mukuba olumuli ku mutwe, ng’eno bwe bamuwandulira amalusu, era nga bwe bamuvunnamira [nga beefuula abamussaamu ekitiibwa].” (Mak. 14:65; 15:19) Kya lwatu nti tewali kintu kyonna Yesu kye yali abakoze kutuuka kumuyisa batyo.
Yali Mwesigwa Okutuukira Ddala Okufa
12. Obunnabbi obuli mu Zabbuli 22:16 ne Isaaya 53:12 bwatuukirira butya?
12 Okukomererwa kwa Masiya kwali kwalagulwako. Omuwandiisi wa Zabbuli Dawudi yagamba nti: “Ekibiina ky’abo abakola obubi bantaayizizza; bampummudde engalo zange n’ebigere byange.” (Zab. 22:16) Ng’ayogera ku ekyo ekyaliwo, abasomi ba Bayibuli bangi kye bamanyi obulungi, omuwandiisi w’Enjiri Makko yagamba nti: “Baamukomerera ku ssaawa ssatu [ez’oku makya].” (Mak. 15:25) Ate era kyali kyalagulwa nti Masiya yandikomereddwa wamu n’aboonoonyi. Nnabbi Isaaya yawandiika nti: “Yafuka obulamu bwe okutuusa ku kufa, n’abalirwa wamu n’abasobya.” (Is. 53:12) Obunnabbi obwo bwatuukirira Yesu bwe “baamukomerera n’abanyazi babiri, omu ku mukono gwe ogwa ddyo ate omulala ku gwa kkono.”—Mat. 27:38.
13. Obunnabbi obuli mu Zabbuli 22:7, 8 bwatuukirira butya?
13 Dawudi yalagula nti Masiya yandivumiddwa. (Soma Zabbuli 22:7, 8.) Yesu yavumibwa bwe yali ku muti ogw’okubonaabona, kubanga Matayo yagamba nti: “Abaali bayitawo ne batandika okumuvuma, nga banyeenya emitwe gyabwe nga bwe bagamba nti: ‘Ggwe eyagamba okumenya yeekaalu ogizimbire mu nnaku ssatu, weerokole! Bw’oba oli mwana wa Katonda, va ku muti ogw’okubonaabona!’” Mu ngeri y’emu, bakabona abakulu, abawandiisi, n’abakadde baamusekerera era ne bagamba nti: “Yalokolanga balala; naye ye tasobola kwerokola! Ye Kabaka wa Isiraeri; kale akke okuva ku muti ogw’okubonaabona tumukkirize. Atadde obwesige mu Katonda; kale amuwonye bw’aba ng’amwagala, kubanga yagamba nti, ‘Ndi Mwana wa Katonda.’” (Mat. 27:39-43) Wadde nga Yesu yabonaabona nnyo, yasigala mukkakkamu n’atayogera kigambo kibi kyonna. Nga yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo!
14, 15. Obunnabbi obukwata ku byambalo bya Masiya n’obwo obukwata ku Masiya okuweebwa omwenge omukaatuufu bwatuukirira butya?
14 Ebyambalo bye byandikubiddwako akalulu. Omuwandiisi wa Zabbuli yawandiika nti: “Bagabana ebyambalo byange, ne bakuba akalulu ku lugoye lwange.” (Zab. 22:18) Ekyo kyennyini kye kyaliwo, kubanga “[abasirikale Abaruumi] bwe baamala [okukomerera Yesu], ne bagabana ebyambalo bye eby’okungulu nga babikubira akalulu.”—Mat. 27:35; soma Yokaana 19:23, 24.
15 Masiya yandiweereddwa omwenge omukaatuufu n’ekintu ekikaawa. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Bampa omususa okuba emmere yange; era bwe nnalumibwa ennyonta ne bannywesa omwenge omukaatuufu.” (Zab. 69:21) Matayo agamba nti: “Ne [bawa Yesu] okunywa enviinyo etabuddwamu ekintu ekikaawa; naye bwe yakombako n’agaana okunywa.” Oluvannyuma, “omu ku bo n’adduka n’addira ekisuumwa n’akinnyika mu mwenge omukaatuufu, n’akiteeka ku lumuli, n’amuwa anywe.”—Mat. 27:34, 48.
16. Obunnabbi obuli mu Zabbuli 22:1 bwatuukirira butya?
16 Kyandirabise nga gy’obeera Katonda yali ayabulidde Masiya. (Soma Zabbuli 22:1.) Ng’obunnabbi bwe bwalaga, “ku ssaawa mwenda [ez’olweggulo] Yesu [y]ayogera n’eddoboozi ery’omwanguka: ‘Eri, Eri, lama sabakusaani?’ ekitegeeza nti: ‘Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?’” (Mak. 15:34) Ebigambo ebyo tebitegeeza nti Yesu yali takyalina bwesige mu Kitaawe ow’omu ggulu. Katonda yayabulira Yesu eri abalabe be ng’amuggyako obukuumi, kisobozese obugolokofu bwa Kristo okugezesebwa mu bujjuvu. Yesu bwe yayogera ebigambo ebyo, obunnabbi obuli mu Zabbuli 22:1 bwatuukirira.
17. Obunnabbi obuli mu Zekkaliya 12:10 ne Zabbuli 34:20 bwatuukirira butya?
17 Masiya yandifumitiddwa, naye amagumba ge tegandimenyeddwa. Abantu b’omu Yerusaalemi ‘banditunuulidde Oyo gwe baafumita.’ (Zek. 12:10) Zabbuli 34:20 wagamba nti: “[Katonda] akuuma amagumba [g’oyo] gonna: linnaago erimu terimenyeka.” Ng’alaga engeri obunnabbi obwo gye bwatuukiriramu, omutume Yokaana yawandiika nti: “Omu ku basirikale [yafumita Yesu] effumu mu mbiriizi, era amangu ago ne muvaamu omusaayi n’amazzi. Oyo eyakiraba [Yokaana] ye yakiwaako obujulirwa era obujulirwa bwe butuufu . . . Ebyo byabaawo okusobola okutuukiriza ekyawandiikibwa ekigamba nti: ‘Tewali ggumba lye liribetentebwa.’ Era ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti: ‘Balitunuulira oyo gwe baafumita.’”—Yok. 19:33-37.
18. Obunnabbi obulaga nti Yesu yandiziikiddwa wamu n’abagagga, bwatuukirira butya?
18 Masiya yandiziikiddwa wamu n’abagagga. (Soma Isaaya 53:5, 8, 9.) Bwe bwali buwungeera nga Nisani 14, “omusajja omu omugagga ow’e Alimasaya ayitibwa Yusufu,” yasaba Piraato omulambo gwa Yesu, era okusaba kwe kwakkirizibwa. Matayo agattako nti: “Yusufu n’atwala omulambo, n’aguzinga mu lugoye olulungi era oluyonjo. N’aguteeka mu ntaana ye empya gye yali asimye mu lwazi. Bwe yamala okuyiringisa ejjinja n’aliteeka ku mulyango gw’entaana, n’agenda.”—Mat. 27:57-60.
Tendereza Masiya, Kabaka Waffe!
19. Obunnabbi obuli mu Zabbuli 16:10 bwatuukirira butya?
19 Masiya yandizuukizidddwa. Dawudi yawandiika nti: “[Yakuwa] tolireka mmeeme yange mu magombe.” (Zab. 16:10) Nga Nisani 16, waliwo abakazi abaagenda ku ntaana mwe baateeka omulambo gwa Yesu. Lowooza ku ngeri gye baawuliramu nga basanze malayika ng’atudde mu ntaana eyo! Malayika yabagamba nti: “Mulekere awo okwewuunya. Mmanyi nti munoonya Yesu Omunnazaaleesi eyakomererwa. Yazuukiziddwa, taliiwo wano. Mulabe! Kino kye kifo mwe baamuteeka.” (Mak. 16:6) Bwe yali ayogera eri ekibiina ky’abantu abaali bakuŋŋaanidde mu Yerusaalemi ku lunaku lwa Pentekooti 33 E.E., omutume Peetero yagamba nti: “[Dawudi] yamanya ebiribaawo era n’ayogera ku kuzuukira kwa Kristo nti, teyalekebwa Magombe era omubiri gwe tegwavunda.” (Bik. 2:29-31) Katonda teyaleka mubiri gwa Mwana we omwagalwa kuvunda. Ate era mu ngeri ey’ekyamagero, Yesu yazuukizibwa mu mwoyo!—1 Peet. 3:18.
20. Obunnabbi bwogera ki ku bufuzi bwa Masiya?
20 Nga bwe kyalagulwa, Katonda yagamba nti Yesu Mwana we. (Soma Zabbuli 2:7; Matayo 3:17.) Abantu baatendereza Yesu awamu n’Obwakabaka bwe obwali bugenda okujja, era naffe tumutendereza nga tubuulira abalala ebimukwatako awamu n’Obwakabaka bwe. (Mak. 11:7-10) Mu kiseera ekitali kya wala, Kristo ajja kuzikiriza abalabe be bw’alyebagala ‘okuwangula olw’amazima, obuwombeefu, n’obutuukirivu.’ (Zab. 2:8, 9; 45:1-6) Olwo nno obufuzi bwe bujja kuleeta emirembe mu nsi yonna era buli muntu ajja kuba na buli kimu kye yeetaaga. (Zab. 72:1, 3, 12, 16; Is. 9:6, 7) Omwana wa Yakuwa omwagalwa kati afuga nga Kabaka mu ggulu. Nga nkizo ya maanyi okuba nti tuli Bajulirwa ba Yakuwa era nti tusobola okubuulirako abalala ku mawulire ago amalungi!
Wandizzeemu Otya?
• Yesu yaliibwamu atya olukwe era yayabulirwa atya?
• Obunnabbi obukwata ku kukomererwa kwa Yesu Kristo bwatuukirira butya?
• Kiki ekikukakasa nti Yesu ye Masiya eyasuubizibwa?
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]
Bunnabbi ki obwatuukirira Yesu bwe yayingira Yerusaalemi nga kabaka?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Yesu yafa olw’ebibi byaffe, naye kati afuga nga Kabaka