Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Kisoboka okutegeera omuwendo gwennyini ogw’obunnabbi obukwata ku Masiya obuli mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya?
Mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya mulimu obunnabbi bungi obukwata ku Yesu Kristo obwatuukirira. Obunnabbi buno bwogera ku bulamu bwa Masiya, ekiseera we yandirabikidde, ebintu bye yandikoze, engeri gye yandiyisiddwamu, n’ekifo kye yandibadde nakyo mu nteekateeka ya Yakuwa Katonda. Obunnabbi obwo bwonna awamu bwe butuyamba okukakasa nti Yesu ye Masiya. Kyokka, tusaanidde okuba abeegendereza ennyo bwe kituuka ku muwendo gw’obunnabbi obukwata ku Masiya obuli mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya.
Waliwo okukubagana empawa bwe kituuka ku bunnabbi obukwata ku Masiya. Mu kitabo kye ekiyitibwa The Life and Times of Jesus the Messiah, Alfred Edersheim yagamba nti ebiwandiiko bya balabbi binokolayo ebyawandiikibwa 456 okuva mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ebitwalibwa okubaamu obunnabbi obukwata ku Masiya, wadde nga bingi ku byawandiikibwa ebyo tebyogera ku Masiya. Kyokka oluvannyuma lw’okwekenneenya ebyawandiikibwa ebyo 456, abamu kibaleetedde okwebuuza obanga ddala ebigambo ebiri mu byawandiikibwa ebyo bunnabbi obukwata ku Yesu Kristo. Ng’ekyokulabirako, Edersheim yagamba nti Abayudaaya baali bakitwala nti ebigambo ebiri mu Olubereberye 8:11 bunnabbi obukwata ku Masiya. Abayudaaya baali bagamba nti “akalagala ak’omuzeyituuni, akaaleetebwa ejjiba, kaggibwa ku Lusozi lwa Masiya.” Era yayogera ne ku Okuva 12:42. Ng’alaga engeri Abayudaaya gye bannyonnyolangamu mu bukyamu ekyawandiikibwa ekyo, yawandiika nti: “Nga Musa bwe yava mu ddungu, bw’atyo ne Masiya bwe yandivudde mu Rooma.” Abeekenneenya Bayibuli bangi awamu n’abantu abalala tebalaba ngeri yonna ebyawandiikibwa ebyo ebibiri awamu n’ennyinnyonnyola ezo enkyamu gye bikwatagana na Yesu Kristo.
Ne bwe tuba ng’essira tulitadde ku bunnabbi obwo bwokka obukwata ku Yesu Kristo obwatuukirira, kiyinza okutuzibuwalira okutegeera omuwendo gwennyini ogw’obunnabbi obwo. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Isaaya essuula 53, omuli ebigambo ebitali bimu eby’obunnabbi obukwata ku Masiya. Isaaya 53:2-7 wagamba nti: “Talina mbala . . . Yanyoomebwa n’agaanibwa abantu . . . Yeetikka obuyinike bwaffe . . . Yafumitibwa olw’okusobya kwaffe . . . Ng’omwana gw’endiga ogutwalibwa okuttibwa.” Kati olwo ennyiriri zino zonna eziri mu Isaaya essuula 53 tuzitwale ng’obunnabbi bumu obukwata ku Masiya oba ng’obunnabbi obw’enjawulo?
Era weetegereze, Isaaya 11:1, awagamba nti: “Mu kikolo kya Yese muliva ensibuka, n’ettabi eririva mu mmizi gye liribala ebibala.” Obunnabbi obwo buddibwamu mu lunyiriri 10. Ennyiriri ezo ebbiri tuzitwale ng’obunnabbi bubiri obw’enjawulo oba ng’obunnabbi bwe bumu naye nga buddiddwamu buddibwa? Kya lwatu nti engeri omuntu gy’aba asazeewo okubala obunnabbi obuli mu Isaaya essuula 53 ne mu Isaaya essuula 11 esobola okuleetera omuwendo gw’obunnabbi obukwata ku Masiya okuba ogw’enjawulo.
N’olwekyo, tusaanidde okwewala okumalira ebirowoozo byaffe ku muwendo gw’obunnabbi obukwata ku Masiya obuli mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Ekibiina kya Yakuwa kifulumizza ebitabo ebitali bimu omuli obunnabbi bungi obukwata ku Yesu n’engeri gye bwatuukiriramu. * Tusobola okuganyulwa ennyo singa tukozesa ebitabo ebyo mu kwesomesa, mu kusinza kw’amaka, ne mu buweereza bwaffe obw’ennimiro. Ate era, obunnabbi obungi ennyo obukwata ku Masiya, ka kibe nti omuwendo gwabwo gwenkana wa, bukakafu bwa maanyi nnyo obulaga nti Yesu ye Kristo, oba Masiya.
[Obugambo obuli wansi]
^ Laba ekitabo Insight on the Scriptures, Omuzingo 1, olupapula 1223; Omuzingo 2, olupapula 387; “All Scripture Is Inspired of God and Beneficial,” olupapula 343-344; Kiki Ddala Bayibuli Ky’Eyigiriza? olupapula 200.