Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Ebyo ebifulumira mu alipoota y’omwaka ey’obuweereza birina makulu ki?
Buli mwaka mu katabo kaffe aka Yearbook mufulumiramu alipoota ekwata ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira. Kitusanyusa nnyo okusoma ku ngeri abantu ba Yakuwa okwetooloola ensi gye banyiikirira omulimu gw’okubuulira amawulire ag’Obwakabaka n’okuyigiriza abantu. Naye bwe tuba ab’okuganyulwa mu alipoota eyo, twetaaga okutegeera obulungi ebyo ebigirimu. Lowooza ku byokulabirako bino wammanga.
Omwaka gw’obuweereza. Guva mu Ssebutemba ne gutuuka mu Agusito. Alipoota eba mu katabo ka Yearbook eba ya mwaka ogw’obuweereza oguba guyise. Ng’ekyokulabirako, akatabo 2011 Yearbook kalimu alipoota y’omwaka gw’obuweereza 2010, ogwatandika nga Ssebutemba 1, 2009, okutuuka nga Agusito 31, 2010.
Entikko y’ababuulizi n’omuwendo gw’ababuulizi. “Ababuulizi” be Bajulirwa ba Yakuwa ababatize n’abalala abatali babatize abatuukiriza ebisaanyizo okubuulira amawulire ag’Obwakabaka. “Entikko y’ababuulizi” gwe muwendo gw’alipoota eziba zifuniddwa oguba gusinzeeyo obunene mu gumu ku myezi egiri mu mwaka gw’obuweereza. Omuwendo ogwo guyinza okuzingiramu n’alipoota eziba zajja ekikeerezi. Bwe kityo omubuulizi omu ayinza okubalibwamu ababiri. Naye omuwendo ogwo teguzingiramu abo ababa baabulira naye ne beerabira okuwaayo alipoota zaabwe. Ekyo kiraga ensonga lwaki kikulu nnyo buli mubuulizi okuwaayo alipoota ye mu budde buli mwezi. “Omuwendo gw’ababuulizi” be babuulizi ababa baawaayo alipoota zaabwe buli mwezi.
Essaawa. Okusinziira ku katabo 2011 Yearbook, Abajulirwa ba Yakuwa baamala essaawa ezisukka mu 1,600,000,000 mu mulimu gw’okubuulira. Naye essaawa ezo, si ze zokka ze tumala nga tusinza Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, tezizingiramu ssaawa abakadde ze bamala nga bakyalira ab’oluganda, ze tumala mu nkuŋŋaana z’ekibiina, ne ze tumala nga twesomesa Bayibuli era nga tufumiitiriza.
Ssente ezisaasanyizibwa. Mu mwaka gw’obuweereza 2010, Abajulirwa ba Yakuwa baasaasaanya doola obukadde 155 ku bapayoniya ab’enjawulo, ku baminsani, n’abalabirizi abatambula. Kyokka ssente ezo tekuli ezo ezisaasaanyizibwa mu kukuba ebitabo; n’ezo ezisaasaanyizibwa ku bannakyewa abasukka mu 20,000 abaweereza mu maka ga Beseri okwetooloola ensi.
Abalya n’abanywa ku bubonero ku Kijjukizo. Guno gwe muwendo gw’Abajulirwa ba Yakuwa ababatize abalya era ne banywa ku bubonero ku mukolo gw’Ekijjukizo okwetooloola ensi. Naye omuwendo ogwo guyinza obutalagira ddala muwendo gwennyini ogw’abaafukibwako amafuta abakyasigaddewo ku nsi. Ng’ekyokulabirako, abamu bayinza okulya n’okunywa ku bubonero nga balowooza nti bagenda mu ggulu oboolyawo olw’enzikiriza enkyamu ze baalimu, olw’okuba n’ekizibu ku bwongo, oba olw’okuba n’endowooza eteri nnuŋŋamu. Bwe kityo, tewali ngeri yonna gye tuyinza kumanya muwendo gwennyini ogw’abaafukibwako amafuta abali ku nsi; era tewali nsonga lwaki twetaaga okugumanya. Akakiiko Akafuzi tekawandiika mannya g’abo abalya era abanywa ku bubonero ku mukolo gw’Ekijjukizo. *
Kye tumanyi kiri nti wajja kubaawo abaafukibwako amafuta, ‘abaddu ba Katonda waffe’ mu kiseera ekibonyoobonyo ekinene we kinaatandikira. (Kub. 7:1-3) Naye nga bakyali ku nsi, abaafukibwako amafuta bajja kweyongera okukola n’obunyiikivu mu mulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza abantu. Alipoota y’omwaka ogw’obuweereza etulaga ebyo abantu ba Yakuwa mu nsi yonna bye bakola mu mulimu guno ogusingayo obukulu mu byafaayo by’olulyo lw’omuntu.
[Obugambo obuli wansi]
^ Okumanya ebisingawo, laba ekitundu ekirina omutwe “Omuwanika Omwesigwa n’Akakiiko Akafuzi Akamukiikirira,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjuuni 15, 2009, olupapula 24.