Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Fuba Okukuuma Emirembe

Fuba Okukuuma Emirembe

Fuba Okukuuma Emirembe

“Tuluubirire ebintu ebireeta emirembe.”​—BAR. 14:19.

1, 2. Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa bali mu mirembe?

 ABANTU abali mu nsi leero tebalina mirembe gya nnamaddala. N’abantu ab’eggwanga erimu era aboogera olulimi olumu batera okuba n’enjawukana eziva ku ddiini, ku by’obufuzi, ku ssente, ne ku buyigirize. Ku luuyi olulala, abantu ba Yakuwa bali bumu wadde nga bava “mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi.”​—Kub. 7:9.

2 Waliwo ensonga lwaki abantu ba Yakuwa okutwalira awamu tuli mu mirembe. Ensonga esinga obukulu eri nti ‘tuli mu mirembe ne Katonda,’ olw’okuba tukkiririza mu Mwana we, eyawaayo obulamu bwe ku lwaffe. (Bar. 5:1; Bef. 1:7) Ate era, Katonda ow’amazima awa abaweereza be abeesigwa omwoyo gwe omutukuvu, ate ng’emirembe kye kimu ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo ogwo. (Bag. 5:22) Ensonga endala lwaki tuli mu mirembe era tuli bumu eri nti ‘tetuli ba nsi.’ (Yok. 15:19) Kino kitegeeza nti tetwenyigira mu bya bufuzi oba mu ntalo. Nga Bayibuli bw’egamba, ‘twaweesa ebitala byaffe okubifuula enkumbi.’​—Is. 2:4.

3. Emirembe gye tulina gitukubiriza kukola ki, era kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Okuba mu mirembe ne baganda baffe kisingawo ku kwewala obwewazi okubakolako akabi. Wadde nga ffenna abali mu kibiina kya Yakuwa tuva mu mawanga ag’enjawulo n’ebika eby’enjawulo, ffenna ‘twagalana.’ (Yok. 15:17) Emirembe gye tulina gitukubiriza ‘okukolera bonna ebirungi naye okusingira ddala abo be tuli nabo mu kukkiriza.’ (Bag. 6:10) Emirembe gye tulina ne Katonda awamu ne baganda baffe ne bannyinaffe tusaanidde okugitwala nga gya muwendo nnyo era tusaanidde okugikuuma. Kati ka tulabe engeri gye tuyinza okukuumamu emirembe mu kibiina.

Bwe Tusobya

4. Kiki kye tuyinza okukola okusobola okukuuma emirembe nga waliwo omuntu gwe tunyiizizza?

4 Omuyigirizwa Yakobo yawandiika nti: “Emirundi mingi ffenna tusobya. Omuntu yenna bw’atasobya mu kigambo, oyo ye yatuukirira.” (Yak. 3:2) N’olwekyo, ebiseera ebimu tusobola okufuna obutategeeragana ne bakkiriza bannaffe. (Baf. 4:2, 3) Kyokka, obutategeeragana obwo busobola okugonjoolwa awatali kutabangula mirembe gya kibiina. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ekyo Yesu kye yagamba kye tuyinza okukola singa tukitegeera nti waliwo omuntu gwe tunyiizizza.​—Soma Matayo 5:23, 24.

5. Tuyinza tutya okukuuma emirembe nga waliwo omuntu atunyiizizza?

5 Ate kiri kitya nga waliwo omuntu atunyiizizza? Twandisuubidde nti omuntu oyo ateekwa buteekwa okujja gye tuli okutwetondera? Mu 1 Abakkolinso 13:5 wagamba nti: “[Okwagala] tekusiba kiruyi.” Bwe wabaawo muntu atunyiizizza, tufuba okukuuma emirembe nga tumusonyiwa era ne twerabira, kwe kugamba, ‘tetusiba kiruyi.’ (Soma Abakkolosaayi 3:13.) Eyo ye ngeri esingayo obulungi ey’okukwatamu ensobi entonotono abalala ze baba batukoze. Okukola ekyo kituyamba okuba mu mirembe ne bakkiriza bannaffe era kituyamba okuba n’emirembe mu mutima. Bayibuli egamba nti: ‘Omuntu okusonyiwa ekyonoono, kye kitiibwa kye.’​—Nge. 19:11.

6. Kiki kye tuyinza okukola singa wabaawo omuntu aba atukoze ekintu ekibi kye tutasobola kubuusa maaso?

6 Ate kiri kitya singa ekyo omuntu ky’aba atukoze tuwulira nga tetusobola kukibuusa maaso? Tekiba kya magezi kutandika kukibuulirako buli omu gwe tuba tusanze. Okukola ekyo kisobola okutabangula emirembe mu kibiina. Kiki kye tuyinza okukola okusobola okugonjoola ekizibu ekyo mu mirembe? Matayo 18:15 wagamba nti: “Muganda wo bw’ayonoona, mulage ensobi ye nga muli mwekka ggwe naye. Bw’akuwuliriza, ojja kuba okomezzaawo muganda wo.” Wadde nga Matayo 18:15-17 woogera ku kibi eky’amaanyi, tusobola okukolera ku musingi oguli mu lunyiriri 15 ne tutuukirira oyo aba atunyiizizza ne twogera naye mu ngeri ey’ekisa nga tuli babiri ffekka, tufube okuzzaawo emirembe wakati waffe naye. *

7. Lwaki tusaanidde okwanguwa okugonjoola obutategeeragana?

7 Omutume Pawulo yagamba nti: “Musunguwalenga naye temwonoona; enjuba eremenga okugwa nga mukyali basunguwavu, era temuwanga Mulyolyomi mwagaanya.” (Bef. 4:26, 27) Yesu yagamba nti: “Tabagananga mangu n’oyo akuvunaana omusango.” (Mat. 5:25) N’olwekyo, bwe tuba ab’okukuuma emirembe kitwetaagisa okugonjoola obutategeeragana amangu ddala nga bwe kisoboka. Lwaki? Kubanga bwe tutakola tutyo, ekizibu kiyinza okugejja era ne kisajjuka okufaananako ekiwundu ekiba kitajanjabiddwa mangu. Tetusaanidde kukkiriza malala, buggya, oba kwagala ssente kutulemesa kugonjoola, amangu ddala nga bwe kisoboka, obutategeeragana obuba buzzeewo.​—Yak. 4:1-6.

Obutategeeragana Bwe Buba Buzingiramu Abantu Bangi

8, 9. (a) Butategeeragana bwa ngeri ki obwaliwo mu kibiina ky’e Rooma? (b) Pawulo yawabula atya Abakristaayo ab’e Rooma?

8 Oluusi obutategeeragana obubaawo mu kibiina buyinza okuba wakati w’abantu abawerako. Ekyo kye kyaliwo mu kibiina Ekikristaayo eky’e Rooma omutume Pawulo kye yawandiikira ebbaluwa. Waaliwo obutategeeragana wakati w’Abakristaayo Abayudaaya n’Ab’amawanga. Abantu abamu mu kibiina ekyo baali banyooma abalala abaalina omuntu ow’omunda omunafu, oba eyali abakugira ennyo. Abantu ng’abo baali basalira abalala omusango ku bintu buli muntu by’alina okwesalirawo. Magezi ki Pawulo ge yawa ekibiina ekyo?​—Bar. 14:1-6.

9 Pawulo yawabula Abakristaayo abo ab’ebiti ebibiri. Yakubiriza abo abaali bamaze okukitegeera nti baali tebakyali wansi w’Amateeka ga Musa obutanyooma baganda baabwe abaali batannakitegeera. (Bar. 14:2, 10) Ekyo kyandiyambye abo abaalina omuntu ow’omunda omunafu, eyali tabakkiriza kulya bintu ebimu ebyali byagaanibwa mu Mateeka, obuteesittala. Pawulo yabagamba ‘okulekera awo okwonoona omulimu gwa Katonda olw’emmere.’ Yagattako nti: “Kiba kirungi obutalya nnyama oba obutanywa mwenge oba obutakola kintu kyonna ekyesittaza muganda wo.” (Bar. 14:14, 15, 20, 21) Ku luuyi olulala, Pawulo yakubiriza Abakristaayo abaalina omuntu ow’omunda omunafu obutasalira musango abo abaalina endowooza ez’enjawulo ku zaabwe. (Bar. 14:13) Yakubiriza ‘buli omu ku bo obuteerowoozaako kisukkiridde.’ (Bar. 12:3) Oluvannyuma lw’okuwabula Abakristaayo abo ab’ebiti ebibiri, Pawulo yawandiika nti: “N’olwekyo, tuluubirire ebintu ebireeta emirembe era ebituleetera okuzimbagana.”​—Bar. 14:19.

10. Okufaananako Abakristaayo abaali mu kibiina ky’e Rooma, kiki ekirina okukolebwa okusobola okugonjoola obutategeeragana obuba buzzeewo?

10 Tewali kubuusabuusa nti Abakristaayo abaali mu kibiina ky’e Rooma baakolera ku magezi Pawulo ge yabawa ne bakola enkyukakyuka ezaali zeetaagisa. Naffe leero tusobola okugonjoola obutategeeragana obuba buzzeewo wakati waffe ne Bakristaayo bannaffe singa tukolera ku magezi agali mu Byawandiikibwa. Okufaananako Abakristaayo abaali mu kibiina ky’e Rooma, ne leero singa wabaawo ekizibu mu kibiina, abo bonna abakwatibwako basaanidde okukola enkyukakyuka ezeetaagisa okusobola ‘okuba n’emirembe buli omu ne munne.’​—Mak. 9:50.

Engeri Abakadde Gye Bayinza Okuyambamu

11. Kiki omukadde ky’asaanidde okukola singa wabaawo Omukristaayo ayagala okwogera naye ku kizibu ky’aba afunye ne mukkiriza munne?

11 Ate kiri kitya singa Omukristaayo afuna ekizibu n’omu ku b’eŋŋanda ze oba ne mukkiriza munne era ng’ayagala okukibuulirako omukadde? Engero 21:13 wagamba nti: “Aziba amatu ge omwavu bw’akaaba, era naye alikaaba, naye taliwulirwa.” Omukadde bw’atawuliriza Mukristaayo ng’oyo, aba ‘ng’azibye amatu ge.’ Kyokka Bayibuli egamba nti: “Asooka okwogera ayinza okulabika nga ye mutuufu, okutuusa munne lw’atandika okumukebera.” (Nge. 18:17, New English Translation) Omukadde asaanidde okuwuliriza mu ngeri ey’ekisa, naye alina okwegendereza obutabaako kintu kyonna ky’asalawo nga tasoose kutegeera bizingirwamu. Bw’amala okuwuliriza oyo aba aleese ensonga, omukadde asobola okumubuuza obanga ensonga eyo yali agyogeddeko n’oyo eyamunyiiza. Era ayinza okwogera naye ku ekyo Ebyawandiikibwa kye bitugamba okukola okusobola okukuuma emirembe ne bakkiriza bannaffe.

12. Waayo ebyokulabirako ebiraga akabi akali mu kwanguyiriza okusalawo nga tosoose kwekenneenya nsonga.

12 Ka tulabeyo ebyokulabirako bisatu okuva mu Bayibuli ebiraga nti kiba kya kabi omuntu okwanguyiriza okusalawo ku nsonga nga tasoose kuwuliriza ludda lulala. Potifaali yakkiriza ebyo mukyala we bye yamugamba nti Yusufu yali agezezzaako okumukwata. Mu busungu obungi, Potifaali yasuula Yusufu mu kkomera. (Lub. 39:19, 20) Kabaka Dawudi yakkiriza ebigambo bya Ziba, eyagamba nti mukama we, Mefibosesi, yali azze ku ludda lw’abalabe ba Dawudi. Dawudi yayanguyiriza okusalawo n’agamba Ziba nti: “Laba, ebya Mefibosesi byonna bibyo.” (2 Sam. 16:4; 19:25-27) Kabaka Alutagizerugizi baamugamba nti Abayudaaya baali bazimba ebisenge bya Yerusaalemi era nti baali banaatera okujeemera obwakabaka bwa Buperusi. Kabaka yakkiriza ebigambo eby’obulimba ebyamugambibwa era n’alagira omulimu gwonna ogw’okuzimba mu Yerusaalemi guyimirizibwe. N’ekyavaamu, Abayudaaya baalekera awo okuzimba yeekaalu ya Katonda. (Ezer. 4:11-13, 23, 24) Abakadde mu kibiina bafuba okukolera ku kubuulirira Pawulo kwe yawa Timoseewo nga beewala okwanguyiriza okusalawo nga tebasoose kwekenneenya nsonga.​—Soma 1 Timoseewo 5:21.

13, 14. (a) Bwe wabaawo obutategeeragana wakati w’abantu ababiri, kintu ki kye tusaanidde okujjukira? (b) Kiki ekiyinza okuyamba abakadde okusalawo obulungi ku nsonga ezikwata ku bakkiriza bannaabwe?

13 Ne bwe tuba tulowooza nti tutegedde bulungi ebyaviirako obutategeeragana obuli wakati w’abantu ababiri, tusaanidde okukijjukira nti “omuntu yenna bw’alowooza nti amanyi ekintu, aba takimanyidde ddala nga bw’asaanidde okukimanya.” (1 Kol. 8:2) Ddala tumanyi byonna ebyaviirako abantu abo okufuna obutategeeragana? Tumanyi bulungi byonna ebibakwatako? Abakadde bwe baba batudde okubaako ensonga gye bagonjoola, basaanidde okwewala okutwalirizibwa eŋŋambo oba ebigambo eby’obulimba. Era tebalina kumala gakkiriza muntu ky’agamba olw’okuba mugagga. Omulamuzi Katonda gw’alonze, Yesu Kristo, asala emisango mu butuukirivu. ‘Tasala misango ng’okulaba kw’amaaso ge bwe kuli, so tanenya ng’okuwulira kw’amatu ge bwe kuli.’ (Is. 11:3, 4) Yesu akulemberwa omwoyo gwa Yakuwa. N’abakadde mu kibiina balina okukulemberwa omwoyo gwa Katonda omutukuvu.

14 Nga tebannasalawo ku nsonga yonna ekwata ku bakkiriza bannaabwe, abakadde basaanidde okusaba Yakuwa abawe omwoyo gwe omutukuvu. Basaanidde okukkiriza omwoyo gwa Katonda okubakulembera nga bakolera ku bulagirizi obuli mu Bayibuli awamu n’ebitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa era ow’amagezi.​—Mat. 24:45.

Tulina Okukuuma Emirembe ne Katonda

15. Omukristaayo bw’akitegeerako nti mukkiriza munne akoze ekibi eky’amaanyi, ddi lwe yandibuuliddeko abakadde?

15 Bayibuli etukubiriza okukuuma emirembe n’abalala. Naye era egamba nti: “Amagezi agava waggulu, okusooka malongoofu, ate ga mirembe.” (Yak. 3:17) Bayibuli eraga nti okuba abalongoofu kye kisooka olwo okukuuma emirembe ne kuddako. Okuba abalongoofu kwe kunywerera ku mitindo gya Katonda egy’empisa n’okutambuliza obulamu bwaffe ku mitindo gye egy’obutuukirivu. Singa Omukristaayo akitegeerako nti mukkiriza munne alina ekibi eky’amaanyi ky’akoze, asaanidde okumukubiriza okubuulirako abakadde. (1 Kol. 6:9, 10; Yak. 5:14-16) Oyo aba akoze ekibi bw’atakikola, Omukristaayo aba yakitegeerako asaanidde okubuulirako abakadde. Singa Omukristaayo oyo tabuulirako bakadde olw’okuba aba ayagala okukuuma emirembe n’omwonoonyi, Omukristaayo oyo naye aba ayonoonye.​—Leev. 5:1; soma Engero 29:24.

16. Kiki kye tuyigira ku ekyo Yeeku kye yakola Kabaka Yolaamu?

16 Yeeku yakola ekintu ekyalaga nti kikulu nnyo okukulembeza obutuukirivu bwa Katonda okusinga okukuuma emirembe n’omuntu aba akoze ekibi. Katonda yatuma Yeeku okubonereza ab’ennyumba ya Kabaka Akabu. Kabaka omubi Yolaamu, mutabani wa Akabu ne Yezeberi, yavuga eggaali lye n’agenda okusisinkana Yeeku era n’amugamba nti: “Mirembe, Yeeku?” Yeeku yamuddamu atya? Yamugamba nti: “Mirembe ki, obwenzi bwa nnyoko Yezeberi n’obulogo bwe nga bukyali bungi obwenkanidde awo?” (2 Bassek. 9:22) Yeeku yaggyayo omutego gwe n’alasa Yolaamu akasaale ne kamuyita mu mutima. Nga Yeeku bwe yabaako ky’akolawo, n’abakadde basaanidde okubaako kye bakolawo singa omwonoonyi agaana okwenenya. Tebakkiriza boonoonyi abagaana okwenenya kusigala mu kibiina olw’okwagala okukuuma emirembe nabo. Baggya aboonoonyi ng’abo mu kibiina kisobozese ekibiina okusigala nga kiri mu mirembe ne Katonda.​—1 Kol. 5:1, 2, 11-13.

17. Kiki Abakristaayo bonna kye balina okukola okusobola okukuuma emirembe?

17 Ebiseera ebisinga obungi obutakkaanya obuba wakati w’ab’oluganda tebuba bwa maanyi nnyo ne kiba nti kyetaagisa abakadde okuyingira mu nsonga. N’olwekyo, kiba kirungi era kiba kikolwa kya kwagala okusonyiwa baganda baffe ensobi ze baba bakoze. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Abikka ku kusobya anoonya okwagala: naye ayeeyereza ekigambo akyayisa ab’omukwano ennyo.” (Nge. 17:9) Okukolera ku magezi ago, kijja kutuyamba okukuuma emirembe mu kibiina n’okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa.​—Mat. 6:14, 15.

Katonda Awa Emikisa Abo Abakuuma Emirembe

18, 19. Mikisa ki gye tufuna olw’okufuba okukuuma emirembe?

18 Yakuwa atuwa emikisa bwe tufuba okukuuma emirembe. Tuba n’enkolagana ey’okulusegere ne Yakuwa era tuyamba mu kukuuma obumu bw’ekibiina. Okukuuma emirembe mu kibiina era kituyamba okuyiga okukuuma emirembe n’abo be tubuulira “amawulire amalungi ag’emirembe.” (Bef. 6:15) Tuba tusobola ‘okuba abakkakkamu eri bonna, n’okwefuga nga tuyisiddwa bubi.’​—2 Tim. 2:24.

19 Bwe tuyiga okukuuma emirembe leero, kijja kutuyamba nnyo mu biseera eby’omu maaso. Bayibuli egamba nti wajja kubaawo “okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” (Bik. 24:15) Ekyo kitegeeza nti Yakuwa ajja kuzuukiza, obukadde n’obukadde bw’abantu okuva mu bitundu by’ensi eby’enjawulo, abalina engeri ez’enjawulo, abaaliwo mu biseera eby’enjawulo nga mw’otwalidde n’abo abaaliwo okuva ku “ntandikwa y’ensi”! (Luk. 11:50, 51) Tujja kuba n’enkizo ey’ekitalo okuyigiriza abantu abanaaba bazuukiziddwa okwagala emirembe. Ebyo bye tuyigirizibwa leero bijja kutuyamba nnyo mu kiseera ekyo!

[Obugambo obuli wansi]

^ Okumanya ekyo kye tuyinza okukola nga waliwo ebibi eby’amaanyi ebikoleddwa, gamba ng’okuwaayiriza n’okukumpanya, laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Noovemba 1, 1999, olupapula 14-19.

Kiki ky’Oyize?

• Kiki kye tuyinza okukola okusobola okukuuma emirembe nga waliwo omuntu gwe tunyiizizza?

• Kiki kye tuyinza okukola okusobola okukuuma emirembe nga waliwo omuntu atunyiizizza?

• Bwe wabaawo obutategeeragana wakati w’abantu ababiri, kintu ki kye tusaanidde okujjukira?

• Lwaki kikulu okukola ekituufu mu kifo ky’okwagala okukuuma emirembe n’omwonoonyi agaana okwenenya?

[Ebibuuzo]

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 29]

Yakuwa ayagala abo abasonyiwa abalala