Intaneeti Gikozese mu Ngeri ey’Amagezi
Intaneeti Gikozese mu Ngeri ey’Amagezi
INTANEETI etusobozesa okumanya kumpi buli kimu ekigenda mu maaso buli wamu mu nsi, ekiseera kyonna. Eyo ye nsonga lwaki abantu bangi okwetooloola ensi yonna bagikozesa.
Obusobozi bw’okuwuliziganya n’abalala kirabo kya muwendo nnyo okuva eri Omutonzi waffe. Kitusobozesa okubuulira abalala ebyo bye tulowooza ne bye tumanyi. Yakuwa ye yasooka okubaako obubaka bw’abuulira abantu, ng’abawa obulagirizi ku ngeri gye baali basobola okutambuzaamu obulungi obulamu bwabwe. (Lub. 1:28-30) Naye ng’ebyo ebyaliwo ku ntandikwa y’olulyo lw’omuntu bwe biraga, ekirabo eky’okuwuliziganya n’abalala kisobola okukozesebwa obubi. Sitaani yabuulira Kaawa ebintu eby’obulimba. Kaawa yakkiriza ebyo Sitaani bye yamugamba era naye n’abibuulira Adamu. Adamu yakolera ku bintu eby’obulimba ebyamugambibwa, ekyo ne kisuula abantu bonna mu mitawaana.—Lub. 3:1-6; Bar. 5:12.
Ate kiri kitya ku kukozesa Intaneeti? Wadde nga Intaneeti esobola okutuyamba okumanya ebintu eby’omugaso bingi n’okukola ebintu mu bwangu, esobola okutuwa obubaka obw’obulimba, okututwalira ebiseera byaffe bingi, n’okwonoona empisa zaffe. Kati ka tulabe engeri gye tusobola okugikozesa mu ngeri ey’amagezi.
Ebintu Ebiba ku Intaneeti Bituufu oba Bikyamu?
Tetulina kulowooza nti ebintu byonna bye tusanga ku Intaneeti biba bituufu era bya muganyulo. Ebintu ebiri ku Intaneeti biyinza okugeraageranyizibwa ku butiko obw’ebika byonna—obuliibwa n’obutaliibwa—obuteekeddwa mu kibbo kimu, ne babutuwa tutwale tulye. Wandimaze galya buli katiko nga tosoose kumala kukeekenneenya? Kya lwatu nti ekyo tosobola kukikola! Bw’ogenda ku Intaneeti osobola okusangako ebintu ebirungi ennyo n’ebibi ennyo. Tulina okuba abeegendereza okusobola okwawula eŋŋaano ku bisusunku, bwe tuba ab’okukuuma ebirowoozo byaffe obutayonoonebwa bintu ebibi.
Mu 1993 magazini emu yafulumiramu akafaananyi ak’embwa bbiri nga zikozesa Intaneeti. Embwa emu yagamba ginaayo nti: “Tewali n’omu ku bantu abakozesa Intaneeti akimanyi nti oli mbwa.” Edda ennyo, Sitaani yakweka ekyo kyennyini ky’ali, ng’abantu bangi abakozesa Intaneeti bwe bakola, n’ayitira mu musota okwogera ne Kaawa n’amugamba nti yali asobola okuba nga Katonda. Leero, omuntu yenna akozesa Intaneeti asobola okwefuula omukugu mu kintu, kubanga tewali n’omu asobola kumanya ekyo ddala ky’ali. Era tewali tteeka lyonna likugira muntu
kuwa ndowooza ye na kuteeka bubaka oba bifaananyi ku Intaneeti.Bw’oba okozesa Intaneeti, tomala gakkiriza buli kimu nga Kaawa bwe yakola. Nga tonnaba kukkiriza bubaka obuli ku Intaneeti, sooka weebuuze: (1) Obubaka buno buva eri ani? Yeesigika? (2) Lwaki yateeka obubaka obwo ku Intaneeti? Yalina kigendererwa ki? Yeekubiira? (3) Oyo eyateeka obubaka obwo ku Intaneeti yabuggya wa? Ajuliza we yabuggya ne kiba nti omuntu asobola okugendayo asobole okubukakasa? (4) Obubaka obwo bukwatagana n’ebintu ebyakazuulwa? Mu kyasa ekyasooka, omutume Pawulo yawa Timoseewo amagezi agakyakola ne leero. Pawulo yawandiika nti: “Kuuma kye wateresebwa nga weewala ebigambo ebitaliimu ebityoboola ebintu ebitukuvu, era nga weewala n’endowooza ezikontana, mu bukyamu ze bayita ‘okumanya.’”—1 Tim. 6:20.
Ekendeeza ku Biseera Bye Twandikozesezza oba Eyonoona Ebiseera Byaffe?
Bwe tukozesa obulungi Intaneeti tusobola okukendeeza ku biseera, amaanyi, n’essente bye twandikozesezza ku bintu ebitali bimu. Tusobola okugula ebintu nga tetuvudde na waka. Tusobola okugeraageranya emiwendo gy’ebintu ne kituyamba okukekkereza ssente. Kati abantu bangi basobola okuteeka oba okuggya ssente ku akawunta zaabwe eza bbanka nga bakozesa Intaneeti; basobola okuweereza oba okufuna ssente essaawa yonna nga bali mu maka gaabwe. Omuntu asobola okweteekerateekera olugendo n’okugula ttikiti ng’akozesa Intaneeti. Ate era omuntu asobola okwanguyirwa okufuna ennamba z’amasimu, endagiriro, n’ebintu ebirala bye yeetaaga okusobola okutuuka gy’ayagala okugenda. Ofiisi z’amatabi g’Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi, zikozesa Intaneeti mu ngeri ezo, era ekyo kiyambye okukendeeza ku biseera, ssente, ne ku muwendo gw’abantu abakozesebwa.
Naye Intaneeti esobola okuba ey’akabi. Tusaanidde okulowooza ku biseera bye tumala nga tukozesa Intaneeti. Abantu bangi bamalira ebiseera bingi ku Intaneeti nga bazannya emizannyo, nga bagula ebintu, nga banyumya n’abalala, nga basindika obubaka, nga banoonyereza ku bintu ebitali bimu, era nga bagenda ku mikutu egitali gimu. N’ekivaamu, bayinza okutandika okulagajjalira ebintu ebikulu omuli obuvunaanyizibwa bwabwe mu maka ne mu kibiina. Okukozesa Intaneeti gubafuukira omuze. Ng’ekyokulabirako, okunoonyereza okwakolebwa mu 2010 kwalaga nti abavubuka 18 ku buli kikumi mu Korea, okukozesa Intaneeti gwali gubafuukidde omuze. Okunoonyereza okulala okwakolebwa mu Bugirimaani kwalaga nti abakazi bangi baali beemulugunya olw’abaami baabwe okumalira ebiseera ebingi ku Intaneeti. Omukazi omu yagamba nti omwami we okukozesa ennyo Intaneeti kyamuleetera okukyuka ennyo ne kituuka n’okwonoona obufumbo bwabwe.
Ofiisi y’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa emu yafuna ebbaluwa okuva eri omuntu eyagamba nti okukozesa Intaneeti gwali gumufuukidde omuze. Ebiseera ebimu yamalanga essaawa nga kkumi olunaku ng’ali ku Intaneeti. Yagamba nti “mu kusooka, nnali ndowooza nti ekyo tekyalina mutawaana gwonna.” Yagattako nti: “Oluvannyuma lw’ekiseera, nnatandika okwosaayosa enkuŋŋaana era ne ndekera awo n’okusaba.” Yagendanga mu nkuŋŋaana
nga tategese ate bwe yabeeranga mu nkuŋŋaana ebirowoozo bye byabanga waka, ng’alowooza kuddayo kuteekako Intaneeti. Ekirungi kiri nti yategeera ekizibu kye era n’akola enkyukakyuka ezeetaagisa. Ka tufube okulaba nti tetumalira biseera bingi ku Intaneeti, okukozesa Intaneeti kutuuke n’okutufuukira omuze.Bintu bya Ngeri Ki Bye Tulaba ku Intaneeti?
Mu 1 Abassessaloniika 5:21, 22, tusoma nti: “Mukakasenga ebintu byonna; munywererenga ku kirungi. Mwewalenga obubi obwa buli ngeri.” Tulina okukakasa nti ebintu bye tulaba ku Intaneeti tebikontana na mitindo gya Katonda. Tulina okwewala okulaba ebintu ebibi. Ebifaananyi eby’obugwenyufu bicaase nnyo ku mikutu gya Intaneeti era bwe tuteegendereza tuyinza okwesanga nga naffe tutandise okubiraba.
Tusaanidde okwebuuza: ‘Ebintu bye ndaba ku Intaneeti nsobola okubiraba nga munnange mu bufumbo, bazadde bange, oba Bakristaayo bannange weebali?’ Bwe kiba nti tosobola kubiraba nga weebali, olwo nno kiba kya magezi okukozesa Intaneeti nga waliwo abantu abalala. Intaneeti ekyusizza nnyo engeri abantu gye bawuliziganyamu ne gye bagulamu ebintu. Naye ate, ereeseewo engeri endala abantu gye basobola ‘okwenda mu mutima gwabwe.’—Mat. 5:27, 28.
Bubaka bwa Ngeri Ki Bwe Tuyinza Okuweerezaako Abalala?
Bwe tuba tukozesa Intaneeti oluusi tufuna obubaka naffe ne tubuweerezaako abalala. Wadde nga tuli ba ddembe okukola ekyo, tulina okukakasa nti obubaka bwe tuweereza abalala butuufu, temuli bya bugwenyufu, era nti okubuweereza tekimenya mateeka. * Tusaanidde n’okwebuuza: Kyetaagisa okubuweereza era bunaazimba abalala? Lwaki twagala okubuweereza? Tubuweereza lwa kwagala kusanyusa busanyusa balala?
Enkola ey’okuweereza obubaka nga tukozesa Intaneeti esobola okuba ey’omuganyulo bwe tugikozesa obulungi. Naye ate ekyo kiyinza okutuviirako okufuna obubaka bungi bwe tuteetaaga. Kyandiba nti tuweereza abalala obubaka bungi oboolyawo ne kiba nti tubamalira ebiseera byabwe bingi nga babusoma? Tekyandibadde kya magezi okusooka okulowooza ku nsonga lwaki twagala okuweereza obubaka nga tetunnaba kubuweereza? Mu biseera by’edda abantu baawandiikanga amabaluwa nga baagala okubuulirako ab’omu maka gaabwe ne mikwano gyabwe ebibafaako. Eyo si ye nsonga enkulu eyandituleetedde okuweereza abalala obubaka nga tukozesa Intaneeti? Ddala lwaki twandisindikidde abalala obubaka naffe bwe tuteekakasa?
Kati olwo tukole ki bwe kituuka ku Intaneeti? Tugyewalire ddala? Oluusi kiyinza okwetaagisa okugiviirako ddala. Omuvubuka eyalina obuzibu mu kukozesa Intaneeti ayogeddwako waggulu yasalawo okugiviirako ddala. Ku luuyi olulala, Intaneeti esobola okuba ey’omuganyulo gye tuli, singa tukozesa obusobozi bwaffe obw’okutegeera era ne tubukkiriza okutukuuma.—Nge. 2:10, 11.
[Obugambo obuli wansi]
^ Bwe kityo bwe kiri ne ku bifaananyi. Wadde nga tuli ba ddembe okukuba ebifaananyi, kiyinza obutaba kya magezi kubiweereza balala, wadde okubuulira abalala amannya g’abantu abali mu bifaananyi ebyo ne gye babeera.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Oyinza otya okwewala okubuzaabuzibwa obubaka obutali butuufu?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Kiki ky’osaanidde okusooka okulowoozaako nga tonnaba kuweereza balala bubaka?