Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okyajjukira?

Okyajjukira?

Okyajjukira?

Ofubye okusoma magazini za Omunaala gw’Omukuumi ezaafulumizibwa gye buvuddeko awo? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:

• Bintu ki ebisatu ebisobola okutuyamba okusigala nga tuli beesigwa?

Bye bino: (1) Okutya Yakuwa. (1 Peet. 3:12) (2) Omuntu ow’omunda atendekeddwa Bayibuli. (3) Okuba abamativu.​—4/15, olupapula 6-7.

• Eky’okuba nti obuweereza bwaffe tubutwala nga bukulu kitegeeza nti tetulina kuwummulako oba kusanyukako na bannaffe?

Lowooza ku kyokulabirako kya Yesu. Yafunangayo akaseera okuwummulako n’okuliirako awamu n’abalala. Tukimanyi nti Yesu teyabeeranga awo nga taliiko kaseko konna ku matama. Abantu bonna, nga mw’otwalidde n’abaana abato, kyabanguyiranga okugenda gy’ali.​—4/15, olupapula 10.

• Omuti gw’omuzeyituuni ogwogerwako mu Abaruumi essuula 11 gukwata ku ki?

Gukwata ku balala abali mu zzadde lya Ibulayimu, Isiraeri ow’omwoyo. Ekikolo ky’omuzeyituuni guno ogw’akabonero kikiikirira Yakuwa ate enduli yaagwo ekiikirira Yesu. Abayudaaya ab’omubiri abasinga obungi bwe baagaana Yesu, Ab’amawanga abaafuuka abakkiriza baayungibwa ku muti guno, okusobola okumalayo omuwendo omujjuvu ogw’abalala abali mu zzadde lya Ibulayimu.​—5/15, olupapula 22-25.

• Ekinunulo kyandibadde kizingiramu n’abaana abatuukiridde Yesu be yandisobodde okuzaala?

Nedda. Wadde nga Yesu yandisobodde okuvaamu obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu abatuukiridde, ekinunulo kyali tekizingiramu mulala yenna okuggyako Yesu Kristo. Obulamu bwa Yesu obutuukiridde bwali butuukana bulungi oba nga bwenkanankana n’obwa Adamu. (1 Tim. 2:6)​—6/15, olupapula 13.

• ‘Kinunulo’ ki ekyogerwako mu Yobu 33:24 era Yobu yakiganyulwamu atya?

Ekigambo “ekinunulo” ekikozeseddwa wano kitegeeza “okubikka.” Ekinunulo ekyandyetaagisizza ku lwa Yobu kiyinza okuba nga kyali ekiweebwayo eky’ensolo Katonda kye yandikkirizza okubikka, oba okutangirira ensobi ya Yobu. Awatali kubuusabuusa, Yakuwa yakkiriza ekinunulo ekyaweebwayo ku lwa Yobu okubikka ku nsobi ye, kisobozese ebizibu bya Yobu okuggyibwawo, era asobole okuweebwa emikisa. (Yob. 1:5; 42:12-17)​—7/1, olupapula 11.

• Tumanya tutya nti Ggeyeena si kifo abantu gye babonyaabonyezebwa mu muliro ogutazikira?

Okwokya abantu mu muliro nga balamu kya muzizo eri Yakuwa. (Yer. 7:31) Okugatta ku ekyo, endowooza egamba nti abafu babonyabonyezebwa mu muliro ekontana n’engeri ya Katonda ey’okwagala awamu n’enjigiriza ya Bayibuli egamba nti abafu “tebaliiko kye bamanyi.” (Mub. 9:5, 10)​—7/1, olupapula 15.

• Yakuwa atwala atya abo abalina ‘omutima ogumenyese n’omwoyo oguboneredde’? (Zab. 34:18)

Ng’omuzadde ayagala omwana we bw’amusitula era n’amubudaabuda ng’abadde akaaba, Yakuwa ali kumpi n’abaweereza be abamukaabirira nga baagala abayambe. Ayagala nnyo okubudaabuda emitima gyabwe egimenyese era egiboneredde. Asobola okubawa amagezi n’amaanyi ge beetaaga okwaŋŋanga ebizibu byonna bye bayinza okwolekagana nabyo. (2 Kol. 4:7; Yak. 1:5)​—7/1, olupapula 23.

• Nga bwe kiragibwa mu Lukka 10:40-42, ekigendererwa ekikulu eky’okusembeza oba okukyalira bakkiriza bannaffe kye kiruwa?

Ekigendererwa ekikulu eky’okusembeza oba okukyalira bakkiriza bannaffe si kubafumbira oba kutuwa kijjulo makeke, wabula kuzziŋŋanamu maanyi n’okuwaŋŋana ebirabo eby’omwoyo. (Bar. 1:11, 12) Mu kiseera ekyo eky’okuzziŋŋanamu amaanyi, kiyinza okwetaagisa okutegekayo eky’okulya ekitonotono.​— 7/1, olupapula 29, 30.

• Abakristaayo bayinza batya okukolera ku kulabula okukwata ku bayigiriza ab’obulimba okuli mu Ebikolwa 20:29, 30?

Tebasaanidde kubakyaza mu maka gaabwe wadde okwogera nabo. (Bar. 16:17; 2 Yok. 9-11) Abakristaayo tebasaanidde kusoma bitabo bya bakyewaggula, kulaba programu zaabwe eza ttivi, wadde okusoma bye baba bawandiise ku mikutu gya Intaneeti.​—7/15, olupapula 15-16.