Olukuŋŋaana olw’Ebyafaayo
Olukuŋŋaana olw’Ebyafaayo
“OLUKUŊŊAANA luno we lunaggweera, mmwena mujja kugamba nti, ‘Ddala olukuŋŋaana luno olw’omwaka lubadde lwa byafaayo!’” Mu bigambo ebyo, Ow’oluganda Stephen Lett ali ku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa yaleetera abo bonna abaali bawuliriza okwesunga programu y’olukuŋŋaana. Olwo lwali lukuŋŋaana lw’omwaka olwa Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania olw’omulundi ogwa 126, olwali mu Kizimbe ky’Enkuŋŋaana Ennene eky’Abajulirwa ba Yakuwa ekiri mu kibuga Jersey, ekya Amerika, olwaliwo nga Okitobba 2, 2010. Bintu ki ebikulu ebyali mu lukuŋŋaana olwo?
Mu mboozi eyasooka ku lukuŋŋaana olwo Ow’oluganda Lett yayogera n’ebbugumu ku ggaali lya Yakuwa eryogerwako mu kitabo kya Ezeekyeri. Eggaali lino eddene ery’ekitiibwa likiikirira ekibiina kya Katonda nga Yakuwa y’akiri mu mitambo. Ow’oluganda Lett yagamba nti ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa, omuli ebitonde eby’omwoyo, kitambulira ku sipiidi ya kimyanso—sipiidi ebirowoozo bya Yakuwa kwe bitambulira. N’ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Yakuwa nakyo kitambulira ku sipiidi ya maanyi. Ow’oluganda Lett yayogera ku bintu ebitali bimu ebikoleddwa mu kitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Katonda mu myaka egyakayita.
Ng’ekyokulabirako, amatabi agawerako mu nsi ezimu gagattiddwa, era ekyo kijja kusobozesa ab’oluganda bangi ababadde baweereza mu maka ga Beseri mu nsi ezo okwongera okwemalira ku mulimu gw’okubuulira. Ow’oluganda Lett yakubiriza abawuliriza okwongera okusabira ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi, abakiikirira ekibiina ky’omuddu, beeyongere okuba abeesigwa era ab’amagezi.—Mat. 24:45-47.
Alipoota Ezizzaamu Amaanyi n’Okubuuza Ebibuuzo
Ow’oluganda Tab Honsberger, ali ku Kakiiko k’Ettabi mu Haiti, yawa alipoota ekwata ku ebyo ebyaliwo oluvannyuma lwa musisi eyayita nga Jjanwali 12, 2010, eyafiiramu abantu nga 300,000. Yagamba nti abakulembeze b’amadiini baagambanga abantu nti Katonda yali abonerezza abantu abatalina kukkiriza n’awonyaawo abalungi. Kyokka, enkumi n’enkumi z’abamenyi b’amateeka baatoloka oluvannyuma lwa musisi oyo okusuula ebisenge by’ekkomera erimu. Kati abantu bangi ab’emitima emirungi mu Haiti babudaabudibwa olw’okuyiga ensonga lwaki waliwo ebizibu bingi nnyo leero. Ow’oluganda Honsberger yayogera ku w’oluganda eyafiirwa mukyala we mu katyabaga ako, eyagamba nti: “Nkyakaaba n’okutuusa leero. Simanyi obanga amaziga gano ndigakaaba kutuusa ddi, naye ndi musanyufu olw’okwagala ekibiina kya Yakuwa kwe kindaze. Nnina essuubi ery’okuzuukira, era ndi mumalirivu okulibuulirako abalala.”
Ow’oluganda Mark Sanderson, eyaliko ku Kakiiko k’Ettabi mu Philippines nga kati aweereza ku Beseri e Brooklyn, yawa alipoota ekwata ku Philippines. Yayogera n’essanyu ku ntikko ez’omuddiriŋŋanwa 32 ez’omuwendo gw’ababuulizi b’Obwakabaka *
ezaatuukibwako mu nsi eyo era n’akiraga nti omuwendo gw’abayizi ba Bayibuli mu nsi eyo gusinga omuwendo gw’ababuulizi. Yayogera ku w’oluganda ayitibwa Miguel eyalina muzzukulu we eyattibwa omutemu. Miguel yafuba okulaba nti omutemu oyo avunaanibwa era n’asibibwa. Nga wayise ekiseera, Miguel bwe yali ng’abuulira mu kkomera, yatuuka ku mutemu oyo. Wadde nga yali atidde, Miguel yayogera naye mu ngeri ey’obukkakkamu era ey’ekisa. N’ekyavaamu yatandika okusoma n’omusajja oyo Bayibuli, era omusajja oyo yatandika okwagala Yakuwa, n’akulaakulana era n’abatizibwa. Kati yafuuka mukwano gwa Miguel, era Miguel akola kyonna ekisoboka okulaba nti muganda we oyo omupya ateebwa okuva mu kkomera.Oluvannyuma, waaliwo ekitundu eky’okubuuza ebibuuzo ekyakubirizibwa Ow’oluganda Mark Noumair omu ku basomesa mu Kitongole ky’Amasomero g’Omulimu gwa Katonda. Yabuuza ebibuuzo emigogo gy’abafumbo esatu—Alex Reinmueller ne mukyala we Sarah, David Schafer ne mukyala we Krista, era ne Robert Ciranko ne mukyala we Ketra. Alex Reinmueller, akola ng’omuyambi ku Kakiiko Akalabirira Omulimu gw’Okukuba Ebitabo, yayogera ku ngeri gye yafuulamu amazima agage ng’aweereza nga payoniya mu Canada bwe yali nga wa myaka 15, ate ng’ebiseera ebisinga obungi yabuuliranga yekka. Bwe yabuuzibwa baani abaasinga okumuyamba okukula mu by’omwoyo ng’ali ku Beseri, Ow’oluganda Reinmueller yanokolayo abasajja abeesigwa basatu, era n’alaga engeri buli omu gye yamuyambamu. Mukyala we, Sarah, yayogera ku mukwano gwe eyasigala nga mwesigwa okumala emyaka mingi ng’asibiddwa mu China olw’okukkiriza kwe. Sarah yagamba nti bw’aba mu mbeera enzibu yeesigama nnyo ku Yakuwa ng’ayitira mu kusaba.
Ow’oluganda David Schafer, omuyambi ku Kakiiko Akayigiriza, yatendereza nnyo maama we olw’okukkiriza okw’amaanyi kwe yalina era yayogera ne ku b’oluganda abawerako abaamuyamba ennyo okuweereza nga payoniya omuwagizi ng’akyali muvubuka. Mukyala we, Krista, yayogera ku b’oluganda abaali bamaze ebbanga eddene ku Beseri abaamuyamba ennyo, era n’agamba nti baali ‘beesigwa ne mu bintu ebitono’ nga Yesu bwe yagamba.—Luk. 16:10.
Ow’oluganda Robert Ciranko, omuyambi ku Kakiiko Akawandiika, yayogera bulungi nnyo ku bajjajjaabe abana, abaali basengukidde e Hungary era nga baali Bakristaayo abaafukibwako amafuta. Ng’akyali mulenzi muto, yakwatibwako nnyo ebyo bye yalaba ku nkuŋŋaana ennene eza disitulikiti ze yagendako mu myaka gya 1950 era zaamuyamba okukiraba nti ekibiina kya Yakuwa kigazi. Mukyala we, Ketra, yayogera ku ngeri gye yayiga okuba omwesigwa eri Yakuwa bwe yali aweereza nga payoniya mu kibiina ekimu ekyalimu bakyewaggula nga kw’otadde n’ebizibu ebirala bingi. Yagumira
embeera enzibu eyali mu kibiina ekyo okutuusa lwe yasindikibwa okuweereza nga payoniya ow’enjawulo mu kibiina ekirala ekyali obumu, era yakwatibwako nnyo obumu obwali mu kibiina ekyo.Ow’oluganda Manfred Tonak ye yaddako n’awa alipoota ekwata ku Esiyopiya. Ebyafaayo by’ensi eno biviira ddala mu kiseera kya Bayibuli, era kati Esiyopiya erimu ababuulizi b’amawulire amalungi abasukka mu 9,000. Bangi ku babuulizi abo babeera mu kibuga ekikulu, Addis Ababa n’ebitundu ebiriraanyeewo. Bwe kityo, ebitundu by’eggwanga eryo ebyesudde birina obwetaavu bwa maanyi obw’ababuulizi. Okusobola okukola ku bwetaavu obwo, Abajulirwa enzaalwa ya Esiyopiya ababeera mu nsi endala baasabibwa okuddayoko mu Esiyopiya basobole okwenyigira mu kaweefube ow’okubuulira mu bitundu by’eggwanga eryo ebyesudde. Bangi baayanukula okusaba okwo, ne bagenda ne bakolera wamu n’ab’oluganda ababeera mu Esiyopiya, era baafunayo abantu abaagala okuyiga amazima.
Ekintu ekyakwata ennyo ku bonna abaaliwo ku lukuŋŋaana olwo, ye alipoota ekwata ku Bajulirwa ba Yakuwa mu Russia n’engeri gye balwaniriddemu enzikiriza yaabwe mu kkooti z’amateeka. Ow’oluganda Aulis Bergdahl ali ku Kakiiko k’Ettabi mu Russia yayogera ku ngeri Abajulirwa gye bazze bayigganyizibwamu mu Russia, n’okusingira ddala mu Moscow. Ow’oluganda Philip Brumley ali mu Kitongole Ekikola ku by’Amateeka ku ofiisi y’ettabi mu Amerika yayogera ku bintu ebitali bimu ebyatuukibwako, kkooti ya Bulaaya ekola ku ddembe ly’obuntu eyitibwa European Court of Human Rights (ECHR) bwe yawuliriza emisango mwenda mulamba egyali givunaanibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Abalamuzi bonna abatuula ku kkooti eyo baakizuula nti emisango egyo gyali mijweteke, era mu gimu ku gyo baagezaako n’okulaga ensonga lwaki abo abaali bavunaana Abajulirwa ba Yakuwa tebaali batuufu. Wadde nga tetumanyi bulungi binaavaamu, Ow’oluganda Brumley yalaga nti ebyo ebyasalibwawo kkooti eyo birina kinene nnyo kye bijja okukola mu kuyamba ab’oluganda abali mu mawanga amalala.
Oluvannyuma, Ow’oluganda Lett yalangirira nti kkooti ya Bulaaya (ECHR) yali ekkirizza okuwulira omusango ogukwata ku by’emisolo ogumaze ebbanga eddene mu kkooti nga guli wakati wa gavumenti ya Bufalansa n’Abajulirwa ba Yakuwa. Kkooti eno essibwamu ennyo ekitiibwa era tetera kukkiriza kuwuliriza buli musango guba gugitwaliddwa. Kkooti ya Bulaaya yaakawuliriza emisango egikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa 39 era nga 37 ku gyo Abajulirwa baagiwangula. Ow’oluganda Lett yakubiriza abantu ba Katonda bonna okwongera okuteeka ensonga eyo mu ssaala zaabwe eri Yakuwa.
Alipoota eyasembayo yaweebwa Ow’oluganda Richard Morlan, omusomesa mu Ssomero ly’Abakadde. Yayogera n’ebbugumu ku ssomero eryo era n’alaga nti abakadde ababaddeko mu ssomero eryo basiimye nnyo enteekateeka eyo.
Emboozi Endala Ezaaweebwa Ab’oluganda Abali ku Kakiiko Akafuzi
Ow’oluganda Guy Pierce ali ku Kakiiko Akafuzi yawa emboozi eyali ebuguumiriza eyali yeesigamiziddwa ku kyawandiikibwa ky’omwaka 2011, ‘Erinnya lya Yakuwa Lifuule Ekiddukiro Kyo.’ (Zef. 3:12) Yagamba nti wadde nga leero abantu ba Yakuwa balina ebintu bingi ebibaleetera essanyu, ekiseera kye balimu kikulu nnyo. Olunaku lwa Yakuwa olukulu luli kumpi; naye abantu bangi bakyeyongera okuteeka obwesige bwabwe mu ddiini ez’obulimba, mu nteekateeka z’eby’obufuzi, eby’obugagga, era tebafaayo ku ngeri ebintu ebigenda mu maaso mu nsi gye bituukirizaamu obunnabbi bwa Bayibuli. Okusobola okufuna obuddukiro obwa nnamaddala, twetaaga okukoowoola erinnya lya Yakuwa, nga kino kizingiramu, okumussaamu ekitiibwa, okumwesiga, n’okukozesa ebintu byaffe byonna bye tulina okwoleka okwagala kwaffe gy’ali.
Ow’oluganda David Splane ali ku Kakiiko Akafuzi ye yaddako, n’awa okwogera okwaleetera buli omu okwekebera. Kwalina omutwe ogugamba nti, “Oyingidde mu Kiwummulo kya Katonda?” Yakiraga bulungi nti ekiwummulo kya Katonda tekitegeeza nti talina ky’akola, kubanga Yakuwa n’Omwana we bagenda mu maaso ‘n’okukola’ mu lunaku olwo olw’ekiwummulo olw’akabonero okusobola okulaba nti ekigendererwa kya Katonda eri ensi kituukirira. (Yok. 5:17) Kati olwo tuyinza tutya okuyingira mu kiwummulo kya Katonda? Nga twewala okukola ekibi n’okwekwasa obusongasonga. Twetaaga okuba n’okukkiriza n’okukuumira ekigendererwa kya Katonda mu birowoozo byaffe nga tufuba okutuukanya obulamu bwaffe n’ekigendererwa ekyo. Wadde ng’ekyo oluusi kiyinza obutaba kyangu, twetaaga okukkiriza okubuulirira okutuweebwa era ne tufuba okukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa okuyitira mu kibiina kye. Ow’oluganda Splane yakubiriza bonna abaali bamuwuliriza okufuba okukola kyonna ekisoboka okulaba nti bayingira mu kiwummulo kya Katonda.
Okwogera okwasembayo kwaweebwa Ow’oluganda Anthony Morris, ali ku Kakiiko Akafuzi. Kwalina omutwe ogugamba nti, “Kiki Kye Tulindirira?” Mu ngeri ey’omukwano, Ow’oluganda Morris yajjukiza abaali bamuwuliriza ebintu ebitali bimu ebyayogerwako mu bunnabbi ebinaatera okutuukirira, abantu ba Katonda bonna abeesigwa bye balindirira. Muno mwe muli okulangirira nti, “Mirembe n’obutebenkevu!” n’okuzikirizibwa kw’eddiini ez’obulimba. (1 Bas. 5:2, 3; Kub. 17: 15-17) Ow’oluganda Morris yakubiriza bonna okwewala okwogera ebigambo, “Ono ateekwa okuba Kalumagedoni,” bwe wabaawo ebintu ebiba biguddewo mu nsi naye nga tebituukiriza bunnabbi obwo. Yakubiriza ab’oluganda okuba abasanyufu, abagumiikiriza, n’okulindirira Yakuwa nga bwe kiragibwa mu Mikka 7:7. Era yabakubiriza bonna okutambulira awamu n’Akakiiko Akafuzi, ng’abajaasi bwe babeera obumu nga bagenda mu lutalo. Yagamba nti “Ka emitima gyammwe gigume, mmwe mmwena abalindirira Yakuwa.”—Zab. 31:24, NW.
Ku nkomerero y’olukuŋŋaana olwo, waaliwo ebintu ebikulu ennyo ebyalangirirwa. Ow’oluganda Geoffrey Jackson ali ku Kakiiko Akafuzi yalangirira nti wajja kubaawo okufulumizibwa kwa Watchtower eri mu Lungereza olugonzeddwamu okusobola okuganyula abo abatategeera bulungi Lungereza. Ow’oluganda Stephen Lett yalangirira nti Akakiiko Akafuzi kajja kukola enteekateeka okukyalira abalabirizi ba disitulikiti abali mu Amerika awamu ne bakyala baabwe. Era yalangirira nti Essomero Eritendeka Abakadde n’Abaweereza ligenda kuyitibwanga Essomero ly’Ab’oluganda Abali Obwannamunigina. Ate era yalangirira n’essomero eddala eppya eriyitibwa Essomero ly’Abakristaayo Abafumbo. Essomero lino lijja kutendeka abafumbo kibasobozese okwongera okuba ab’omugaso mu kibiina kya Yakuwa. Ow’oluganda Lett era yalangirira nti Essomero ly’Abalabirizi Abatambula ne Bakyala Baabwe awamu n’Essomero ly’Abo Abali ku Bukiiko bw’Amatabi ne Bakyala Baabwe gajja kubangawo emirundi ebiri buli mwaka e Patterson, era n’abo abaaliko mu masomero ago bajja kufuna akakisa okuddayo.
Olukuŋŋaana luno lwakomekkerezebwa ng’Ow’oluganda John E. Barr ow’emyaka 97, eyali amaze ebbanga eddene ng’ali ku Kakiiko Akafuzi, akiikirira abo abaaliwo mu kusaba. * Buli omu yavaawo ng’awulira nti ddala olukuŋŋaana olwo lwali lwa byafaayo.
[Obugambo obuli wansi]
^ Laba 2011 Yearbook of Jehovah’s Witnesses, olupapula 62-63.
^ Ow’oluganda Barr yamaliriza obuweereza bwe obw’oku nsi nga Ddesemba 4, 2010.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 19]
Abaaliwo baanyumirwa nnyo ekitundu ekyalimu okubuuza ebibuuzo
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 20]
Yakuwa awadde omukisa omulimu gw’okubuulira mu Esiyopiya