Yakuwa Ye “Katonda Awa Emirembe”
Yakuwa Ye “Katonda Awa Emirembe”
“Katonda awa emirembe abeerenga nammwe mmwenna.”—BAR. 15:33.
1, 2. Mbeera ki eyogerwako mu Olubereberye essuula 32 ne 33, era biki ebyavaamu?
LOWOOZA ku ekyo ekyaliwo: Ab’oluganda babiri baali banaatera okusisinkana mu kifo ekiriraanye Penueri, ekiri okumpi n’ekiwonvu ky’e Yaboki, ebuvanjuba w’omugga Yoludaani. Ab’oluganda abo ye Esawu ne Yakobo abaali bamaze ebbanga eddene nga tebalabagana. Waali wayise emyaka 20 bukya Esawu aguza muganda we, Yakobo, omugabo gwe ogw’omwana omubereberye. Esawu bwe yawulira nti muganda we, Yakobo, yali akomawo ku butaka, yagenda okumusisinkana ng’ali wamu n’abasajja be 400. Ekyo Yakobo bwe yakiwulira, yatya nnyo ng’alowooza nti muganda we yali akyamusibidde ekiruyi era nti yali ayinza okumutta. Bwe kityo, Yakobo yasindika abaddu be okutwalira Esawu ebisolo 550 ng’ekirabo. Ku buli mulundi abaddu ba Yakobo lwe baatwaliranga Esawu ebisolo, baamugambanga nti baali bamuleetedde ekirabo okuva eri muganda we Yakobo.
2 Kiki ekyaliwo ab’oluganda abo bwe baasisinkana? Yakobo yayoleka obuvumu n’obwetoowaze n’avunnama ku ttaka emirundi musanvu nga bw’agenda asembera eri Esawu. Bwe yali tannaba kukola ekyo, Yakobo yasooka n’akola ekintu ekikulu ennyo. Yasaba Yakuwa amununule okuva mu mukono gwa Esawu. Ddala Yakuwa yaddamu essaala ya Yakobo? Yee. Bayibuli egamba nti: “Esawu [n’adduka] mbiro okumusisinkana, n’amukwata mu ngalo, n’amugwa mu kifuba, n’amunywegera.”—Lub. 32:11-20; 33:1-4.
3. Ebyo bye tusoma ku Yakobo ne Esawu bituyigiriza ki?
3 Ebyo bye tusoma ku Yakobo ne Esawu bituyigiriza nti tusaanidde okukola kyonna ekisoboka okugonjoola obutategeeragana obuba buzzeewo wakati waffe ne baganda baffe obuyinza okumalawo emirembe mu kibiina. Yakobo yafuba okuzzaawo emirembe wakati we ne Esawu, wadde nga si ye yali mu nsobi. Esawu ye yali mu nsobi kubanga yanyooma omugabo gwe ogw’omwana omubereberye n’aguguza Yakobo olw’omugoyo obugoyo. (Lub. 25:31-34; Beb. 12:16) Ekyokulabirako kya Yakobo kituyigiriza nti tusaanidde okufuba ennyo okusobola okukuuma emirembe ne Bakristaayo bannaffe. Era kituyigiriza nti bwe tusaba Yakuwa atuyambe okukuuma emirembe, addamu okusaba kwaffe. Waliwo n’ebyokulabirako ebirala bingi mu Bayibuli ebiraga engeri gye tuyinza okukuumamu emirembe n’abalala.
Ekyokulabirako Ekisingayo Obulungi eky’Okugoberera
4. Kiki Katonda kye yakola okusobola okununula abantu okuva mu kibi n’okufa?
4 Yakuwa atuteerawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kukuuma emirembe. Ye “Katonda awa emirembe.” (Bar. 15:33) Lowooza ku ekyo Yakuwa kye yakola okusobola okuzzaawo emirembe wakati waffe naye. Nga bazzukulu ba Adamu ne Kaawa tuli boonoonyi era tugwanira “empeera y’ekibi.” (Bar. 6:23) Naye olw’okwagala kwe okungi, Yakuwa yakola enteekateeka okusobola okutununula okuva mu kibi n’okufa ng’atuma Omwana we omwagalwa okuva mu ggulu n’ajja ku nsi n’atufiirira. Omwana we yali mwetegefu okukola Kitaawe ky’ayagala era n’okuwaayo obulamu bwe ku lwaffe. (Yok. 10:17, 18) Katonda ow’amazima yazuukiza Omwana we omwagalwa, oluvannyuma eyaddayo mu ggulu n’awaayo eri Kitaawe omuwendo gwa ssaddaaka ye, ogwandibadde ekinunulo ekyandiggye abantu aboonoonyi ababa beenenyezza mu kufa okw’olubeerera.—Soma Abebbulaniya 9:14, 24.
5, 6. Ssaddaaka ya Yesu esobozesa etya abantu okufuuka mikwano gya Katonda?
5 Olw’okuba abantu bonna baasikira ekibi, baafuuka balabe ba Katonda. Kati olwo ssaddaaka y’Omwana wa Katonda eganyula etya abantu? Isaaya 53:5 wagamba nti: “Okubonerezebwa okw’emirembe gyaffe kwali ku ye; era emiggo gye gye gituwonya.” Ssaddaaka ya Yesu esobozesa abantu abawulize okufuuka mikwano gya Katonda. Bayibuli era egamba nti: “Oluvannyuma lw’okusasula ekinunulo, [Yesu] yatununula okuyitira mu musaayi gwe era tusonyiyiddwa ebyonoono byaffe.”—Bef. 1:7.
6 Bayibuli egamba nti: “Katonda yalaba nga kirungi okuleka ebintu byonna okubeera mu [Kristo] mu bujjuvu.” Kino kitegeeza nti Katonda akozesa Kristo okutuukiriza ekigendererwa kye. Ekigendererwa kya Yakuwa kye kiruwa? Kwe ‘kutabaganya ebintu byonna gy’ali ng’aleetawo emirembe okuyitira mu musaayi’ gwa Yesu Kristo ogwayiibwa. “Ebintu byonna” Katonda by’atabaganya gy’ali, oba byafuula mikwano gye, bye ‘bintu eby’omu ggulu n’ebintu eby’oku nsi.’ Ebintu ebyo bye biruwa?—Soma Abakkolosaayi 1:19, 20.
7. ‘Ebintu eby’omu ggulu n’ebintu eby’oku nsi’ bye biruwa?
7 Ekinunulo kisobozesa Abakristaayo abaafukibwako amafuta, ‘abayitiddwa abatuukirivu,’ ng’abaana ba Katonda, ‘okubeera mu mirembe ne Katonda.’ (Soma Abaruumi 5:1.) Bayitibwa ‘ebintu eby’omu ggulu’ olw’okuba balina essuubi ery’okubeera mu ggulu era “bajja kufuga ensi nga bakabaka” era baweereze nga bakabona ba Katonda. (Kub. 5:10) Ku luuyi olulala, ‘ebintu eby’oku nsi’ be bantu abeenenyezza ebibi byabwe, era abajja okubeera ku nsi emirembe gyonna.—Zab. 37:29.
8. Ekyokulabirako kya Yakuwa kisobola kitya okukuyamba ng’ofunye obutategeeragana ne Bakristaayo banno mu kibiina?
8 Ng’alaga okusiima kwe yalina eri enteekateeka ya Yakuwa ey’ekinunulo, Pawulo yawandiikira Abakristaayo abaafukibwako amafuta ab’omu Efeso nti: “Katonda ow’okusaasira okungi, . . . yatufuula balamu awamu ne Kristo, wadde nga twali tufiiridde mu byonoono byaffe (mulokoleddwa olw’ekisa kye eky’ensusso).” (Bef. 2:4, 5) Ka tube nga tulina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi, tusaanidde okulaga nti tusiima Katonda olw’okusaasira kwe n’olw’ekisa kye eky’ensusso. Tukwatibwako nnyo bwe tulowooza ku bintu byonna Yakuwa bye yakola okusobozesa abantu okutabagana naye. N’olwekyo, singa tufuna obutategeeragana ne Bakristaayo bannaffe, ekintu ekiyinza okumalawo emirembe n’obumu mu kibiina, ekyokulabirako kya Katonda kisaanidde okutukubiriza okufuba okukuuma emirembe.
Yigira ku Kyokulabirako kya Ibulayimu ne Isaaka
9, 10. Ibulayimu yakiraga atya nti yali ayagala okukuuma emirembe n’abalala?
9 Ng’eyogera ku Ibulayimu, Bayibuli egamba nti: “‘Ibulayimu n’akkiririza mu Yakuwa n’abalibwa okuba omutuukirivu,’ era n’ayitibwa ‘mukwano gwa Yakuwa.’” (Yak. 2:23) Okukkiriza kwa Ibulayimu kweyolekera mu ngeri gye yafubangamu okukuuma emirembe n’abalala. Ng’ekyokulabirako, lumu waaliwo enkaayana wakati w’abasumba ba Ibulaamu n’ab’omwana wa muganda we, Lutti. (Lub. 12:5; 13:7) Ibulayimu ne Lutti baakiraba nga kya magezi okwawukana. Weetegereze engeri Ibulayimu gye yakwatamu embeera eyo eyali enzibu. Teyakitwala nti olw’okuba ye yali omukulu era ng’alina enkolagana ey’enjawulo ne Katonda, ye yalina okusalawo eky’enkomeredde. Mu kifo ky’ekyo, yakiraga nti yali ayagala okukuuma emirembe.
10 Ibulayimu yagamba Lutti nti: “Waleme okubaawo empaka, nkwegayiridde eri nze naawe, n’eri abasumba bange n’abasumba bo; kubanga tuli ba luganda. Ensi yonna teri mu maaso go? Yawukana nange nkwegayiridde: obanga oneeroboza omukono ogwa kkono, nange nnaagenda ku mukono ogwa ddyo; naawe bw’oneeroboza omukono ogwa ddyo, nange nnaagenda ku mukono ogwa kkono.” Wadde nga Lutti yalondawo ekitundu ky’ensi ekisingayo okuba ekigimu, Ibulayimu teyamusibira kiruyi. (Lub. 13:8-11) Oluvannyuma Lutti bwe yawambibwa, Ibulayimu teyalonzalonza kugenda kumununula.—Lub. 14:14-16.
11. Ibulayimu yakuuma atya emirembe n’Abafirisuuti abaali baliraanwa be?
11 Ate lowooza ku ngeri Ibulayimu gye yakuumamu emirembe n’Abafirisuuti abaali baliraanwa be mu nsi y’e Kanani. Abafirisuuti baali bakozesezza eryanyi ne bamuggyako oluzzi abaweereza be lwe baali basimye e Beeruseba. Mu mbeera eno, Ibulayimu yasalawo obutanyega kigambo oba obutabaako kintu kyonna ky’akolawo. Ekiseera bwe kyayitawo, kabaka w’Abafirisuuti yakyalira Ibulayimu ng’ayagala okukola naye endagaano ey’emirembe. Oluvannyuma lw’okulayira nti yali talina kabi konna ke yali ajja kukola baana ba kabaka w’Abafirisuuti, Ibulayimu yamubuulira ku nsonga ezikwata ku luzzi lwe olwali lumubbiddwako. Ekyo kabaka kyamwewuunyisa nnyo era n’asalawo okuddiza Ibulayimu oluzzi lwe. Ibulayimu yeeyongera okubeera mu nsi y’Abafirisuuti okumala emyaka mingi ng’ali mu mirembe.—Lub. 21:22-31, 34.
12, 13. (a) Isaaka yakoppa atya ekyokulabirako kya kitaawe? (b) Yakuwa yawa atya Isaaka omukisa olw’okufuba okukuuma emirembe?
12 Mutabani wa Ibulayimu Isaaka naye yali ayagala nnyo okukuuma emirembe nga kitaawe. Yakola kyonna ekisoboka okuba mu mirembe n’Abafirisuuti. Olw’okuba enjala yali egudde mu nsi, Isaaka n’ab’omu maka ge baava mu kitundu ekikalu eky’e Beerirakairoi, ekiri mu Negebu, ne bagenda mu kitundu ky’Abafirisuuti ekigimu eky’e Gerali. Ng’ali eyo, Yakuwa yamuwa omukisa n’afuna amakungula mangi n’ebisolo bingi. Abafirisuuti baamukwatirwa obuggya. Olw’okuba baali tebaagala Isaaka kweyongera kugaggawala, baasalawo okuziba enzizi ze abaweereza ba kitaawe ze baali basimye mu kitundu ekyo. Oluvannyuma, kabaka w’Abafirisuuti yagamba Isaaka okuva mu kitundu ekyo. Olw’okwagala okukuuma emirembe, Isaaka yasalawo okubaviira.—Lub. 24:62; 26:1, 12-17.
13 Oluvannyuma lwa Isaaka okuva mu kitundu ekyo ne yeeyongerayo, abasumba be baasima oluzzi olulala. Abasumba Abafirisuuti baagamba nti oluzzi olwo lwali lwabwe. Okufaananako kitaawe, Ibulayimu, Isaaka teyakaayana nabo. Mu kifo ky’ekyo, Isaaka yagamba abasajja be okusima oluzzi olulala. Era na luno Abafirisuuti baalukaayanira. Ne ku mulundi guno Isaaka yakuuma emirembe n’asalawo okutwala ab’omu maka ge n’ebintu bye byonna n’asengukira mu kitundu ekirala. Mu kitundu ekyo, abaweereza be baasimayo oluzzi olulala Isaaka lwe yatuuma Lekobosi. Oluvannyuma, yasengukira mu kitundu ekyali ekigimu eky’e Beeruseba, Yakuwa gye yamuweera omukisa era n’amugamba nti: “Totya, kubanga nze ndi wamu naawe era n[n]aakuwanga omukisa, era nnaayongeranga ezzadde lyo ku bw’omuddu wange Ibulayimu.”—Lub. 26:17-25.
14. Isaaka yalaga atya nti yali ayagala okukuuma emirembe kabaka w’Abafirisuuti bwe yagenda gy’ali ng’ayagala okukola naye endagaano ey’emirembe?
14 Kya lwatu nti Isaaka yali asobola okulwanirira enzizi abaddu be ze baali basimye. Naye olw’okwagala okukuuma emirembe, Isaaka yasalawo okusengukira mu bitundu ebirala mu kifo ky’okulwana. Oluvannyuma, kabaka w’Abafirisuuti awamu n’abakungu be baagenda e Beeruseba nga baagala okukola ne Isaaka endagaano ey’emirembe, ne bamugamba nti: “Twalabira ddala nga Mukama ali naawe.” Ne ku mulundi guno, Isaaka yakiraga nti ayagala okukuuma emirembe. Ebyawandiikibwa bigamba nti: “N’abafumbira embaga [abagenyi be], ne balya ne banywa. Ne bagolokoka enkya mu makya, ne balayiragana: Isaaka n’abasiibula . . . [mirembe].”—Lub. 26:26-31.
Yigira ku Kyokulabirako kya Yusufu
15. Lwaki baganda ba Yusufu baalekera awo okwogera naye mu mirembe?
15 Mutabani wa Isaaka, Yakobo, yali “musajja muteefu.” (Lub. 25:27) Nga bwe twalabye ku ntandikwa, Yakobo yafuba okukuuma emirembe ne muganda we, Esawu. Tewali kubuusabuusa nti Yakobo yaganyulwa nnyo mu kyokulabirako ekirungi kitaawe Isaaka kye yateekawo. Naye abaana ba Yakobo baayigira ku kyokulabirako kye? Mu batabani be bonna 12, Yakobo yali asinga kwagala Yusufu. Yusufu yali agondera kitaawe era ng’amussaamu ekitiibwa era ne kitaawe yali amwesiga nnyo. (Lub. 37:2, 14) Naye baganda ba Yusufu abakulu, baamukwatirwa obuggya ne balekera awo okwogera naye mu mirembe. N’ekyavaamu, baamutunda mu buddu era ne balimbalimba kitaabwe nti Yusufu yali attiddwa ensolo enkambwe.—Lub. 37:4, 28, 31-33.
16, 17. Yusufu yalaga atya nti yali ayagala okukuuma emirembe ne baganda be?
16 Yakuwa yawa Yusufu omukisa. Oluvannyuma lw’ekiseera, Yusufu yafuuka katikkiro wa Misiri—nga yaddirira Falaawo mu buyinza. Enjala ey’amaanyi bwe yagwa mu nsi ya Kanani, baganda ba Yusufu baagenda e Misiri okugula emmere. Naye baalemererwa okumutegeera oboolyawo olw’okuba yali ayambadde ebyambalo bye ng’omukungu w’emisiri. (Lub. 42:5-7) Yusufu yali asobola okwesasuza baganda be olw’engeri gye baali bamuyisizzaamu n’engeri gye baali bayisizzaamu kitaabwe. Naye mu kifo ky’okukola ekyo, Yusufu yakola kyonna ekisoboka okukuuma emirembe nabo. Bwe yakiraba nti baganda be baali beenenyezza, yabeeyanjulira, era n’abagamba nti: “Temunakuwala, so temwesunguwalira, kubanga mwantunda muno: kubanga Katonda ye yankulembeza mmwe okuwonya mu kufa.” Oluvannyuma yanywegera baganda be bonna era n’akaaba ng’abawambaatidde.—Lub. 45:1, 5, 15.
17 Oluvannyuma lw’okufa kwa kitaabwe, Yakobo, baganda ba Yusufu baatandika okweraliikirira nga balowooza nti Yusufu yali ayinza okubeesasuza. Bwe baategeeza Yusufu ekyo ekyali kibeeraliikiriza, Yusufu ‘yakaaba amaziga’ n’abagamba nti: “Temutya: nnaabaliisanga mmwe n’abaana bammwe abato.” Ne ku mulundi guno, Yusufu yalaga nti yali ayagala nnyo okukuuma emirembe. Yababudaabuda era n’abagumya.—Lub. 50:15-21.
“Byawandiikibwa Okutuyigiriza”
18, 19. (a) Kiki ky’oyize okuva mu byokulabirako bye tulabye mu kitundu kino? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?
18 Pawulo yawandiika nti: “Ebintu byonna ebyawandiikibwa edda byawandiikibwa okutuyigiriza, tusobole okuba n’essuubi okuyitira mu bugumiikiriza ne mu kubudaabuda okuva mu Byawandiikibwa.” (Bar. 15:4) Biki bye tuyize okuva mu kyokulabirako kya Yakuwa ekisingayo obulungi, ne mu kyokulabirako kya Ibulayimu, Isaaka, Yakobo, ne Yusufu?
19 Okufumiitiriza ku ekyo Yakuwa kye yakola okutusobozesa okufuuka mikwano gye, kitukubiriza okukola kyonna ekisoboka okukuuma emirembe n’abalala. Ebyo bye tuyize ku Ibulayimu, Isaaka, Yakobo, ne Yusufu biraga nti abazadde basobola okuteekerawo abaana baabwe ekyokulabirako ekirungi mu kukuuma emirembe. Ebyokulabirako ebyo era biraga nti Yakuwa awa omukisa abo bonna abafuba okukuuma emirembe. Eyo ye nsonga lwaki Pawulo ayogera ku Yakuwa nga “Katonda awa emirembe.” (Soma Abaruumi 15:33; 16:20.) Ekitundu ekiddako kijja kulaga ensonga lwaki Pawulo atukubiriza okunoonya emirembe era n’engeri gye tusobola okuleetawo emirembe.
Kiki ky’Oyize?
• Bwe yali tannasisinkana Esawu, kiki Yakobo kye yakola okusobola okukuuma emirembe?
• Ekyo Yakuwa kye yakola okusobozesa abantu okufuuka mikwano gye kikukutteko kitya?
• Kiki ky’oyize okuva mu kyokulabirako kya Ibulayimu, Isaaka, Yakobo, ne Yusufu?
[Ebibuuzo]
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 23]
Bwe yali tannasisinkana Esawu, kintu ki ekikulu ennyo Yakobo kye yakola okusobola okukuuma emirembe?