Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Amagezi Amalungi Agakwata ku Kuba Obwannamunigina ne ku Bufumbo

Amagezi Amalungi Agakwata ku Kuba Obwannamunigina ne ku Bufumbo

Amagezi Amalungi Agakwata ku Kuba Obwannamunigina ne ku Bufumbo

“Kino nkibagamba . . . okubasobozesa okukola ekisaanira n’okuweereza Mukama waffe nga tewali kibataataaganya.”​—1 KOL. 7:35.

1, 2. Lwaki twetaaga obulagirizi bwa Katonda ku kuba obwannamunigina ne ku bufumbo?

 ESSANYU, okunakuwala, n’okweraliikirira bye bimu ku bintu ebitera okubaawo mu bufumbo. N’olw’ensonga eyo, twetaaga obulagirizi bwa Katonda. Naye waliwo n’ensonga endala nnyingi lwaki twetaaga obulagirizi bwa Katonda. Omukristaayo amaliridde okuba obwannamunigina ayinza okuba ng’apikirizibwa ab’eŋŋanda ze oba mikwano gye okuyingira obufumbo. Omulala ayinza okuba ng’ayagala kuyingira bufumbo naye nga tannafuna muntu mutuufu. Ate abo aboogerezeganya, bayinza okuba nga beetaaga obulagirizi obunaabayamba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu bufumbo. Ate era Abakristaayo bonna, abafumbo n’abatali bafumbo, beetaaga okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu.

2 Ng’oggyeko okuba nti ebintu ebyo bisobola okutuleetera essanyu oba okulitumalako, bikwata ne ku nkolagana yaffe ne Yakuwa Katonda. Mu 1 Abakkolinso essuula 7, Pawulo yawa amagezi amalungi agakwata ku kuba obwannamunigina ne ku bufumbo. Yali ayagala okuyamba bakkiriza banne “okukola ekisaanira n’okuweereza Mukama waffe nga tewali kibataataaganya.” (1 Kol. 7:35) Amagezi ge yawa gasobola okukuyamba okuweereza obulungi Yakuwa​—k’obe ng’oli mufumbo oba ng’oli bwannamunigina.

Buli Omu Alina Okwesalirawo

3, 4. (a) Kiki ekiyinza okubaawo singa ab’eŋŋanda n’ab’emikwano bapikiriza omuntu okuyingira obufumbo? (b) Pawulo atuyamba atya okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bufumbo?

3 Okufaananako Abayudaaya abaaliwo mu kyasa ekyasooka, abantu bangi leero bakitwala nti okuyingira obufumbo kye kintu ekisingayo okuba ekikulu mu bulamu. Singa omusajja oba omukazi aweza emyaka egimu nga tannayingira bufumbo, mikwano gye n’ab’eŋŋanda ze bayinza okutandika okumuwa amagezi okuyingira obufumbo. Bayinza okumukubiriza okufuba okunoonya omuntu ow’okufumbiriganwa naye. Bayinza n’okumubuulira ku bantu be balowooza nti bamusaanira. Era bayinza n’okukozesa obukujukuju okulaba nti omusajja n’omukazi abatannayingira bufumbo basisinkana. Ebintu ng’ebyo biyinza okwonoona emikwano, okuviirako abamu okuswala, n’okulumya abo be kikwatako.

4 Pawulo teyagezaako kupikiriza balala kuyingira bufumbo oba kusigala bwannamunigina. (1 Kol. 7:7) Yali amaliridde mu mutima gwe okuweereza Yakuwa nga si mufumbo, naye teyavumirira abo abaali baagala okuyingira obufumbo. N’Abakristaayo leero, buli omu alina okwesalirawo okuyingira obufumbo oba okusigala obwannamunigina. Abalala si be basaanidde okubasalirawo.

Okukozesa Obulungi Ekirabo eky’Obwannamunigina

5, 6. Lwaki Pawulo yakubiriza Abakristaayo okusigala nga bali bwannamunigina?

5 Pawulo yakiraga nti kirungi Abakristaayo okusigala nga bali bwannamunigina. (Soma 1 Abakkolinso 7:8.) Wadde nga Pawulo teyali mufumbo, teyeegulumiza ku abo abaali abafumbo, ng’abamu ku bakulembeze ba Kristendomu abatawasa bwe bakola. Mu kifo ky’ekyo, yakiraga nti Abakristaayo abatali bafumbo basobola okuweereza Katonda mu ngeri abafumbo gye batasobola. Lwaki kiri kityo?

6 Omukristaayo ali obwannamunigina kiyinza okumwanguyira okwettika obuvunaanyizibwa obumu mu kibiina okusinga Omukristaayo omufumbo. Pawulo yafuna enkizo ey’ekitalo okuweereza ‘ng’omutume eri amawanga.’ (Bar. 11:13) Bw’osoma Ebikolwa essuula 13 okutuuka ku 20, osobola okulaba engeri Pawulo awamu ne baminsani banne gye baabuuliramu mu bifo ebitali bimu n’ebibiina bye baatandikawo. Pawulo yafuna ebizibu bingi mu buweereza bwe, bangi ku ffe bye tutafunanganako. (2 Kol. 11:23-27, 32, 33) Naye yasobola okugumira ebizibu ebyo byonna era ekyo kyamuleetera essanyu lingi. (1 Bas. 1:2-7, 9; 2:19) Naye ddala Pawulo yandisobodde okukola ebintu ebyo byonna singa yalina omukyala oba abaana? Oboolyawo ekyo tekyandisobose.

7. Bannyinaffe babiri abatali bafumbo baakozesa batya embeera yaabwe eyo okukola ekisingawo mu mulimu gw’Obwakabaka?

7 Abakristaayo bangi abatali bafumbo bakozesa embeera gye balimu okukola ekisingawo mu mulimu gw’Obwakabaka. Sara ne Limbania, bapayoniya abali obwannamunigina ababeera mu Bolivia, baasengukira mu kitundu ekyali kimaze emyaka mingi nga tekibuulirwamu. Ekitundu ekyo tekyalimu masannyalaze. Bannyinaffe abo baagamba nti abantu ab’omu kitundu ekyo baali baagala nnyo okusoma okuva bwe kiri nti tebaalina bintu bibataataaganya gamba nga rediyo ne ttivi. Abamu ku bo baali bakyalina ebitabo by’Abajulirwa ba Yakuwa ebyali bitakyafulumizibwa era nga bakyabisoma. Olw’okuba abantu abasinga obungi baali baagala okuyiga Bayibuli, bannyinaffe abo kyabatwalira ekiseera kiwanvu okumalako ekitundu ekyo. Omukyala omu omukadde yagamba nti: “Olaba Abajulirwa ba Yakuwa batuuse mu kitundu kyaffe, enkomerero eteekwa okuba ng’enaatera okutuuka.” Mu kiseera kitono, abantu b’omu kitundu ekyo baatandika okujja mu nkuŋŋaana.

8, 9. (a) Lwaki Pawulo yagamba nti kyandibadde kirungi omuntu okuweereza Katonda ng’ali bwannamunigina? (b) Egimu ku miganyulo egiri mu kuweereza Yakuwa ng’oli bwannamunigina gye giruwa?

8 Kya lwatu nti Abakristaayo abafumbo nabo bafuna ebibala bingi nga babuulira mu bitundu ebitali byangu kubuuliramu. Kyokka waliwo ebitundu ebimu bapayoniya abatali bafumbo bye basobola okubuuliramu naye nga kiyinza okuba ekizibu eri Abakristaayo abafumbo oba abo abalina abaana okubibuuliramu. Pawulo we yawandiikira ebbaluwa ze eri ebibiina, yali akirabye nti waaliwo obwetaavu bwa maanyi obw’okubuulira amawulire amalungi. Yali ayagala Abakristaayo bonna bafune ku ssanyu ery’okufuula abantu abayigirizwa nga naye lye yali afunye. Eyo ye nsonga lwaki Pawulo yagamba nti kirungi omuntu okuweereza Yakuwa ng’ali bwannamunigina.

9 Mwannyinaffe omu ali obwannamunigina abeera mu Amerika yagamba nti: “Abantu abamu balowooza nti abantu abatali bafumbo tebasobola kufuna ssanyu. Naye nkirabye nti essanyu erya nnamaddala liva mu kuba nti omuntu alina enkolagana ennungi ne Yakuwa. Wadde ng’okuba obwannamunigina kuba kwefiiriza, kiba kirabo kya muwendo nnyo singa omuntu akikozesa bulungi.” Yagattako nti: “Okuba obwannamunigina tekiremesa muntu kufuna ssanyu. Nkimanyi nti abantu bonna, ka babe nga bafumbo oba nga si bafumbo, Yakuwa abaagala.” Mwannyinaffe oyo kati aweereza mu nsi omuli obwetaavu bw’ababuulizi b’Obwakabaka obusingako. Bw’oba ng’oli bwannamunigina, naawe osobola okukozesa eddembe ly’olina okugaziya ku buweereza bwo? Singa okola bw’otyo, naawe ojja kukiraba nti okuba obwannamunigina kirabo kya muwendo nnyo okuva eri Yakuwa.

Abo Abaagala Okuyingira Obufumbo

10, 11. Yakuwa ayamba atya abaweereza be abatannafuna muntu mutuufu wa kufumbiriganwa naye?

10 Oluvannyuma lw’okumala ekiseera nga bali bwannamunigina, bangi ku baweereza ba Yakuwa abeesigwa basalawo okunoonya omuntu ow’okufumbiriganwa naye. Olw’okuba bakimanyi nti beetaaga obulagirizi mu nsonga eyo, basaba Yakuwa abayambe okufuna omuntu omutuufu.​—Soma 1 Abakkolinso 7:36.

11 Bw’oba ng’oyagala okuwasa oba okufumbirwa omuntu ayagala okuweereza Yakuwa n’omutima gwe gwonna, weeyongere okusaba Yakuwa akuyambe okufuna omuntu oyo. (Baf. 4:6, 7) Ne bwe kiba nti kikwetaagisa okulindako okumala ekiseera ekiwanvuko, toggwaamu maanyi. Yakuwa amanyi bye twetaaga, era singa omwesiga, ajja kukuyamba okugumira embeera gy’olimu.​—Beb. 13:6.

12. Singa omuntu akusaba omuwase oba omufumbirwe, kiki ky’osaanidde okusooka okulowoozaako?

12 Ate kiri kitya singa Omukristaayo atali munywevu mu by’omwoyo oba omuntu atali mukkiriza akusaba omuwase oba omufumbirwe? Ekyo bwe kibaawo, kiba kirungi okukijjukira nti obulumi bw’onoofuna ng’ofumbiriganiddwa n’omuntu atali mutuufu bujja kuba bwa maanyi nnyo okusinga ekiwuubaalo ky’owulira ng’oli bwannamunigina. Ate kasita mumala okufumbiriganwa bwe muti, oba olina okumunywererako, ka kibe nti ebintu tebigenda bulungi. (1 Kol. 7:27) Tomala gafumbiriganwa na muntu ng’olowooza nti ako ke kakisa kokka k’oba ofunye okufumbirwa oba okuwasa, kubanga oluvannyuma lw’ekiseera oyinza okwejjusa.​—Soma 1 Abakkolinso 7:39.

Okwetegekera Obufumbo

13-15. Bintu ki omusajja n’omukazi aboogerezeganya bye basaanidde okwogerako nga tebannafumbiriganwa?

13 Wadde nga Pawulo yagamba nti kirungi omuntu okuweereza Yakuwa ng’ali bwannamunigina, teyakitwala nti yali wa waggulu nnyo ku abo abaali basazeewo okuyingira obufumbo. Mu kifo ky’ekyo, ebyo bye yayogera bisobola okuyamba abafumbo okumanya ebyo bye basaanidde okusuubira mu bufumbo n’ekyo ekiyinza okuyamba obufumbo bwabwe okuwangaala.

14 Abantu abamu abaagala okufumbiriganwa kiba kibeetaagisa okukyusa endowooza yaabwe ku bintu bye basuubira mu bufumbo. Bwe baba boogerezeganya, omusajja n’omukazi bayinza okulowooza nti omukwano gwabwe gwa njawulo nnyo, era nti tewali bantu balala baali baagalanyeeko nga bo. Bayinza okuyingira obufumbo nga balina endowooza eyo era nga balowooza nti obufumbo bwabwe bujja kuba bwa ssanyu jjereere. Endowooza ng’eyo si ntuufu n’akamu. Kituufu nti okulagaŋŋana omukwano kireeta essanyu mu bufumbo, naye ekyo si kye kyokka ekisobola okuyamba abafumbo okugonjoola ebizibu byonna ebibaawo mu bufumbo.​—Soma 1 Abakkolinso 7:28. *

15 Oluvannyuma lw’okufumbiriganwa, abafumbo abamu kibeewuunyisa bwe balaba nti balina endowooza ezaawukana ku za bannaabwe ku bintu ebikulu. Ng’ekyokulabirako, bayinza okuba n’endowooza ezaawukana ku ngeri y’okukozesaamu ssente n’okwesanyusaamu, gye banaabeera, ne ku nsonga y’okukyalira ab’eŋŋanda zaabwe. Ate era buli omu aba n’obunafu obusobola okunyiiza munne. Abamu bwe baba boogerezeganya, bayinza okulowooza nti tekyetaagisa kwogera ku bintu ng’ebyo ebikulu, naye ekyo kiyinza okuvaako obuzibu mu biseera eby’omu maaso. Abo abaagala okuyingira obufumbo basaanidde okwogera ku bintu ebyo nga tebannafumbiriganwa.

16. Lwaki abo abaagala okufumbiriganwa basaanidde okukkiriziganya ku ngeri gye banaagonjoolamu ebizibu mu maka?

16 Okusobola okuba n’obufumbo obw’essanyu, omusajja n’omukazi balina okukolera awamu. Balina okukkiriziganya ku ngeri y’okukangavvulamu abaana baabwe ne ku ngeri y’okuyambamu bazadde baabwe abakaddiye. Tebasaanidde kukkiriza bizibu ebiyinza okubaawo mu bufumbo kubaawula. Bwe bakolera ku magezi agali mu Bayibuli, bajja kusobola okugonjoola ebizibu bingi, okugumira ebyo ebiba biremeddewo, n’okusigala nga basanyufu.​—1 Kol. 7:10, 11.

17. Lwaki abafumbo ‘beeraliikirira ebintu by’ensi’?

17 Pawulo ayogera ku kintu ekirala omuntu ky’alina okumanya ku bufumbo mu 1 Abakkolinso 7:32-34. (Soma.) Abafumbo ‘beeraliikirira ebintu by’ensi,’ gamba ng’eby’okulya, eby’okwambala, aw’okusula, n’ebyetaago ebirala. Lwaki kiri bwe kityo? Ow’oluganda bw’aba akyali bwannamunigina ayinza okuba ng’amala ebiseera bingi mu buweereza bwe. Naye oluvannyuma lw’okuwasa, aba alina okukozesa ebimu ku biseera ebyo okukola ku byetaago bya mukyala we asobole okumusanyusa. Bwe kityo bwe kiri n’eri omukyala. Yakuwa akimanyi bulungi nti omukyala n’omwami buli omu ayagala munne abeere musanyufu. Akimanyi nti abafumbo baba beetaaga okukozesa ebimu ku biseera bye baakozesanga okumuweereza nga bakyali bwannamunigina okunyweza obufumbo bwabwe.

18. Bwe kituuka ku by’okwesanyusaamu, nkyukakyuka ki omusajja n’omukazi ze beetaaga okukola oluvannyuma lw’okufumbiriganwa?

18 Ate kiri kitya ku biseera omwami n’omukyala bye baamalanga nga beesanyusaamu nga tebannafumbiriganwa? Bwe kiba nti abafumbo basobola okukendeeza ku biseera bye baamalanga nga baweereza Yakuwa okusobola okunyweza obufumbo bwabwe, tebandikoze kye kimu bwe kituuka ne ku by’okwesanyusaamu? Singa omwami agenda mu maaso n’okukozesa ebiseera bye bimu okwesanyusaamu awamu ne mikwano gye nga bwe yakolanga nga tannawasa, mukyala we anaawulira atya? Oba singa omukyala agenda mu maaso n’okumala ebiseera bye bimu nga bye yamalanga ne mikwano gye nga tannafumbirwa, omwami we anaawulira atya? Singa omu ku bafumbo tawa munne biseera bimala, munne ayinza okuwulira ekiwuubaalo, ennaku, oba n’okuwulira nti tayagalibwa. Ekyo kisobola okwewalibwa singa omwami n’omukyala buli omu akola kyonna ekisoboka okulaba nti anyweza obufumbo bwabwe.​—Bef. 5:31.

Yakuwa Ayagala Tube n’Empisa Ennongoofu

19, 20. (a) Lwaki abafumbo nabo balina okufuba ennyo okusobola okwewala obwenzi? (b) Buzibu ki obuyinza okubaawo singa omwami n’omukyala bamala ekiseera kiwanvu nga tebali wamu?

19 Abaweereza ba Yakuwa bakola kyonna ekisoboka okusigala nga bayonjo mu mpisa. Abamu basalawo okuyingira obufumbo okusobola okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu. Naye okuyingira obufumbo si kye kyokka ekiyinza okuyamba omuntu okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu. Mu biseera bya Bayibuli, ekigo kyabanga kifo kya bukuumi eri abo abaakibeerangamu era ne batakivaamu. Singa omuntu yavanga mu kigo ekyo, abazigu baali basobola okumusanga ebweru ne bamubba oba ne bamutta. Mu ngeri y’emu, abafumbo basobola okukuumibwa obuteenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu singa bagondera amateeka g’Oyo eyatandikawo obufumbo ne beewala okwetaba n’omuntu yenna atali munnaabwe mu bufumbo.

20 Pawulo yayogera ku nsonga eno mu 1 Abakkolinso 7:2-5. Omwami alina kwetaba na mukyala we yekka; n’omukyala alina kwetaba na mwami we yekka. Buli omu alina okusasula munne mu bufumbo “ekimugwanira,” oba okwetaba naye nga bwe kirina okuba eri abafumbo. Abafumbo abamu baleka bakyala baabwe oba abaami baabwe ne bagenda bokka okuwummulira mu bifo ebirala oba ne bagenda ku mirimu gyabwe ne bamalayo ebbanga ddene nga tebakomyeewoko waka, bwe batyo buli omu n’aba nga tasobola kusasula munne “ekimugwanira.” Lowooza ku bizibu ebiyinza okuvaamu singa omu ku bafumbo ‘alemererwa okwefuga,’ n’agwa mu bwenzi. Yakuwa awa omukisa emitwe gy’amaka abafuba okulabirira ab’omu maka gaabwe awatali kuteeka bufumbo bwabwe mu kabi.​—Zab. 37:25.

Kolera ku Bulagirizi bwa Bayibuli

21. (a) Lwaki si kyangu kusalawo bwe kituuka ku kusigala obwannamunigina oba okuyingira obufumbo? (b) Amagezi agali mu 1 Abakkolinso essuula 7 gayinza gatya okutuyamba?

21 Okusigala obwannamunigina oba okuyingira obufumbo kye kimu ku bintu ebisingayo okuba ebizibu okusalawo. Ka tube nga tusazeewo kusigala nga tuli bwannamunigina oba okuyingira obufumbo, tetusobola kwewalira ddala bizibu byonna okuva bwe kiri nti ffenna tetutuukiridde. Wadde nga Yakuwa awa abantu be emikisa, oluusi nabo boolekagana n’ebizibu ebiyinza okubamalamu amaanyi. Naye amagezi agali mu 1 Abakkolinso essuula 7, gasobola okutuyamba okwaŋŋanga ebizibu bye twogeddeko. Ka tube nga tuli bwannamunigina oba nga tuli bafumbo, tusobola okusanyusa Yakuwa. (Soma 1 Abakkolinso 7:37, 38.) Okusiimibwa Katonda kye kintu ekisingayo okuba eky’omuwendo mu bulamu. Bwe tusiimibwa Katonda kati, tujja kusobola okubeera mu nsi ye empya gye yasuubiza. Mu nsi empya, abasajja n’abakazi tebajja kuba na bizibu ebiriwo leero.

[Obugambo obuli wansi]

Osobola Okuddamu?

• Lwaki tetusaanidde kupikiriza abo abali obwannamunigina okuyingira obufumbo?

• Abakristaayo abali obwannamunigina bayinza batya okukozesa obulungi embeera gye balimu okuweereza Yakuwa?

• Omusajja n’omukazi aboogerezeganya basobola batya okwetegekera ebizibu ebiyinza okubaawo mu bufumbo?

• Lwaki abafumbo nabo balina okufuba ennyo okusobola okwewala obwenzi?

[Ebibuuzo]

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 14]

Abakristaayo abatali bafumbo abakozesa ebiseera byabwe okugaziya ku buweereza bwabwe bafuna essanyu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]

Nkyukakyuka ki abamu ze baba balina okukola oluvannyuma lw’okuyingira obufumbo?