Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ka Tusanyukire Wamu!

Ka Tusanyukire Wamu!

Ka Tusanyukire Wamu!

ABANTU abasinga obungi leero si basanyufu. Mu bifo bingi, si kyangu kunyumya na bantu balala. Mu bibuga bingi, buli muntu ali ku lulwe.

Profesa Alberto Oliverio, omukugu mu mbeera y’abantu agamba nti, “Abantu bangi leero bali mu kiwuubaalo era tewali kubuusabuusa nti kino kivudde ku kuba nti ebifo bingi kati bifuuse bibuga, ekiviiriddeko abantu abangi okweyawula ku balala n’okuba nti buli omu ali ku lulwe. Kino kireetedde abantu bangi okwesala ku bakozi bannaabwe, ku baliraanwa baabwe, ne ku bantu abalala.” Ekyo kireetedde abantu bangi okwennyamira.

Naye ffe Abakristaayo ab’amazima si bwe tutyo bwe tuli. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Bulijjo musanyukenga.” (1 Bas. 5:16) Waliwo ebintu bingi ebituleetera essanyu era ebituyamba okusanyukira awamu. Tusinza Katonda Ali Waggulu Ennyo, Yakuwa; tutegeera bulungi amazima agali mu Bayibuli; tulina essuubi nti Katonda ajja kutulokola tufuna obulamu obutaggwaawo; era tulina enkizo okuyamba abalala okufuna emikisa gya Katonda.​—Zab. 106:4, 5; Yer. 15:16; Bar. 12:12.

Abakristaayo ab’amazima baba basanyufu era basanyukira wamu n’abalala. Eyo ye nsonga lwaki bwe yali awandiikira Abafiripi, Pawulo yabagamba nti: “Ndi musanyufu era njaganyiza wamu nammwe. Kale nammwe musanyuke era mujaganyize wamu nange.” (Baf. 2:17, 18) Mu nnyiriri ezo ebbiri, Pawulo yayogera emirundi ebiri ku kusanyuka n’okujaganyiza awamu.

Kya lwatu nti Abakristaayo balina okwewala okweyawula ku bannaabwe. Omukristaayo bwe yeeyawula ku bakkiriza banne, aba tasobola kusanyukira wamu nabo. Kati olwo tuyinza tutya ‘okweyongera okusanyuka mu Mukama waffe’ awamu ne bakkiriza bannaffe nga Pawulo bwe yatukubiriza?​—Baf. 3:1.

Sanyukira Wamu ne Bakkiriza Banno

Pawulo we yawandiikira ebbaluwa ye eri Abafiripi, ayinza okuba nga yali asibiddwa mu kkomera e Rooma olw’okubuulira. (Baf. 1:7; 4:22) Wadde nga yali asibiddwa, ekyo tekyamuleetera kuddirira mu mulimu ogw’okubuulira. Mu kifo ky’ekyo, yasanyuka nnyo okukola kyonna ekisoboka okuweereza Yakuwa ‘n’okufukibwa ng’ekiweebwayo ekinywebwa.’ (Baf. 2:17) Ekyokulabirako kya Pawulo kiraga nti okuba omusanyufu tekisinziira ku mbeera omuntu gy’aba alimu. Wadde nga yali musibe, yagamba nti: “Nja kweyongera okusanyuka.”​—Baf. 1:18.

Pawulo ye yali atandiseewo ekibiina ekyali mu Firipi era yali ayagala nnyo ab’oluganda abaali mu kibiina ekyo. Yali akimanyi nti okubabuulira ku ssanyu lye yali afunye mu kuweereza Yakuwa, kyandibazizzaamu nnyo amaanyi. Bwe kityo, yabawandiikira ebbaluwa n’abagamba nti: “Ab’oluganda, kaakano njagala mumanye nti ebintu ebintuuseeko biviiriddeko amawulire amalungi okubunyisibwa mu kifo ky’okukugirwa, ne kiba nti, kimanyiddwa mu Bakuumi ba Kabaka bonna n’eri abalala bonna nti nnasibibwa olw’okukkiririza mu Kristo.” (Baf. 1:12, 13) Pawulo bwe yabuulira ab’oluganda ab’omu Firipi ku bintu ebyo ebirungi, ekyo kyabazzaamu nnyo amaanyi. Yasanyukira wamu ne baganda be abo era nabo baasanyukira wamu naye. Ab’oluganda abo tebandisobodde kusanyukira wamu na Pawulo singa bakkiriza embeera enzibu Pawulo gye yalimu okubaleetera okuggwaamu amaanyi. Kyali kibeetaagisa okukoppa ekyokulabirako kye. (Baf. 1:14; 3:17) Kyokka, ab’oluganda mu Firipi era kyali kibeetaagisa okweyongera okusabira Pawulo n’okukola kyonna kye basobola okumuyamba.​—Baf. 1:19; 4:14-16.

Naffe tuli basanyufu nga Pawulo bwe yali? Tufuba okussa ebirowoozo byaffe ku bintu ebirungi bye tulina n’ebirungi ebiva mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira? Bwe tuba ne bakkiriza bannaffe, kirungi okwogera ku birungi bye tufuna mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira. Kino okusobola okukikola tetulina kulinda kusooka kufuna kyakulabirako ekiwuniikiriza. Ng’ekyokulabirako tuyinza okuba nga tulina ennyanjula esikiriza gye twakozesezza oba nga waliwo ensonga gye twannyonnyodde obulungi nga tuli mu buweereza bw’ennimiro. Oba wayinza okuba nga waliwo ekyawandiikibwa kye twannyonnyodde obulungi omuntu gwe twasanze nga tubuulira. Oba kiyinzika okuba nti bwe twabadde tubuulira waliwo abantu abaasobodde okukitegeera nti tuli Bajulirwa ba Yakuwa era ekyo ne kitusobozesa okuwa obujulirwa. Okubuulirako baganda baffe ku bintu ng’ebyo y’engeri emu gye tusobola okusanyukira awamu nabo.

Abaweereza ba Yakuwa bangi balina ebintu bingi bye beefiiriza era bye bakyefiiriza okusobola okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Bapayoniya, abalabirizi abatambula, Ababeseri, abaminsani, n’ab’oluganda abakola ogw’okuzimba bafuna essanyu mu kuweereza Yakuwa mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Tusanyukira wamu nabo? Ka bulijjo tukirage nti tusiima ‘bakozi bannaffe abo mu mulimu gw’obwakabaka bwa Katonda.’ (Bak. 4:11) Kino tusobola okukikola nga tubazzaamu amaanyi nga tuli nabo mu nkuŋŋaana z’ekibiina ne mu nkuŋŋaana ennene. Era tusobola okukoppa ekyokulabirako kyabwe nga naffe tuba banyiikivu. Ate era tusobola okufuna “akakisa” okunyumyako nabo nga tubakyaza mu maka gaffe, oboolyawo ne tulyako nabo ekijjulo.​—Baf. 4:10.

Sanyukira Wamu n’Abo Abalina Ebizibu

Okuyigganyizibwa n’ebizibu ebirala Pawulo bye yayitamu byamuyamba okuba omumalirivu okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa. (Bak. 1:24; Yak. 1:2, 3) Okukimanya nti ab’oluganda mu Firipi bandiziddwamu nnyo amaanyi bwe bandiwulidde ku bugumiikiriza bwe, kyamukubiriza okusanyuka n’okujaguliza awamu nabo. Bwe kityo, yawandiika nti: “Mwaweebwa enkizo, si ey’okukkiriza Kristo yokka naye era n’ey’okubonaabona ku lulwe. Kubanga mulina olutalo lwe lumu ng’olwo lwe mwalaba nga nnwana era lwe muwulira nti nkyalwana.”​—Baf. 1:29, 30.

Ne leero Abakristaayo bayigganyizibwa olw’okubuulira. Ebiseera ebimu okuyigganyizibwa ng’okwo kujja butereevu, naye ebiseera ebisinga kujja mu ngeri enneekusifu. Ng’ekyokulabirako, bakyewaggula bayinza okutwogerako eby’obulimba, ab’eŋŋanda zaffe bayinza okutukyawa, bakozi bannaffe oba bayizi bannaffe bayinza okutujerega. Yesu yagamba nti ebintu ng’ebyo tebisaanidde kutwewuunyisa wadde okutumalamu amaanyi. Mu kifo ky’ekyo, byandituleetedde okusanyuka. Yagamba nti: “Mulina essanyu abantu bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, era ne babawaayiriza ebintu ebibi ebya buli kika ku lwange. Musanyuke, mujaguze, kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu.”​—Mat. 5:11, 12.

Bwe tuwulira nti baganda baffe abali mu nsi endala boolekagana n’okuyigganyizibwa okw’amaanyi, ekyo tekisaanidde kututiisa wadde okutweraliikiriza. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okusanyuka olw’okuba bagumiikiriza embeera eyo. Tusobola okusaba Yakuwa okunyweza okukkiriza kwabwe basobole okugumira okuyigganyizibwa. (Baf. 1:3, 4) Ekyo kiyinza okuba nga kye kyokka kye tusobola okukola okuyamba baganda baffe abo. Naye ne mu bibiina byaffe mulimu ab’oluganda aboolekagana n’ebizibu be tusobola okuyamba. Tusobola okukiraga nti tubafaako nga tubaako kye tukola okubayamba. Ng’ekyokulabirako, tusobola okusanyukirako awamu nabo nga tubaaniriza okubaawo mu kusinza kwaffe okw’amaka, nga tufuba okubuulirako awamu nabo, oba nga twesanyusaamuko nabo.

Waliwo ensonga nnyingi ezandituleetedde okusanyukira awamu! Ka twewale omwoyo gw’ensi ogw’okweyawula ku balala tweyongere okusanyukira awamu ne baganda baffe. Bwe tunaakola bwe tutyo, ekyo kijja kuyamba ebibiina byaffe okubaamu essanyu n’obumu era tujja kweyongera okufuna essanyu eriva mu kuba awamu ne Bakristaayo bannaffe. (Baf. 2:1, 2) Yee, Pawulo atugamba nti: “Musanyukirenga mu Mukama waffe. Nziramu nate okugamba nti, Musanyuke!”​—Baf. 4:4.

[Ensibuko y’Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Globe: Courtesy of Replogle Globes