Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Okubudaabuda Bonna Abanakuwadde”

“Okubudaabuda Bonna Abanakuwadde”

“Okubudaabuda Bonna Abanakuwadde”

“Yakuwa anfuseeko amafuta . . . okubudaabuda bonna abanakuwadde.”​—IS. 61:1, 2, NW.

1. Kiki Yesu kye yakolera abantu abaali mu nnaku, era lwaki?

 YESU KRISTO yagamba nti: “Emmere yange kwe kukola oyo eyantuma by’ayagala n’okumaliriza omulimu gwe.” (Yok. 4:34) Yakuwa yawa Yesu omulimu ogw’okukola. Bwe yali akola omulimu ogwo, Yesu yayoleka okwagala okw’amaanyi eri abantu nga Kitaawe. (1 Yok. 4:7-10) Omutume Pawulo yalaga engeri emu Yakuwa gy’alagamu okwagala ng’amwogerako nga “Katonda ow’okubudaabuda kwonna.” (2 Kol. 1:3) Yesu yayoleka okwagala ng’okwo bwe yakola ekyo ekyayogerwako mu bunnabbi bwa Isaaya. (Soma Isaaya 61:1, 2.) Yesu yasoma obunnabbi obwo ng’ali mu kkuŋŋaaniro e Nazaaleesi era n’alaga nti bwali butuukiridde ku ye. (Luk. 4:16-21) Mu buweereza bwe bwonna, Yesu yabudaabudanga abantu abaali mu nnaku ng’abazzaamu amaanyi era ng’abaleetera okufuna obuweerero.

2, 3. Lwaki abagoberezi ba Yesu nabo beetaaga okubudaabuda abalala?

2 Abagoberezi ba Yesu bonna beetaaga okumukoppa nga bafuba okubudaabuda abo abali mu nnaku. (1 Kol. 11:1) Pawulo yagamba nti: “Mubudaabudaganenga era muzimbaganenga.” (1 Bas. 5:11) Leero twetaaga nnyo okubudaabuda abalala, okuva bwe kiri nti abantu bonna boolekagana ‘n’ebiseera ebizibu.’ (2 Tim. 3:1) Buli lukya, abantu ababi beeyongera okwogera n’okukola ebintu ebimalamu amaanyi, ebinakuwaza, era ebireetera abantu ab’emitima emirungi okubonaabona.

3 Nga Bayibuli bwe yalagula, mu nnaku zino ez’oluvannyuma ez’enteekateeka eno ey’ebintu, abantu bangi ‘beeyagala bokka, baagala nnyo ssente, beepanka, ba malala, bavvoola, tebagondera bazadde baabwe, tebeebaza, si beesigwa, tebaagala ba luganda, tebakkiriza kukkaanya, bawaayiriza, tebeefuga, bakambwe, tebaagala bulungi, ba nkwe, bakakanyavu, beegulumiza, baagala eby’amasanyu okusinga Katonda.’ Era nga Bayibuli bwe yagamba, ‘abantu ababi n’abalimba beeyongeredde ddala okuba ababi.’​—2 Tim. 3:2-4, 13.

4. Kiki ky’oyinza okwogera ku mbeera eriwo mu nsi leero?

4 Ebintu ebyo tebitwewuunyisa, kubanga Ekigambo kya Katonda kigamba nti “ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” (1 Yok. 5:19) “Ensi yonna” eyogerwako wano ezingiramu enteekateeka y’eby’obufuzi, amadiini gonna ag’obulimba, enteekateeka y’eby’obusuubuzi, n’ebintu ebirala Sitaani by’akozesa okutumbula endowooza ze. Tewali kubuusabuusa nti Sitaani Omulyolyomi ye ‘mufuzi w’ensi’ era ye “katonda ow’enteekateeka y’ebintu eno.” (Yok. 14:30; 2 Kol. 4:4) Embeera mu nsi leero yeeyongedde okwonooneka olw’okuba Sitaani alina obusungu bungi, ng’akimanyi nti asigazza akaseera katono aggibwewo. (Kub. 12:12) Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Katonda anaatera okuggyawo Sitaani awamu n’enteekateeka ye ey’ebintu, era nti ensonga Sitaani gye yaleetawo ekwata ku bufuzi bwa Yakuwa obw’obutonde bwonna enaatera okugonjoolwa!​—Lub., sul. 3; Yob., sul. 2.

Amawulire Amalungi Kati Gabuulirwa mu Nsi Yonna

5. Obunnabbi obukwata ku mulimu gw’okubuulira butuukirizibwa butya mu nnaku zino ez’oluvannyuma?

5 Yesu yagamba nti: “Amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.” (Mat. 24:14) Nga Yesu bwe yayogera, abantu ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna babuulira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Leero, Abajulirwa ba Yakuwa abasukka mu 7,500,000, mu bibiina ebisukka mu 107,000 okwetooloola ensi yonna babuulira era bayigiriza abantu ku Bwakabaka bwa Katonda, nga ne Yesu bwe yakola. (Mat. 4:17) Okuyitira mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira, abantu bangi abali mu nnaku babudaabudibwa. Kirowoozeeko, mu myaka ebiri egiyise, abantu 570,601 be baabatizibwa ne bafuuka Abajulirwa ba Yakuwa!

6. Kiki ky’oyinza okwogera ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira?

6 Ekintu ekirala ekiraga nti kati omulimu gw’okubuulira gukolebwa ku kigero kinene ddala, kwe kuba nti kati Abajulirwa ba Yakuwa bavvuunula ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli mu nnimi ezisukka mu 500. Kino tekibangawo mu byafaayo by’olulyo lw’omuntu! Wadde nga bali mu nsi efugibwa Sitaani, abantu ba Yakuwa bakola omulimu Katonda gwe yabawa n’obunyiikivu era omuwendo gwabwe gweyongera buli lukya. Ekyo tekyandisobose awatali buyambi na bulagirizi bwa mwoyo gwa Katonda omutukuvu. Olw’okuba amawulire amalungi gabuulirwa mu nsi yonna, abantu abali mu nnaku abakkiriza amawulire ag’Obwakabaka nabo basobola okubudaabudibwa ng’abantu ba Katonda bwe babudaabudibwa.

Abalala mu Kibiina Basobola Okutubudaabuda

7. (a) Lwaki tetusaanidde kusuubira Yakuwa kuggyawo bintu byonna ebituleetera ennaku kati? (b) Lwaki tusobola okugumira okuyigganyizibwa n’okubonaabona ebiriwo leero?

7 Olw’okuba tuli mu nsi ejjudde obubi, tetusobola kwewala kubonaabona mu ngeri emu oba endala. Tetusaanidde kusuubira Katonda kuggyawo bintu byonna ebituleetera ennaku ng’ekiseera ky’okuzikirizibwa kw’enteekateeka eno ey’ebintu tekinnatuuka. Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, okuyigganyizibwa kwe tufuna kutuwa akakisa okulaga nti tuli beesigwa eri Yakuwa era nti tuwagira obufuzi bwe. (2 Tim. 3:12) Naye olw’okuba Kitaffe ow’omu ggulu atuyamba era atubudaabuda, tusobola okuba ng’Abakristaayo abaafukibwako amafuta abaali mu kibiina ky’e Ssessaloniika eky’edda, abaayoleka okukkiriza n’obugumiikiriza nga bayigganyizibwa era nga babonaabona.​—Soma 2 Abassessaloniika 1:3-5.

8. Ebyawandiikibwa biraga bitya nti Yakuwa abudaabuda abaweereza be?

8 Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa abudaabuda abaweereza be. Ng’ekyokulabirako, Nnaabakyala Yezeberi, bwe yali ayagala okutta nnabbi Eriya, nnabbi oyo yatya nnyo nnadduka, era yatuuka n’okugamba nti yali ayagala afe. Naye mu kifo ky’okunenya Eriya, Yakuwa yamubudaabuda era n’amuzzaamu amaanyi n’asobola okweyongera okuweereza nga nnabbi. (1 Bassek. 19:1-21) Ekyokulabirako ekirala ekiraga nti Yakuwa abudaabuda abantu be, ye ngeri gye yayambamu Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli eyogera ku kiseera “ekibiina mu Buyudaaya yenna ne Ggaliraaya ne Samaliya [we kyabeerera] mu mirembe, ne kinywezebwa mu kukkiriza.” Ate era, “okuva ekibiina kyonna bwe kyali kitambulira mu kutya Yakuwa era nga kibudaabudibwa omwoyo omutukuvu, kyeyongera obunene.” (Bik. 9:31) Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti naffe ‘tubudaabudibwa omwoyo omutukuvu’!

9. Lwaki okuyiga ebikwata ku Yesu kisobola okutubudaabuda?

9 Okuyiga ebikwata ku Yesu Kristo n’okukoppa ekyokulabirako kye kituyamba okubudaabudibwa. Yesu yagamba nti: “Mujje gye ndi mmwe mwenna abategana era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. Mwetikke ekikoligo kyange era muyigire ku nze, kubanga ndi muteefu era muwombeefu mu mutima, mulifuna ekiwummulo mu bulamu bwammwe. Kubanga ekikoligo kyange kyangu n’omugugu gwange si muzito.” (Mat. 11: 28-30) Bwe tusoma ku ngeri ey’ekisa era ey’okwagala Yesu gye yayisaamu abantu era ne tufuba okumukoppa, ekyo kisobola okutuyamba okufuna obuweerero wadde nga tulina ebizibu.

10, 11. Baani abasobola okutubudaabuda mu kibiina?

10 Bakristaayo bannaffe nabo basobola okutubudaabuda. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri abakadde mu kibiina gye bayambamu abo ababa banafuye mu by’omwoyo. Omuyigirizwa Yakobo yawandiika nti: “Waliwo omuntu yenna mu mmwe alwadde [mu by’omwoyo]? Ayite abakadde b’ekibiina, bamusabire.” Lwaki? Kubanga “okusaba okw’okukkiriza kujja kuwonya omulwadde era Yakuwa ajja kumussuusa. Ate era bw’aba ng’alina ebibi bye yakola bijja kumusonyiyibwa.” (Yak. 5:14, 15) Ng’oggyeko abakadde, n’ab’oluganda abalala mu kibiina basobola okutubudaabuda.

11 Abakyala kitera okubanguyira okubuulirako bakyala bannaabwe ku bizibu byabwe. Bannyinnaffe abakulu era abalina obumanyirivu basobola okuwa bannyinnaffe abato amagezi amalungi. Bannyinaffe bano abakulu bayinza okuba nga baayitako mu mbeera ng’ezo bannyinnaffe abato ze balimu. Bwe bawuliriza bannyinaffe abato era ne bakiraga nti babafaako, basobola okubayamba. (Soma Tito 2:3-5.) Kya lwatu nti abakadde awamu n’abalala mu kibiina basobola era basaanidde “okubudaabuda abennyamivu” abali mu kibiina. (1 Bas. 5:14, 15) Ate era tusaanidde okukijjukira nti Katonda “atubudaabuda mu kubonaabona kwaffe kwonna, naffe tusobole okubudaabuda abo abali mu kubonaabona okwa buli ngeri.”​—2 Kol. 1:4.

12. Lwaki kikulu okubeerangawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo?

12 Engeri endala gye tusobola okubudaabudibwa kwe kubaawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo. Ebintu bye tuyiga mu nkuŋŋaana ezo bituzzaamu nnyo amaanyi. Bayibuli egamba nti Yuda ne Siira “baayogera n’ab’oluganda ebigambo bingi ebizzaamu amaanyi era ne babagumya.” (Bik. 15:32) Ebintu ebizimba bye twogera ne bakkiriza bannaffe ng’enkuŋŋaana tezinnatandika oba nga ziwedde bisobola okutuzzaamu amaanyi. N’olwekyo, ne bwe tuba nga tulina ebizibu, ka tuleme kweyawula ku bakkiriza bannaffe, kubanga bwe tukola tutyo ekyo kyongera bwongezi kutunakuwaza. (Nge. 18:1) Mu kifo ky’ekyo, kiba kya magezi okukolera ku kubuulirira kwa Pawulo kuno: “Ka buli omu ku ffe alowoozenga ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi, nga tetulekaayo kukuŋŋaananga wamu ng’abamu bwe bakola, naye nga tuzziŋŋanamu amaanyi naddala nga bwe mulaba nti olunaku lusembedde.”​—Beb. 10:24, 25.

Ekigambo kya Katonda Kitubudaabuda

13, 14. Ebyawandiikibwa biyinza bitya okutubudaabuda?

13 Ka tube nga tuli Bakristaayo ababatize oba nga twakatandika butandisi okuyiga ebikwata ku Katonda n’ebigendererwa bye, Ekigambo kya Katonda kisobola okutubudaabuda. Pawulo yawandiika nti: “Ebintu byonna ebyawandiikibwa edda byawandiikibwa okutuyigiriza, tusobole okuba n’essuubi okuyitira mu bugumiikiriza ne mu kubudaabuda okuva mu Byawandiikibwa.” (Bar. 15:4) Ebyawandiikibwa Ebitukuvu bisobola okutubudaabuda era bisobola okutuyamba ‘okuba n’obusobozi, n’okuba na byonna bye twetaaga okusobola okukola buli mulimu omulungi.’ (2 Tim. 3:16, 17) Okumanya amazima agakwata ku kigendererwa kya Katonda era n’okuba n’essuubi ery’omu biseera eby’omu maaso kisobola okutubudaabuda. N’olwekyo, ka tufube okusoma Ekigambo kya Katonda awamu n’ebitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa ebitubudaabuda era ebituganyula mu ngeri ezitali zimu.

14 Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi bwe kituuka ku kukozesa Ebyawandiikibwa okuyigiriza n’okubudaabuda abalala. Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’okuzuukira, Yesu yalabikira abayigirizwa be babiri ‘n’abannyonnyola Ebyawandiikibwa.’ Bwe yali ayogera nabo, emitima gyabwe gyakwatibwako nnyo. (Luk. 24:32) Ng’akoppa ekyokulabirako kya Yesu, omutume Pawulo ‘yakubaganyanga n’abantu ebirowoozo ku Byawandiikibwa.’ Ng’ali e Beroya, abaali bamuwuliriza “bakkiriza mangu ekigambo, era buli lunaku beekenneenyanga n’obwegendereza Ebyawandiikibwa.” (Bik. 17:2, 10, 11) N’olwekyo, nga kikulu nnyo okusoma Bayibuli buli lunaku, era n’okukkiriza ebyo ebigirimu awamu n’ebyo ebiri mu bitabo byaffe okutubudaabuda n’okutuwa essuubi mu biseera bino ebizibu!

Ebintu Bye Tuyinza Okukola Okubudaabuda Abalala

15, 16. Ebimu ku bintu bye tuyinza okukola okubudaabuda bakkiriza bannaffe bye biruwa?

15 Waliwo ebintu bingi bye tuyinza okukola okusobola okuyamba n’okubudaabuda bakkiriza bannaffe. Ng’ekyokulabirako, tusobola okuyambako bakkiriza bannaffe abakaddiye oba abalwadde okugula ebintu. Abalala tuyinza okubayambako ku mirimu gy’awaka. Ekyo kiba kiraga nti tubafaako. (Baf. 2:4) Ate era tusobola okusiima bakkiriza bannaffe abafuba okwoleka engeri ennungi, gamba ng’okwagala, obunyiikivu, obuvumu, n’okukkiriza.

16 Engeri emu gye tusobola okubudaabudamu bannamukadde, kwe kubakyalirako n’okubawuliriza nga batubuulira ku bintu bye bayiseemu ne ku mikisa gye bafunye nga baweereza Yakuwa. Ekyo naffe kisobola okutuzzaamu amaanyi n’okutubudaabuda. Tusobola okusomera awamu Bayibuli oba ebitabo byaffe n’abo be tuba tukyalidde. Oboolyawo tuyinza okutegekera awamu nabo ekitundu kya Omunaala gw’Omukuumi ekinaasomebwa mu wiiki eyo oba olukuŋŋaana olw’Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina. Oba tuyinza okulabira awamu nabo emu ku vidiyo zaffe. Era tuyinza n’okubasomera oba okubabuulirako ku byokulabirako ebiri mu bitabo byaffe.

17, 18. Lwaki tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kuyamba abaweereza be abeesigwa era ajja kubabudaabuda?

17 Bwe tukiraba nti omu ku bakkiriza bannaffe yeetaaga okubudaabudibwa, tusobola okumuteeka mu ssaala zaffe. (Bar. 15:30; Bak. 4:12) Bwe tuba n’ebizibu oba bwe tuba tulina omuntu gwe tubudaabuda, tusobola okuba n’okukkiriza ng’okw’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Gussenga omugugu gwo ku Mukama, naye anaakuwaniriranga: taaganyenga abatuukirivu okujjulukuka ennaku zonna.” (Zab. 55:22) Yakuwa bulijjo ajja kweyongera okubudaabuda n’okuyamba abaweereza be abeesigwa.

18 Katonda yagamba abaweereza be abaaliwo mu biseera by’edda nti: “Nze, nze mwene, nze nzuuyo [ababudaabuda].” (Is. 51:12) Naffe Yakuwa ajja kutubudaabuda era ajja kutuwa emikisa mu ebyo byonna bye tukola okubudaabuda abo abali mu nnaku. Ka kibe nti tulina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi, buli omu ku ffe asobola okubudaabudibwa ebigambo bino Pawulo bye yawandiikira Bakristaayo banne abaafukibwako amafuta: “Mukama waffe Yesu Kristo kennyini ne Katonda Kitaffe eyatwagala era n’atuwa okubudaabuda okw’olubeerera n’essuubi eddungi okuyitira mu kisa kye eky’ensusso, babudaabudde emitima gyammwe era babanyweze mu buli kikolwa ekirungi ne mu buli kigambo ekirungi.”​—2 Bas. 2:16, 17.

Ojjukira?

• Kiki ky’oyinza okwogera ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira?

• Ebimu ku bintu bye tuyinza okukola okubudaabuda abalala bye biruwa?

• Ebyawandiikibwa biraga bitya nti Yakuwa abudaabuda abantu be?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]

Ofuba okubudaabuda abo abali mu nnaku?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]

Abato n’abakulu bonna basobola okuzzaamu abalala amaanyi