Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Beera Muvumu​—Yakuwa Ali Naawe!

Beera Muvumu​—Yakuwa Ali Naawe!

‘Beera muvumu era beera wa maanyi. Yakuwa Katonda wo ali naawe.’​—YOS. 1:9, NW.

1, 2. (a) Biki ebinaatuyamba okwaŋŋanga ebizibu? b) Okukkiriza kye ki? Waayo ekyokulabirako.

 OKUWEEREZA Yakuwa kireeta essanyu. Naye twolekagana n’ebizibu abantu bonna bye batera okwolekagana nabyo era oluusi ‘tubonaabona olw’okukola eby’obutuukirivu.’ (1 Peet. 3:14; 5:8, 9; 1 Kol. 10:13) Okusobola okwaŋŋanga ebizibu ng’ebyo twetaaga okuba n’okukkiriza n’obuvumu.

2 Okukkiriza kye ki? Omutume Pawulo yagamba nti: “Okukkiriza kwe kulindirira n’obwesige ebintu ebisuubirwa, kwe kuba abakakafu ddala ku bintu wadde nga tebinnalabibwa.” (Beb. 11:1) Okukkiriza kuyinza okugeraageranyizibwa ku kiwandiiko ekiraga obwannannyini ku kintu. Omuntu bw’aba n’ekiwandiiko ng’ekyo aba mukakafu nti ekintu ekyo kikye. Okuva bwe kiri nti Katonda atuukiriza by’asuubiza, tuli ng’abalina ekiwandiiko ng’ekyo eky’omuwendo. Okukkiriza kwe tulina kutusobozesa okuba abakakafu nti ebisuubizo ebiri mu Bayibuli bijja kutuukirira wadde nga tetunnaba kubiraba.

3, 4. (a) Obuvumu kye ki? (b) Kiki ekiyinza okutuyamba okwongera okuba n’okukkiriza n’obuvumu?

3 Obuvumu bwe butatya kwogera oba okubaako ky’okolawo ng’oyolekaganye n’embeera enzibu oba ng’obulamu bwo buli mu kabi. Omuntu omuvumu aba tatya era aba mwetegefu okubonaabona olw’ekyo ky’akkiriza.​—Mak. 6:49, 50; 2 Tim. 1:7.

4 Ffenna twetaaga okuba n’okukkiriza n’obuvumu. Naye oluusi tuyinza okuwulira nti twetaaga okwongera ku kukkiriza kwaffe era nga twetaaga okwongera okwoleka obuvumu. Waliwo abantu bangi aboogerwako mu Bayibuli abaayoleka okukkiriza n’obuvumu. N’olwekyo, bwe tufumiitiriza ku bantu ng’abo kiyinza okutuyamba okwongera okuba n’okukkiriza n’obuvumu.

YAKUWA YALI NE YOSWA

5. Kiki Yoswa kye yali yeetaaga okusobola okukulembera obulungi Abaisiraeri?

5 Ka tulowooze ku ebyo ebyaliwo emyaka nga 3500 emabega. Waali wayise emyaka makumi ana bukya Yakuwa anunula Abaisiraeri okuva mu buddu e Misiri. Musa ye yali omukulembeze waabwe. Bwe yali wa myaka 120 egy’obukulu, Musa yalinnya ku Lusozi Nebo n’alengera Ensi Ensuubize, era n’afiira ku lusozi olwo. Yoswa, omusajja ‘eyali ajjudde omwoyo ogw’amagezi,’ ye yamuddira mu bigere. (Ma. 34:1-9) Mu kiseera ekyo, Abaisiraeri baali banaatera okuwamba Kanani. Okusobola okukulembera obulungi Abaisiraeri, Yoswa yali yeetaaga okuba n’amagezi agava eri Katonda, okuba n’okukkiriza, okuba omuvumu, n’okuba ow’amaanyi.​—Ma. 31:22, 23.

6. (a) Okusinziira ku Yoswa 23:6 lwaki twetaaga okuba abavumu? (b) Ebyo bye tusoma mu Ebikolwa by’Abatume 4:18-20 ne 5:29 bituyigiriza ki?

6 Abaisiraeri bazibwamu nnyo amaanyi Yoswa bwe yayoleka amagezi, obuvumu, n’okukkiriza mu kiseera ekiwanvu kye baamala nga balwana okusobola okuwamba ensi ya Kanani. Ng’oggyeko okulwana entalo, era baali beetaaga obuvumu okusobola okukolera ku bulagirizi bwa Yoswa. Ng’anaatera okufa yabagamba nti: “Mubeere bavumu musobole okukwata era n’okukolera ku ebyo byonna ebyawandiikibwa mu kitabo ky’amateeka ga Musa, nga temukyuka kudda ku ddyo oba ku kkono.” (Yos. 23:6, NW) Naffe twetaaga okuva abavumu okusobola okugondera Yakuwa ekiseera kyonna, naddala ng’abantu batulagidde okukola ekintu ekimenya amateeka ge. (Soma Ebikolwa 4:18-20; 5:29.) Bwe tusaba Yakuwa era ne tumwesiga, ajja kutuyamba okuba abavumu.

ENGERI GYE TUYINZA OKUTUUKA KU BUWANGUZI

7. Kiki Yoswa kye yalina okukola okusobola okuba omuvumu n’okutuuka ku buwanguzi?

7 Okusobola okukola Katonda by’ayagala, tulina okusoma Ekigambo kya Katonda era n’okukolera ku ebyo bye tuba tusomye. Ekyo kyennyini Yakuwa kye yalagira Yoswa okukola bwe yatandika okukulembera Abaisiraeri nga Musa amaze okufa. Yakuwa yamugamba nti, “Beera muvumu era beera wa maanyi osobole okukolera ku ebyo byonna ebiri mu mateeka omuweereza wange Musa ge yakuwa. . . . Ekitabo kino eky’amateeka tekivanga mu kamwa ko, era onookisomanga n’okifumiitirizaako emisana n’ekiro, osobole okukolera ku ebyo byonna ebikirimu; olwo lw’onootuuka ku buwanguzi era ne weeyisa mu ngeri ey’amagezi.” (Yos. 1:7, 8, NW) Yoswa yakolera ku kubuulira okwo era ‘yatuuka ku buwanguzi.’ Naffe bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kuba bavumu era tujja kusobola okutuukiriza obuweereza bwaffe eri Katonda.

Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2013, kigamba nti: ‘Beera muvumu era beera wa maanyi. Yakuwa Katonda wo ali naawe.’​—Yoswa 1:9, NW

8. Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2013 kiggiddwa wa, era kinaakuyamba kitya?

8 Yoswa ateekwa okuba nga yaddamu amaanyi, Yakuwa bwe yamugamba nti: “Beera muvumu era beera wa maanyi. Totya era totekemuka, kubanga Yakuwa Katonda wo ali naawe yonna gy’onoogendanga.” (Yos. 1:9, NW) Naffe Yakuwa ali naffe. N’olwekyo tetusaanidde “kutya oba okutekemuka” ka tube nga twolekaganye na kizibu ki. Era kikulu nnyo okulowooza ku bigambo bino: ‘Beera muvumu era beera wa maanyi. Yakuwa Katonda wo ali naawe.’ Ebigambo ebyo ebiri mu Yoswa 1:9 (NW) bye birondeddwa okuba ekyawandiikibwa ky’omwaka 2013. Ebigambo ebyo n’ebyokulabirako by’abantu abalala abaayoleka okukkiriza n’obuvumu, bijja kutuzzaamu amaanyi omwaka guno gwonna.

BAAYOLEKA OBUVUMU

9. Lakabu yayoleka atya okukkiriza n’obuvumu?

9 Yoswa bwe yatuma abakessi ababiri mu Kanani, Lakabu eyali malaaya yabakweka era n’abuzaabuza abalabe baabwe ng’abalagirira ekkubo eddala. Olw’okuba Lakabu yalina okukkiriza n’obuvumu, yasobola okuwonawo awamu n’ab’omu nnyumba ye, Abaisiraeri bwe baali bazikiriza ekibuga Yeriko. (Beb. 11:30, 31; Yak. 2:25) Lakabu yalekayo empisa ze embi asobole okusanyusa Yakuwa. Mu ngeri y’emu, okukkiriza n’obuvumu bisobozesezza abamu ku abo abafuuse Abakristaayo okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe ne basanyusa Katonda.

10. Mu mbeera ki Luusi mwe yasalirawo okuweereza Yakuwa, era mikisa ki Yakuwa gye yamuwa?

10 Oluvannyuma lw’okufa kwa Yoswa, Luusi omukazi Omumowaabu yayoleka obuvumu n’asalawo okusinza Yakuwa. Olw’okuba omwami we yali Muisiraeri, Luusi ayinza okuba yali alina ky’amanyi ku Yakuwa. Nnyazaala we Nawomi yali nnamwandu, era yali abeera mu nsi ya Mowaabu. Oluvannyuma y’asalawo okuddayo ewaabwe mu Isiraeri mu kibuga Besirekemu. Nga bali mu kkubo, Nawomi yagamba Luusi addeyo ewaabwe mu bantu be, naye Luusi Omumowaabu n’amuddamu nti: “Tonneegayirira kukuleka, n’okuddayo obutakugoberera . . . Abantu bo be banaabanga abantu bange, era Katonda wo Katonda wange.” (Luus. 1:16) Nga wayiseewo ekiseera, Luusi yafumbirwa Bowaazi, omusajja eyalina oluganda ku Nawomi. Baazaala omwana ow’obulenzi, era Luusi yafuuka jjajja wa Dawudi ne Yesu. Mazima ddala, Yakuwa awa emikisa abo abooleka okukkiriza n’obuvumu.​—Luus. 2:12; 4:17-22; Mat. 1:1-6.

BANGI BAATEEKA OBULAMU BWABWE MU KABI!

11. Yekoyaada ne Yekoseba baayoleka batya obuvumu, era biki ebyavaamu?

11 Bwe tulowooza ku ngeri Katonda gy’ayambamu abo abakulembeza by’ayagala era abafuba okuyamba bakkiriza bannaabwe, tweyongera okuba abavumu era n’okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Yekoyaada Kabona Omukulu ne mukazi we Yekoseba. Kabaka Akaziya bwe yafa, maama we Asaliya yatta abaana ba kabaka bonna, ng’oggyeko Yowaasi, era n’awamba entebe y’obwakabaka. Naye Yekoyaada ne Yekoseba baateeka obulamu bwabwe mu kabi ne bakweka Yowaasi mutabani wa Akaziya okumala emyaka mukaaga. Mu mwaka ogw’omusanvu, Yekoyaada yafuula Yowaasi kabaka, n’alagira batte Asaliya. (2 Bassek. 11:1-16) Oluvannyuma Yekoyaada yayamba Kabaka Yowaasi okuddaabiriza yeekaalu. Yekoyaada bwe yafa ng’alina emyaka 130 egy’obukulu, yaziikibwa gye baaziikanga bakabaka ‘kubanga yakola ebirungi mu Isiraeri n’eri Katonda n’ennyumba ye.’ (2 Byom. 24:15, 16) Olw’okuba Yekoyaada ne mukazi we baayoleka obuvumu, kyasobozesa olunyiriri omwandivudde Masiya obutasaanawo.

12. Ebedumereki yayoleka atya obuvumu?

12 Ebedumereki, eyali omuweereza wa Kabaka Zeddekiya, yateeka obulamu bwe mu kabi ku lwa Yeremiya. Kabaka yali awaddeyo Yeremiya eri abakungu ba Yuda, abaali bamuwaayirizza okulya mu nsi ye olukwe. Bamusuula mu kinnya ekyalimu ettosi afiire omwo. (Yer. 38:4-6) Ebedumereki yeegayirira Zeddekiya ayambe Yeremiya. Ekyo Ebedumereki kye yakola kyali kiteeka obulamu bwe mu kabi, kubanga abantu bangi baali tebaagala Yeremiya. Zeddekiya yakkiriza okuyamba Yeremiya era n’alagira Ebedumereki agende n’abasajja 30 baggye Yeremiya mu kinnya. Okuyitira mu Yeremiya, Katonda yagamba Ebedumereki nti yandiwonyeewo ng’Abababulooni bazingizza Yerusaalemi. (Yer. 39:15-18) Awatali kubuusabuusa, Katonda awa omukisa abo abooleka obuvumu.

13. Abebbulaniya abasatu baayoleka batya obuvumu, era ekyokulabirako kyabwe kituyigiriza ki?

13 Mu kyasa eky’omusanvu E.E.T., abaweereza ba Katonda abasatu Abebbulaniya baakiraba nti Katonda awa emikisa abo abooleka okukkiriza n’obuvumu. Kabaka Nebukadduneeza yakunga abaweereza be bonna n’abalagira basinze ekifaananyi ekya zzaabu kye yali akoze. Oyo yenna eyandigaanye okukisinza yali wa kusuulibwa mu kikoomi ky’omuliro. Kyokka Abebbulaniya abasatu baagamba Nebukadduneeza nti: “Katonda waffe gwe tuweereza ayinza okutuwonya mu kikoomi ekyaka n’omuliro. Era anaatuwonya mu mukono gwo, ai kabaka. Naye bwe kitaabe bwe kityo, tegeera, ai kabaka, nga tetugenda kuweereza bakatonda bo, newakubadde okusinza ekifaananyi ekya zzaabu kye wayimiriza.” (Dan. 3:16-18) Ebyo ebikwata ku ngeri Abebbulaniya abo abasatu gye baawonyezebwamu byogerwako mu Danyeri 3:19-30. Wadde nga tuyinza obutasuulibwa mu kikoomi ky’omuliro, naffe twolekagana n’ebizibu bingi ebigezesa okukkiriza kwaffe, naye tuli bakakafu nti Katonda ajja kutuwa emikisa olw’okwoleka okukkiriza n’obuvumu.

14. Okusinziira ku Danyeri essuula 6, Danyeri yayoleka atya obuvumu, era kiki ekyavaamu?

14 Danyeri yayoleka okukkiriza n’obuvumu abalabe be bwe baasendasenda Kabaka Daliyo okuyisa etteeka erigamba nti: “Buli anaasabanga katonda yenna oba omuntu yenna ennaku amakumi asatu, wabula ng’asabye ggwe, ai kabaka, alisuulibwa mu mpuku ey’empologoma.” Danyeri bwe yamanya nti ekiwandiiko kiteekeddwako omukono, ‘yayingira mu nnyumba ye era amadirisa ge gaali gagguddwawo mu nju ye nga goolekedde Yerusaalemi, n’afukamiranga ku maviivi ge emirundi esatu buli lunaku, n’asaba, ne yeebaza mu maaso ga Katonda we, nga bwe yakolanga edda.’ (Dan. 6:6-10) Danyeri yasuulibwa mu kinnya ky’empologoma, naye Yakuwa n’amuwonya.​—Dan. 6:16-23.

15. (a) Akula ne Pulisikira baayoleka batya okukkiriza n’obuvumu? (b) Ebigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 13:34 bitegeeza ki, era Abakristaayo bangi balaze batya okwagala ng’okwo?

15 Bayibuli egamba nti Akula ne Pulisikira ‘bassa obulamu bwabwe mu kabi ku lw’obulamu bwa Pawulo.’ (Bik. 18:2; Bar. 16:3, 4) Baayoleka obuvumu ne bakolera ku kiragiro kya Yesu kino ekigamba nti: “Mbawa etteeka eriggya, mwagalanenga; nga bwe nnabaagala mmwe, nammwe bwe muba mwagalana.” (Yok. 13:34) Okusinziira ku Mateeka ga Musa omuntu yalina okwagala muntu munne nga bwe yeeyagala yekka. (Leev. 19:18) Kati olwo lwaki etteeka Yesu lye yawa abayigirizwa be yaliyita “eriggya”? Kubanga litwetaagisa okwoleka okwagala eri abalala nga tuba beetegefu okuwaayo obulamu bwaffe ku lwabwe, nga Yesu bwe yakola. Abakristaayo bangi bassizza obulamu bwabwe mu kabi nga beewala okuwaayo baganda baabwe okutulugunyizibwa oba okuttibwa abalabe baabwe.​—Soma 1 Yokaana 3:16.

16, 17. Okukkiriza kw’Abakristaayo abamu abaaliwo mu kyasa ekyasooka kwagezesebwa kutya, era okukkiriza kw’Abakristaayo abamu kugezeseddwa kutya leero?

16 Okufaananako Yesu, Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka baasinzanga Yakuwa yekka. (Mat. 4:8-10) Baagaana okwotereza obubaane ng’akabonero akalaga nti basinza empula wa Rooma. (Laba ekifaananyi.) Omuwandiisi w’ebitabo ayitibwa Daniel P. Mannix yawandiika nti: ‘Ekyoto kye baayoterezangako obubaane baakiteekanga mu kifo awaalabirwanga emizannyo. Omusibe yenna eyabanga ayagala okuteebwa yalinanga okumansa obubaane ku kyoto n’alyoka ateebwa. Abasibe baabagambanga nti mu kukola ekyo baabanga tebasinza empula wabula nti baabanga balaga bulazi nti empula wa Rooma yali katonda. Kyokka Abakristaayo batono nnyo abekkiriranya olw’okwagala okuwonya obulamu bwabwe.’​—Those About to Die.

17 Abakristaayo abaali mu nkambi z’Abanazi, baabagambanga nti singa bassa omukono ku kiwandiiko ekiraga nti baali tebakyali baweereza ba Yakuwa, bandibadde bateebwa ne bawona okuttibwa. Naye batono nnyo abakkiriza okussa omukono ku kiwandiiko ekyo. Mu lutalo olwali e Rwanda, Abajulirwa ba Yakuwa Abatuusi n’Abahutu bassa obulamu bwabwe mu kabi okusobola okuwonya baganda baabwe. Abaweereza ba Yakuwa bwe baba mu mbeera ng’ezo enzibu baba beetaaga okwoleka obuvumu n’okukkiriza.

KIJJUKIRE NTI YAKUWA ALI NAFFE!

18, 19. Baani be tuyinza okukoppa tusobole okukola obulungi omulimu gwaffe ogw’okubuulira?

18 Tulina enkizo okwenyigira mu mulimu omukulu ennyo ogw’okubuulira amawulire amalungi ag’obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa, Katonda gwe yakwasa abaweereza be ku nsi. (Mat. 24:14; 28:19, 20) Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eno. ‘Yatambula ng’agenda ayita mu buli kibuga ne mu bubuga ng’abuulira era ng’alangirira amawulire amalungi ag’obwakabaka bwa Katonda.’ (Luk. 8:1) Okufaananako Yesu, naffe twetaaga okwoleka okukkiriza n’obuvumu okusobola okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Katonda asobola okutuyamba ne tuba bavumu nga Nuuwa. Nuuwa yali ‘mubuulizi wa butuukirivu’ mu ‘nsi y’abantu abatatya Katonda’ abaali bagenda okuzikirizibwa mu mataba.​—2 Peet. 2:4, 5.

19 Okusaba kutusobozesa okukola omulimu gw’okubuulira n’obuvumu. Abamu ku bagoberezi ba Kristo abaali bayigganyizibwa bwe baasaba Katonda basobole ‘okwogera ekigambo kye n’obuvumu,’ okusaba kwabwe kwaddibwamu. (Soma Ebikolwa 4:29-31.) Bw’oba ng’otya okubuulira nnyumba ku nnyumba, saba Yakuwa akuwe okukkiriza n’obuvumu.​—Soma Zabbuli 66:19, 20. *

20. Buyambi ki ffenna bwe tulina?

20 Si kyangu okukola Katonda by’ayagala mu nsi eno embi ejjudde ebizibu. Naye tetuli ffekka. Katonda ali naffe. N’Omwana we, Omutwe gw’ekibiina, ali naffe. Era tulina bakkiriza bannaffe abasoba mu 7,000,0000 abeetegefu okutuyamba. Ka ffenna twoleke okukkiriza era tubuulire amawulire amalungi nga tulowooza ku kyawandiikibwa kyaffe eky’omwaka 2013, ekigamba nti: ‘Beera muvumu era beera wa maanyi. Yakuwa Katonda wo ali naawe.’​—Yos. 1:9, NW.

^ Osobola okusoma ku balala abaayoleka obuvumu mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Febwali 15, 2012, wansi w’omutwe “Beera Muvumu era Beera wa Maanyi.”