Okuweereza Katonda Awatali Kwejjusa
“Nneerabira ebintu eby’emabega ne nduubirira eby’omu maaso.”—BAF. 3:13.
1-3. (a) Okwejjusa kye ki, era ebintu ebibi bye twakola biyinza kutuleetera kuwulira tutya? (b) Kiki kye tuyinza okuyigira ku Pawulo?
OMUWANDIISI w’ebitontome ayitibwa J. G. Whittier yagamba nti: “Ebigambo ebikyasinzeeyo okwoleka ennaku ebyali byogeddwa oba ebyali biwandiikiddwa bye bino: ‘Kale singa . . . !’” Abantu batera okwogera ebigambo ebyo nga bejjusa olw’ekintu kye baakola. “Okwejjusa” kwe kwevunaana oba okwenenya wekka olw’okukola oba obutakola kintu, era kisobola okutegeeza “okuddamu okukaaba.” Ffenna twali tukoze ebintu bye tuwulira nti singa twali tusobola okubikyusa twandibikyusizza. Waliwo ekintu kyonna kye wejjusa?
2 Abantu abamu bayinza okuba nga baakola ensobi ez’amaanyi, oba nga baakola ebibi eby’amaanyi. Ate abalala bayinza okuba nga tebeekakasa obanga ekintu kye baasalawo okukola kyali kya magezi. Abamu basobodde okulekera awo okulowooza ennyo ku bintu eby’emabega ebibamalamu amaanyi. Ate abalala ebintu ebibi bye baakola buli kiseera biba bibajjira mu birowoozo era nga muli bagamba nti, ‘Kale singa saakola kintu ekyo.’ (Zab. 51:3) Ggwe ogwa mu ttuluba ki? Owulira nga wandyagadde okuweereza Katonda nga tolina kye wejjusa, waakiri okuva leero? Waliwo omuntu yenna ayogerwako mu Bayibuli gw’oyinza okukoppa? Yee, waali, ye mutume Pawulo.
3 Pawulo yakola ensobi ez’amaanyi naye alina n’ebintu ebirungi bingi bye yakola. Wadde nga yejjusa olw’ensobi ze yali yakola, yayiga okuweereza Yakuwa awatali kwejjusa. Ka tulabe kye tuyinza okumuyigirako.
EBINTU PAWULO BYE YEJJUSA
4. Bintu ki ebibi Pawulo bye yakola bye yejjusa oluvannyuma?
4 Bwe yali akyali Mufalisaayo, Pawulo yakola ebintu ebibi bye yejjusa oluvannyuma. Ng’ekyokulabirako, yawoma omutwe mu kuyigganya abayigirizwa ba Kristo. Bayibuli egamba nti oluvannyuma lwa Suteefano okuttibwa, Sawulo, oluvannyuma eyayitibwa Pawulo, ‘yatandika okuyisa obubi ennyo ekibiina. Yayingiranga mu buli nnyumba n’asikambulamu abasajja n’abakazi n’abatwala mu kkomera.’ (Bik. 8:3) Omwekenneenya wa Bayibuli ayitibwa Albert Barnes yagamba nti ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “okuyisa obubi ennyo” kiraga nti Sawulo yalumba ekibiina Ekikristaayo “ng’alinga ensolo enkambwe.” Sawulo yali munyiikivu nnyo mu ddiini y’Ekiyudaaya, era yali alowooza nti Katonda yali amukwasizza omulimu gw’okusaanyawo ekibiina Ekikristaayo. Eyo ye nsonga lwaki yayigganya nnyo Abakristaayo, “abasajja n’abakazi,” ng’ayagala okubasaanyawo.—Bik. 9:1, 2; 22:4. *
5. Kiki ekyaleetera Sawulo okulekera awo okuyigganya abagoberezi ba Yesu n’atandika okubuulira ebikwata ku Kristo?
5 Sawulo yali ayagala okugenda e Damasiko akwate abayigirizwa ba Yesu abatwale e Yerusaalemi mu lukiiko olukulu olw’Abayudaaya babonerezebwe. Naye ekyo Yesu, Omutwe gw’ekibiina Ekikristaayo, teyamukkiriza kukikola. (Bef. 5:23) Sawulo bwe yali agenda e Damasiko, Yesu yamulabikira era ekitangaala eky’amaanyi kyava mu ggulu ne kiziba amaaso ga Sawulo. Oluvannyuma Yesu yagamba Sawulo okugenda e Damasiko ategeezebwe eky’okukola. Ebyaddirira tubimanyi bulungi.—Bik. 9:3-22.
6, 7. Kiki ekiraga nti Pawulo yakitegeera nti ebintu bye yakola nga tannafuuka Mukristaayo byali bikyamu?
6 Pawulo bwe yakimanya nti kye yali akola kyali kikyamu, yalekera awo okuyigganya Abakristaayo n’atandika okubuulira n’obunyiikivu ebikwata ku Kristo. Kyokka nga wayise ekiseera, Pawulo yawandiika ebimukwatako n’agamba nti: “Awatali kubuusabuusa, mwawulira engeri gye nneeyisangamu edda nga ndi mu ddiini y’Ekiyudaaya, nga bwe nnayigganya ennyo ekibiina kya Katonda nga njagala okukizikiriza.” (Bag. 1:13) Era bwe yali awandiikira Abakkolinso, Abafiripi, ne Timoseewo, yaddamu okwogera ku bintu ebibi bye yakola era bye yali yejjusa. (Soma 1 Abakkolinso 15:9; Baf. 3:6; 1 Tim. 1:13) Wadde ng’okuwandiika ku bintu ebyo Pawulo kyali tekimusanyusa, teyeefuula nga gy’obeera tebyaliwo. Yakiraba nti ebyo bye yali yakola byali bibi nnyo.— Bik. 26:9-11.
7 Omwekenneenya wa Bayibuli ayitibwa Frederic W. Farrar yagamba nti bwe tulowooza ku ngeri Pawulo gye yayigganyamu Abakristaayo, tusobola okutegeera ennaku ey’amaanyi gye yawulira ng’amaze okufuuka Omukristaayo era n’engeri abantu abalala gye bayinza okuba nga baamuleeteranga okuwulira obubi. Pawulo bwe yakyaliranga ebibiina ebitali bimu, kiyinzika okuba nti ab’oluganda abamu ku mulundi gwe baasooka okumulaba, baamugambanga nti, ‘Si ggwe Pawulo, omusajja eyatuyigganyanga!’—Bik. 9:21.
8. Pawulo yawulira atya olw’ekisa n’okwagala Yakuwa ne Yesu bye baamulaga, era kiki kye tumuyigirako?
8 Pawulo yali akimanyi nti teyandisobodde kuweereza nga mutume singa tekyali kisa kya Katonda eky’ensusso. Mu bbaluwa 14 ze yawandiika, Pawulo yayogera ku kisa kya Katonda eky’ensusso emirundi nga 90. Tewali muwandiisi wa Bayibuli mulala eyayogera ku kisa kya Katonda eky’ensusso kusinga Pawulo. (Soma 1 Abakkolinso 15:10.) Pawulo yasiima nnyo ekisa kya Katonda eky’ensusso ekyamulagibwa, era teyayagala kisa ekyo kifiire bwereere. Bwe kityo, ‘yakola nnyo okusinga’ abatume abalala bonna. Ebyo bye tusoma ku Pawulo bituyigiriza nti bwe tukkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu, ne twenenya ebibi byaffe, era ne tukyusa enneeyisa yaffe, Yakuwa aba mwetegefu okutusonyiwa ne bwe tuba nga twakola ebibi eby’amaanyi. N’olwekyo, bw’oba olowooza nti ebibi byo bya maanyi nnyo era nti Katonda tasobola kukusonyiwa ng’asinziira ku ssaddaaka ya Kristo, jjukiranga ekyokulabirako kya Pawulo. (Soma 1 Timoseewo 1:15, 16.) Wadde nga Pawulo yayigganya nnyo Kristo, oluvannyuma yawandiika nti: “Omwana wa Katonda [yanjagala] ne yeewaayo ku lwange.” (Bag. 2:20; Bik. 9:5) Pawulo yayiga okuweereza Katonda awatali kwejjusa. Ekyo naawe okiyize?
OLINA EBINTU BYE WEJJUSA?
9, 10. (a) Bintu ki abaweereza ba Yakuwa abamu bye bejjusa? (b) Lwaki si kirungi okudda awo okweraliikirira olw’ensobi gye wakola?
9 Olina ebintu bye wakola kati bye wejjusa? Oyinza okuba ng’olina ekintu kye wasalawo okukola naye nga kati owulira nti ebiseera byo n’amaanyi go byafiira bwereere. Oba oyinza okuba ng’olina ekintu kye wakola ne kirumya abalala. Oyinza n’okuba ng’olina ekintu kye wakola naye ng’owulira nti tewandikikoze bw’otyo. Bw’oba mu mbeera ng’eyo, kiki ky’oyinza okukola?
10 Abantu abamu buli kiseera baba balowooza ku nsobi ze baakola era ekyo kibaleetera okweraliikirira. Naye okweraliikirira kusobola okuyamba omuntu okugonjoola ekizibu kye? Nedda. N’olwekyo, mu kifo ky’okudda awo okweraliikirira, kiba kya magezi okubaako ky’okolawo okugonjoola ekizibu ekiba kizzeewo. Kiyinza okuba nga kikwetaagisa okwetondera omuntu gwe wanyiiza era n’ofuba okutabagana naye. Lowooza ku ekyo ekyakuleetera okukola ensobi kikuyambe obutaddamu kugikola. Kyokka oluusi oyinza okuba ng’olina okugumira ebyo ebyava mu nsobi gye wakola. Naye okudda awo okweraliikirira olw’ensobi gye wakola tekikuyamba. Mu butuufu, kiyinza n’okukulemesa okuweereza obulungi Katonda.
11. (a) Kiki kye tulina okukola Yakuwa okusobola okutusonyiwa? (b) Kiki Bayibuli ky’etugamba okukola okusobola okulekera awo okulumizibwa olw’ensobi ze twakola emabega tusobole okufuna emirembe mu mutima?
11 Abantu abamu balowooza nti ensobi ze baakola zaali za maanyi nnyo oba nti bakoze ensobi emirundi mingi ne kiba nti Katonda tasobola kubasonyiwa. Naye, ka babe nga baakola ki, basobola okwenenya, ne baleka ebikolwa byabwe ebibi, era ne basaba Yakuwa okubasonyiwa. (Bik. 3:19) Yakuwa asobola okubasonyiwa nga bwe yasonyiwa abaweereza be abalala. Yakuwa mwetegefu okusonyiwa abantu abawombeefu era abeenenya mu bwesimbu. Ng’ekyokulabirako, Yobu bwe yeenenya ensobi ze, Katonda yamusonyiwa. (Yob. 42:6) Bayibuli etubuulira ekyo kye tulina okukola okusobola okulekera awo okulumizibwa olw’ensobi ze twakola tusobole okufuna emirembe mu mutima. Egamba nti: “Abikka ku kusobya kwe taliraba mukisa: naye buli akwatula n’akuleka alifuna okusaasirwa.” (Nge. 28:13; Yak. 5:14-16) N’olwekyo, bwe tuba tukoze ekibi, tulina okukyatulira Katonda, ne tumusaba atusonyiwe, era ne tukola kyonna ekisoboka okutereeza ebiba bisobye. (2 Kol. 7:10, 11) Bwe tukola tutyo, Katonda ‘asonyiyira ddala,’ ajja kutulaga ekisa.—Is. 55:7.
12. (a) Tuyinza tutya okukoppa Dawudi singa omuntu waffe ow’omunda atulumiriza olw’ensobi gye twakola? (b) Yakuwa yejjusa atya, era ekyo okukimanya kituganyula kitya? (Laba akasanduuko.)
12 Bwe tuba twagala Katonda okutuyamba, tusaanidde okumusaba. Mu zabbuli emu gye yawandiika, Dawudi yakiraga nti yali mukakafu nti Yakuwa yali azzeemu okusaba kwe. (Soma Zabbuli 32:1-5.) Dawudi bwe yali tannaba kwatulira Katonda kibi kye, omuntu we ow’omunda yali amulumiriza nnyo. Yeeraliikirira nnyo, ne yennyamira, era n’alwala n’okulwala. Kyokka bwe yamala okwenenya, yafuna obuweerero. Yakuwa yaddamu okusaba kwe era n’amuzzaamu amaanyi bw’atyo ne yeeyongera okumuweereza obulungi. Mu ngeri y’emu, bw’osaba Yakuwa okuviira ddala ku mutima, ba mukakafu nti aba awulira okusaba kwo. Omuntu wo ow’omunda bw’aba akulumiriza olw’ensobi gye wakola, kola kyonna ekisoboka okutereeza ebyasoba era ekyo bw’omala okukikola ba mukakafu nti Yakuwa akusonyiye!—Zab. 86:5.
EBIROWOOZO BYO BITEEKE KU BINTU EBY’OMU MAASO
13, 14. (a) Kiki kye tusaanidde okussaako ebirowoozo byaffe? (b) Bibuuzo ki ebinaatuyamba okulaba nti ebintu bye tukola kati tebituleetere kwejjusa mu biseera eby’omu maaso?
13 Kyo kituufu nti tusobola okuyigira ku bintu ebyayita naye tetusaanidde kubikkiriza kutweraliikiriza. Ebirowoozo byaffe tusaanidde okubiteeka ku bintu ebiriwo kati n’ebyo ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: Ebintu bye nkola kati binaandeetera okwejjusa mu biseera eby’omu maaso? Mpeereza Katonda n’obwesigwa nneme kwejjusa mu biseera eby’omu maaso?
14 Ekibonyoobonyo ekinene kinaatera okutuuka. N’olwekyo buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Nsobola okukola ekisingawo mu buweereza bwange eri Yakuwa? Nsobola okuweereza nga payoniya? Kiki ekinnemesa okufuuka omuweereza mu kibiina? Nfuba okwambala omuntu omuggya? Ddala Yakuwa andaba nga nsaanira okubeera mu nsi ye empya?’ Mu kifo ky’okudda awo okweraliikirira olw’ebyo bye tutaasobola kukola, tusaanidde okulowooza ku ebyo bye tukola kati era tufube okulaba nti tuwa Yakuwa ekyo ekisingayo okuba ekirungi. Tusaanidde okufuba okulaba nti tetukola bintu ebinaatuleetera okwejjusa mu biseera eby’omu maaso.—2 Tim. 2:15.
TEWEJJUSANGA OLW’OKUSALAWO OKUWEEREZA YAKUWA
15, 16. (a) Bintu ki bangi bye beefiirizza okusobola okuwa Yakuwa ekyo ekisingayo okuba ekirungi? (b) Lwaki tetusaanidde kwejjusa olw’ebintu bye twefiiriza okusobola okukulembeza Obwakabaka?
15 Ate kiri kitya eri mmwe abaasalawo okubaako ebintu bye mwerekereza musobole okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna? Abamu ku mmwe muyinza okuba nga mwerekereza emirimu emirungi oba bizineesi ez’amaanyi musobole okwemalira ku mulimu gw’Obwakabaka. Oba muyinza okuba nga mwasalawo okusigala nga temuli bafumbo oba obutazaala baana musobole okuweereza ku Beseri, okuyambako mu mulimu gw’okuzimba ebizimbe by’Obwakabaka, okuweereza ng’abalabirizi abakyalira ebibiina, oba okuweereza ng’abaminsani. Bwe kiba nti kati ogenda weeyongera okukaddiwa, wandyejjusizza olw’okuba wasalawo okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna? Wandiwulidde nti wakola nsobi okubaako ebintu bye weefiiriza osobole okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna oba nti ebiseera byo wabyonoona bwonoonyi? Tosaanidde kuwulira bw’otyo!
16 Kijjukire nti wasalawo okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna olw’okuba oyagala nnyo Yakuwa era oyagala okuyamba abantu abalala okumuweereza. Tosaanidde kulowooza nti singa tewayingira buweereza obw’ekiseera kyonna wandibadde bulungi okusinga bw’oli kati. Osaanidde okuba omusanyufu olw’okuba wasalawo okukola ekyo kye walaba nga kye kituufu okukola. Wakiraba nti eyo ye ngeri gye wandisobodde okuwa Yakuwa ekyo ekisingayo okuba ekirungi. Yakuwa tajja kwerabira bintu byonna bye weefiirizza okusobola okumuweereza. Mu bulamu obwa nnamaddala obugenda okujja, Yakuwa ajja kukuwa emikisa mingi okusinga ne bw’olowooza!—Zab. 145:16; 1 Tim. 6:19.
ENGERI GY’OYINZA OKUWEEREZA KATONDA AWATALI KWEJJUSA
17, 18. (a) Kiki ekyayamba Pawulo okuweereza Yakuwa awatali kwejjusa? (b) Oyinza otya okukoppa Pawulo?
17 Kiki ekyayamba Pawulo okuweereza Katonda awatali kwejjusa? Pawulo yagamba nti yalekera awo okulowooza ku bintu eby’emabega n’aluubirira empeera ey’omu biseera eby’omu maaso. (Soma Abafiripi 3:13, 14.) Ebirowoozo bye teyabimalira ku bintu ebibi bye yali akoze ng’akyali mu ddiini y’Ekiyudaaya. Mu kifo ky’ekyo, Pawulo yeemalira ku kuweereza Yakuwa n’obwesigwa asobole okufuna ekirabo eky’obulamu obutaggwaawo.
18 Ebyo Pawulo bye yayogera bituyigiriza ki? Mu kifo ky’okukkiriza ebintu ebibi bye twakola emabega okutweraliikiriza, ng’ate ebintu ebyo tetukyasobola na kubikyusa, tusaanidde okulowooza ku bintu bye tuyinza okukola kati tusobole okufuna emikisa mu biseera eby’omu maaso. Wadde nga tuyinza obutasobola kwerabira nsobi ze twakola, tetusaanidde kuzikkiriza kutuleetera kweraliikirira. Tusaanidde okuggya ebirowoozo byaffe ku bintu ebyayita, tukole kyonna ekisoboka kati okuweereza Katonda n’obwesigwa, era tufube okukuumira ebirowoozo byaffe ku ssuubi ery’ekitalo ery’ebiseera eby’omu maaso!
^ Omulundi ogusukka mu gumu Bayibuli eyogera ku ky’okuba nti Sawulo yayigganya “n’abakazi.” Ekyo kiraga nti mu kyasa ekyasooka abakazi nabo baali banyiikivu nnyo mu mulimu gw’okubuulira, nga bwe kiri ne leero.—Zab. 68:11.