Weeyongere Okusemberera Yakuwa
“Musemberere Katonda naye anaabasemberera.”—YAK. 4:8.
1, 2. (a) Sitaani agezaako atya okulimbalimba abantu? (b) Kiki ekinaatuyamba okusemberera Yakuwa?
YAKUWA KATONDA yatonda abantu nga balina obwetaavu obw’okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye. Kyokka Sitaani ayagala tulowooze nti tetwetaaga Yakuwa. Bw’atyo bwe yalimbalimba Kaawa mu lusuku Adeni era n’okutuusa leero akyalimbalimba abantu. (Lub. 3:4-6) Sitaani aleetedde abantu bangi okulowooza nti tebeetaaga Katonda.
2 Eky’essanyu kiri nti tusobola okwewala okugwa mu mutego gwa Sitaani ogwo. “Tumanyi enkwe ze.” (2 Kol. 2:11) Sitaani agezaako okutwawukanya ne Yakuwa ng’atuleetera okusalawo mu ngeri etali ya magezi. Naye ng’ekitundu ekyayita bwe kyalaga, tetulina kukkiriza mirimu, eby’okwesanyusaamu, oba ab’omu maka gaffe kutwawukanya ne Yakuwa. Ekitundu kino kijja kutulaga engeri gye tuyinza obutagwa lubege ku bikwata ku tekinologiya, eby’obulamu, ssente, n’okwenyumiriza, bwe tutyo tusobole ‘okusemberera Yakuwa.’—Yak. 4:8.
TEKINOLOGIYA
3. Waayo ebyokulabirako ebiraga nti tekinologiya asobola okuba ow’omugaso oba ow’akabi.
3 Okwetooloola ensi, abantu bangi bakozesa tekinologiya ow’engeri ezitali zimu. Tekinologiya aba wa mugaso singa tuba tumukozesezza mu ngeri ey’amagezi, naye bwe tumukozesa obubi ayinza okutwawukanya ne Kitaffe ow’omu ggulu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku kompyuta. Kompyuta ze zaakozesebwa mu kuwandiika n’okukuba magazini eno gy’osoma. Kompyuta era zisobola okukozesebwa okunoonyereza ku bintu ebitali bimu, okuwuliziganya n’abalala, era n’okwesanyusaamu. Kyokka oluusi tuyinza okwesanga ng’ebirowoozo byaffe byonna tubimalidde ku kompyuta. Bannabizineesi bakozesa obukujjukujju okuleetera abantu okulowooza nti bateekwa okuba n’ebintu ebiri ku mulembe. Waaliwo omuvubuka omu eyasalawo okutunda emu ku nsigo ze asobola okugula kompyuta eyali ku mulembe gye yali ayagala ennyo. Ng’ekyo omuvubuka oyo kye yakola tekyali kya magezi n’akamu!
4. Kiki ow’oluganda omu kye yakola ekyamuyamba okulekera awo okumalira ebiseera ebingi ku kompyuta?
4 Tetusaanidde kukkiriza tekinologiya kutuleetera kufiirwa nkolagana yaffe ne Yakuwa. Ow’oluganda Jon ow’emyaka 28 yagamba nti yali amalira ebiseera bingi ku kompyuta ne kiba nti yali takyafuna biseera bimala kwesomesa. * Jon yabeeranga ku Intaneeti okutuukira ddala eyo mu matumbi budde. Era yagamba nti gye yakomanga okuba omukoowu, gye kyakomanga okumubeerera ekizibu okulekera awo okusoma n’okuweereza obubaka ku Intaneeti oba okulaba vidiyo, ng’ate oluusi vidiyo ezo tezaabanga nnungi. Okusobola okweggyamu omuze guno omubi, Jon kompyuta ye yagissaako programu, n’eba nga yeggyako yokka ng’essaawa ez’okwebaka zituuse.—Soma Abeefeso 5:15, 16.
5, 6. (a) Abazadde balina buvunaanyizibwa ki eri abaana baabwe? (b) Abazadde bayinza kukola ki okulaba nti abaana baabwe baba n’emikwano emirungi?
5 Abazadde, temulina kulondoola baana bammwe mu buli kye bakola, naye mulina okumanya engeri gye bakozesaamu kompyuta. Temubaleka kugenda ku mikutu gya Intaneeti egiriko eby’obugwenyufu oba eby’obusamize. Era temubaleka kuzannya mizannyo gya kompyuta egirimu ebikolwa eby’obukambwe oba kukolagana n’abantu ababi ku Intaneeti. Bwe munaabaleka okukola ebintu ebyo, olw’okuba temwagala babasumbuwe, bajja kulowooza nti ebintu ebyo si bibi. Abazadde, buvunaanyizibwa bwammwe okulaba nti abaana bammwe beewala ekintu kyonna ekiyinza okubaawukanya ne Yakuwa. N’ensolo zifuba okulaba nti obwana bwazo tebutuukibwako kabi. Lowooza ku ekyo eddubu ekkazi kye liyinza okukola nga waliwo ayagala okutuusa akabi ku baana baalyo!—Geraageranya Koseya 13:8.
6 Yamba abaana bo okukola omukwano ku b’oluganda abato n’abakulu abassaawo ekyokulabirako ekirungi. Ate era kijjukire nti abaana bo beetaaga okubeerako naawe! N’olwekyo, funa ekiseera obeereko nabo, museke, muzannye, mukolere wamu emirimu, era “musemberere Katonda” nga muli wamu. *
EBY’OBULAMU
7. Lwaki ffenna twagala okuba abalamu obulungi?
7 “Owulira otya kati?” Ekibuuzo ekyo kiraga ekizibu abantu bonna kye boolekagana nakyo. Olw’okuba bazadde baffe abaasooka bakkiriza Sitaani okubaawukanya ne Yakuwa, ffenna tulwala. Obulwadde butuukiriza Sitaani ky’ayagala, kubanga bwe tulwala kitubeerera kizibu okuweereza Yakuwa. Ate bwe tufa tuba tetukyasobolera ddala kuweereza Yakuwa. (Zab. 115:17) N’olwekyo, tusaanidde okufuba okulaba nti tuba balamu bulungi. * Era tusaanidde okufaayo ku bulamu bwa baganda baffe.
8, 9. (a) Tuyinza tutya obutagwa lubege ku nsonga z’eby’obulamu? (b) Miganyulo ki egiri mu kuba abasanyufu?
8 Kyokka kikulu nnyo obutagwa lubege ku nsonga z’eby’obulamu. Abamu baagala nnyo okuwa abalala amagezi ku bika by’emmere bye balina okulya, eddagala lye balina okukozesa, n’ebintu ebirala ebikwata ku bujjanjabi. Banyiikivu nnyo mu nsonga eno n’okusinga bwe banyiikirira okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Bayinza okuba nga bakitwala nti baba bayamba abalala. Wadde kiri kityo, tetusaanidde kutunda ddagala oba kwogera ku bya bujjanjabi nga tugenze mu nkuŋŋaana ennene oba entono, ka zibe nga tezinnatandika oba nga ziwedde. Lwaki?
9 Tukuŋŋaana wamu okwogera ku by’omwoyo era n’okweyongera okufuna essanyu, era ng’essanyu eryo kye kimu ku biri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu. (Bag. 5:22) Okuwa abalala amagezi ku bujjanjabi oba ku ddagala nga tuzze mu nkuŋŋaana, ka kibe nti be baba batwebuuzizzaako oba nedda, kiyinza okutuwugula ne tuva ku kiba kituleese, era kiyinza n’okumalako abalala essanyu. (Bar. 14:17) Bwe kituuka ku by’obujjanjabi, buli muntu alina okwesalirawo ku lulwe. Ate era tewali n’omu asobola kumalirawo ddala bulwadde. N’abasawo abasingayo obukugu bakaddiwa, balwala, era bafa. Okweraliikirira ekisukkiridde ku bikwata ku bulamu bwaffe, tekiyinza kwongera ku buwanvu bwa kiseera kya bulamu bwaffe. (Luk. 12:25) Kyokka Bayibuli egamba nti: “Omutima ogujaguza ddagala ddungi.”—Nge. 17:22.
10. (a) Ngeri ki ezisanyusa Yakuwa ze tusaanidde okuba nazo? (b) Ddi lwe tunaaba abalamu obulungi?
10 Kirungi okufaayo ku ndabika yaffe. Naye tetusaanidde kukweka buli kabonero konna ku mubiri gwaffe akalaga nti tugenda tukaddiwa. Bayibuli egamba nti: “Omutwe oguliko envi ngule ya kitiibwa, [bwe] gunaalabikanga mu kkubo ery’obutuukirivu.” (Nge. 16:31) Yakuwa ky’atwala ng’ekikulu kyekyo kye tuli munda, era naffe ekyo kye tusaanidde okutwala ng’ekikulu. (Soma 1 Peetero 3:3, 4.) Kati olwo kiba kya magezi okwewaayo ne tulongoosebwa oba ne tukozesa eddagala eriyinza n’okuteeka obulamu bwaffe mu kabi olw’okwagala obwagazi okusigala nga tulabika bulungi? Ka tubeere nga tuli ba myaka emeka oba nga tuli mu mbeera ki, ‘essanyu lya Yakuwa’ lye litusobozesa okulabika obulungi. (Nek. 8:10) Mu nsi empya tujja kuba balamu bulungi era tujja kuddamu tulabike ng’abavubuka. (Yob. 33:25; Is. 33:24) Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, ka tweyongere okweyisa mu ngeri ey’amagezi era n’okukuuma okukkiriza kwaffe nga kunywevu. Ekyo kijja kutusobozesa okusigala okumpi ne Yakuwa, wadde nga kati twolekagana n’embeera ezitali nnungi.— 1 Tim. 4:8.
SSENTE
11. Ssente ziyinza zitya okutufuukira ekyambika?
11 Ssente si mbi, era si kikyamu kukola bizineesi kasita eba ng’eri mu makubo matuufu. (Mub. 7:12; Luk. 19:12, 13) Kyokka okuba n’omwoyo ‘ogw’okwagala ssente’ kitwawukanya ne Yakuwa. (1 Tim. 6:9, 10) “Okweraliikirira kw’obulamu obw’omu kiseera kino,” oba okweraliikirira ennyo engeri y’okufunamu ebintu bye twetaaga mu bulamu, kiyinza okutukosa mu by’omwoyo. “N’obulimba bw’obugagga,” nga kwe kulowooza nti obugagga buleeta essanyu n’emirembe ebya namaddala, nakyo kiyinza okutukosa mu by’omwoyo. (Mat. 13:22) Yesu yakiraga nti “tewali n’omu” asobola kuweereza Katonda, ate n’aba ng’aweereza n’eby’obugagga.—Mat. 6:24.
12. Makubo ki agatali matuufu abantu ge bayitamu okufuna ssente ez’amangu, era tuyinza tutya okugeewala?
12 Okutwala ssente ng’ekintu ekikulu ennyo kiyinza okutuleetera okukola ebintu ebikyamu. (Nge. 28:20) Okwagala okufuna ssente ez’amangu kuleetedde abamu okwenyigira mu kukuba zzaala. Ab’oluganda abamu bakola bizineesi ze balowooza nti zijja kubawa amagoba mangi mu kiseera kitono, era bakubiriza n’abalala mu kibiina okubeegattako. Ate abalala beewola ssente ku b’oluganda bazisse mu bizineesi nga babasuubiza okuzibaddiza nga babateereddeko amagoba mangi. Weegendereze omululu guleme kukuleetera kufiirwa ssente zo. Kozesa amagezi. Bwe kiba nti ekintu kye bakusuubizza kikulabikira ng’ekitasoboka, ekintu ekyo kyandiba nga ddala tekisoboka.
13. Endowooza Yakuwa gy’alina ku ssente eyawukana etya ku y’ensi?
13 Bwe tukulembeza “obwakabaka n’obutuukirivu bwe,” Yakuwa atuyamba ne tusobola okufuna bye twetaaga mu bulamu. (Mat. 6:33; Bef. 4:28) Tayagala tusumagire nga tuli mu nkuŋŋaana olw’okuba tuba tukooye olw’okukola ennyo, era tayagala tube mu nkuŋŋaana kyokka ng’ebirowoozo byaffe biri ku bya nfuna. Abantu bangi mu nsi leero balowooza nti okwemalira ku kunoonya ssente kijja kubayamba okuba obulungi mu biseera eby’omu maaso. N’abaana baabwe babateekamu endowooza eyo. Kyokka Yesu yakiraga nti endowooza eyo nkyamu. (Soma Lukka 12:15-21.) Ekyo kitujjukiza Gekazi eyalowooza nti yali asobola okululunkanira eby’obugagga, ate mu kiseera kye kimu n’aba ng’akyalina enkolagana ennungi ne Yakuwa.—2 Bassek. 5:20-27.
14, 15. Lwaki tetusaanidde kussa bwesige bwaffe mu ssente? Waayo ekyokulabirako.
14 Kigambibwa nti empungu ezimu zifiira mu mazzi olw’obutata kyannyanja kye ziba zikutte, ekiba kizisukkiridde obuzito. Ekintu ekifaananako bwe kityo kiyinza okutuuka ku Mukristaayo? Ow’oluganda ayitibwa Alex, aweereza ng’omukadde, agamba nti: “Ndi muntu akekkereza ennyo. Bwe ngiwa shampu omungi mu ngalo nga nnaaba mu nviiri, omulala muzzaamu mu kicupa.” Wadde kiri kityo, Alex yasalawo okutandika okugula emigabo mu kampuni ez’enjawulo, ng’alowooza nti mu kiseera kitono yandirekedde awo okukola n’atandika okuweereza nga payoniya. Yamalanga ebiseera bingi ng’anoonyereza ku kampuni ezitunda emigabo era nga yeetegereza ebintu bwe byali bitambula. Yaggyayo ssente ze yali aterese mu banka era ne yeewola n’endala n’agula emigabo mu kampuni ezaali zigambibwa nti zijja kukola amagoba mangi. Eky’ennaku ebintu tebyatambula nga bwe yali asuubira. Alex agamba nti: “Olw’okuba nnali saagala kufiirwa ssente zange, nnasalawo okugumiikiriza nga ndowooza nti emigabo gyandizzeemu okulinnya.”
15 Okumala emyezi mingi, ekintu kyokka Alex kye yali alowoozaako gye migabo gye yali aguze. Kyamuzibuwaliranga okussa ebirowoozo ku bintu eby’omwoyo, era yali takyebaka bulungi. Eky’ennaku bizineesi yagwira ddala. Alex yafiirwa ssente ze, era yalina okutunda ennyumba ye. Agamba nti: “Ab’omu maka gange nnabaleteera ebizibu bingi.” Naye yafuna eky’okuyiga. Yagattako nti: “Kati nkimanyi nti omuntu yenna assa obwesige bwe mu nteekateeka ya Sitaani talina kalungi konna k’ayinza kufuna.” (Nge. 11:28) Bwe tussa obwesige bwaffe mu ssente oba mu bizineesi, essuubi lyaffe tuba tulitadde mu Sitaani, “katonda ow’enteekateeka y’ebintu eno.” (2 Kol. 4:4; 1 Tim. 6:17) Ow’oluganda Alex yakola enkyukakyuka asobole okwongera ku biseera by’amala ng’abuulira ‘amawulire amalungi.’ Agamba nti okukola bw’atyo kimuyambye awamu n’ab’omu maka ge okufuna essanyu era n’okunyweza enkolagana yaabwe ne Yakuwa.—Soma Makko 10:29, 30.
OKWENYUMIRIZA
16. Lwaki tuyinza okugamba nti okwenyumiriza kwonna si kubi, naye kabi ki akali mu kwetwala nti tuli ba waggulu nnyo?
16 Si kibi okwenyumiririza mu bintu ebirungi. Ng’ekyokulabirako, kirungi okwenyumiririza mu kubeera Abajulirwa ba Yakuwa. (Yer. 9:24) Olw’okuba twewa ekitiibwa, tufuba okweyisa obulungi era tunywerera ku mitindo gy’empisa egya waggulu ennyo. Naye okwetwala nti tuli ba waggulu nnyo oba nti tumanyi bingi kiyinza okutwawukanya ne Yakuwa.—Zab. 138:6; Bar. 12:3.
17, 18. (a) Waayo ebyokulabirako okuva mu Bayibuli eby’abantu abaali abeetoowaze n’abo abaali ab’amalala. (b) Ow’oluganda omu yakola ki amalala ne gatamwawukanya na Yakuwa?
17 Bayibuli eyogera ku bantu abaali ab’amalala n’abantu abaali abawombeefu. Kabaka Dawudi yali mwetoowaze era yasabanga Yakuwa amuwe obulagirizi, era Yakuwa yamuwa emikisa mingi. (Zab. 131:1-3) Kyokka Yakuwa yatoowaza Kabaka Nebukadduneeza ne Kabaka Berusazza abaali ab’amalala. (Dan. 4:30-37; 5:22-30) Ebiseera ebimu naffe twolekagana n’embeera eziyinza okutuzibuwalira okuyitamu singa tetuba beetoowaze. Ryan ow’emyaka 32 eyali omuweereza, yava mu kibiina ekimu n’adda mu kirala. Agamba nti: “Nnali ndowooza nti wajja kuyita ekiseera kitono nfuuke omukadde, naye waayita omwaka mulamba nga tewali kibaddewo.” Ekyo Ryan kyandimunyiizizza, ng’akitwala nti abakadde bamuyisizzaamu amaaso? Amalala gandimuleetedde okulekera awo okubeerawo mu nkuŋŋaana, bw’atyo ne yeeyawula ku Yakuwa n’abantu be? Ggwe wandikoze ki?
18 Ryan agamba nti: “Nnasoma mu bitabo byaffe ku muntu ky’asobola okukola nga ky’asuubira kiruddewo.” (Nge. 13:12) “Nnakiraba nti nnali nneetaaga okuyiga okuba omugumiikiriza n’okuba omwetoowaze. Nnali nneetaaga okukkiriza Yakuwa anjigirize.” Ryan ebirowoozo bye yabiggya ku ebyo ye bye yali ayagala n’abissa ku kuweereza abalala mu kibiina n’okubuulira, era yafuna abantu bangi be yayigiriza Bayibuli. Ayongerako nti: “Oluvannyuma lw’omwaka gumu n’ekitundu nnalondebwa okuba omukadde, era kino nnali sikisuubira. Obuweereza bwali bunnyumira nnyo, nga n’eky’okufuuka omukadde sikyakirowoozanako.”—Soma Zabbuli 37:3, 4.
SIGALA KUMPI NE YAKUWA!
19, 20. (a) Tuyinza kukola ki okulaba nti ebintu ebyogeddwako mu kitundu kino n’ekyayita tebitwawukanya na Yakuwa? (b) Bantu ki abaasigala okumpi ne Yakuwa be tusobola okukoppa?
19 Ebintu byonna ebyogeddwako mu kitundu kino n’ekyayita si bibi. Twenyumiririza mu kubeera abaweereza ba Yakuwa. Amaka amalungi n’okuba abalamu obulungi bye bimu ku birabo ebirungi ennyo ebiva eri Yakuwa. Tukimanyi nti bwe tuba n’omulimu era n’essente tusobola okwetuusaako bye twetaaga mu bulamu. Tukimanyi nti okwesanyusaamu kulungi era nti ne tekinologiya wa mugaso. Naye bwe tukola ekintu kyonna mu kiseera ekikyamu oba ne tukimalirako ebiseera bingi oba ne kitulemesa okusinza Yakuwa nga bwe tugwanidde, ekintu ekyo kisobola okutwawukanya ne Yakuwa.
Tokkiriza kintu kyonna kukwawukanya ne Yakuwa!
20 Ekyo Sitaani ky’ayagala. Naye olina ky’osobola okukolawo ekyo n’ekitakutuukako ggwe awamu n’ab’omu maka go. (Nge. 22:3) Semberera Yakuwa, era sigala kumpi naye. Tulina ebyokulabirako bingi mu Bayibuli bye tusobola okukoppa. Enoka ne Nuuwa ‘baatambula ne Katonda ow’amazima.’ (Lub. 5:22; 6:9) Musa “yeeyongera okuba omunywevu ng’alinga alaba Oyo atalabika.” (Beb. 11:27) Yesu yakolanga ebisanyusa Kitaawe ow’omu ggulu, era Katonda yamuyambanga. (Yok. 8:29) Koppa abantu ng’abo. ‘Sanyukanga bulijjo. Sabanga bulijjo. Weebazenga mu buli kintu.’ (1 Bas. 5:16-18) Era tokkiriza kintu kyonna kukwawukanya ne Yakuwa!