OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Febwali 2014

Magazini eno eyogera ku bintu ebisanyusa ebiri mu Zabbuli 45. Era eraga nti Yakuwa Katonda Mugabi, Mukuumi, era Mukwano gwaffe asingayo.

Tendereza Kristo—Kabaka Ow’Ekitiibwa!

Ebintu ebyogerwako mu Zabbuli 45 birina makulu ki gye tuli leero?

Sanyuka olw’Embaga ey’Omwana gw’Endiga!

Ku mbaga y’Omwana gw’Endiga, omugole omukazi yaani, era Kristo amuteeseteese atya? Baani abajja okusanyuka olw’embaga eyo?

Nnamwandu w’e Zalefaasi Yafuna Emikisa olw’Okwoleka Okukkiriza

Okuzuukira kwa mutabani we kye kimu ku bintu ebyasinga okunyweza okukkiriza kwe. Biki bye tuyigira ku nnamwandu oyo?

Yakuwa—Mugabi era Mukuumi

Kirage nti osiima Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu. Laba engeri gy’oyinza okunywezaamu enkolagana yo ne Katonda waffe Omugabi era Omukuumi.

Yakuwa—Mukwano Gwaffe Asingayo

Laba ebikwata ku Ibulayimu ne Gidiyoni, abaali mikwano gya Yakuwa. Kiki kye tulina okukola okusobola okuba mikwano gya Yakuwa?

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Lwaki Abayudaaya abaaliwo mu kyasa ekyasooka baali “basuubira” okujja kwa Masiya?

‘Tunuulira Obulungi bwa Yakuwa’

Kabaka Dawudi owa Isiraeri yasanyukiranga nnyo okusinza okw’amazima. Tuyinza tutya okusanyukira okusinza okw’amazima leero?

OKUVA MU TTEREKERO LYAFFE

Yanyweza Okukkiriza Kwabwe Emyaka 100 Emabega

Kati giweze emyaka 100 bukya firimu ya “Photo-Drama of Creation” efulumizibwa. Firimu eyo yategekebwa okuyamba abantu okukkiririza mu Kigambo kya Katonda.