Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Lwaki Abayudaaya abaaliwo mu kyasa ekyasooka baali “basuubira” okujja kwa Masiya?

Mu kiseera kya Yokaana Omubatiza, “abantu baali basuubira okujja kwa Kristo era nga beebuuza mu mitima gyabwe ebikwata ku Yokaana nti: ‘Yandiba nga ye Kristo?’” (Luk. 3:15) Lwaki Abayudaaya baali basuubira okujja kwa Masiya mu kiseera ekyo? Waliwo ensonga nnyingi ezaabaleetera okumusuubira.

Yesu bwe yazaalibwa, malayika wa Yakuwa yalabikira abasumba abaali bakuuma ebisibo byabwe okumpi ne Besirekemu. Malayika oyo yabagamba nti: “Leero Omulokozi, Kristo Mukama waffe, azaaliddwa mu kibuga kya Dawudi.” (Luk. 2:8-11) Oluvannyuma lw’ekyo, “wajjawo bamalayika abalala bangi ab’omu ggye ery’omu ggulu nga batendereza Katonda, era nga bagamba nti: * ‘Ekitiibwa kibeere eri Katonda mu ggulu, n’emirembe gibeere ku nsi mu bantu Katonda b’asiima.’”Luk. 2:13, 14.

Ebyo bamalayika bye baagamba abasumba abo byabakwatako nnyo. Baasitukiramu ne bagenda e Besirekemu. Bwe baatuukayo ne balaba Yusufu, Maliyamu, awamu ne Yesu, ‘baayoogera ebyo ebyali bibategeezeddwa ebikwata ku mwana.’ N’ekyavaamu, ‘bonna abaawulira beewuunya ebintu abasumba bye baabagamba.’ (Luk. 2:17, 18) Ebigambo “bonna abaawulira” biraga nti abasumba tebaayogera na Yusufu na Maliyamu bokka. Oluvannyuma, abasumba abo bwe baali baddayo ewaabwe, ‘baagulumiza Katonda era ne bamutendereza olw’ebyo byonna bye baawulira ne bye baalaba nga bwe byali bibategeezeddwa.’ (Luk. 2:20) Tewali kubuusabuusa nti abasumba abo baagenda babuulira abantu abalala ebintu ebirungi ebikwata ku Kristo bye baali bawulidde.

Maliyamu bwe yatwala mutabani we oyo omuggulanda mu Yerusaalemi okumuwaayo eri Yakuwa, ng’Amateeka ga Musa bwe gaali galagira, nnabbi omukazi Ana yatandika “okwebaza Katonda, era n’ayogera ebikwata ku mwana eri abo bonna abaali balindirira okununulibwa kwa Yerusaalemi.” (Luk. 2:36-38; Kuv. 13:12) Bwe kityo, amawulire agakwata ku kulabika kwa Masiya geeyongera okusaasaana.

Nga wayise ekiseera, “abalaguzisa emmunyeenye [baava] ebuvanjuba ne bajja e Yerusaalemi, ne babuuza nti: ‘Kabaka w’Abayudaaya eyazaaliddwa ali ludda wa? Kubanga twalabye emmunyeenye ye nga tuli ebuvanjuba era tuzze okumuvunnamira.’” (Mat. 2:1, 2) Ekyo “Kabaka Kerode bwe yakiwulira [yatya], era n’ab’omu Yerusaalemi bonna ne batya; n’akuŋŋaanya bakabona abakulu bonna n’abawandiisi b’abantu, n’ababuuza Kristo gye yali ow’okuzaalirwa.” (Mat. 2:3, 4) Ekyo kyaleetera n’abantu abalala bangi okukimanya nti oyo eyandibadde Masiya yali azze. *

Ebyo bye tusoma mu Lukka 3:15 biraga nti Abayudaaya abamu baali balowooza nti Yokaana Omubatiza ye yali Kristo. Kyokka Yokaana yakiraga nti si ye yali Kristo bwe yagamba nti: “Anvaako ennyuma ansinga obuyinza, sisaanira na kumuggyamu ngatto. Oyo ajja kubabatiza n’omwoyo omutukuvu n’omuliro.” (Mat. 3:11) Ebigambo bya Yokaana ebyo byaleetera abantu okweyongera okusuubira okujja kwa Masiya.

Kyandiba nti Abayudaaya abaaliwo mu kyasa ekyasooka baabalirira ekiseera eky’okujja kwa Masiya nga basinziira ku bunnabbi obwa wiiki 70 ezoogerwako mu Danyeri 9:24-27? Ekyo bayinza okuba nga baakikola wadde nga tewali bukakafu bulaga nti baakikola. Ekituufu kiri nti mu kiseera kya Yesu, obunnabbi obukwata ku wiiki 70 bwannyonnyolwanga mu ngeri za njawulo, era tewali n’emu ku nnyinnyonnyola ezo ekwatagana n’engeri gye tutegeeramu obunnabbi obwo leero. *

Abeesene, nga kano kaali kabinja akamu ak’eddiini akaalimu Abayudaaya abaabeeranga mu ddungu, baayigirizanga nti emyaka 490 bwe gyandibadde ginaatera okuggwaako Bamasiya babiri bandirabise. Naye tetumanyi obanga okubalirira okwo Abeesene baakwesigamya ku bunnabbi bwa Danyeri. Ka kibe nti okubalirira okwo baali bakwesigamizza ku bunnabbi bwa Danyeri, kizibu okukkiriza nti Abayudaaya okutwalira awamu baali bayinza okukkiririza mu mbalirira y’abantu abo abaali beeyawudde ku Bayudaaya abalala.

Mu kyasa eky’okubiri E.E., Abayudaaya abamu baali balowooza nti wiiki 70 zaatandika nga yeekaalu eyasooka ezikiriziddwa mu mwaka gwa 607 E.E.T. ne ziggwaako nga yeekaalu ey’okubiri ezikiriziddwa mu mwaka gwa 70 E.E. Ate abalala baali balowooza nti obunnabbi obwo bwatuukirira mu kiseera kya Bamakabiizi mu kyasa eky’okubiri E.E.T. N’olwekyo, Abayudaaya baali tebakkiriziganya ku ngeri wiiki 70 gye zaalina okubalibwamu.

Singa abatume n’Abakristaayo abalala abaaliwo mu kyasa ekyasooka baali bategeera bulungi obunnabbi obukwata ku wiiki 70, bandibadde babwogerako ng’obukakafu obulaga nti Yesu Kristo ye yali Masiya era nti yajjira mu kiseera ekituufu. Naye tewali bukakafu bulaga nti ekyo Abakristaayo abaasooka baakikola.

Waliwo n’ekintu ekirala kye tusaanidde okulowoozaako. Abawandiisi b’Enjiri baakiraga nti obunnabbi bungi obuli mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya bwatuukirira ku Yesu. (Mat. 1:22, 23; 2:13-15; 4:13-16) Naye tewali n’omu ku bo yalaga nti obunnabbi bwa wiiki 70 bwatuukirira ku Yesu Kristo.

Okuwumbawumbako: Tetulina bukakafu bulaga nti abantu abaaliwo mu kiseera kya Yesu baali bategeera bulungi obunnabbi obukwata ku wiiki 70. Kyokka, ebyo bye tusoma mu bitabo by’Enjiri biraga nti waliwo ebintu bingi ebiyinza okuba nga byaleetera Abayudaaya ‘okusuubira’ okujja kwa Masiya.

^ lup. 4 Bayibuli tegamba nti bamalayika “baayimba” nga Yesu azaaliddwa.

^ lup. 7 Tuyinza okwebuuza, Lwaki abalaguzisa “emmunyeenye” baakwataganya emmunyeenye gye baalaba n’okuzaalibwa kwa “Kabaka w’Abayudaaya”? Kyandiba nti baawulira amawulire agakwata ku kuzaalibwa kwa Yesu nga bayita mu Isiraeri?

^ lup. 9 Okumanya ebisingawo ebikwata ku ngeri gye tutegeeramu obunnabbi obukwata ku wiiki 70, laba akatabo Ssaayo Omwoyo ku Bunnabbi bwa Danyeri! essuula 11.