Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Engeri Gye Tuyinza Okwoleka Omwoyo ogw’Okwefiiriza

Engeri Gye Tuyinza Okwoleka Omwoyo ogw’Okwefiiriza

“Omuntu yenna bw’ayagala okungoberera, alekere awo okwetwala yekka.”MAT. 16:24.

1. Yesu yateekawo atya ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza?

YESU bwe yali ku nsi, yateekawo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza. Yakulembezanga ebyo Katonda by’ayagala mu kifo ky’okukulembeza ebyo ye by’ayagala. (Yok. 5:30) Mu butuufu, Yesu okusigala nga mwesigwa okutuukira ddala okufa kyalaga nti yalina omwoyo ogw’okwefiiriza.Baf. 2:8.

2. Kiki ekinaatuyamba okwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza, era lwaki tusaanidde okwoleka omwoyo ogwo?

2 Ng’abagoberezi ba Yesu, naffe tusaanidde okwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza. Kitegeeza ki okwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza? Kitegeeza okwerekereza ebyo ffe bye twagala tusobole okuyamba abalala. Omuntu alina omwoyo ogw’okwefiiriza teyeefaako yekka. (Soma Matayo 16:24.) Okuba n’omwoyo ogw’okwefiiriza kituyamba okukulembeza ebyo abalala bye baagala mu kifo ky’okukulembeza ebyo ffe bye twagala. (Baf. 2:3, 4) Yesu yakiraga nti Abakristaayo ab’amazima balina okwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza. Naye kiki ekiyinza okutuyamba okwoleka omwoyo ogwo? Okwagala kwe kutukubiriza okwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza. Okwagala okwo kwe kwawulawo Abakristaayo ab’amazima. (Yok. 13:34, 35) Lowooza ku mikisa gye tufunye olw’okubeera mu kibiina Ekikristaayo omuli abantu abooleka omwoyo ogw’okwefiiriza!

3. Kiki ekiyinza okutulemesa okwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza?

3 Kyokka waliwo omulabe ayinza okutulemesa okwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza. Omulabe oyo gwe mwoyo ogw’okwefaako ffekka. Lowooza ku ngeri Adamu ne Kaawa gye baakiraga nti baalina omwoyo ogw’okwefaako bokka. Kaawa yayagala okuba nga Katonda. Ate Adamu yasalawo okusanyusa mukyala we mu kifo ky’okusanyusa Katonda. (Lub. 3:5, 6) Oluvannyuma lw’okuggya Adamu ne Kaawa ku Katonda, Omulyolyomi yeeyongera okuleetera abantu okuba n’omwoyo ogw’okwefaako bokka. Omulyolyomi yagezaako n’okuleetera Yesu okwoleka omwoyo ogwo. (Mat. 4:1-9) Leero, Sitaani aleetedde abantu bangi okuba n’omwoyo ogw’okwefaako bokka. Singa tetuba beegendereza, naffe tuyinza okwesanga ng’omwoyo ogwo gututwalirizza.Bef. 2:2.

4. (a) Tusobola okweggiramu ddala omwoyo ogw’okwefaako ffekka? Nnyonnyola. (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

4 Omwoyo ogw’okwefaako guyinza okugeraageranyizibwa ku butalagge. Ekyuma kiyinza okutandiikiriza mpolampola okutalagga. Singa ekyuma ekyo kiragajjalirwa, kiyinza okweyongera okutalagga okutuusa lwe kyonoonekera ddala. Mu ngeri y’emu, olw’okuba tetutuukiridde tetusobola kweggiramu ddala mwoyo ogw’okwefaako ffekka. Wadde kiri kityo, tulina okweyongera okulwanyisa omwoyo ogwo. Bwe tutakola tutyo, tuyinza okwesanga nga tetukyalina mwoyo ogw’okwefiiriza. (1 Kol. 9:26, 27) Kiki ekiyinza okulaga nti tutandise okufuna omwoyo ogw’okwefaako ffekka? Era tuyinza tutya okweyongera okukulaakulanya omwoyo ogw’okwefiiriza?

KOZESA BAYIBULI OKWEKEBERA

5. (a) Lwaki Bayibuli egeraageranyizibwa ku ndabirwamu? (Laba ekifaananyi ku lupapula 7.) (b) Bwe tuba twekebera, kiki kye tusaanidde okwewala?

5 Nga bwe tusobola okukozesa endabirwamu okutegeera engeri gye tulabikamu, tusobola okukozesa Bayibuli okutegeera ekyo kyennyini kye tuli munda ne kituyamba okutereeza ekyo ekiba kitateredde. (Soma Yakobo 1:22-25.) Kyokka endabirwamu bw’eba ey’okutuyamba, tulina okugikozesa mu ngeri entuufu. Ng’ekyokulabirako, bwe tutunula mu ndabirwamu naye ne tutatwala budde kwetegereza bwe tufaanana, tuyinza obutalaba wa we tusaanidde kutereeza. Oba singa tutunula mu ndabirwamu naye ne twetegereza ebintu ebirala ebitali ku ffe, ekyo nakyo kiyinza obutatuyamba kulaba we tusaanidde kutereeza. Mu ngeri y’emu, Bayibuli bw’eba ey’okutuyamba okumanya obanga tulina omwoyo ogw’okwefaako ffekka, tetusaanidde kugisoma nga twanguyiriza oba nga tunoonya kulaba nsobi z’abalala.

6. Tuyinza tutya ‘okunyiikirira’ amateeka agaatuukirira?

6 Tuyinza okuba nga tusoma Bayibuli buli lunaku naye nga tetukiraba nti omwoyo ogw’okwefaako ffekka gutandise okutusensera. Ekyo kisoboka kitya? Lowooza ku kino: Mu kyokulabirako ekikwata ku kukozesa endabirwamu Yakobo kye yayogerako, teyagamba nti omuntu oyo teyafuba kwetegereza bw’afaanana. Yakobo yagamba nti omuntu oyo “yeeraba.” Ekigambo ky’Oluyonaani Yakobo kye yakozesa kirina amakulu ag’okwetegereza obulungi. Kati olwo buzibu ki omuntu oyo bwe yalina? Yakobo yagamba nti omuntu oyo “[y]agenda, era amangu ago ne yeerabira bw’afaanana.” Oluvannyuma lw’okweraba mu ndabirwamu, omuntu oyo teyafaayo kutereeza ekyo kye yalina okutereeza. Ku luuyi olulala, Yakobo yagamba nti omuntu omusanyufu y’oyo “eyeetegereza amateeka agaatuukirira” era “n’aganyiikiriramu.” Mu kifo ky’okwerabira amateeka agaatuukirira agali mu Kigambo kya Katonda, “aganyiikiriramu,” kwe kugamba, afuba okugakolerako. Yesu naye yagamba nti: “Bwe musigala mu kigambo kyange, muba bayigirizwa bange ddala.”Yok. 8:31.

7. Tuyinza tutya okukozesa Bayibuli okwekebera?

7 Okusobola okwewala omwoyo ogw’okwefaako wekka, olina okusooka okusoma Ekigambo kya Katonda n’obwegendereza. Ekyo kiyinza okukuyamba okulaba wa w’olina okutereeza. Naye waliwo n’ekintu ekirala ky’olina okukola. Fuba okunoonyereza ku bintu by’osoma. Bw’oba osoma Bayibuli, gezaako okweteeka mu bigere by’abo aboogerwako. Weebuuze ebibuuzo nga bino: ‘Kiki kye nnandikoze mu mbeera eno? Ddala nnandisobodde okusalawo mu ngeri ey’amagezi?’ N’ekisinga obukulu, oluvannyuma lw’okufumiitiriza ku ebyo by’oba osomye, fuba okubikolerako. (Mat. 7:24, 25) Kati ka tulabe engeri ebyo bye tusoma ku Kabaka Sawulo ne ku mutume Peetero gye biyinza okutuyamba okuba n’omwoyo ogw’okwefiiriza.

BYE TUSOMA KU SAWULO BITUYIGIRIZA KI?

8. Ngeri ki ennungi Sawulo gye yayoleka bwe yali yaakatandika okufuga nga kabaka, era yagyoleka atya?

8 Ebyo bye tusoma ku Kabaka Sawulo owa Isiraeri bituyamba okulaba engeri omwoyo ogw’okwefaako ffekka gye guyinza okutulemesa okwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza. Sawulo we yatandikira okufuga nga kabaka, yali musajja mwetoowaze. (1 Sam. 9:21) Sawulo teyabonereza Baisiraeri abaali boogera obubi ku bufuzi bwe wadde ng’ekyo yali asobola okukikola okuva bwe kiri nti Yakuwa ye yali amulonze okuba kabaka. (1 Sam. 10:27) Kabaka Sawulo yakolera ku bulagirizi bw’omwoyo gwa Yakuwa n’akulembera Abaisiraeri okulwanyisa Abaamoni. Oluvannyuma lw’Abaisiraeri okuwangula Abaamoni, Sawulo yalaga nti Yakuwa ye yali abasobozesezza okutuuka ku buwanguzi obwo.1 Sam. 11:6, 11-13.

9. Kiki ekyaleetera Sawulo okutandika okwefaako yekka?

9 Kyokka oluvannyuma, Sawulo yafuna amalala era n’atandika okwefaako yekka. Bwe yawangula Abamaleki, yakulembeza ebyo bye yali ayagala mu kifo ky’okugondera Yakuwa. Sawulo yasalawo okutwala ebintu ebyali biggiddwa mu lutalo mu kifo ky’okubizikiriza nga Katonda bwe yali amugambye okukola. Ate era amalala gaaleetera Sawulo okwezimbira ekijjukizo. (1 Sam. 15:3, 9, 12) Nnabbi Samwiri bwe yamugamba nti ekyo kye yali akoze kyali kinyiizizza Yakuwa, Sawulo yatandika okwewolereza ng’alaga nti yali agondedde Yakuwa wadde nga yali takoze byonna Yakuwa bye yali amugambye. (1 Sam. 15:16-21) Okugatta ku ekyo, amalala gaaleetera Sawulo okwagala okufuna ekitiibwa ekiva eri abantu mu kifo ky’okusiimibwa mu maaso ga Katonda. (1 Sam. 15:30) Ebyo bye tusoma ku Sawulo biyinza bitya okutuyamba okusigala nga tulina omwoyo ogw’okwefiiriza?

10, 11. (a) Ebyo bye tusoma ku Sawulo bituyigiriza ki? (b) Tuyinza tutya okwewala okuba nga Sawulo?

10 Ekisooka, ebyo bye tusoma ku Sawulo bituyigiriza nti tetusaanidde kwekakasa kisukkiridde. Eky’okuba nti twoleka omwoyo ogw’okwefiiriza tekitegeeza nti tetwetaaga kwongera kufuba kugwoleka. (1 Tim. 4:10) Kijjukire nti mu kusooka Sawulo yali asiimibwa mu maaso ga Katonda. Naye olw’okuba teyafuba kweggyamu mwoyo ogw’okwefaako yekka, yajeemera Yakuwa bw’atyo n’afiirwa enkolagana ennungi gye yalina naye.

11 Eky’okubiri, tusaanidde okwewala okussa essira ku ebyo byokka bye tukola obulungi ate ne tubuusa amaaso ebyo bye twetaaga okutereezaamu. Bwe tukola tutyo, tuba ng’omuntu akwata endabirwamu okwetegereza olugoye olupya lw’ayambadde kyokka n’atafaayo kulaba bujonjo obuli mu maaso ge. Wadde nga tuyinza obutaba nga Sawulo eyalina amalala era nga yeefaako yekka, tusaanidde okwewala okweyisa nga ye mu ngeri yonna. Bwe tuwabulwa, tetusaanidde kwewolereza oba kugezaako kunenya balala olw’ensobi zaffe. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okukkiriza okuwabulwa.Soma Zabbuli 141:5.

12. Okuba n’omwoyo ogw’okwefiiriza kiyinza kitya okutuyamba nga tukoze ekibi eky’amaanyi?

12 Watya singa tukola ekibi eky’amaanyi? Sawulo yatya okuswala mu maaso g’abantu, ekyo ne kimulemesa okutereeza enkolagana ye ne Yakuwa. Obutafaananako Sawulo, bwe tuba n’omwoyo ogw’okwefiiriza tetujja kukkiriza kuswala kutulemesa kufuna buyambi obwetaagisa. (Nge. 28:13; Yak. 5:14-16) Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda omu yatandika okulaba ebifaananyi eby’obuseegu nga wa myaka 12, era yamala emyaka egisukka mu kkumi ng’abiraba. Agamba nti: “Tekyannyanguyira kubuulira mukyala wange n’abakadde ekyo kye nnali nkola. Naye okuva lwe nnababuulira, nnawulira nga nninga omuntu gwe batikkudde omugugu omuzito. Bwe nnaggibwako enkizo ey’okuweereza ng’omuweereza mu kibiina, abamu ku mikwano gyange mu kibiina baawulira bubi era baawulira ng’eyali abaliddemu olukwe. Naye nkimanyi nti kati Yakuwa asiima obuweereza bwange okusinga luli bwe nnali nga nkyalaba ebifaananyi eby’obuseegu, era ekyo kye ntwala ng’ekisinga obukulu.”

EKYOKULABIRAKO EKIRUNGI PEETERO KYE YATEEKAWO

13, 14. Peetero yayoleka atya omwoyo ogw’okwefaako yekka?

13 Emirundi mingi omutume Peetero yakiraga nti yalina omwoyo ogw’okwefiiriza. (Luk. 5:3-11) Wadde kyali kityo, ebiseera ebimu yayoleka omwoyo ogw’okwefaako yekka. Ng’ekyokulabirako, lumu Peetero yanyiiga ng’omutume Yakobo ne Yokaana basabye Yesu abawe ebifo eby’oku mwanjo mu Bwakabaka bwa Katonda. Oboolyawo Peetero ayinza okuba nga yali alowooza nti ekimu ku bifo ebyo kyali kirina kuba kikye okuva bwe kiri nti Yesu yali amusuubizza okumuwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. (Mat. 16:18, 19) Yesu yakubiriza Yakobo, Yokaana, Peetero, n’abatume abalala okwewala ‘okukajjala’ ku bakkiriza bannaabwe.Mak. 10:35-45.

14 N’oluvannyuma lwa Yesu okutereeza endowooza ya Peetero, Peetero era yayoleka omwoyo ogw’okwefaako yekka. Yesu bwe yagamba abatume nti bandimwabulidde okumala akaseera, Peetero yafeebya banne ng’agamba nti: “Abalala bonna ne bwe baneesittala olw’ekyo ekigenda okukutuukako, nze sijja kwesittala.” (Mat. 26:31-33) Peetero yeekakasa ekisukkiridde era mu kiro ekyo kyennyini yalemererwa okwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza. Olw’okwagala okwetaasa, yeegaana Yesu emirundi esatu.Mat. 26:69-75.

15. Kiki kye tuyinza okuyigira ku Peetero?

15 Wadde ng’ebiseera ebimu Peetero yalemererwanga okwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza, waliwo ebintu bingi bye tusobola okumuyigirako. Olw’okuba yafuba nnyo era n’ayambibwako omwoyo omutukuvu, Peetero yasobola okweggyamu omwoyo ogw’okwefaako yekka n’asobola okwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza. (Bag. 5:22, 23) Alina ebigezo bingi eby’amaanyi bye yasobola okugumira, oboolyawo mu kusooka by’atandisobodde kugumira. Ng’ekyokulabirako, Pawulo bwe yamukangavvula mu lujjudde, Peetero yayoleka obwetoowaze. (Bag. 2:11-14) Oluvannyuma lw’okukangavvulwa, Peetero teyasibira Pawulo kiruyi ng’akitwala nti Pawulo yali amuweebudde. Peetero yeeyongera okutwala Pawulo nga mukwano gwe. (2 Peet. 3:15) Ekyokulabirako Peetero kye yateekawo kisobola okutuyamba okwongera okwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza.

Peetero yeeyisa atya ng’awabuddwa, era tuyinza tutya okumukoppa? (Laba akatundu 15)

16. Tuyinza tutya okwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza nga tuli mu mbeera enzibu?

16 Weeyisa otya ng’oli mu mbeera enzibu? Kijjukire nti Peetero n’abatume abalala bwe baasibibwa era ne bakubibwa emiggo olw’okubuulira, baasanyuka “kubanga Katonda yalaba nga baasaanira okuweebuulwa olw’erinnya lya Yesu.” (Bik. 5:41) Okufaananako Peetero, naawe bw’oyolekagana n’okuyigganyizibwa osobola okugutwala ng’omukisa gw’oba ofunye okukoppa Yesu ng’oyoleka omwoyo ogw’okwefiiriza. (Soma 1 Peetero 2:20, 21.) Ate era endowooza ng’eyo ennuŋŋamu esobola n’okukuyamba singa okangavvulwa oba singa owabulwa. Mu kifo ky’okunyiiga, kirage nti okoppa omutume Peetero.Mub. 7:9.

17, 18. (a) Bwe kituuka ku biruubirirwa eby’omwoyo bye tweteerawo, bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza? (b) Bwe tukiraba nti tulinamu omwoyo ogw’okwefaako ffekka, kiki kye tusaanidde okukola?

17 Ekyokulabirako Peetero kye yateekawo kisobola okukuyamba ne bwe kituuka ku kweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo. Bw’oba olina enkizo yonna gy’oluubirira mu kibiina, osaanidde okwewala omwoyo ogw’okwefaako wekka. Osaanidde okwewala okuluubirira enkizo olw’okwagala okwefunira ettutumu. Kirungi okwebuuza, ‘Lwaki njagala okugaziya ku buweereza bwange oba okufuna enkizo mu kibiina? Kyandiba nti njagala abalala bantendereze oba njagala kwefunira buyinza nga Yakobo ne Yokaana bwe baali baagala?’

18 Singa okiraba nti olinamu omwoyo ogw’okwefaako wekka, saba Yakuwa akuyambe okutereeza endowooza yo era ofube okukola ebintu byonna olw’okumuweesa ekitiibwa. (Zab. 86:11) Osobola okweteerawo ebiruubirirwa gamba ng’okufuba okwoleka engeri eziri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu. Ate bwe kiba nti ofuba okutegeka obulungi ebitundu by’okubiriza mu nkuŋŋaana naye nga toyagala kuyonja Kizimbe ky’Obwakabaka, oyinza okweteerawo ekiruubirirwa eky’okukolera ku magezi agali mu Abaruumi 12:16.Soma.

19. Bwe tukozesa Ekigambo kya Katonda okwekebera era ne tukiraba nti tulina obunafu, kiki ekiyinza okutuyamba obutaggwaamu maanyi?

19 Bwe tukozesa Ekigambo kya Katonda okwekebera era ne tukiraba nti tulina obunafu, gamba ng’omwoyo ogw’okwefaako ffekka, ekyo kiyinza okutumalamu amaanyi. Bwe weesanga mu mbeera ng’eyo, lowooza ku muntu Yakobo gwe yayogerako. Yakobo teyatubuulira kiseera kyenkana wa ekyayitawo omuntu oyo okusobola okutereeza ebintu bye yali alina okutereeza era teyalaga obanga byonna yasobola okubitereeza; wabula, yagamba nti omuntu oyo ‘yanyiikirira amateeka agaatuukirira.’ (Yak. 1:25) Omuntu oyo yajjukira ebintu bye yali alabye mu ndabirwamu era n’afuba okutereeza ebyali bisobye. N’olwekyo, kijjukirenga nti ffenna tetutuukiridde era nti ffenna tulina obunafu obutali bumu. (Soma Omubuulizi 7:20.) Weeyongere okwetegereza amateeka agaatuukirira era ofube okwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza. Bw’onookola bw’otyo, Yakuwa ajja kukuyamba nga bw’ayambye bakkiriza banno abalala abatatuukiridde, era ajja kukuwa emikisa mingi.