Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Eky’Okuba nti Yakuwa Atwetegereza Okitwala Otya?

Eky’Okuba nti Yakuwa Atwetegereza Okitwala Otya?

“Amaaso ga Yakuwa gaba buli wamu nga geetegereza ababi n’abalungi.”NGE. 15:3, NW.

1, 2. Engeri Yakuwa gy’atwetegerezaamu eyawukana etya ku ngeri ab’obuyinza gye beetegerezaamu abantu nga bakozesa kamera?

LEERO mu nsi nnyingi, ab’obuyinza bateeka kamera mu bifo ebitali bimu basobole okwetegereza entambula y’ebidduka n’obubenje obuba buguddewo. Singa wabaawo akabenje, oyo ali mu nsobi n’adduka, ebifaananyi kamera ezo bye ziba zikutte bisobola okuyamba ab’obuyinza okukwata omuntu oyo. Mu butuufu, kamera ng’ezo ziyambye nnyo ab’obuyinza okukwata abamenyi b’amateeka.

2 Bwe tulowooza ku ngeri kamera ezo gye zikozesebwamu kiyinza okutuleetera okulowooza ku Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa. Bayibuli egamba nti amaaso ga Yakuwa “gaba mu buli kifo.” (Nge. 15:3) Naye ekyo kitegeeza nti buli kiseera Yakuwa aba atwetegereza okulaba obanga tumenya amateeka ge, asobole okutubonereza? (Yer. 16:17; Beb. 4:13) Nedda! Yakuwa atwetegereza olw’okuba atwagala era atufaako.1 Peet. 3:12.

3. Bintu ki ebitaano bye tugenda okwetegereza ebiraga nti Yakuwa atwagala?

3 Biki ebiyinza okutuyamba okukiraba nti Yakuwa bw’atwetegereza aba akikola lwa kuba atwagala? Ka twetegerezeeyo ebintu bitaano. (1) Atulabula nga tetunnakola kibi, (2) atutereeza nga tukutte ekkubo ekkyamu, (3) atuwa obulagirizi ng’ayitira mu misingi egiri mu Kigambo kye, (4) atuyamba nga twolekagana n’ebizibu, era (5) atuwa emikisa bwe tufuba okukola ekituufu.

YAKUWA ATULABULA

4. Lwaki Yakuwa yalabula Kayini nga tannakola kibi?

4 Ka tusooka tulabe engeri Yakuwa gy’atulabulamu nga tetunnakola kibi. (1 Byom. 28:9) Lowooza ku ekyo ekyaliwo Kayini bwe ‘yasunguwala ennyo’ nga Yakuwa akiraze nti tamusiimye. (Soma Olubereberye 4:3-7.) Yakuwa yalabula Kayini nti singa takyusaamu n’akola ekituufu yandikoze ekibi. Ekibi kyali ‘ng’ekitudde ku luggi’ nga kirinze okumukwata. Katonda yabuuza Kayini nti: ‘Onoosobola okukifuga?’ Yakuwa yali ayagala Kayini akolere ku kulabula okwo asobole okuddamu okusiimibwa mu maaso ge. Okukolera ku kulabula okwo kyandiyambye Kayini okusigala ng’alina enkolagana ennungi ne Katonda.

5. Yakuwa atulabula atya?

5 Ate ffe? Yakuwa asobola bulungi okumanya ekyo ekiri mu mutima gwaffe era tetusobola kukimukweka. Kitaffe ow’omu ggulu ayagala tugoberere ekkubo ery’obutuukirivu; kyokka tatukaka kuleka makubo gaffe amabi. N’olwekyo, bw’alaba nga tutandise okukwata ekkubo ekkyamu, atulabula. Bwe tusoma Bayibuli buli lunaku, bwe tusoma ebitabo byaffe, oba bwe tubaawo mu nkuŋŋaana, tuba tusobola okuwulira Yakuwa ng’atulabula. Wali osomyeko ekintu mu Bayibuli oba mu bitabo byaffe oba wali owuliddeko ekintu kyonna mu nkuŋŋaana, ne kikuyamba okuvvuunuka ekizibu kye walina naye nga Yakuwa yekka ye yali akimanyi? Ekyo kiraga nti Yakuwa atwetegereza era n’atulabula mu kiseera ekituufu.

6, 7. (a) Kiki ekiraga nti Yakuwa afaayo ku baweereza be kinnoomu? (b) Tuyinza tutya okuganyulwa mu kulabula Yakuwa kw’atuwa?

6 Okulabula kwonna Yakuwa kw’atuwa okuyitira mu Bayibuli kulaga nti afaayo ku baweereza be kinnoomu. Kyo kituufu nti Bayibuli, ebitabo byaffe, awamu n’enkuŋŋaana zaffe biganyula abantu bonna. Kyokka Yakuwa ayagala buli omu ku ffe akolere ku ebyo ebiri mu Kigambo kye kimuyambe okukola ekituufu. Ekyo kiraga nti Yakuwa atufaako kinnoomu.

Omuntu waffe ow’omunda atendekeddwa Bayibuli atuyamba okwewala emitawaana (Laba akatundu 6, 7)

7 Okusobola okuganyulwa mu kulabula Katonda kw’atuwa, tulina okusooka okukitegeera nti atufaako nnyo. Ate era tulina okukolera ku ebyo ebiri mu Kigambo kye, nga tufuba okweggyamu endowooza yonna etemusanyusa. (Soma Isaaya 55:6, 7.) Bwe tukolera ku kulabula Katonda kw’atuwa kituyamba okwewala ebizibu bingi. Watya singa tulemererwa okukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa? Kiki Yakuwa ky’akola okutuyamba?

KITAFFE OW’OKWAGALA ATUTEREEZA

8, 9. Omuntu bw’akozesa Bayibuli okututereeza, ekyo kiraga kitya nti Yakuwa atufaako nnyo? Waayo ekyokulabirako.

8 Yakuwa bw’atutereeza, kiba kiraga nti atwagala. (Soma Abebbulaniya 12:5, 6.) Kyo kituufu nti oluusi okuwabulwa oba okukangavvulwa tekutusanyusa. (Beb. 12:11) Naye omuntu bw’akozesa Bayibuli okututereeza, kiba kirungi okulowooza ku nsonga lwaki ekyo aba akikoze. Aba akirabye nti waliwo kye twetaaga okutereezaamu kituyambe okusigala nga tulina enkolagana ennungi ne Yakuwa. Omuntu ng’oyo aba akiraze nti mwetegefu okuwaayo ebiseera bye n’amaanyi ge okutuyamba okudda eri Yakuwa. Amagezi g’aba atuwadde tusaanidde okugatwala nga ga muwendo olw’okuba gaba gavudde eri Yakuwa.

9 Ng’ekyokulabirako, waliwo ow’oluganda omu eyalina omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu nga tannayiga mazima. Bwe yayiga amazima, yalekayo omuze ogwo. Naye bwe yagula essimu empya eriko Intaneeti, yaddamu okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. (Yak. 1:14, 15) Lumu, yawa omukadde omu essimu ye asobole okubaako ennamba z’abantu z’afunamu. Omukadde oyo yakizuula nti ow’oluganda oyo yali agenda ku mikutu gya Intaneeti egiriko ebifaananyi eby’obuseegu. Amangu ago omukadde yabuulirira ow’oluganda oyo. Ow’oluganda oyo yakolera ku ebyo omukadde bye yamugamba era yasobola okwekutula ku muze ogwo omubi ennyo. Nga kitusanyusa nnyo okuba nti Kitaffe ow’omu ggulu alaba n’ebibi bye tukola mu nkukutu era n’atutereeza ng’embeera tennasajjuka!

OKUKOLERA KU MISINGI GYA BAYIBULI KITUGANYULA

10, 11. (a) Tuyinza tutya okufuna obulagirizi okuva eri Yakuwa? (b) Ow’oluganda omu n’ab’omu maka ge baaganyulwa batya mu kukolera ku bulagirizi obuva eri Yakuwa?

10 Omuwandiisi wa Zabbuli yayimbira Yakuwa ng’agamba nti: “Ononnuŋŋamyanga n’amagezi go.” (Zab. 73:24) Bwe tuba twetaaga obulagirizi okuva eri Yakuwa, tulina okusoma Ekigambo kye tusobole okutegeera endowooza gy’alina ku nsonga ezitali zimu. Bwe tukolera ku misingi egiri mu Bayibuli kituyamba okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa era kituyamba okumanya engeri gye tuyinza okukola ku byetaago byaffe eby’omubiri.Nge. 3:6.

11 Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda omu abeera mu bitundu by’e Masbate mu Philippines mulimi era ettaka kw’alimira apangisa pangise. Ow’oluganda oyo ne mukyala we baweereza nga bapayoniya era balina abaana abawerako. Lumu, nnannyini ttaka yabalagira okuva ku ttaka lye. Lwaki yali abagoba ku ttaka lye? Waliwo omuntu eyali abawaayiriza ng’agamba nti si beesigwa. Wadde ng’ow’oluganda oyo yali mweraliikirivu nga tamanyi wa we bagenda kudda, yasigala yeesiga Yakuwa. Yagamba nti: “Bulijjo Yakuwa abadde atulabirira, era ajja kweyongera okutulabirira.” Mu butuufu Yakuwa yabalabirira. Oluvannyuma lw’ennaku ntono, nnannyini ttaka yabagamba nti kyali tekikyabeetaagisa kugenda. Kiki ekyamuleetera okukyusa mu ekyo kye yali abagambye? Nnannyini ttaka yali yeetegerezza nti wadde nga baali babasibyeko omusango ogwo, ow’oluganda oyo n’ab’omu maka ge beeyongera okweyisa obulungi. Ekyo nnannyini ttaka kyamukwatako nnyo era yasalawo n’okubongera ettaka ery’okulimirako. (Soma 1 Peetero 2:12.) Mu butuufu, bwe tukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa okuyitira mu Kigambo kye, kituyamba okuvvuunuka ebizibu bingi.

YAKUWA ATUYAMBA OKUGUMIRA EBIZIBU

12, 13. Mbeera ki eyinza okuleetera omuntu okwebuuza obanga ddala Yakuwa amufaako?

12 Kyokka ebiseera ebimu, ebizibu bye tufuna biyinza obutavaawo mangu. Tuyinza okuba nga tulina obulwadde obutawona oba nga tumaze ebbanga ddene nga tuyigganyizibwa ab’eŋŋanda zaffe oba abantu abalala. Ate era tuyinza okufuna obutakkaanya obw’amaanyi ne bakkiriza bannaffe mu kibiina.

13 Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda ayinza okwogera ekintu ne kikulumya. Oyinza okugamba nti: ‘Omuweereza wa Katonda ayinza atya okwogera ekintu ng’ekyo!’ Kyokka ow’oluganda oyo ayinza n’okuba ng’alina enkizo mu kibiina era ng’abalala bamwogerako bulungi. Oyinza okutandika okwebuuza: ‘Ddala singa Yakuwa alaba ebigenda mu maaso, teyandibaddeko ky’akolawo?’Zab. 13:1, 2; Kaab. 1:2, 3.

14. Lwaki oluusi tuyinza okulowooza nti Yakuwa talaba kizibu ekiri wakati waffe ne mukkiriza munnaffe?

14 Oluusi Yakuwa alekawo embeera ng’alina ensonga lwaki agireseewo. Ng’ekyokulabirako, oyinza okuba ng’olowooza nti mukkiriza munno y’aliko obuzibu, naye nga ye Katonda ebintu abiraba mu ngeri ndala. Yakuwa ayinza okuba nga akiraba nti ggwe ali mu nsobi. Ebigambo ow’oluganda bye yayogera ne bikunyiiza, Yakuwa ayinza okuba ng’akiraba nti wali obyetaaga okusobola okutereeza amakubo go. Ng’ekyokulabirako, Ow’oluganda Karl Klein, eyali ku Kakiiko Akafuzi, bwe yali ayogera ku byafaayo bye yagamba nti lumu Ow’oluganda J. F. Rutherford yamunenya. Oluvannyuma, Ow’oluganda Rutherford bwe yamusisinkana n’amubuuza, Ow’oluganda Klein yamuddamu nga simusanyufu. Ow’oluganda Rutherford bwe yakiraba nti Ow’oluganda Klein yali amusibidde ekiruyi, yamugamba nti: “Weegendereze, Omulyolyomi ayagala kukukwasa.” Nga wayise ekiseera, Ow’oluganda Klein yagamba nti: “Bwe tusibira bakkiriza bannaffe ekiruyi, naddala nga batubuulidde ekyo kye basaanidde okutubuulira, tuba tuwadde Omulyolyomi omwagaanya.” *

15. Bwe twolekagana n’embeera enzibu, kiki ekinaatuyamba okuba abagumiikiriza?

15 Kyokka oluusi ekizibu kiyinza okulwawo okuggwaawo ne tuwulira ng’obugumiikiriza butuweddeko. Bwe twesanga mu mbeera ng’eyo, kiki kye tuyinza okukola? Kuba akafaananyi ng’ovuga emmotoka n’osanga akalippagano k’ebidduka. Oba tomanyi ddi emmotoka lwe zinnaddamu kutambula. Bw’onyiiga n’osalawo okukwata ekkubo eddala oyinza okwesanga ng’obuze. Oyinza n’okwesanga ng’otutte ebiseera bingi okusinga ku ebyo bye wandimaze singa ogumiikirizza. Mu ngeri y’emu, bw’ofuna ebizibu naye n’onywerera ku misingi gya Bayibuli, Yakuwa ajja kukuyamba okubiyitamu.

16. Lwaki oluusi Yakuwa atuleka okufuna ebizibu?

16 Yakuwa ayinza okusalawo okulekawo ekizibu ng’alina ky’ayagala okutuyigiriza. (Soma 1 Peetero 5:6-10.) Naye kikulu okukijjukira nti Katonda si yatuleetera ebizibu. (Yak. 1:13) Ebizibu ebisinga bye tufuna, ‘omulabe waffe Sitaani’ yabituleetera. Kyokka, ebizibu ebimu Katonda by’alekawo bituyamba okunywera mu by’omwoyo. Yakuwa atulaba nga tubonaabona era ‘olw’okuba atufaako,’ tajja kukkiriza bizibu bye tufuna kubaawo mirembe gyonna. Bw’obeera mu mbeera enzibu naawe okiraba nti Yakuwa akufaako era nti tasobola kukuleka kukemebwa kusukka ku ekyo ky’osobola kugumira?2 Kol. 4:7-9.

BWE TUFUBA OKUKOLA EKITUUFU YAKUWA ATUWA EMIKISA

17. Lwaki Yakuwa akebera emitima gy’abantu bonna?

17 Yakuwa akebera emitima gy’abantu bonna asobole okumanya abo abamwagala. Ng’ayitira mu muweereza we Kanani, Yakuwa yagamba Kabaka Asa nti: “Amaaso ga Mukama gatambulatambula wano ne wali okubuna ensi zonna, okweraga bw’ali ow’amaanyi eri abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.” (2 Byom. 16:9) N’olwekyo, singa weeyongera okukola ekituufu, Yakuwa ajja “kweraga bw’ali ow’amaanyi” gy’oli.

18. Bw’otandika okulowooza nti tewali alaba birungi by’okola, kiki ky’osaanidde okujjukira? (Laba ekifaananyi ku lupapula 27.)

18 Bwe tuba twagala Katonda ‘okutukwatirwa ekisa,’ tulina okufuba ‘okunoonya obulungi,’ ‘okwagala obulungi,’ ‘n’okukola ebirungi.’ (Am. 5:14, 15; 1 Peet. 3:11, 12) Yakuwa amanyi abo abamwemaliddeko era abawa emikisa. (Zab. 34:15) Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bakyala Abebbulaniya abazaalisa, Sifira ne Puwa. Abaisiraeri bwe baali mu buddu e Misiri, Falaawo yabalagira okutta abaana bonna ab’obulenzi ab’Abebbulaniya. Naye olw’okuba abakyala abo baali batya Yakuwa okusinga Falaawo, baagaana okutta abaana abo. Yakuwa yalaba ekyo Sifira ne Puwa kye baakola era oluvannyuma yabawa omukisa ne basobola okuzaala abaana abaabwe ku bwabwe. (Kuv. 1:15-17, 20, 21) Oluusi tuyinza okulowooza nti ebintu ebirungi bye tukola tewali abiraba, naye Yakuwa alaba buli kirungi kye tukola era ajja kutuwa emikisa.Mat. 6:4, 6; 1 Tim. 5:25; Beb. 6:10.

19. Mwannyinaffe omu yakiraba atya nti Yakuwa alaba ebirungi abantu be bye bakola?

19 Yakuwa alaba ebirungi byonna abantu be bye bakola nga bamuweereza. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mwannyinaffe omu abeera mu Austria. Mwannyinaffe oyo enzaalwa ya Hungary, yaweebwa endagiriro y’omukyala ayogera Oluhangale eyali ayagala okuyiga Bayibuli. Yagenda ew’omukyala oyo naye n’atasanga muntu yenna awaka. Yaddayo enfunda n’enfunda naye era nga talina gw’alaba. Emirundi egimu bwe yagendangayo, yakirabanga nti awaka walabika waliwo omuntu naye nga bw’ayita tawulirayo kanyego. Yalekangawo ebitabo, amabaluwa, endagiriro ye, n’ebintu ebirala. Oluvannyuma lw’omwaka gumu n’ekitundu nga mwannyinaffe oyo addayo, kya ddaaki yasangawo omukyala oyo awaka, era yamwaniriza n’essanyu. Omukyala oyo yamugamba nti: “Mbaddenga nsoma buli kimu ky’oleka wano era nga nneesunga okukulaba.” Omukyala oyo yali mulwadde wa kkansa era nga mu kiseera ekyo yali ku bujjanjabi obw’amaanyi era nga muli awulira nga tayagala kwogera na bantu. Mwannyinaffe yatandika okumuyigiriza Bayibuli. Tewali kubuusabuusa nti Katonda yawa mwannyinaffe oyo emikisa olw’okufuba kwe!

20. Okukimanya nti Yakuwa akwetegereza kikuleetera kuwulira otya?

20 Nga bwe tulabye mu kitundu kino, Yakuwa alaba buli kimu kye tukola era amanyi ekiri mu mutima gwa buli muntu. Kyokka tetusaanidde kulowooza nti Yakuwa atwetegereza olw’okwagala okutunoonyaamu ensobi. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okweyongera okumwagala olw’okuba tukimanyi nti atufaako era nti ajja kutuwa emikisa singa tunywerera ku kituufu!

^ lup. 14 Ebyafaayo by’Ow’oluganda Klein byafulumira mu Watchtower eya Okitobba 1, 1984.