OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Maayi 2014
Magazini eno eraga engeri ssatu gye tuyinza okuddamu abantu abatubuuza ebibuuzo ebirabika ng’ebizibu. Lwaki tusaanidde okunywerera ku kibiina kya Yakuwa?
‘Emmere Yange Kwe Kukola Katonda by’Ayagala’
Kabaka Dawudi, omutume Pawulo, ne Yesu Kristo baali baagala nnyo okukola Katonda by’ayagala. Tuyinza tutya okukola Katonda by’ayagala nga tubuulira ne mu bitundu ebitali byangu kubuuliramu?
Tuyinza Tutya “Okuddamu Buli Muntu”?
Tuyinza tutya okuddamu okukozesa Ebyawandiikibwa okuddamu ebibuuzo by’abantu ebirabika ng’ebizibu? Lowooza ku ngeri ssatu gye tuyinza okuddamu abantu mu ngeri esikiriza.
Bw’Oba Obuulira, Fuba Okuyisa Abalala nga Bwe Wandyagadde Bakuyise
Tusaanidde kuyisa tutya buli muntu gwe tusanga nga tubuulira? Okukolera ku bigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 7:12 kiyinza kutuyamba kitya nga tubuulira?
EBYAFAAYO EBIKWATA KU BULAMU BW'AB'OLUGANDA
Yakuwa Annyambye Nnyo
Kenneth Little ayogera ku ngeri Katonda gy’amuyambyemu okuggwamu ensonyi. Laba engeri Katonda gy’amuwaddemu emikisa.
Yakuwa Katonda wa Ntegeka
Ebikwata ku Baisiraeri n’Abakristaayo mu kyasa ekyasooka biraga bitya nti abaweereza ba Yakuwa ku nsi basaanidde okuba nga bategekeddwa bulungi?
Otambulira Wamu n’Ekibiina kya Yakuwa?
Mu kiseera ekitali kya wala ensi ya Sitaani ejja kuzikirizibwa. Lwaki kikulu okunywerera ku kibiina kya Katonda?
OKUVA MU TTEREKERO LYAFFE
“Wakyaliwo Omulimu Munene Ogulina Okukolebwa”
Abajulirwa ba Yakuwa abasukka mu 760,000 babuulira amawulire amalungi mu Brazil. Abayizi ba Bayibuli baatandika batya okubuulira mu South America?