Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

‘Emmere Yange Kwe Kukola Katonda by’Ayagala’

‘Emmere Yange Kwe Kukola Katonda by’Ayagala’

Kiki ekisinga okukuleetera essanyu? Kyandiba nti bufumbo, kuzaala baana, oba kuba na mikwano? Ffenna kitusanyusa nnyo okuliirako awamu n’abantu be twagala. Kyokka ffenna abaweereza ba Yakuwa ebintu ebisinga okutuleetera essanyu kwe kukola Katonda by’ayagala, okwesomesa Ekigambo kye, n’okubuulira amawulire amalungi.

Kabaka Dawudi yatendereza Katonda ng’agamba nti: “Nsanyuka okukola by’oyagala, Ai Katonda wange; weewaawo, amateeka go gali mu mutima gwange munda.” (Zab. 40:8) Wadde nga Dawudi yafuna ebizibu bingi mu bulamu, bulijjo yasanyukanga okukola Katonda by’ayagala. Kya lwatu nti Dawudi si ye muweereza wa Yakuwa yekka eyafunanga essanyu mu kuweereza Katonda ow’amazima.

Ng’ayogera ku Masiya oba Kristo, omutume Pawulo yajuliza ebigambo ebiri mu Zabbuli 40:8. Yagamba nti: “[Yesu] bw’ajja mu nsi agamba: ‘“Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala, naye wanteekerateekera omubiri. Ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’ekibi tewabisiima.” Kye nnava ŋŋamba nti, ‘Laba! Nzize (mu muzingo gw’ekitabo kyampandiikwako) okukola by’oyagala Ai Katonda.’”Beb. 10:5-7.

Bwe yali ku nsi, Yesu yanyumirwanga nnyo okwetegereza ebitonde, okubeerako awamu ne mikwano gye, n’okuliirako awamu n’abantu abalala. (Mat. 6:26-29; Yok. 2:1, 2; 12:1, 2) Wadde kyali kityo, ekintu ekyali kisinga okumuleetera essanyu kwe kukola Kitaawe by’ayagala. Yesu yagamba nti: “Emmere yange kwe kukola oyo eyantuma by’ayagala n’okumaliriza omulimu gwe.” (Yok. 4:34; 6:38) Abayigirizwa ba Yesu nabo baali bamanyi ekyo ekyali kisobola okubayamba okufuna essanyu erya nnamaddala. Baafuba okubuulira amawulire ag’Obwakabaka n’obunyiikivu era ekyo baakikolanga n’essanyu.Luk. 10:1, 8, 9.

‘MUGENDE MUFUULE ABANTU ABAYIGIRIZWA’

Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, n’Omwana, n’omwoyo omutukuvu, nga mubayigiriza okukwata ebintu byonna bye nnabalagira. Era laba! Ndi wamu nammwe ennaku zonna okutuusa ku mafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu.” (Mat. 28:19, 20) Okusobola okukola obulungi omulimu ogwo, tulina okugenda okubuulira abantu yonna gye bali, okuddayo eri abo ababa baagala okuyiga ebisingawo, n’okuyigiriza abantu Bayibuli. Okukola ekyo kijja kutuleetera essanyu lingi.

Okwagala kutukubiriza okweyongera okubuulira ne bwe kiba nti abantu tebatuwuliriza

Endowooza gye tulina ku buweereza bwaffe esobola okutuyamba okufuna essanyu, ka kibe nti abantu batuwuliriza oba tebatuwuliriza. Kati olwo lwaki tweyongera okubuulira ne bwe kiba nti abantu tebaagala kutuwuliriza? Tukimanyi nti bwe tubuulira abalala ebikwata ku Bwakabaka tuba tulaga nti twagala Katonda awamu ne bantu bannaffe. Mu butuufu, obulamu bw’abantu bangi buli mu kabi. (Ez. 3:17-21; 1 Tim. 4:16) Kati ka tulabe ekyo ekiyambye bakkiriza bannaffe bangi okweyongera okubuulira n’obunyiikivu wadde ng’abantu be babuulira tebaagala kuwuliriza.

KOZESA BULI KAKISA K’OFUNA

Okukozesa ebibuuzo ebituukirawo kisobola okuleetera abantu okutuwuliriza nga tubuulira. Lumu, mwannyinaffe Amalia yalaba omusajja eyaliko w’atudde ng’asoma amawulire. Yamutuukirira n’amubuuza obanga mu bye yali asoma mwalimuko ku mawulire amalungi. Omusajja oyo bwe yamugamba nti temwalimu mawulire malungi, Amalia yamugamba nti, “Nze nkuleetedde amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda.” Ekyo kyaleetera omusajja oyo okumuwuliriza era n’akkiriza n’okuyiga Bayibuli. Mu butuufu, Amalia yasobola okufuna abantu basatu mu kifo ekyo b’ayigiriza Bayibuli ng’akozesa ennyanjula eyo.

Mwannyinaffe Janice afuba okubuulira ng’ali ku mulimu. Abakuumi babiri bwe baanyumirwa ebyo ebyali mu magazini emu ey’Omunaala gw’Omukuumi, Janice yabasuubiza okubatwaliranga magazini buli mwezi. Ate era mukozi munne omu bwe yakiraga nti anyumirwa okusoma magazini y’Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! naye yamusuubiza okumutwaliranga magazini buli mwezi. Ekyo kyaleetera ne mukozi munne omulala okumusaba magazini. Janice agamba nti “Yakuwa yampa omukisa!” Mu butuufu, Janice yafuna abantu 15 baatwalira magazini buli mwezi ku mulimu gy’akolera.

BEERA N’ENDOWOOZA ENNUŊŊAMU

Omulabirizi omu akyalira ebibiina yagamba nti ababuulizi bwe baba babuulira nnyumba ku nnyumba basaanidde okwewala okugamba obugambi omuntu nti tujja kukomawo olunaku olulala. Wabula, kyandibadde kirungi ne bamugamba nti: “Wandyagadde nkulage engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli?” oba, “Lunaku ki lwe wandyagadde nkomewo tuyige ebisingawo era ssaawa mmeka?” Omulabirizi oyo yagamba nti mu wiiki emu yokka ab’oluganda mu kibiina ekimu kye yali akyalidde baafuna abayizi ba Bayibuli 44 nga bakozesa enkola eyo.

Kikulu nnyo okuddayo amangu nga bwe kisoboka eri abantu ababa baagala okumanya ebisingawo. Lwaki? Kubanga ekyo kiba kiraga nti twagala okuyamba abantu ab’emitima emirungi okuyiga Bayibuli era nti tubafaako. Omukyala omu bwe baamubuuza ensonga lwaki yakkiriza okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa yagamba nti, “Baakiraga nti banfaako nnyo era nti banjagala.”

Oyinza okubuuza omuntu nti, “Wandyagadde nkulage engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli?”

Nga wayise ekiseera kitono oluvannyuma lw’okuva mu Ssomero lya Bapayoniya, Mwannyinaffe Madaí yasobola okufuna abayizi ba Bayibuli 20 era 5 ku bo n’abakwasa ababuulizi abalala. Bangi ku bayizi be baatandika okugenda mu nkuŋŋaana. Kiki ekyayamba Madaí okufuna abayizi ba Bayibuli abangi bwe batyo? Mu Ssomero lya Bapayoniya baakiraga nti kikulu nnyo okuddayo eri abo ababa baagala okuyiga ebisingawo. Mwannyinaffe omulala asobodde okuyamba abantu abangi okuyiga amazima, agamba nti, “Nkizudde nti bwe tuba ab’okuyamba abantu okumanya Yakuwa, kikulu nnyo okunyiikirira okubaddiŋŋana.”

Bwe tuddayo amangu eri abo ababa basiimye obubaka bwaffe kiraga nti twagala okubayamba okuyiga Bayibuli

Kyetaagisa okufuba ennyo n’okwefiiriza okusobola okuddiŋŋana abantu n’okubayigiriza Bayibuli. Wadde kiri kityo, emikisa gye tufuna gisingira wala ebyo byonna bye tuba twefiirizza. Bwe tubuulira amawulire g’Obwakabaka n’obunyiikivu, tusobola okuyamba abantu ‘okutegeerera ddala amazima,’ ekintu ekisobola okubayamba okufuna obulamu obutaggwaawo. (1 Tim. 2:3, 4) Ate era naffe kituviiramu essanyu lingi.