Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Otambulira Wamu n’Ekibiina kya Yakuwa?

Otambulira Wamu n’Ekibiina kya Yakuwa?

“Amaaso ga Yakuwa gali ku batuukirivu.”1 PEET. 3:12.

1. Abaisiraeri bwe baajeemera Katonda, kibiina ki Yakuwa kye yalonda okumukiikirira? (Laba ekifaananyi waggulu.)

YAKUWA ye yasobozesa ekibiina Ekikristaayo okutandikibwawo mu kyasa ekyasooka era y’asobozesezza okusinza okw’amazima okuzzibwawo mu kiseera kyaffe. Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, mu kusooka Abaisiraeri baali ggwanga ddonde naye ne beewaggula ku Katonda. N’ekyavaamu, Yakuwa yasalawo okuteekawo ekibiina ekirala eky’abagoberezi ba Kristo okumukiikirira. Ekibiina ekyo ekiggya ekyali kisiimibwa mu maaso ga Katonda kyawonyezebwawo nga Yerusaalemi kizikirizibwa mu mwaka gwa 70 E.E. (Luk. 21:20, 21) Ebyo ebyaliwo mu kyasa ekyasooka byalaga ekyo ekyandituuse ku baweereza ba Yakuwa mu kiseera kyaffe. Mu kiseera ekitali kya wala ensi ya Sitaani ejja kuzikirizibwa, naye ekibiina kya Katonda kijja kusigalawo. (2 Tim. 3:1) Ekyo tukikakasa tutya?

2. Kiki Yesu kye yayogera ku ‘kibonyoobonyo ekinene,’ era ekibonyoobonyo ekyo kinaatandika kitya?

2 Ng’ayogera ku kiseera ky’okubeerawo kwe ne ku mafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu, Yesu yagamba nti: “Walibaawo ekibonyoobonyo ekinene ekitabangawo kasookedde nsi ebaawo okutuusa leero, era tekiribaawo nate.” (Mat. 24:3, 21) Ekibonyoobonyo ekinene kijja kutandika nga Yakuwa akozesa bannabyabufuzi okuzikiriza “Babulooni Ekinene,” nga gano ge madiini gonna ag’obulimba. (Kub. 17:3-5, 16) Kiki ekinaddirira?

SITAANI ALUMBA ABANTU BA KATONDA ERA KALUMAGEDONI ATANDIKA

3. Oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kw’amadiini ag’obulimba, kiki ekinaatuuka ku bantu ba Yakuwa?

3 Oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kw’amadiini ag’obulimba, Sitaani n’abantu be bajja kulumba abaweereza ba Yakuwa. Ng’eyogera ku “Googi ow’omu nsi ya Magoogi,” Bayibuli egamba nti: “Olija nga kibuyaga [okubalumba], oliba ng’ekire okubikka ku nsi, ggwe n’eggye lyo lyonna n’amawanga mangi nga gali naawe.” Okuva bwe kiri nti Abajulirwa ba Yakuwa tebalina magye era nga be bantu abasingayo okuba ab’emirembe mu nsi yonna, bajja kulabika ng’abanafu ennyo. Naye Sitaani n’abantu be bwe banaabalumba, bajja kwejjusa!—Ez. 38:1, 2, 9-12.

4, 5. Kiki Yakuwa ky’anaakola nga Sitaani alumbye abantu be?

4 Sitaani n’abantu be bwe banaalumba abantu ba Yakuwa, bajja kuba ng’abalumbye Yakuwa kennyini. (Soma Zekkaliya 2:8.) Kiki Yakuwa, Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna ky’anaakola nga Sitaani alumbye abantu be? Yakuwa Katonda ajja kubaako ky’akolawo mu bwangu okununula abantu be. Ajja kuleeta olutalo Kalumagedoni azikirize ensi ya Sitaani yonna.Kub. 16:14, 16.

5 Ng’eyogera ku Kalumagedoni, Bayibuli egamba nti: “Mukama alina empaka n’amawanga, aliwoza ne bonna abalina omubiri; ababi alibawaayo eri ekitala, bw’ayogera Mukama. Bw’ati bw’ayogera Mukama w’eggye nti Laba, obubi bulifuluma okuva mu ggwanga okugenda mu ggwanga linnaalyo, ne kibuyaga mungi alikunsibwa aliva ku njegoyego z’ensi ez’enkomerero. N’abo Mukama b’alitta baliva ku nkomerero y’ensi balituuka ku nkomerero yaayo: tebalikungubagirwa so tebalikuŋŋaanyizibwa so tebaliziikibwa; baliba busa ku maaso g’ensi.” (Yer. 25:31-33) Katonda ajja kuzikiriza enteekateeka y’ebintu eno yonna ku Kalumagedoni. Ensi ya Sitaani ejja kumalibwawo ddala, naye ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Yakuwa kijja kusigalawo.

ENSONGA LWAKI EKIBIINA KYA YAKUWA KYEYONGERA OKUKULA

6, 7. (a) ‘Ab’ekibiina ekinene’ bava wa? (b) Kweyongerayongera ki okubaddewo mu kibiina kya Yakuwa gye buvuddeko awo?

6 Buli lukya ekibiina kya Yakuwa kyeyongera okukula. Ekyo kiri kityo, kubanga abantu abakirimu basiimibwa mu maaso ga Katonda. Bayibuli egamba nti: “Amaaso ga Yakuwa gali ku batuukirivu n’amatu ge gali eri okwegayirira kwabwe.” (1 Peet. 3:12) Mu batuukirivu abo mwe muli ‘n’ab’ekibiina ekinene’ eky’abo ‘abanaayita mu kibonyoobonyo ekinene.’ (Kub. 7:9, 14) Bayitibwa “ekibiina ekinene,” olw’okuba bangi nnyo. Naawe weeraba ng’oli omu ku b’ekibiina ekinene era ng’owonyeewo mu “kibonyoobonyo ekinene”?

7 Ab’ekibiina ekinene bava wa? Bava mu mawanga gonna era bakuŋŋaanyizibwa okuyitira mu mulimu Yesu gwe yagamba nti gwandikoleddwa mu kiseera ky’okubeerawo kwe. Yagamba nti: “Amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.” (Mat. 24:14) Mu nnaku zino ez’oluvannyuma, ekibiina kya Katonda kyemalidde ku mulimu gw’okubuulira. N’ekivuddemu, obukadde n’obukadde bw’abantu bayize okusinza Katonda “mu mwoyo n’amazima.” (Yok. 4:23, 24) Ng’ekyokulabirako, wakati w’omwaka 2003 ne 2012, abantu abasukka mu 2,707,000 be beewaayo eri Katonda ne babatizibwa. Kati waliwo Abajulirwa ba Yakuwa abasukka mu 7,900,000 mu nsi yonna, era waliwo n’abantu bangi abajja mu nkuŋŋaana zaabwe, naddala ku mukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu ogubaawo buli mwaka. Tuli basanyufu nnyo okulaba ng’ekibiina ekinene kyeyongera okukula era tukimanyi bulungi nti ‘Katonda y’akikuza.’1 Kol. 3:5-7.

8. Lwaki omuwendo gw’abaweereza ba Yakuwa mu kiseera kyaffe gweyongera buli lukya?

8 Buli lukya abaweereza ba Yakuwa beeyongera obungi olw’okuba Yakuwa ali wamu nabo. (Soma Isaaya 43:10-12.) Bwe yali ayogera ku nnaku ez’oluvannyuma, nnabbi Isaaya yagamba nti: “Omuto alifuuka lukumi n’omutono alifuuka ggwanga lya maanyi: nze Mukama ndikyanguya ebiro byakyo nga bituuse.” (Is. 60:22) Mu kusooka, ab’ensigalira y’abaafukibwako amafuta baali ‘ng’omuto.’ Kyokka, omuwendo gwabwe gwagenda gweyongera Yakuwa bwe yaleeta mu kibiina kye abalala abali mu Isiraeri wa Katonda. (Bag. 6:16) Ate era emyaka bwe gigenze giyitawo, wabaddewo abantu bangi abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna abakkirizza amazima.

EBYO YAKUWA BY’ATWETAAGISA

9. Kiki kye tulina okukola okusobola okufuna emikisa gya Katonda mu biseera eby’omu maaso?

9 Ffenna, ka tube baafukibwako mafuta oba ba ndiga ndala, Yakuwa atusuubizza emikisa mingi mu biseera eby’omu maaso. Kyokka bwe tuba ab’okufuna emikisa egyo, tulina okukola ebyo Yakuwa by’atwetaagisa. (Is. 48:17, 18) Lowooza ku Mateeka Yakuwa ge yawa Abaisiraeri. Okukwata Amateeka ago kyandibayambye okuba n’empisa ennungi, okufuna essanyu mu maka, okuba n’emikwano emirungi, okuba abeesigwa nga bakola bizineesi, okuyisa abalala obulungi, era kyandibayambye ne mu ngeri endala nnyingi. (Kuv. 20:14; Leev. 19:18, 35-37; Ma. 6:6-9) Naffe bwe tukola Katonda by’atwetaagisa, tuganyulwa nnyo. Mu butuufu, ebiragiro bya Katonda tebizitowa. (Soma 1 Yokaana 5:3.) Ate era bwe tukwata ebiragiro bya Katonda, tufuna essanyu lingi era n’okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera.Tit. 1:13.

10. Lwaki tusaanidde okwesomesa Bayibuli n’okuba n’Okusinza kw’Amaka buli wiiki?

10 Waliwo ebintu ebitali bimu ebiraga nti ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Katonda kigenda mu maaso. Ng’ekyokulabirako, tweyongedde okutegeera amazima agali mu Bayibuli. Ekyo tekyewuunyisa kubanga “ekkubo ery’abatuukirivu liriŋŋanga omusana ogwakayakana, ogweyongerayongera okwaka okutuusa obudde lwe butuukirira.” (Nge. 4:18) Naye buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: ‘Ntambulira wamu n’ekibiina kya Yakuwa nga nfuba okumanya enkyukakyuka eziba zikoleddwa mu ngeri gye tutegeeramu ebyawandiikibwa? Nfuba okusoma Bayibuli buli lunaku? Nfuba okusoma ebitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa? Nze n’ab’omu maka gange tuba n’Okusinza kw’Amaka buli wiiki?’ Ebintu ebyo si bizibu kukola, wabula kye twetaaga kwe kuba n’enteekateeka okubikola. Kikulu nnyo okusoma Ekigambo kya Katonda n’okukikolerako. Ekyo kijja kutuyamba okutambulira awamu n’ekibiina kya Katonda, naddala mu kiseera kino ng’ekibonyoobonyo ekinene kisembedde.

11. Lwaki abantu ba Yakuwa bafuba okubaawo mu nkuŋŋaana ennene n’entono?

11 Bulijjo ekibiina kya Yakuwa kitukubiriza okukolera ku bigambo by’omutume Pawulo bino: “Ka buli omu ku ffe alowoozenga ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi, nga tetulekaayo kukuŋŋaananga wamu ng’abamu bwe bakola, naye nga tuzziŋŋanamu amaanyi naddala nga bwe mulaba nti olunaku lusembedde.” (Beb. 10:24, 25) Embaga ezaabangawo buli mwaka awamu n’enkuŋŋaana endala Abaisiraeri ze baabanga nazo zaabayambanga okunyweza enkolagana yaabwe ne Yakuwa. Ate era enkuŋŋaana n’embaga ezo, gamba ng’Embaga ey’Ensiisira eyaliwo mu kiseera kya Nekkemiya, zaaleeteranga Abaisiraeri essanyu lingi. (Kuv. 23:15, 16; Nek. 8:9-18) Ne leero tuba n’enkuŋŋaana ennene n’entono. Tusaanidde okubaawo mu nkuŋŋaana ezo zonna kubanga zituyamba okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa n’okweyongera okumuweereza n’essanyu.Tit. 2:2.

12. Omulimu gw’okubuulira tusaanidde kugutwala tutya?

12 Ffenna abali mu kibiina kya Yakuwa, tulina enkizo okwenyigira mu “mulimu omutukuvu ogw’okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Katonda.” (Bar. 15:16) Bwe twenyigira mu mulimu ogwo, tuba “tukolera wamu” ne Yakuwa Katonda, “Omutukuvu.” (1 Kol. 3:9; 1 Peet. 1:15) Okubuulira amawulire amalungi kireetera erinnya lya Yakuwa okutukuzibwa. Mu butuufu, nkizo ya maanyi okubuulira “amawulire amalungi ag’ekitiibwa aga Katonda omusanyufu.”1 Tim. 1:11.

13. Bwe tuba twagala okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda era nga twagala obulamu, kiki kye tulina okukola?

13 Katonda ayagala tusigale nga tulina enkolagana ennungi naye. Ayagala tweyongere okuwagira ekibiina kye n’emirimu egitali gimu gye kikola. Musa yagamba Abayisirayiri nti: “Mpita eggulu n’ensi okuba abajulirwa gye muli leero, nga ntadde mu maaso go obulamu n’okufa, omukisa n’okukolimirwa: kale weeroboze obulamu, olyoke obenga omulamu, ggwe n’ezzadde lyo: okwagalanga Mukama Katonda wo, okugonderanga eddoboozi lye, [n’okumunywererako]: kubanga oyo bwe bulamu bwo, era kwe kuwangaala ennaku zo: olyoke otuulenga mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajja bo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, okubawa.” (Ma. 30:19, 20) Bwe tuba twagala obulamu tulina okukola Yakuwa by’ayagala, okumwagala, okuwuliriza eddoboozi lye, n’okumunywererako.

14. Kiki ow’oluganda omu kye yayogera ku kibiina kya Yakuwa?

14 Ow’oluganda Pryce Hughes, eyayiga amazima ng’omwaka gwa 1914 tegunnatuuka, lumu yagamba nti: ‘Bulijjo mbadde nkitwala nga kikulu okunywerera ku kibiina kya Yakuwa, mu kifo ky’okugoberera amagezi g’abantu. Ekyo kinnyambye okusigala nga ndi mwesigwa eri Yakuwa. Nkirabye nti okusobola okufuna emikisa gya Yakuwa, mba nnina okukolera ku bulagirizi obutuweebwa mu kibiina kye.’

TAMBULIRA WAMU N’EKIBIINA KYA KATONDA

15. Kyakulabirako ki ekiri mu Bayibuli ekiraga engeri gye tulina okutwalamu enkyukakyuka eziba zikoleddwa?

15 Okusobola okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa n’okufuna emikisa gye, tulina okuwagira ekibiina kye n’okukkiriza enkyukakyuka zonna eziba zikoleddwa mu ngeri gye tutegeeramu Ebyawandiikibwa. Lowooza ku kino: Oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, waaliwo Abakristaayo bangi Abayudaaya abaali bakwata obutiribiri Amateeka ga Musa, era Abakristaayo abo baakisanga nga kizibu okugavaako. (Bik. 21:17-20) Kyokka ebbaluwa ya Pawulo eri Abebbulaniya yabayamba okukimanya nti baali batukuziddwa “okuyitira mu kuweebwayo kw’omubiri gwa Yesu Kristo omulundi gumu,” so si okuyitira mu ‘ssaddaaka ezaaweebwangayo okusinziira ku Mateeka.’ (Beb. 10:5-10) Awatali kubuusabuusa, bangi ku Bakristaayo abo Abayudaaya baakyusa endowooza yaabwe ne beeyongera okukula mu by’omwoyo. Naffe tusaanidde okunyiikirira okusoma Bayibuli n’ebitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa era bwe wabaawo ekyukakyuka mu ngeri gye tutegeeramu Ebyawandiikibwa ne mu ngeri omulimu gwaffe ogw’okubuulira gye gukolebwamu, tusaanidde okuzikolerako.

16. (a) Lwaki obulamu mu nsi empya bujja kuba bulungi nnyo? (b) Kiki ky’osinga okwesunga mu nsi empya?

16 Abo bonna abanywerera ku Yakuwa n’ekibiina kye bajja kufuna emikisa mingi. Abakristaayo abaafukibwako amafuta bajja kuweebwa enkizo ey’ekitalo, okufugira awamu ne Kristo mu ggulu. (Bar. 8:16, 17) Ate abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi, bajja kubeera mu Lusuku lwa Katonda emirembe gyonna. Abaweereza ba Katonda bonna, balina enkizo ey’okubuulira abalala ebikwata ku nsi ya Katonda empya! (2 Peet. 3:13) Bayibuli egamba nti: “Abawombeefu balisikira ensi; era banaasanyukiranga emirembe emingi.” Abantu “balizimba ennyumba ne basulamu” era bajja kulya “omulimu ogw’engalo zaabwe.” (Zab. 37:11; Is. 65:21, 22) Tewajja kubaawo muntu n’omu anyigirizibwa, era tewajja kubaawo bwavu wadde enjala. (Zab. 72:13-16) Tewajja kubaawo madiini ga bulimba agabuzaabuza abantu, kubanga gajja kuba gazikiriziddwa. (Kub. 18:8, 21) Abafu bajja kuzuukizibwa babe n’essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna. (Is. 25:8; Bik. 24:15) Singa tweyongera okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa era ne tutambulira wamu n’ekibiina kye, tujja kufuna emikisa egyo n’emirala mingi.

Weeraba ng’oli mu Lusuku lwa Katonda? (Laba akatundu 16)

17. Ndowooza ki gye tusaanidde okuba nayo ku Yakuwa n’ekibiina kye?

17 Okuva bwe kiri nti enteekateeka eno ey’ebintu eneetera okuzikirizibwa, ka tufube okusigala nga tuli banywevu mu kukkiriza era ka tufube okuwagira enteekateeka Katonda gy’ataddewo ey’okumusinza. Tusaanidde okuba n’endowooza ng’ey’omuwandiisi wa Zabbuli, Dawudi, eyagamba nti: “Ekigambo kimu nkisabye Mukama, kye nnaanoonyanga; okutuulanga mu nnyumba ya Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange, okutunuuliranga obulungi bwa Mukama, n’okubuuzanga mu yeekaalu ye.” (Zab. 27:4) Ka buli omu ku ffe yeeyongere okunywerera ku Yakuwa n’okutambulira awamu n’ekibiina kye.