Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ETTEREKERO LYAFFE

“Wakyaliwo Omulimu Munene Ogulina Okukolebwa”

“Wakyaliwo Omulimu Munene Ogulina Okukolebwa”

George Young yatuuka mu Rio de Janeiro mu Maaki 1923

OMWAKA gwa 1923. Ekizimbe ky’e São Paulo kye balabiramu emizannyo kikubyeko! Ow’oluganda George Young awa emboozi ng’eno bw’ekyusibwa mu lulimu Olupotugo. Bonna 585 abaliwo bamuwuliriza bulungi. Ebyawandiikibwa ebiri mu Lupotugo biragibwa ku lutimbe. Era ekiseera kituuka akatabo Millions Now Living Will Never Die! akali mu Lupotugo ne kagabibwa, nga kali ne mu lulimi Olungereza, Olugirimaani, n’Oluyitale era ekyo kireetera abo bonna abaliwo essanyu lingi. Mu butuufu, abantu baganyulwa nnyo mu mboozi eyo era ekyo oluvannyuma bakibuulirako abalala. Nga wayise ennaku bbiri, abantu baddamu okujjuza ekizimbe ekyo okuwuliriza emboozi endala. Naye kiki ekyaviirako ebyo byonna okubaawo?

Mu 1867, Sarah Bellona Ferguson awamu n’ab’omu maka ge baava mu Amerika ne bagenda okubeera mu Brazil. Mu 1899, Sarah yasoma ekitabo ekimu ekinnyonnyola Bayibuli muto we kye yali aleese okuva mu Amerika era n’akiraba nti yali azudde amazima. Olw’okuba yali anyumirwa nnyo okusoma, yasaba okufunanga buli magazini ya Watch Tower ey’Olungereza eyafulumanga. Ebyo Sarah bye yasoma byamukwatako nnyo n’awandiikira Ow’oluganda C. T. Russell n’amugamba nti: “Tewali muntu n’omu amawulire amalungi gwe gatasobola kutuukako, ne bw’aba ng’ali wala nnyo.”

Can the Living Talk With the Dead? (mu Lupotugo)

Sarah Ferguson yafuba nnyo okubuulirako abalala ku ebyo bye yali ayize mu Bayibuli, naye nga tamanyi ani yandyeyongedde okumuyamba awamu n’ab’omu maka ge nga mw’otwalidde n’abantu abalala bonna mu Brazil okutegeera amazima. Mu 1912, ab’oluganda ku Beseri y’omu Brooklyn baamutegeeza nti waliwo omuntu eyali agenda okugenda e São Paulo era nti yali agenda kugenda ne tulakiti nnyingi ezirina omutwe Where Are the Dead? ezaali mu lulimi Olupotugo. Mu 1915 Sarah yagamba nti kyamwewuunyisanga nnyo okuba nti Abayizi ba Bayibuli bangi baali balowooza nti baali banaatera okugenda mu ggulu. Ng’ayogera ku nsonga eyo, Sarah yagamba nti: “Ate yo Brazil ne Amerika ow’ebukiika ddyo? . . . Bwe munaalowooza ku bunene bw’ekitundu kino, mujja kukiraba nti wakyaliwo omulimu munene ogulina okukolebwa.” Mu butuufu, omulimu gw’okubuulira ogwalina okukolebwa gwali gukyali munene nnyo!

Awo nga mu 1920, waliwo abavubuka abaali ku mmeeri emu ennwanyi naye n’ebafaako. Emmeeri eyo bwe yali ekanikibwa, baasalawo okugenda mu nkuŋŋaana z’Abayizi ba Bayibuli mu kibuga New York. Bwe baddayo mu kibuga Rio de Janeiro, baabuulira abalala ku bintu ebipya bye baali bayize mu Bayibuli. Nga wayise ekiseera kitono, mu Maaki 1923, George Young, eyali aweereza ng’omutalaazi, oba omulabirizi akyalira ebibiina, yatuuka mu kibuga Rio de Janeiro, era n’afuna abantu bangi abaali baagala okuyiga Bayibuli. Ow’oluganda Young yakola enteekateeka wabeewo ebitabo eby’enjawulo ebivvuunulwa mu Lupotugo. Oluvannyuma, yagenda mu kibuga São Paulo, mu kiseera ekyo ekyalimu abantu nga 600,000. Ng’ali eyo yawa emboozi era n’agabira abantu akatabo Millions Now Living Will Never Die! nga bwe kyalagiddwa ku ntandikwa. Young yagamba nti: “Okuva bwe kiri nti nnali nzekka, nnalina okukozesa empapula z’amawulire okuyita abantu okujja okuwuliriza emboozi ze nnali ŋŋenda okuwa. Ogwo gwe mulundi ogwasookera ddala ekibiina kya I.B.S.A. okukozesa empapula z’amawulire okuyita abantu okuwuliriza emboozi.” *

Ekyuma kye baakozesa okulaga ebyawandiikibwa ku lutimbe nga George Young awa emboozi

Ng’eyogera ku Brazil, Watch Tower eya Ddesemba 15, 1923 yagamba nti: ‘Bwe tulowooza ku ky’okuba nti omulimu gwaffe gwatandika okukolebwa mu nsi eyo nga Jjuuni 1 kyokka nga mu kiseera ekyo tewaaliwo na kitabo na kimu mu Lupotugo, kiraga nti Mukama waffe yawa omukisa omulimu gwaffe.’ Era magazini eyo yagamba nti emboozi ebbiri Ow’oluganda Young ze yawa mu São Paulo ze zimu ku mboozi 21 ze yawa wakati wa Jjuuni 1 ne Ssebutemba 30, era abantu nga 3,600 be baawuliriza emboozi ezo. Ne mu kibuga Rio de Janeiro, amawulire g’Obwakabaka gaali geeyongera okubuna. Mu myezi mitono nnyo, ebitabo eby’olulimi Olupotugo ebisukka mu 7,000 byali bimaze okugabibwa! Ate era Watch Tower eya Noovemba-Ddesemba 1923 yafulumizibwa mu lulimi Olupotugo, era ng’eyo ye Watch Tower eyasooka okufulumizibwa mu lulimi olwo.

Sarah Bellona Ferguson, eyasooka mu Brazil okulagiriza magazini za Watch Tower ez’Olungereza

George Young yakyalirako Sarah Ferguson. Ng’eyogera ku ebyo ebyaliwo ng’amukyalidde Watch Tower yagamba nti: “Mwannyinaffe oyo yasanyuka nnyo era mu kusooka ebigambo byamubula. Yakwata omukono gw’Ow’oluganda Young, era n’amutunuulira mu maaso, oluvannyuma n’amugamba nti: ‘Ddala ggwe Mutalaazi?’” Waayita akaseera katono, Sarah n’abamu ku baana be ne babatizibwa. Sarah yali amaze emyaka 25 ng’alindirira okubatizibwa! Magazini ya Watch Tower eya Agusito 1, 1924, yagamba nti ku olwo abantu 50 be baabatizibwa era ng’abasinga obungi baali bavudde mu kibuga Rio de Janeiro.

Kati wayise emyaka nga 90 bukya ekyo kibaawo, era kati mu Brazil waliyo Abajulirwa ba Yakuwa abasukka mu 760,000. Era kati amawulire amalungi gabuulirwa mu Amerika ow’ebukiikaddyo mu Lupotugo, mu Lusipeyini, ne mu nnimi endala ezoogerwa abantu aba bulijjo. Nga Sarah Ferguson bwe yagamba mu 1915, ddala ‘waali wakyaliwo omulimu munene ogwalina okukolebwa.’—Etterekero lyaffe mu Brazil.

^ lup. 6 I.B.S.A. kitegeeza International Bible Students Association.