Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Yakuwa Annyambye Nnyo

Yakuwa Annyambye Nnyo

Nze ne Evelyn, gwe nnali nnaakawasa, twalinnya eggaali y’omukka ne tugenda mu kabuga akayitibwa Hornepayne akasangibwa mu bukiikakono bwa Ontario, Canada. We twatuukirayo, obudde bwali bwa ku makya era nga bunnyogovu nnyo. Waliwo ow’oluganda eyatukimako n’atutwala ewuwe era n’atuwa eky’enkya. Oluvannyuma twagenda naye awamu ne mukyala we ne mutabani we okubuulira nnyumba ku nnyumba. Olweggulo, nnawa emboozi yange eyasooka ng’omulabirizi w’ekitundu. Mu lukuŋŋaana olwo, twaliwo bataano ffekka.

EKY’OKUBA nti waaliwo abantu batono nnyo nga mpa emboozi yange eyo mu 1957 saakifaako nnyo. Ekyo kyali kityo kubanga okuviira ddala mu buto nnalina ensonyi nnyingi. Abagenyi bwe bajjanga awaka, ebiseera ebisinga nnabeekwekanga ne bwe nnabanga mbamanyi.

Nfunye enkizo nnyingi mu kibiina kya Yakuwa era ekyo kindeetedde okukolera awamu n’abantu bangi, ng’abamu mbamanyi bulungi ate ng’abalala sibamanyiddeko ddala. Wadde kiri kityo, mbadde n’ekizibu ky’ensonyi, era sisobola kugamba nti ebyo byonna bye nsobodde okukola mbikoze mu maanyi gange. Mu butuufu, ndabidde ddala ekisuubizo kya Yakuwa kino nga kituukirira: “Naakuwanga amaanyi; weewaawo, naakuyambanga; weewaawo, naakuwaniriranga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange.” (Is. 41:10) Yakuwa annyambye nnyo ng’ayitira mu Bakristaayo bannange. Ka mbabuulireyo abamu ku abo abannyambye okuviira ddala mu buto.

YAKOZESANGA BAYIBULI N’AKATABO AKADDUGAVU

Nga ndi ku ffaamu mu Ontario gye nnakulira

Lumu ku Ssande ku makya mu 1940, Mwannyinaffe Huntingford Elsie yajja ewaffe. Twali tubeera ku ffaamu eyali mu bukiikaddyo bwa Ontario. Maama yagenda ku luggi okwogera naye, kyokka nze ne taata ne tusigala munda olw’okuba twalina ensonyi. Olw’okuba taata yali alowooza nti Huntingford yali mutembeeyi era nga tayagala maama agule bintu bye tuteetaaga, yagenda ku luggi asobole okugamba oyo eyali ayogera ne maama nti by’atunda tetubyetaaga. Huntingford yamubuuza nti: “Temwagala kuyiga Bayibuli?” Taata yamuddamu nti: ‘Eky’okuyiga Bayibuli tukyagala.’

Mwannyinaffe Huntingford yatukyalira mu kiseera ekituufu. Bazadde bange baali basabira mu Kkanisa emu ey’omu Canada naye mu kiseera ekyo baali basazeewo okugivaamu. Lwaki? Kubanga omukulembeze w’ekkanisa eyo yatimbanga amannya g’abantu abaawangayo ssente, ng’agasengeka okusinziira ku bungi bwa ssente ze baabanga bawaddeyo. Olw’okuba bazzadde bange baali baavu, be bamu ku baasembanga wansi ku lukalala, era abakulembeze b’ekkanisa baabagambanga okwongera ku ssente ze bawaayo. Ate era omu ku bakulembeze b’ekkanisa eyo yagamba nti ebintu bye yali ayigiriza naye kennyini yali tabikkiririzaamu kyokka ng’abiyigiriza olw’okwagala okukuuma omulimu gwe. Bwe kityo, twasalawo okuva mu kkanisa eyo naye nga Katonda tukyamwagala.

Olw’okuba mu kiseera ekyo omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa gwali guwereddwa mu Canada, Mwannyinaffe Huntingford bwe yabanga atuyigiriza, yakozesanga Bayibuli n’ebintu ebitonotono bye yabanga awandiise mu katabo ke akaddugavu. Bwe yakiraba nti twali tetusobola kumuwaayo mu ba buyinza, yatandika okutuleetera ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli. Bwe yamalanga okutuyigiriza, ebitabo ebyo twabikwekanga wala. *

Bazadde bange baabatizibwa mu 1948

Wadde nga waaliwo okuyigganyizibwa okw’amaanyi, Mwannyinaffe Huntingford yeeyongera okubuulira n’obunyiikivu. Ekyo kyankwatako nnyo era ne nsalawo okuweereza Yakuwa. Nga wayise omwaka gumu oluvannyuma lwa bazadde bange okubatizibwa, nange nneewaayo eri Yakuwa. Nnabatizibwa nga Febwali 27, 1949, mu lutiba olw’ekyuma ebisolo mwe biriira. Mu kiseera ekyo nnali wa myaka 17. Oluvannyuma nneeteerawo ekiruubirirwa eky’okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna.

YAKUWA YANNYAMBA OKUBA OMUVUMU

Nnasanyuka nnyo bwe nnayitibwa ku Beseri mu 1952

Oluvannyuma lw’okubatizibwa saatandikirawo kuweereza nga payoniya. Nnasooka ne nkolako mu bbanka era oluvannyuma ne nkolako mu ofiisi emu nga ndowooza nti nnali nneetaaga okusooka okufunayo ku ssente ezandinnyambye okweyimirizaawo nga mpeereza nga payoniya. Naye olw’oku nnali nkyali muvubuka era nga sirina bumanyirivu, ssente ze nnafunanga nnazikozesanga ne ziggwaawo. Ow’oluganda Ted Sargent yankubiriza okuba omuvumu n’okwesiga Yakuwa. (1 Byom. 28:10) Ebyo bye yaŋŋamba byankwatako nnyo. Nnatandika okuweereza nga payoniya mu Noovemba 1951. Nnalinawo ddoola 40, akagaali akakadde, n’ensawo empya. Kyokka Yakuwa yandabirira. Ndi musanyufu nnyo okuba nti Ted yankubiriza okutandika okuweereza nga payoniya, era ekyo kinviiriddemu emikisa mingi.

Lumu mu Agusito 1952, nnafuna essimu okuva mu Toronto. Nnayitibwa okugenda okuweereza ku Beseri y’omu Canada, era nnali wa kutuukayo mu Ssebutemba. Wadde nga nnalina ensonyi nnyingi era nga nnali sikyalangako ku Beseri, nnasanyuka nnyo okugendayo kubanga waliwo bapayoniya abaali bambuuliddeko ku birungi ebiriyo. Nnawulira nga ddala eyo gye nsaana okubeera.

“FAAYO NNYO KU BAKKIRIZA BANNO”

Nga wayise emyaka ebiri oluvannyuma lw’okugenda ku Beseri, nnadda mu bigere bya Bill Yacos eyali omuweereza w’ekibiina (omukwanaganya w’akakiiko k’abakadde) mu yuniti y’e Shaw, mu Toronto. * Mu kiseera ekyo nnalina emyaka 23, era nnali mpulira nga sirina bumanyirivu. Naye Ow’oluganda Yacos yandaga eky’okukola era Yakuwa yannyamba nnyo okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwange.

Ow’oluganda Yacos yali munene, nga mumpi, era ng’akamwenyumwenyu tekamuva ku matama. Yali afaayo nnyo ku bantu. Yali ayagala nnyo ab’oluganda era nga nabo bamwagala nnyo. Yateranga okubakyalira mu maka gaabwe, ne bwe baabanga tebalina bizibu. Bill Yacos yankubiriza okumukoppa era yankubiriza okukolera awamu ne bakkiriza bannange omulimu gw’okubuulira. Yaŋŋamba nti: “Ken, faayo nnyo ku bakkiriza banno. Ekyo kijja kukuyamba n’okubasonyiwa nga bakoze ensobi.”

MUKYALA WANGE AYAGALA NNYO YAKUWA ERA NANGE ANJAGALA NNYO

Mu Jjanwali 1957, nnawasa Evelyn, omuminsani eyali mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 14. Bwe twali tetunnafumbiriganwa, yali aweerereza mu Quebec, ekitundu omuli abantu abangi aboogera Olufalansa. Mu kiseera ekyo Ekkereziya Katolika yalina obuyinza bungi mu Quebec. Bwe kityo, Evelyn tekyamwanguyiranga kubuulira mu kitundu ekyo, naye yeeyongera okubuulira n’okunywerera ku Yakuwa.

Nze ne Evelyn twafumbiriganwa mu 1957

Evelyn akiraze nti mwesigwa gye ndi ne mu mbeera enzibu. (Bef. 5:31) Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’embaga yaffe, twalina enteekateeka ey’okugenda okuwummulirako mu Florida, Amerika. Kyokka mu kiseera ekyo ofiisi y’ettabi yansaba okugenda mu lukuŋŋaana olwali lugenda okumala wiiki emu ku Beseri y’omu Canada. Wadde ng’ekyo kyataataaganya enteekateeka yaffe, nze ne Evelyn twasalawo okukola Yakuwa ky’ayagala. Twasazaamu enteekateeka yaffe, era wiiki eyo Evelyn yagimala ng’abuulira mu kitundu ekyali okumpi ne ofiisi y’ettabi. Wadde ng’abantu b’omu kitundu ekyo baali ba njawulo nnyo ku bantu b’omu Quebec, Evelyn yabuulira n’obunyiikivu.

Ku nkomerero ya wiiki eyo waliwo ekintu kye nnali sisuubira ekyaliwo. Nnasindikibwa okugenda okuweereza ng’omulabirizi w’ekitundu mu bukiikakkono bwa Ontario. Mu kiseera ekyo, nnali nnaakawasa, nga ndi wa myaka 25 gyokka, era nga sirina bumanyirivu. Naye nnali mukakafu nti Yakuwa yali ajja kunnyamba. Kyali kiseera kya butiti era ffe awamu n’abalabirizi abalala abaali baddayo mu bitundu gye baali baweerereza twalinnya eggaali y’omukka etambula ekiro. Ab’oluganda abo baatuzzaamu nnyo amaanyi! Ow’oluganda omu yatuuka n’okwefiiriza akasenge ke yali apangisizza omwali ekitanda n’akatuwa tusulemu nga tayagala ekiro kyonna tukimaleko nga tutudde. Enkeera, olwo nga twakamala ennaku 15 mu bufumbo, twakyalira ekibinja ekimu mu Hornepayne, nga bwe kiragiddwa ku ntandikwa.

Waliwo n’enkyukakyuka endala ezaaliwo mu bulamu bwaffe. Mu 1960, bwe nnali mpeereza ng’omulabirizi wa disitulikiti, nnafuna ebbaluwa nga bampita okugenda e Brooklyn, New York, mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 36. Lyali lya kutandika mu Febwali 1961 era nga lya kumala emyezi kkumi. Ekyo kyansanyusa nnyo, naye eky’ennaku kyali nti Evelyn yali tayitiddwa. Okufaananako bannyinaffe abalala mu kiseera ekyo, Evelyn baamusaba okuwandiika ebbaluwa ng’alaga nti yali mwetegefu obutaba nange okumala emyezi kkumi. Evelyn yakaaba nnyo, naye yakkiriza ŋŋende mu Ssomero lya Gireyaadi kubanga yali akimanyi nti ekyo kyali kigenda kunnyamba nnyo.

Bwe nnali mu ssomero, Evelyn ye yali aweereza ku ofiisi y’ettabi ey’omu Canada. Yafuna enkizo okubeerako ne mwannyinaffe eyafukibwako amafuta ayitibwa Margaret Lovell. Kya lwatu nti nze ne Evelyn twawulira bubi obutaba ffembi ekiseera ekyo kyonna. Naye Yakuwa yatunyweza era n’atuyamba okweyongera okumuweereza n’obunyiikivu mu kiseera ekyo. Eky’okuba nti Evelyn yali mwetegefu okwefiiriza tusobole okweyongera okuba ab’omugaso eri Yakuwa n’eri ekibiina kye, kyankwatako nnyo.

Oluvannyuma lw’emyezi ng’esatu nga ndi mu Ssomero lya Gireyaadi, Ow’oluganda Nathan Knorr, eyali atwala obukulembeze mu kibiina kya Yakuwa mu nsi yonna, alina ekintu kye yansaba okukola. Yansaba okuddayo e Canada nsomese mu Ssomero ly’Obuweereza bw’Obwakabaka okumala akaseera. Naye yaŋŋamba nti singa nzikiriza okugenda e Canada, nnali nnyinza obutaddamu kuyitibwa mu Ssomero lya Gireyaadi. Ow’oluganda Knorr yaŋŋamba nti nnali wa ddembe okusalawo okugenda oba obutagenda. Ate era yaŋŋamba nti singa nsalawo okusooka okumaliriza essomero lya Gireyaadi oluvannyuma nnandibadde nsindikibwa okuweereza ng’omuminsani mu nsi endala. Yankubiriza okusooka okwogerako ne mukyala wange nga sinnasalawo.

Okuva bwe kiri nti nnali mmanyi engeri Evelyn gy’atwalamu enkizo yonna Yakuwa gy’aba atuwadde, amangu ddala nnagamba Ow’oluganda Knorr nti: “Tuli beetegefu okukola ekintu kyonna ekibiina kya Yakuwa kye kyagala tukole.” Bulijjo tubaddenga beetegefu okukola kyonna ekibiina kya Yakuwa kye kitulagira okukola.

Bwe kityo, mu Apuli 1961, nnava e Brooklyn ne ŋŋenda e Canada okusomesa mu Ssomero ly’Obuweereza bw’Obwakabaka. Oluvannyuma, twayitibwa okuweereza ku Beseri. Kyokka nga wayise ekiseera kitono, nnafuna ebbaluwa empita okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 40 eryaliwo mu 1965. Ne ku luno, Evelyn yali alina okuwandiika ebbaluwa eraga nti mwetegefu okumala ekiseera nga tali nange. Kyokka oluvannyuma lwa wiiki ntono, twasanyuka nnyo, Evelyn naye bwe yayitibwa mu ssomero eryo.

Bwe twatuuka mu Ssomero lya Gireyaadi, Ow’oluganda Knorr yatugamba nti, oluvannyuma lw’essomero, abamu ku ffe abaali bamanyi Olufalansa twali ba kusindikibwa mu Afirika. Kyokka oluvannyuma lw’essomero, baatuzzaayo e Canada! Bwe twatuukayo nnalondebwa okuweereza ng’omulabirizi wa ofiisi y’ettabi (kati ayitibwa Omukwanaganya w’Akakiiko k’Ettabi). Mu kiseera ekyo, nnalina emyaka 34, era nnagamba Ow’oluganda Knorr nti: “Nkyali mutto.” Naye Ow’oluganda Knorr yaŋŋumya. Era bwe nnabanga sinnasalawo ku bintu ebikulu, nnafubanga okwebuuza ku b’oluganda abakulu abaali baweereza ku Beseri abaalina obumanyirivu.

NJIZE EBINTU BINGI KU BESERI

Waliwo ebintu bingi bye njigidde ku b’oluganda be mpeereza nabo ku Kakiiko k’Ettabi. Ate era waliwo n’ebintu ebirala bingi bye njigidde ku b’oluganda ne bannyinaffe, abato n’abakulu, abaweereza ku Beseri n’abo abali mu biibiina yonna gye tuweererezzaako.

Nga nkubiriza okusinza kw’oku makya ku Beseri y’omu Canada

Okuweereza ku Beseri kinsobozesezza okubaako ebintu bye njigiriza bakkiriza bannange n’okunyweza okukkiriza kwabwe. Omutume Pawulo yagamba Timoseewo okweyongera okutambulira mu bintu bye yayiga era bye yawulira okuva gyali, era ng’ebintu ebyo bangi baali babiwaddeko obujulirwa. Era yamukubiriza okubitegeeza abasajja abeesigwa basobole okuba n’ebisaanyizo eby’okuyigiriza abalala. (2 Tim. 2:2; 3:14) Leero, bakkiriza bannange bwe bambuuza ebintu bye njize mu myaka 57 gye mmaze nga mpeereza ku Beseri, ntera okubaddamu nti, “Kikulu nnyo okwesiga Yakuwa n’okukola ebyo byonna ekibiina kye bye kitugamba okukola.”

Nkyajjukira bulungi olunaku lwe nnajja ku Beseri. Nnalina ensonyi nnyingi era nga mpulira sirina bumanyirivu bwonna. Kyokka okumala emyaka gino gyonna, Yakuwa abadde ‘ankutte ku mukono gwange ogwa ddyo.’ Annyambye nnyo ng’ayitira mu bakkiriza bannange abatali bamu era abadde ng’aŋŋamba nti: “Totya; nze nnaakuyambanga.”Is. 41:13.

^ lup. 10 Nga Maayi 22, 1945, gavumenti yakkiriza Abajulirwa ba Yakuwa okubuulira kyere.

^ lup. 16 Mu kiseera ekyo, ekibuga bwe kyabangamu ebibiina ebisukka mu kimu, buli kibiina kyayitibwanga yuniti.