Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yakuwa Katonda wa Ntegeka

Yakuwa Katonda wa Ntegeka

“Katonda si wa luyoogaano, naye wa mirembe.”1 KOL. 14:33.

1, 2. (a) Ani Yakuwa gwe yasooka okutonda, era yamukozesa atya? (b) Kiki ekiraga nti bamalayika bategekeddwa bulungi?

YAKUWA, Omutonzi w’ebintu byonna, buli kimu ky’akola akikola mu ngeri entegeke obulungi. Yakuwa yasooka kutonda Mwana we, Yesu. Bayibuli eyita Yesu “Kigambo” olw’okuba ye mwogezi wa Katonda omukulu. Yesu amazze ebbanga ddene nnyo ng’aweereza Yakuwa. Bayibuli egamba nti: “Ku lubereberye waaliwo Kigambo. Kigambo yali ne Katonda.” Ate era Bayibuli egamba nti: “Ebintu byonna byakolebwa okuyitira mu [Kigambo], era w’ataali tewali kintu kyonna kyakolebwa.” Emyaka egisukka mu 2,000 emabega, Katonda yasindika Kigambo ku nsi ng’omuntu atuukiridde. Ekiseera kyonna kye yamala ku nsi Yesu Kristo yaweereza Kitaawe n’obwesigwa.Yok. 1:1-3, 14.

2 Bwe yali tannajja ku nsi, Yesu yaweereza n’obwesigwa ‘ng’omukozi wa Katonda omukugu.’ (Nge. 8:30, NW) Okuyitira mu Yesu, Yakuwa yatonda bamalayika bangi mu ggulu. (Bak. 1:16) Ng’eyogera ku bamalayika abali mu ggulu, Bayibuli egamba nti: “Enkumi n’enkumi [baweereza Yakuwa], n’obukumi emirundi akakumi bayimirira mu maaso ge.” (Dan. 7:10) Bamalayika abali mu ggulu boogerwako ng’eggye lya Yakuwa. Ekyo kiraga nti bategekeddwa bulungi.Zab. 103:21.

3. Emmunyeenye ne ziseŋŋendo zenkana wa obungi, era zitegekeddwa zitya?

3 Yakuwa bwe yatonda obwengula, yatonda emmunyeenye ne ziseŋŋendo nnyingi nnyo. Olupapula lw’amawulire olumu olw’omu Amerika lugamba nti okunoonyereza okwakolebwa bannasayansi gye buvuddeko awo kulaga nti mu bwengula mulimu emmunyeenye ne ziseŋŋendo ng’obuwumbi 3,000 emirundi obuwumbi 100, kwe kugamba 3 ng’otaddeko zeero 23. Omuwendo ogwo gukubisaamu emirundi esatu ogwo bannasayansi gwe baali balowooza emabega. Emmunyeenye zitegekeddwa bulungi era ziri mu bibinja. Buli kibinja kirimu obuwumbi n’obuwumbi bw’emmunyeenye ne ziseŋŋendo nnyingi. Ate ebibinja by’emmunyeenye ebisinga obungi nabyo biri mu gabinja aganene ennyo.

4. Lwaki twandisuubidde abaweereza ba Yakuwa ku nsi okuba nga bategekeddwa bulungi?

4 Bamalayika abali mu ggulu n’emmunyeenye eziri mu bwengula awamu ne ziseŋŋendo bitegekeddwa bulungi. (Is. 40:26) N’olwekyo twandisuubidde nti n’abaweereza ba Yakuwa ku nsi bandibadde bategekeddwa bulungi. Olw’okuba Yakuwa akwasizza abaweereza be ku nsi omulimu omukulu ennyo, ayagala bagukole mu ngeri entegeke obulungi. Okumala enkumi n’enkumi z’emyaka, Yakuwa abadde ategeka abaweereza be ng’ayagala bamuweereza bulungi. Waliwo ebintu bingi ebiraga nti Yakuwa bulijjo abadde wamu n’abaweereza be era nti ‘si Katonda wa luyoogaano, naye wa mirembe.’Soma 1 Abakkolinso 14:33, 40.

YAKUWA YATEGEKA ABANTU BE MU BISEERA BY’EDDA

5. Ekigendererwa kya Katonda eky’abantu okujjula ensi kyataataaganyizibwa kitya?

5 Yakuwa bwe yamala okutonda abantu abaasooka, yabagamba nti: “Mweyongerenga mwalenga mujjuze ensi mugirye; mufugenga eby’omu nnyanja n’ebibuuka waggulu na buli ekirina obulamu ekitambula ku nsi.” (Lub. 1:28) Yakuwa Katonda yali ayagala abantu bagende nga beeyongera okwala mu nsi mu ngeri entegeke obulungi era bagende nga bagaziya olusuku lwe okutuusa bwe lwandibunye ensi yonna. Kyokka Adamu ne Kaawa bwe baayonoona, ekigendererwa kya Katonda ekyo kyataataaganyizibwamuko. (Lub. 3:1-6) Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, ‘Yakuwa yalaba obubi bw’omuntu nga bungi mu nsi era na buli kufumiitiriza kw’ebirowoozo okw’omu mutima gwe nga kubi kwereere bulijjo.’ ‘Ensi yali eyonoonese mu maaso ga Katonda era ng’ejjudde ebikola eby’obukambwe.’ N’ekyavaamu, Katonda yasalawo okuleeta amataba ku nsi azikirize abantu ababi bonna.Lub. 6:5, 11-13, 17.

6, 7. (a) Lwaki Nuuwa yasiimibwa mu maaso ga Yakuwa? (Laba ekifaananyi ku lupapula 21.) (b) Kiki ekyatuuka ku bantu abataalina kukkiriza abaaliwo mu kiseera kya Nuuwa?

6 Bayibuli eraga nti Nuuwa yasiimibwa mu maaso ga Yakuwa. Lwaki? Kubanga Nuuwa “yali mutuukirivu,” nga taliiko kya kunenyezebwa mu bantu ab’omulembe gwe. Olw’okuba ‘Nuuwa yatambulira wamu ne Katonda ow’amazima,’ Yakuwa yamukwasa omulimu ogw’okuzimba eryato era n’amuwa obulagirizi obwali bwetaagisa okulizimba. (Lub. 6:8, 9, 14-16) Ekyo kyandiyambye Nuuwa okuzimba eryato eryo obulungi ne kisobozesa abantu n’ebisolo okuwonawo. Nuuwa yagondera Yakuwa ‘n’akola byonna nga bwe yamulagira,’ era ab’omu maka ge nabo baakolera wamu naye ne basobola okukola omulimu ogwo mu ngeri entegeke obulungi. Nuuwa bwe yamala okuyingiza ebisolo mu lyato, Yakuwa yaggalawo oluggi.Lub. 7:5, 16.

7 Mu mwaka gwa 2370 E.E.T., Yakuwa yaleeta Amataba n’asaanyaawo ‘buli kintu ekiramu ekyali ku nsi,’ naye n’awonyaawo Nuuwa awamu n’ab’omu maka ge. (Lub. 7:23) Mu butuufu, abantu bonna kati abali ku nsi baava mu Nuuwa n’ab’omu maka ge. Kyokka abantu bonna abataalina kukkiriza era abaagaana okuwuliriza Nuuwa, “omubuulizi w’obutuukirivu,” baazikirizibwa.2 Peet. 2:5.

Entegeka ennungi yasobozesa abantu omunaana okuwonawo mu Mataba (Laba akatundu 6, 7)

8. Kiki ekiraga nti Abaisiraeri bwe baali tebannayingira mu Nsi Ensuubize baali bategekeddwa bulungi?

8 Nga wayise ebyasa ebisukka mu munaana oluvannyuma lw’Amataba, Katonda yategeka Abaisiraeri n’abafuula eggwanga. Yabayamba okukola buli kintu mu ngeri entegeke obulungi naddala bwe kituuka ku ngeri gye baalina okumusinzaamu. Ng’ekyokulabirako, ng’oggyeko okuba ne bakabona n’Abaleevi bangi, Abaisiraeri baalina ‘n’abakazi abaaweerezanga ku mulyango gwa weema ey’okusisinkanirangamu.’ (Kuv. 38:8) Kyokka Yakuwa bwe yalagira Abaisiraeri okuyingira mu nsi ya Kanani, bangi ku bo baatya ne bagaana okuyingira mu nsi eyo. Yakuwa yabagamba nti: “Mazima temulituuka mu nsi, gye nnayimusiriza omukono gwange okubatuuza omwo, wabula Kalebu mutabani wa Yefune, ne Yoswa mutabani wa Nuuni” abaaleeta alipoota ennungi oluvannyuma lw’okuketta Ensi Ensuubize. (Kubal. 14:30, 37, 38) Oluvannyuma Yakuwa yalonda Yoswa okukulembera Abaisiraeri. (Kubal. 27:18-23) Yoswa bwe yali anaatera okuyingiza Abaisiraeri mu Nsi Ensuubize, Yakuwa yamugamba nti: “Ddamu amaanyi, guma omwoyo; totyanga, so teweekanganga: kubanga Mukama Katonda wo ali naawe buli gy’onoogendanga.”Yos. 1:9.

9. Lakabu yali atwala atya Yakuwa awamu n’ekibiina kye?

9 Yakuwa Katonda yali wamu ne Yoswa yonna gye yagendanga. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ekyo ekyaliwo ng’Abaisiraeri basiisidde okumpi n’ekibuga Yeriko ekya Kanani. Mu mwaka gwa 1473 E.E.T., Yoswa yasindika abasajja babiri okuketta ekibuga Yeriko, era nga bali eyo baatuuka mu maka ga Lakabu, omukazi eyali malaaya. Kabaka wa Yeriko bwe yasindika abasajja be okukwata abakessi abo, Lakabu yabakweka mu kasolya k’ennyumba ye. Lakabu yagamba abakessi abo nti: “Mmanyi nga Mukama abawadde ensi . . . , kubanga twawulira Mukama bwe yakaliza ennyanja emmyufu mu maaso gammwe . . . [ne] kye mwakola bakabaka ababiri ab’Abamoli.” Era yabagamba nti: “Mukama Katonda wammwe, oyo ye Katonda waggulu mu ggulu, era wansi ku nsi.” (Yos. 2:9-11) Olw’okuba Lakabu yawagira ekibiina kya Yakuwa ekyaliwo mu kiseera ekyo, Katonda yamuwonyaawo awamu n’ab’omu maka ge ng’ekibuga Yeriko kizikirizibwa. (Yos. 6:25) Lakabu yalina okukkiriza okw’amaanyi era yali assa ekitiibwa mu Yakuwa awamu n’ekibiina kye.

ABAKRISTAAYO ABAASOOKA BAALI BATEGEKEDDWA BULUNGI

10. Kiki Yesu kye yagamba abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya, era lwaki yabagamba ebigambo ebyo?

10 Yoswa yakulembera Abaisiraeri ne basobola okuwamba ensi ya Kanani. Naye ekiseera bwe kyagenda kiyitawo Abaisiraeri baatandika okumenya amateeka ga Katonda, era ekyo baakikola enfunda n’enfunda. Mu kiseera Yakuwa we yasindikira Omwana we ku nsi, Abaisiraeri baali bafuuse bajeemu nnyo ne kiba nti Yesu yatuuka n’okugamba nti Yerusaalemi yali “atta bannabbi.” (Soma Matayo 23:37, 38.) Olw’okuba abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya baali bajeemu, Yakuwa yalekera awo okukolagana nabo. Yesu yabagamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda bujja kubaggibwako buweebwe eggwanga eribala ebibala byabwo.”Mat. 21:43.

11, 12. (a) Kiki ekiraga nti mu kyasa ekyasooka, Yakuwa yalekera awo okukolagana n’eggwanga lya Isiraeri n’atandika okukolagana n’ekibiina ekipya? (b) Baani abaali mu kibiina ekyo ekipya?

11 Mu kyasa ekyasooka E.E., Yakuwa yalekera awo okukolagana n’eggwanga lya Isiraeri eritaali lyesigwa. Kyokka ekyo kyali tekitegeeza nti yali takyalina kibiina ky’abaweereza be abeesigwa ku nsi. Yakuwa yatandika okukolagana n’ekibiina ekipya eky’abagoberezi ba Yesu Kristo. Ekibiina ekyo kyatandikibwawo ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E. Mu kiseera ekyo, abayigirizwa ba Yesu nga 120 baali bakuŋŋaanidde mu kifo ekimu mu Yerusaalemi era “amangu ago ne wabaawo okuwuuma okw’amaanyi okwava mu ggulu nga kulinga okw’embuyaga ey’amaanyi, ne kujjula enju yonna mwe baali.” Awo “ne balaba ennimi eziringa ez’omuliro nga zeeyawuddemu, buli lumu ne lutuula ku buli omu ku bo, bonna ne bajjula omwoyo omutukuvu ne batandika okwogera mu nnimi ez’enjawulo ng’omwoyo bwe gwabasobozesa.” (Bik. 2:1-4) Ekyo ekyaliwo kyalaga nti kati Yakuwa yali akolagana n’ekibiina ekipya eky’abayigirizwa ba Kristo.

12 Ku lunaku olwo, ku bagoberezi ba Yesu ‘kweyongerako abantu ng’enkumi ssatu.’ Ate era, ‘buli lunaku Yakuwa yabongerangako abantu abaalokolebwanga.’ (Bik. 2:41, 47) Abagoberezi ba Kristo abaaliwo mu kyasa ekyasooka baabuulira n’obunyiikivu ne kiba nti ‘ekigambo kya Katonda kyeyongera okukula era omuwendo gw’abayigirizwa ne gweyongera nnyo mu Yerusaalemi.’ Ate era ne ‘bakabona bangi baafuuka bakkiriza.’ (Bik. 6:7) Abantu bangi ab’emitima emirungi bakkiriza obubaka obwali bubuulirwa abagoberezi ba Kristo mu kyasa ekyasooka. Ate era oluvannyuma Yakuwa yakiraga nti yali awagira ekibiina Ekikristaayo bwe yakkiriza “n’ab’amawanga” okwegatta ku kibiina ekyo.Soma Ebikolwa 10:44, 45.

13. Mulimu ki ekibiina kya Katonda ekipya gwe kyalina okukola?

13 Abagoberezi ba Kristo baali bamanyi bulungi omulimu Katonda gwe yali ayagala bakole. Yesu kennyini yabateerawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eno, kubanga oluvannyuma lw’okubatizibwa, yatandikirawo okubuulira abalala ebikwata ku ‘Bwakabaka obw’omu ggulu.’ (Mat. 4:17) Yesu yakubiriza n’abayigirizwa be okukola omulimu ogwo. Yabagamba nti: “Muliba bajulirwa bange mu Yerusaalemi, mu Buyudaaya mwonna, mu Samaliya, n’okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba ewala.” (Bik. 1:8) Tewali kubuusabuusa nti Abakristaayo abaasooka baali bamanyi bulungi ekyo kye baali balina okukola. Ng’ekyokulabirako, mu Antiyokiya eky’omu Pisidiya, Pawulo ne Balunabba baagamba Abayudaaya nti: “Kyali kigwanira ekigambo kya Katonda okusooka okwogerwa gye muli. Naye okuva bwe mukigaanye, ne mwetwala nti temusaanira kufuna bulamu butaggwaawo, ka tugende eri ab’amawanga. Mu butuufu, Yakuwa atuwadde ekiragiro ng’agamba nti, ‘Nkulonze okuba ekitangaala ky’amawanga, n’obulokozi eri ebitundu by’ensi ebisinga okuba eby’ewala.’” (Bik. 13:14, 45-47) Okuviira ddala mu kyasa ekyasooka, ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Katonda kibadde kiyamba abantu okumanya ebyo Yakuwa by’akoze okusobola okubalokola.

ABAWEEREZA BA KATONDA BAWONAWO

14. Kiki ekyatuuka ku kibuga Yerusaalemi mu kyasa ekyasooka, era baani abaawonawo?

14 Abayudaaya abasinga obungi baagaana okukkiriza amawulire amalungi, era tebassaayo mwoyo ku kulabula Yesu kwe yawa. Yesu yali yagamba abayigirizwa be nti: “Bwe muliraba Yerusaalemi nga kyetooloddwa amagye, awo mumanyanga nti okuzikirizibwa kwakyo kunaatera okutuuka. Abo abaliba mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi, abalikibaamu bakivangamu, n’abo abaliba mu byalo tebakiyingirangamu.” (Luk. 21:20, 21) Ebyo Yesu bye yayogera byatuukirira. Abayudaaya bwe beegugunga, ekyo kyaleetera eggye lya Rooma eryali liduumirwa Cestius Gallus okulumba ekibuga Yerusaalemi ne likyetooloola mu mwaka gwa 66 E.E. Kyokka nga tekisuubirwa, eggye eryo lyagumbulukuka ne ligenda, era ekyo ne kiwa abagoberezi ba Yesu akakisa okuva mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya. Okusinziira ku munnabyafaayo ayitibwa Eusebius, bangi ku bo baddukira mu Pella eky’omu Pereya, e mitala w’Omugga Yoludaani. Mu mwaka gwa 70 E.E., eggye lya Rooma, nga liduumirwa Tito lyakomawo ne lizikiriza Yerusaalemi. Naye Abakristaayo abaali abeesigwa bawonawo olw’okuba bakolera ku kulabula Yesu kwe yali abawadde.

15. Biki ebyali biyinza okulemesa ekibiina Ekikristaayo okwongera okukulaakulana?

15 Wadde ng’Abakristaayo abaasooka baafuna ebizibu bingi era baayigganyizibwa nnyo, ekibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka kyeyongera okukulaakulana. (Bik. 11:19-21; 19:1, 19, 20) Ekyo kyali kityo kubanga Katonda yawa Abakristaayo abo omukisa.Nge. 10:22.

16. Kiki buli Mukristaayo kye yalina okukola okusobola okunyweza okukkiriza kwe?

16 Buli Mukristaayo yalina okubaako ky’akolawo okusobola okunyweza okukkiriza kwe. Buli omu yalina okufuba okwekenneenya Ebyawandiikibwa, okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa, n’okunyiikirira omulimu gw’okubuulira. Ebintu ebyo byayamba abantu ba Yakuwa abaaliwo mu kiseera ekyo okunyweza okukkiriza kwabwe n’okusigala nga bali bumu, nga naffe bwe bituyamba. Ekibiina ekyo Ekikristaayo kyali kitegekeddwa bulungi nga kirimu abakadde n’abaweereza, era abasajja abo baayambanga nnyo abo bonna abaakirimu. (Baf. 1:1; 1 Peet. 5:1-4) Ate era abalabirizi abakyalira ebibiina, gamba nga Pawulo, bateekwa okuba nga bazzangamu nnyo amaanyi abo abaali mu kibiina Ekikristaayo. (Bik. 15:36, 40, 41) Mu butuufu kitusanyusa nnyo okulaba nti leero waliwo ebintu bingi bye tufaanaganya n’Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka. Era tuli basanyufu okuba nti okuva edda n’edda Yakuwa abadde ategeka abaweereza be! *

17. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

17 Tuli mu nnaku ez’oluvannyuma, era ensi ya Sitaani eneetera okuzikirizibwa. Mu kiseera kino ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Yakuwa kitambulira ku sipiidi ya waggulu okusinga bwe kyali kibadde. Ofuba okutambulira awamu n’ekibiina kya Yakuwa? Ofuba okukulaakulana mu by’omwoyo? Ekitundu ekiddako kijja kukuyamba okulaba engeri ekyo gy’oyinza okukikolamu.

^ lup. 16 Laba ekitundu “Abakristaayo Basinza mu Mwoyo n’Amazima” ne “Beeyongera Okutambulira mu Mazima” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Agusito 1, 2002. Ebisingawo ebikwata ku kitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Yakuwa bisangibwa mu kitabo Jehovah’s WitnessesProclaimers of God’s Kingdom.