Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bw’Oba Obuulira, Fuba Okuyisa Abalala nga Bwe Wandyagadde Bakuyise

Bw’Oba Obuulira, Fuba Okuyisa Abalala nga Bwe Wandyagadde Bakuyise

“Ebintu byonna bye mwagala abalala okubakolanga, nammwe mubibakolenga.”MAT. 7:12.

1. Lwaki kikulu okukolera ku bigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 7:12 nga tubuulira? Waayo ekyokulabirako. (Laba ekifaananyi waggulu.)

EMYAKA mitono emabega, waliwo ow’oluganda ne mukyala we ab’omu Fiji abaali bayita abantu okubaawo ku mukolo gw’okujjukira okufa kwa Kristo. Naye bwe baali boogera n’omukyala omu, enkuba yatandika okutonnya. Ow’oluganda yawa omukyala oyo manvuuli emu, ate ye ne mukyala we ne bakozesa endala. Ow’oluganda oyo ne mukyala we baasanyuka nnyo okulaba ng’omukyala oyo azze ku mukolo gw’Ekijjukizo. Omukyala oyo yagamba nti tajjukira bulungi ebyo ababuulizi abo bye baamugamba nga bagenze ewuwe. Naye ky’ajjukira kiri nti baamufaako nnyo n’awulira ng’alina okubeerawo ku mukolo gw’Ekijjukizo. Tewali kubuusabuusa nti omukyala oyo yakwatibwako nnyo olw’okuba ow’oluganda oyo ne mukyala we baakolera ku bigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 7:12.

2. Bigambo ki Yesu bye yayogera ebiri mu Matayo 7:12, era tuyinza tutya okubikolerako?

2 Yesu yagamba nti: “Ebintu byonna bye mwagala abalala okubakolanga, nammwe mubibakolenga.” (Mat. 7:12) Tuyinza tutya okukolera ku bigambo ebyo? Waliwo ebintu bibiri ebikulu bye tusaanidde okukola. Okusookera ddala, tusaanidde okwebuuza, ‘Singa nze mbadde mu mbeera y’omuntu ono, nnandyagadde mpisibwe ntya?’ Oluvannyuma, tusaanidde okukola kyonna ekisoboka okuyisa omuntu oyo nga naffe bwe twandyagadde okuyisibwa.1 Kol. 10:24.

3, 4. (a) Ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 7:12 tusaanidde kubikolerako nga tukolagana na bakkiriza bannaffe bokka? Nnyonnyola. (b) Kiki kye tugenda okwetegereza mu kitundu kino?

3 Ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 7:12 tusaanidde kubikolerako nga tukolagana na bakkiriza bannaffe bokka? Nedda. Mu kwogera ebigambo ebyo, Yesu yali alaga engeri gye tusaanidde okuyisaamu abantu bonna, nga mw’otwalidde n’abalabe baffe. (Soma Lukka 6:27, 28, 31, 35.) N’olwekyo, ebigambo bya Yesu ebyo tusaanidde n’okubikolerako nga tubuulira. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kusobola okuyamba abantu bangi okufuna “obulamu obutaggwaawo”!Bik. 13:48.

4 Mu kitundu kino, tugenda kwetegereza ebintu bina bye tusaanidde okulowoozaako nga tubuulira: Baani be ŋŋenda okubuulira? Wa gye nnaabasanga? Ddi lwe nnyinza okubabuulira? Nnyinza ntya okwogera nabo? Nga bwe tujja okulaba, ebibuuzo ebyo bisobola okutuyamba okutegeera engeri abantu gye bandyagadde okuyisibwamu. Ekyo kijja kutuyamba okumanya engeri gye tuyinza okwogeramu n’abantu ab’enjawulo.1 Kol. 9:19-23.

BAANI BE ŊŊENDA OKUBUULIRA?

5. Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?

5 Bwe tuba tubuulira tusanga abantu abaakulira mu mbeera ez’enjawulo era abalina ebizibu eby’enjawulo. (2 Byom. 6:29) N’olwekyo, bwe tuba tubuulira omuntu yenna tusaanidde okwebuuza: ‘Singa nze mbadde omuntu ono, nnandyagadde mpisibwe ntya? Nnandyagadde omuntu okutandika okuteebereza ekyo kye ndi nga tasoose na kutegeera binkwatako? Oba nnandyagadde omuntu oyo asooke ategeere bulungi ebinkwatako?’ Okwebuuza ebibuuzo ng’ebyo kisobola okutuyamba okufaayo ku buli muntu nga tubuulira.

6, 7. Kiki kye tusaanidde okukola singa tuba tubuulira ne tusanga omuntu n’atukambuwalira?

6 Tewali n’omu yandyagadde abalala okumutwala ng’omuntu omubi. Ng’ekyokulabirako: Ffenna Abakristaayo tufuba okulaba nti ‘bulijjo ebigambo byaffe biba bya kisa.’ (Bak. 4:6) Naye olw’okuba tetutuukiridde, ebiseera ebimu twogera ebintu ate oluvannyuma ne tubyejjusa. (Yak. 3:2) Singa twogera bubi n’omuntu, oboolyawo olw’okuba tulina ebizibu, tetwandyagadde muntu oyo atutwale ng’abantu abakambwe oba abatafaayo ku balala. Tuba tusuubira nti omuntu oyo ajja kutegeera embeera gye tulimu. Ekyo kituyamba okukiraba nti abantu abamu abatuddamu obubi nga tubuulira, oluusi embeera gye babaamu y’eba ebaleetedde okweyisa batyo.

7 Singa omuntu gw’oba obuulira akukambuwalira, olowooza tekyandibadde kya magezi okugezaako okumanya ensonga lwaki yeeyisizza bw’atyo? Kyandiba nti alina ebimusumbuwa ku mulimu oba ku ssomero? Kyandiba nti mulwadde? Waliwo abantu bangi abaakambuwalira Abajulirwa ba Yakuwa ku mulundi gwe baasooka okubabuulira, naye oluvannyuma ne bakkiriza okuyiga amazima olw’okuba Abajulirwa baabakwata mu ngeri ey’obukkakkamu era ey’ekisa.Nge. 15:1; 1 Peet. 3:15.

8. Lwaki tusaanidde okubuulira “abantu aba buli ngeri”?

8 Bwe tuba tubuulira tetusosola mu bantu. Okugeza, mu myaka mitono egiyise waliwo ebyokulabirako ebisukka mu 60 ebifulumidde mu Omunaala gw’Omukuumi mu kitundu ekirina omutwe, “Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu.” Abamu ku bantu abaayogerwako mu kitundu ekyo baali babbi, batamiivu, bayaaye, oba nga bakozesa ebiragalalagala. Abalala baali bannabyabufuzi, bakulembeze b’amadiini, oba nga beemalidde ku mirimu gyabwe. Ate era abamu baali bagwenyufu nnyo. Naye abantu abo bonna baabuulirwa amawulire amalungi, ne bakkiriza okuyiga Bayibuli, ne bakola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe, era ne beegatta ku kusinza okw’amazima. N’olwekyo, tetusaanidde kulowooza nti waliwo abantu abamu abatasobola kukkiriza mazima. (Soma 1 Abakkolinso 6:9-11.) “Abantu aba buli ngeri” basobola okukkiriza amazima era ne beegatta ku kibiina kya Yakuwa.1 Kol. 9:22.

WA GYE NNAASANGA ABANTU?

9. Lwaki tusaanidde okussa ekitiibwa mu maka g’abantu abalala?

9 Wa gye tusanga abantu nga tubuulira? Tutera okubasanga mu maka gaabwe. (Mat. 10:11-13) Tewali n’omu ku ffe yandyagadde bantu balala kumala gasaalimbira mu maka ge oba okumala gakwata bintu bye nga bw’ayagala. Ffenna, amaka gaffe tugatwala ng’ekintu eky’omuwendo. Twagala amaka agaffe okuba ekifo we tuwulirira emirembe n’obukuumi. Naffe bwe tutyo bwe tusaanidde okutwala amaka g’abantu abalala. N’olwekyo, bwe tuba tubuulira nnyumba ku nnyumba, tusaanidde okussa ekitiibwa mu maka g’abantu.Bik. 5:42.

10. Tuyinza tutya okwewala okuleetera abantu okutwekengera nga tubuulira?

10 Mu nsi eno ejjudde abantu ababi, abantu batera okwekengera abantu be batamanyi. (2 Tim. 3:1-5) N’olwekyo, tusaanidde okwewala okukola ekintu kyonna ekiyinza okuleetera abantu okutwekengera. Ng’ekyokulabirako, watya singa ogenda n’okonkona ku luggi lw’omuntu naye n’otowulirayo kanyego. Olw’okuba toyagala kuleka muntu yenna nga tomubuulidde, oyinza okwagala okulingiza mu ddirisa oba okwetooloola emmanju w’ennyumba. Naye kikulu okwebuuza, ‘Ekyo kiyinza kuyisa kitya ab’omu maka gano? Baliraanwa banaalowooza ki?’ Kyo kituufu nti tulina okufuba okutuuka ku buli muntu nga tubuulira. (Bik. 10:42) Twagala okutuusa ku buli muntu amawulire amalungi era tetulina bigendererwa bikyamu. (Bar. 1:14, 15) Wadde kiri kityo, tetwagala kukola kintu kyonna ekiyinza okuleetera abantu ab’omu kitundu mwe tubuulira okutwekengera. Omutume Pawulo yagamba nti: “Tetwagala kukola kintu kyonna kyesittaza, obuweereza bwaffe buleme okuvumirirwa.” (2 Kol. 6:3) Bwe tussa ekitiibwa mu maka g’abo be tubuulira awamu n’ebintu byabwe, kiyinza okubaleetera okukkiriza amazima.Soma 1 Peetero 2:12.

Tusaanidde okussa ekitiibwa mu maka g’abantu ne mu bintu byabwe (Laba akatundu 10)

DDI LWE NNYINZA OKUBUULIRA ABANTU?

11. Lwaki kitusanyusa nnyo abalala bwe bakiraga nti bafaayo ku biseera byaffe?

11 Bangi ku ffe tulina eby’okukola bingi nnyo. N’olwekyo okusobola okukola ebintu byonna bye twetaaga okukola tulina okuba n’enteekateeka ennungi. (Bef. 5:16; Baf. 1:10) Singa wabaawo ekintu ekitaataaganya enteekateeka yaffe, tuwulira bubi. N’olwekyo kitusanyusa nnyo singa abalala teboonoona biseera byaffe, era singa bakimanya nti oluusi tuyinza obutaba na biseera bingi bya kumala nabo. Kati olwo ebigambo ebiri mu Matayo 7:12 biyinza bitya okutuyamba okukiraga nti tufaayo ku biseera by’abantu nga tubuulira?

12. Tuyinza tutya okumanya ekiseera ekisingayo obulungi lwe tuyinza okubuulira abantu abali mu kitundu kyaffe?

12 Tusaanidde okumanya ekiseera ekisingayo obulungi lwe tuyinza okubuulira abantu abali mu kitundu kyaffe. Kikulu okwebuuza, ‘Ddi abantu b’omu kitundu kino lwe batera okubeera awaka? Ddi lwe bayinza okuba abeetegefu okutuwuliriza?’ Bwe tumala okumanya ebintu ebyo, kiba kya magezi okukola enkyukakyuka ezeetaagisa mu nteekateeka yaffe ey’okubuulira. Mu nsi ezimu, kizuuliddwa nti okubuulira nnyumba ku nnyumba olweggulo oba akawungeezi kivaamu ebibala bingi. Bwe kiba nga bwe kityo bwe kiri ne mu kitundu kyo, oyinza okukola enkyukakyuka mu nteekateeka yo osobole okubuulirako nnyumba ku nnyumba mu kiseera ekyo? (Soma 1 Abakkolinso 10:24.) Yakuwa ajja kukuwa emikisa mingi singa oneefiiriza n’okola enkyukakyuka ezeetaagisa osobole okubuulira mu biseera abantu b’omu kitundu kyo we babeerera awaka era nga beetegefu okukuwuliriza.

13. Tuyinza tutya okulaga nti tussa ekitiibwa mu bantu be tubuulira?

13 Waliwo n’engeri endala gye tuyinza okukiraga nti tussa ekitiibwa mu bantu be tubuulira. Singa tusanga omuntu n’atuwuliriza, tusaanidde okumuwa obudde obumala. Kyokka tusaanidde okwewala okulwawo ennyo nga twogera naye. Omuntu oyo ayinza okuba ng’alina ebintu ebirala by’ayagala okukola. Ate singa omuntu atugamba nti talina biseera, tuyinza okumusaba atuweeyo eddakiika ntonotono, era bw’azituwa tetusaanidde kuzisussaamu. (Mat. 5:37) Oluvannyuma lw’okubuulira omuntu, kiba kirungi okumubuuza atubuulire ddi lwe yandyagadde tuddeyo okumulaba. Ababuulizi abamu batera okugamba omuntu nti: “Njagala nkomewo tweyongere okuyiga ebisingawo. Naye wandyagadde nsooke nkukubire ku ssimu oba nkuweereze mmesegi nga sinnajja?” Bwe tukola enkyukakyuka mu nteekateeka yaffe ey’okubuulira okusobola okuyamba abantu okuyiga amazima tuba tukoppa Pawulo, eyagamba nti: “Seenoonyeza bigasa nze wabula ebigasa abangi, basobole okulokolebwa.”1 Kol. 10:33.

NNYINZA NTYA OKWOGERA N’ABANTU?

14-16. (a) Lwaki tusaanidde okuyamba omuntu okutegeera obulungi ensonga lwaki tumukyalidde? Waayo ekyokulabirako. (b) Nkola ki ennungi omulabirizi w’ekitundu omu gy’akozesa ng’abuulira?

14 Kuba akafaananyi ng’omuntu gw’otomanyi akukubidde essimu era n’akubuuza emmere gy’osinga okuwoomerwa. Oyinza okutandika okwebuuza: Omuntu ono y’ani era ayagala ki? Olw’okwagala okwoleka obuntu bulamu, oyinza okweyongera okwogera naye, kyokka mu ngeri emu oba endala n’okiraga nti oyagala okukomya emboozi. Ku luuyi olulala, singa omuntu oyo asooka n’akubuulira ebimukwatako, n’akutegeeza nti akolera mu kitongole ky’eby’obulamu, era n’akugamba nti alina obubaka obukulu bw’ayagala okukubuulira, ekyo kiyinza okukuleetera okwagala okumuwuliriza. Ekyo kiri kityo kubanga ebiseera ebisinga twagala nnyo omuntu atatwekweekerera ng’ayogera naffe. Okumanya ekyo, kiyinza kitya okutuyamba nga tubuulira?

15 Bwe tuba tubuulira kiba kirungi okuyamba omuntu okutegeera obulungi ensonga eba etututte mu maka ge. Kyo kituufu nti obubaka bwe tutwalira abantu bukulu nnyo era babwetaaga. Naye watya singa tetweyanjulira muntu ate ne tutandika okwogera naye nga tumubuuza ekibuuzo nga kino: “Singa obadde osobola okumalawo ebizibu byonna ebiri mu nsi, kizibu ki kye wandisoose okuggyawo?” Tubuuza ekibuuzo ng’ekyo nga twagala okumanya endowooza omuntu gy’alina era nga twagala okukozesa Bayibuli okumuyamba okuyiga amazima. Kyokka, omuntu gwe twogera naye ayinza okutandika okwebuuza: ‘Omuntu ono y’ani, era lwaki ambuuzizza ekibuuzo kino? Ali ku ki?’ Tetwagala kuteeka bantu ku bunkenke. (Baf. 2:3, 4) Ekyo tuyinza tutya okukyewala?

16 Omulabirizi omu akyalira ebibiina atera okukozesa enkola eno. Oluvannyuma lw’okulamusa omuntu, amukwasa tulakiti Wandyagadde Okumanya Amazima? era n’amugamba nti: “Leero tuzze nga tugabira abantu ab’omu kitundu kino akapapula kano. Kaddamu ebibuuzo mukaaga abantu bangi bye batera okwebuuza. Kano ke kako.” Ow’oluganda oyo agamba nti abantu bwe bategeera obulungi ensonga eba emututte mu maka gaabwe, emirundi egisinga baba beetegefu okumuwuliriza. Oluvannyuma ow’oluganda oyo abuuza omuntu nti: “Wali weebuuzizzaako ekimu ku bibuuzo bino?” Omuntu bw’abaako ekibuuzo ky’alonze, ow’oluganda oyo abikkula tulakiti ne bakubaganya ebirowoozo ku ekyo Bayibuli ky’eyigiriza. Kyokka omuntu bw’atabaako kibuuzo ky’alonze, ow’oluganda oyo tamuteeka ku nninga, wabula asalawo okukimulondera. Kya lwatu nti waliwo engeri nnyingi gye tuyinza okutandika okwogeramu n’abantu. Mu bitundu ebimu, abantu bayinza okukitwala obubi singa otuukira ku nsonga eba ekututte. N’olwekyo kikulu nnyo okutuukanya ennyanjula zaffe n’empisa ez’omu kitundu tusobole okusikiriza abantu okutuwuliriza.

WEEYONGERE OKUYISA ABALALA NGA BWE WANDYAGADDE BAKUYISE

17. Okusinziira ku ebyo bye tulabye, tuyinza tutya okukolera ku bigambo ebiri mu Matayo 7:12?

17 Okusinziira ku ebyo bye tulabye, tuyinza tutya okukolera ku bigambo ebiri mu Matayo 7:12? Tusaanidde okufaayo ku buli muntu gwe tusanga nga tubuulira. Tusaanidde okussa ekitiibwa mu maka g’abantu be tubuulira awamu n’ebintu byabwe. Tusaanidde okufuba okugenda okubuulira mu kiseera abantu we babeerera awaka era nga beetegefu okutuwuliriza. Ate era tusaanidde okwanjula obubaka bwaffe mu ngeri etuukana n’empisa ey’omu kitundu.

18. Birungi ki ebivaamu singa tufuba okuyisa abalala nga naffe bwe twandyagadde batuyise?

18 Waliwo ebirungi bingi ebivaamu singa tuyisa abantu be tubuulira nga bwe twandyagadde batuyise. Abantu bwe tubakwata mu ngeri ey’ekisa era ne tukiraga nti tubafaako, kiba kiraga nti tukolera ku misingi egiri mu Bayibuli era ekyo kiweesa Kitaffe ow’omu ggulu ekitiibwa. (Mat. 5:16) Ate era singa tukiraga nti tussa ekitiibwa mu bantu be tubuulira kiyinza okubasikiriza okuyiga amazima. (1 Tim. 4:16) Ka kibe nti abantu be tubuulira bakkiriza amazima oba bagagaana, tujja kuba bamativu okukimanya nti tukoze kyonna ekisoboka okubayamba. (2 Tim. 4:5) N’olwekyo, ka buli omu ku ffe afube okukoppa omutume Pawulo eyagamba nti: “Nkola ebintu byonna olw’amawulire amalungi nsobole okugabuulirako abalala.” (1 Kol. 9:23) Era ka ffenna tufube okuyisa abalala nga bwe twandyagadde batuyise.