OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Jjuuni 2014

Magazini eno erimu ebitundu ebirina okusomebwa mu kibiina wakati wa Agusito 4 ne 31, 2014.

‘Tereeza Ekkubo ly’Ebigere Byo’ Osobole Okukulaakulana

Oyinza otya okuggyawo emiziziko egiyinza okukulemesa okutuuka ku biruubirirwa byo eby’omwoyo?

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Abakristaayo basaanidde kutwala batya enkola ey’okwokya emirambo?

Okuyamba Mukkiriza Munno Eyagattululwa?

Laba obuzibu abo ababa bagattuluddwa bwe boolekagana nabwo n’enneewulira ze batera okufuna.

“Oteekwa Okwagala Yakuwa Katonda Wo”

Laba ekyo Yesu kye yali ategeeza bwe yagamba nti tuteekwa okwagala Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, n’obulamu bwaffe bwonna, n’amagezi gaffe gonna.

“Oteekwa Okwagala Muntu Munno nga Bwe Weeyagala Wekka”

Kiki Yesu kye yali ategeeza bwe yagamba nti tuteekwa okwagala bantu bannaffe? Ekyo tuyinza tutya okukikola?

Okyajjukira?

Ofubye okusoma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ze tufunye mu myezi egyakayita? Laba bibuuzo ki by’osobola okuddamu.

Obunafu bw’Abalala Obutunuulira nga Yakuwa bw’Abutunuulira?

Osobola okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bakkiriza banno abalabika ng’abanafu.

Yamba Abalala Okukozesa Obusobozi Bwabwe mu Bujjuvu

Tuyinza tutya okuyamba abo abakyali abato n’abo abaakabatizibwa okukulaakulana mu by’omwoyo?