Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obunafu bw’Abalala Obutunuulira nga Yakuwa bw’Abutunuulira?

Obunafu bw’Abalala Obutunuulira nga Yakuwa bw’Abutunuulira?

“Ebitundu eby’omubiri ebirabika ng’ebinafu bya mugaso.”1 KOL. 12:22.

1, 2. Lwaki Pawulo yali alumirirwa abanafu?

FFENNA ebiseera ebimu tuwulira nga tunafuye. Bwe tuba mu mbeera ng’eyo kiyinza okutuzibuwalira okukola ebintu bye twandyagadde okukola. Naye watya singa obeera mu mbeera ng’eyo okumala ekiseera kiwanvu, wandyagadde abalala bakuyise batya? Tewali kubuusabuusa nti wandyagadde bategeere embeera gy’olimu era bakirage nti bakufaako.

2 Ebiseera ebimu omutume Pawulo yalina ebintu ebyamumalangamu amaanyi, ng’ebimu biva mu kibiina ate ng’ebirala biva bweru waakyo. Mu butuufu, ebiseera ebimu yawuliranga ng’ebizibu bimuyitiriddeko. (2 Kol. 1:8; 7:5) Bwe yali ayogera ku bintu bye yayitamu mu bulamu ne ku bizibu ebingi bye yayolekagana nabyo ng’aweereza Yakuwa, Pawulo yagamba nti: “Ani aba omunafu ne siba munafu?” (2 Kol. 11:29) Era bwe yali ayogera ku abo abali mu kibiina Ekikristaayo, abageraageranyizibwa ku bitundu by’omubiri, Pawulo yagamba nti abo ‘abalabika ng’abanafu ba mugaso.’ (1 Kol. 12:22) Kiki kye yali ategeeza? Lwaki tusaanidde okutunuulira obunafu bw’abalala nga Yakuwa bw’abutunuulira? Era okukola ekyo kituganyula kitya?

ENGERI YAKUWA GY’ATUNUULIRAMU OBUNAFU BWAFFE

3. Kiki ekiyinza okutuleetera okufuna endowooza eteri nnuŋŋamu ku bakkiriza bannaffe?

3 Leero abantu abasinga obungi banyigiriza abanafu okusobola okwefunira bye baagala. Balowooza nti omuntu okusobola okutuuka ku buwanguzi alina okuba ow’amaanyi. Tetwagala kuba nga bantu abo. Kyokka ebiseera ebimu naffe tuyinza okwesanga nga tutandise okufuna endowooza eteri nnuŋŋamu ku bakkiriza bannaffe abeetaaga obuyambi buli kiseera. Naye, tuyinza tutya okutunuulira buli muntu nga Yakuwa bw’amutunuulira?

4, 5. (a) Ebyo ebiri mu 1 Abakkolinso 12:21-23 bituyamba bitya okutegeera engeri Yakuwa gy’atunuuliramu obunafu bwaffe? (b) Okuyamba abanafu kituganyula kitya?

4 Ebyo Pawulo bye yawandiika mu bbaluwa ye eri Abakkolinso bisobola okutuyamba okutegeera engeri Yakuwa gy’atunuuliramu obunafu bwaffe. Mu ssuula 12, Pawulo yakiraga nti n’ekitundu ky’omubiri ekirabika ng’ekisingayo okuba ekinafu kya mugaso nnyo. (Soma 1 Abakkolinso 12:12, 18, 21-23.) Abantu abamu abagamba nti ebintu tebyatondebwa butondebwa balowooza nti ebitundu ebimu eby’omubiri tebirina mugaso. * Ng’ekyokulabirako, emabegako abantu ng’abo baali balowooza nti akagere akatono tekalina mugaso. Kyokka bannasayansi bakizudde nti tetusobola kuyimirira bulungi nga tetulina kagere ako.

5 Ebigambo bya Pawulo ebyo biraga nti buli omu mu kibiina Ekikristaayo wa mugaso. Obutafaananako Sitaani, ayagala abantu balowooze nti si ba mugaso, Yakuwa atwala buli omu ku baweereza be, nga mw’otwalidde n’abo abalabika ng’abanafu, nga ba “mugaso.” (Yob. 4:18, 19) Ekyo kisaanidde okutuleetera okuwulira nti tuli ba mugaso mu kibiina kya Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku lunaku lwe wawaayo ebiseera byo okuyamba nnamukadde. Kyo kituufu nti nnamukadde oyo yaganyulwa nnyo. Naye olowooza naawe olina engeri yonna gye waganyulwamu? Yee, kubanga bwe tuyamba abalala, kituleetera essanyu lingi, tuyiga okuba abagumiikiriza, tweyongera okubaagala, era kituyamba okwongera okukula mu by’omwoyo. (Bef. 4:15, 16) Kitaffe ow’omu ggulu akimanyi nti bwe tutwala bakkiriza bannaffe bonna, nga mw’otwalidde n’abo abalabika ng’abanafu, nga ba muwendo, tujja kweyongera okubaagala era tetujja kubasuubira kukola kisukka ku busobozi bwabwe.

6. Oluusi Pawulo bwe yayogeranga ku ‘banafu’ ‘n’ab’amaanyi’ yabanga ategeeza ki?

6 Omutume Pawulo bwe yali awandiikira Abakkolinso, yakozesa ebigambo ‘obunafu’ oba “ebinafu” ng’ayogera ku ngeri abantu abatali bakkiriza gye baali batwalamu Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka, oba ng’ayogera ku ngeri ye kennyini gye yali yeetwalamu. (1 Kol. 1:26, 27; 2:3) Ate era Pawulo yayogera ku Bakristaayo “ab’amaanyi.” Mu kwogera bw’atyo, yali tategeeza nti Abakristaayo abo ba wagulu ku balala. (Bar. 15:1) Mu kifo ky’ekyo, yali alaga nti Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo basaanidde okugumiikiriza abo abakyali abato mu by’omwoyo.

KYANDIBA NTI TWETAAGA OKUKYUSA ENDOWOOZA YAFFE?

7. Kiki ekiyinza okutulemesa okuyamba abo abali mu bwetaavu?

7 Bwe tuyamba abanafu, tuba tukoppa Yakuwa era ekyo kimusanyusa nnyo. (Zab. 41:1; Bef. 5:1) Kyo kituufu nti oluusi endowooza eteri nnuŋŋamu gye tulina ku abo abali mu bwetaavu eyinza okutulemesa okubayamba. Ate olw’okuba ebiseera ebimu tuba tetumanyi kya kwogera n’abo ababa beetaaga okubudaabudibwa, tuyinza okutya okubatuukirira. Lowooza ku mwannyinaffe Cynthia, * omwami we gwe yayabulira. Agamba nti: “Ab’oluganda bwe bakwebalama oba bwe batakola ekyo kye wandisuubidde mikwano gyo okukukolera ng’oli mu mbeera enzibu, kiyinza okukuyisa obubi. Bw’oba mu mbeera enzibu, oba weetaaga abantu okukubudaabuda.” Kabaka Dawudi naye yawulira bubi nnyo mikwano gye bwe baamwabulira.Zab. 31:12.

8. Kiki ekiyinza okutukubiriza okufaayo ku bakkiriza bannaffe?

8 Kiki ekiyinza okutukubiriza okufaayo ku bakkiriza bannaffe? Tusaanidde okukijjukira nti bangi ku bakkiriza bannaffe balina ebizibu eby’amaanyi, gamba ng’obulwadde oba okuyigganyizibwa ab’eŋŋanda zaabwe abatali bakkiriza. Singa naffe twesanga mu mbeera ng’eyo, twandyagadde abalala okutufaako. Lowooza ku Baisiraeri. Baabonaabona nnyo nga bali mu Misiri. Naye bwe baali banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize, bajjukizibwa ‘obutakakanyaza mitima gyabwe’ eri baganda baabwe abaali mu bwetaavu. Yakuwa yali abasuubira okuyamba baganda baabwe abanafu n’abaavu.Ma. 15:7, 11; Leev. 25:35-38.

9. Bakkiriza bannaffe bwe baba bali mu bizibu, essira tusaanidde kulissa ku ki? Waayo ekyokulabirako.

9 Mu kifo ky’okunenya bakkiriza bannaffe oba okubeewala nga bali mu bizibu, tusaanidde okubabudaabuda n’okubayamba mu by’omwoyo. (Yob. 33:6, 7; Mat. 7:1) Ng’ekyokulabirako: Lowooza ku muvuzi wa ppikipiki agudde ku kabenje. Bwe bamutuusa mu ddwaliro, abasawo tebasooka kubuuza obanga omuvuzi oyo ye yavuddeko akabenje. Mu kifo ky’ekyo, essira balissa ku kumujanjaba. Mu ngeri y’emu, singa bakkiriza bannaffe bafuna ebizibu ne bibamalamu amaanyi, essira tusaanidde kulissa ku kubayamba okuddamu amaanyi mu by’omwoyo.Soma 1 Abassessaloniika 5:14.

10. Lwaki tuyinza okugamba nti bakkiriza bannaffe abamu abalabika ng’abanafu ‘bagagga mu kukkiriza’?

10 Bakkiriza bannaffe abamu bayinza okulabika ng’abanafu. Naye bwe tufumiitiriza ku mbeera yaabwe, tuyinza okukiraba nti si banafu. Lowooza ku bannyinaffe abatali bamu abamaze emyaka emingi nga bayigganyizibwa abaami baabwe abatali bakkiriza. Wadde ng’abamu ku bo bayinza okulabika ng’abanafu, booleka okukkiriza okw’amaanyi n’obuvumu. Bw’olaba mwannyinaffe ali obwannamunigina nga tayosa kujja mu nkuŋŋaana awamu n’omwana we oba n’abaana be, tokwatibwako nnyo olw’obumalirivu n’okukkiriza by’ayoleka? Ate tokwatibwako nnyo okulaba bavubuka abafuba okunywerera ku mazima wadde nga boolekagana n’ebikemo ku ssomero? Bwe tulowooza ku ebyo byonna bakkiriza bannaffe ng’abo bye bakola okusobola okweyongera okuweereza Yakuwa, kituleetera okubatunuulira ‘ng’abagagga mu kukkiriza’ wadde nga bayinza okulabika ng’abanafu.Yak. 2:5.

FUBA OKUBA N’ENDOWOOZA NG’EYA YAKUWA

11, 12. (a) Kiki ekinaatuyamba okutunuulira obunafu bw’abalala nga Yakuwa bw’abutunuulira? (b) Lwaki Yakuwa yasonyiwa Alooni, era ekyo kituyigiriza ki?

11 Okwekenneenya engeri Yakuwa gye yakolaganamu n’abaweereza be abamu mu biseera by’edda kisobola okutuyamba okutunuulira obunafu bw’abalala nga bw’abutunuulira. (Soma Zabbuli 130:3.) Ng’ekyokulabirako, wandiwulidde otya singa wali ne Musa ng’awuliriza ensonga ezitaalimu ggumba Alooni ze yawa oluvannyuma lw’okukola ennyana eya zzaabu? (Kuv. 32:21-24) Oba wanditutte otya Alooni oluvannyuma lw’okukkiriza okutwalirizibwa mwannyina, Miriyamu, n’atandika okuvumirira Musa olw’okuwasa omukazi omugwira? (Kubal. 12:1, 2) Oba wandiwulidde otya okulaba nga Alooni ne Musa balemereddwa okuwa Yakuwa ekitiibwa, mu kiseera we yabakozeseza okuwa Abaisiraeri amazzi mu ngeri ey’ekyamagero e Meriba?Kubal. 20:10-13.

12 Mu mbeera ezo zonna, Yakuwa yali asobola okubonererezaawo Alooni. Naye Yakuwa yakiraba nti Alooni teyali musajja mubi. Kirabika nti Alooni yakkiriza abalala oba embeera eyali emwetoolodde okumulemesa okunywerera ku kituufu. Naye, bwe baamulaganga ensobi ze, yazikkirizanga era n’akkiriza n’ekyo Yakuwa kye yabanga asazeewo. (Kuv. 32:26; Kubal. 12:11; 20:23-27) Yakuwa yakiraba nti Alooni yalina okukkiriza okw’amaanyi era nti yali yeenenyezza mu bwesimbu, bw’atyo n’amusonyiwa. Eyo ye nsonga lwaki Alooni ne bazzukulu be Ebyawandiikibwa biboogerako ng’abantu abaali batya Yakuwa.Zab. 115:10-12; 135:19, 20.

13. Tuyinza tutya okwekebera okumanya endowooza gye tulina ku bunafu bw’abalala?

13 Bwe tuba ab’okuba n’endowooza ng’eya Yakuwa, tulina okwekebera okulaba endowooza gye tulina ku abo abalabika ng’abanafu. (1 Sam. 16:7) Ng’ekyokulabirako, twandikoze ki singa wabaawo omuvubuka ayoleka endowooza eteri nnuŋŋamu bwe kituuka ku by’okwesanyusaamu oba ku bintu ebirala? Mu kifo ky’okumuvumirira, kiba kya magezi okulaba engeri gye tuyinza okumuyamba okukula mu by’omwoyo. Ffenna tusaanidde okubaako kye tukolawo okuyamba abo abeetaaga okuyambibwa. Bwe tukola tutyo, tujja kuyiga okuba abagumiikiriza eri bakkiriza bannaffe era tujja kweyongera okubaagala.

14, 15. (a) Kiki Yakuwa kye yakola bwe yalaba Eriya nga yenyamidde? (b) Ebyo bye tusoma ku Eriya bituyigiriza ki?

14 Yakuwa atwala atya abantu abennyamivu? Lowooza ku ngeri gye yayambamu omuweereza we Eriya eyali omwennyamivu ennyo. Nnabbi wa Yakuwa, Eriya, yayoleka obuvumu n’asoomooza bannabbi ba Baali 450. Naye, Eriya bwe yakimanya nti Nnaabakyala Yezeberi yali ayagala kumutta, yatya nnyo era n’addukira e Beeruseba, ekifo ekyesudde mayiro nga 95 okuva we yali. Oluvannyuma yeeyongerayo ddala n’atuuka mu ddungu. Eriya yakoowa nnyo era ne yennyamira. Mu butuufu, yatuuka n’okusaba afe.1 Bassek. 18:19; 19:1-4.

Yakuwa yakiraba nti Eriya yali mwennyamivu era n’atuma malayika okumubudaabuda (Akatundu 14, 15)

15 Kiki Yakuwa kye yakola bwe yalaba omuweereza we omwesigwa nga yenyamidde era ng’alemereddwa okwoleka obuvumu? Yasalawo okumwabulira? Nedda! Yakuwa yatuma malayika we okumuyamba. Emirundi ebiri, malayika oyo yakubiriza Eriya okulya. Ekyo kyayamba Eriya okufuna amaanyi okusobola okutambula olugendo lwe yali agenda okuddako okutambula. (Soma 1 Bassekabaka 19:5-8.) Yakuwa bwe yali tannawa Eriya bulagirizi, yasooka kumuwuliriza era n’abaako ky’akolawo okumuyamba.

16, 17. Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa gye yayambamu Eriya?

16 Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa gye yayambamu Eriya? Tusaanidde okwewala okwanguyiriza okuwa abalala amagezi. (Nge. 18:13) Omuntu bw’aba yenyamidde oba ng’awulira nti si wa mugaso, kiba kirungi okusooka okumuwuliriza obulungi era ne tukiraga nti tumufaako. (1 Kol. 12:23) Ekyo kijja kutuyamba okutegeera obulungi ebyetaago bye n’engeri esingayo obulungi gye tuyinza okumuyamba.

17 Ddamu olowooza ku Cynthia, eyayogeddwako waggulu. Omwami we bwe yamwabulira era n’amulekera abaana babiri, kiki Bakristaayo banne abamu kye baakola? Agamba nti: “Oluvannyuma lw’okubakubira essimu ne mbabuulira ebyo ebyali bintuuseeko, mu ddakiika nga 45 zokka baali bamaze okutuuka. Bonna baali bakulukusa amaziga, era baamala ennaku ssatu nga bali wamu nange. Olw’okuba nze ne bawala bange twali bennyamivu nnyo era nga tetukyalya bulungi, bakkiriza bannaffe baatuyitanga mu maka gaabwe ne batuwa eby’okulya.” Ekyo kitujjukiza ebigambo by’omuyigirizwa Yakobo bino: “Singa ow’oluganda oba mwannyinaffe aba talina kya kwambala oba emmere emumala olunaku, kyokka omu ku mmwe n’amugamba nti: ‘Genda mirembe, obugume era olye okkute,’ naye n’atamuwa byetaago bya mubiri gwe, kiba kigasa ki? Bwe kutyo n’okukkiriza bwe kutaba na bikolwa kuba kufu.” (Yak. 2:15-17) Obuyambi ab’oluganda bwe baawa Cynthia ne bawala be bwatuukira mu kiseera ekituufu era bwabayamba okuddamu amaanyi. Oluvannyuma lw’emyezi mukaaga gyokka baasobola okuweereza nga bapayoniya abawagizi.2 Kol. 12:10.

BONNA BAGANYULWA

18, 19. (a) Tuyinza tutya okuyamba abo ababa banafuye? (b) Bwe tuyamba abo ababa banafuye, baani abaganyulwa?

18 Singa omuntu afuna obulwadde obw’amaanyi, kitera okumutwalira ekiseera ekiwanvu okuwona. Mu ngeri y’emu, singa mukkiriza munnaffe afuna ekizibu ne kimuleetera okuggwaamu amaanyi, kiyinza okumutwalira ekiseera ekiwanvu okuddamu amaanyi mu by’omwoyo. Kya lwatu nti mukkiriza munnaffe oyo aba yeetaaga okunyweza okukkiriza kwe nga yeesomesa, ng’anyiikirira okusaba, era ng’abaawo mu nkuŋŋaana. Wadde kiri kityo, naffe tulina okubaako kye tukolawo okumuyamba. Tusaanidde okumugumiikiriza n’okukiraga nti tumwagala era nti tumutwala nga wa muwendo.2 Kol. 8:8.

19 Kikulu okukijjukira nti bwe tuyamba bakkiriza bannaffe, tufuna essanyu lingi. Ate era tuyiga okukwoleka obugumiikiriza n’okufaayo ku balala. Kyokka bwe tuyamba abalala, si ffe ffekka abaganyulwa. Kisobola okuyamba bonna mu kibiina okwongera okwagalana. N’ekisinga byonna, tuba tukoppa Yakuwa, oyo atwala buli muntu nga wa muwendo. Mu butuufu, tulina ensonga nyingi ezanditukubirizza okuyamba abo “abeetaaga okuyambibwa.”Bik. 20:35.

^ lup. 4 Mu kitabo kye ekiyitibwa The Descent of Man, Charles Darwin yanokolayo ebitundu by’omubiri ebitali bimu bye yali alowooza nti “tebirina mugaso.” Omusajja omulala awagira endowooza ya Darwin naye yagamba nti waliwo ebitundu by’omubiri bingi “ebitalina mugaso,” gamba ng’akatundu akali ku kyenda akayitibwa appendix.

^ lup. 7 Erinnya likyusiddwa.