Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okuyamba Mukkiriza Munno Eyagattululwa?

Okuyamba Mukkiriza Munno Eyagattululwa?

Oyinza okuba ng’olinayo omuntu gw’omanyi eyagattululwa mu bufumbo oba ng’omanyiiyo abantu ng’abo abawerako. Ekyo kiri kityo kubanga leero waliwo abantu bangi abagattululwa. Ng’ekyokulabirako, okunoonyereza okwakolebwa mu Poland kwalaga nti abafumbo abali mu myaka 30 bagattululwa nga baakamala emyaka egiri wakati w’esatu n’omukaaga mu bufumbo. Naye abantu abali mu myaka egyo si be bokka abagattululwa mu bufumbo.

Ekitongole ekikola ku nsonga z’amaka mu Sipeyini kigamba nti: “Mu nsi [za Bulaaya] abantu ebitundu kimu kya kubiri abafumbiriganwa bagattululwa oluvannyuma lw’ekiseera.” Bwe kityo bwe kiri ne mu nsi endala engagga.

KIREETAWO OBULUMI OBW’AMAANYI

Biki ebitera okubaawo oluvannyuma lw’abafumbo okugattululwa? Omukugu omu akola ku nsonga z’amaka mu Bulaaya agamba nti: “Okugattululwa kikakasa ekintu ekyamala edda okubaawo, kwe kugamba, nti enkolagana wakati w’omwami n’omukyala tekyaliwo, ekintu ekireetawo obulumi obw’amaanyi.” Yagattako nti: ‘Abo ababa bagattuluddwa, batera okwennyamira, okuwulira obuswavu, okwejjusa, oba okusunguwala.’ Ebiseera ebimu omuntu aba agattuluddwa ayinza n’okulowooza ku ky’okwetta. Ate era omuntu oyo ayinza n’okwebuuza: ‘Okuva bwe kiri nti kati mmaze okugattululwa, kiki ekiddako?’

Ng’ayogera ku ngeri gye yawuliramu oluvannyuma lw’okugattululwa n’omwami we, Ewa agamba nti: “Baliraanwa bange bwe baabanga banjogerako bampitanga ‘omugattulule.’ Ekyo kyandeetera okuwulira obuswavu n’obusungu. Ate okuva bwe kiri nti nze nnasigaza abaana baffe ababiri, nze nnali maama era taata.”  * Adam, eyali amaze emyaka 12 ng’aweereza ng’omukadde, yagamba nti: “Mpulira nga sikyalina kitiibwa kyonna era oluusi mpulira obusungu ne mba nga saagala kubeera na muntu yenna.”

BAYINZA OKUFUNA ENDOWOOZA ETERI NNUŊŊAMU

Olw’okuba baba tebamanyi ngeri biseera byabwe eby’omu maaso bwe binaaba, abamu ku abo abagattululwa kibatwalira ebbanga ddene okuddamu okuba n’endowooza ennuŋŋamu. Bayinza okutandika okulowooza nti abalala tebabafaako. Ate era omuwandiisi omu eyeekenneenya ensonga z’amaka agamba nti: “Abantu ng’abo baba balina okukola enkyukakyuka ez’amaanyi n’okuyiga okwegonjoolera ebizibu byabwe.”

Stanisław agamba nti: “Bwe nnagattululwa ne mukyala wange, yaŋŋaana okulaba ku baana bange. Ekyo kyandeetera okuwulira nti tewali n’omu anfaako era nnatandika n’okulowooza nti Yakuwa yali anjabulidde. Nnawulira nga njagala kufa. Naye ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, nnakiraba nti endowooza yange yali nkyamu.” Mwannyinaffe ayitibwa Wanda bwe yamala okugattululwa n’omwami we, yatandika okweraliikirira ebikwata ku biseera bye eby’omu maaso. Yagamba nti: “Nnali ndowooza nti, nze n’abaana bange, oluvannyuma lw’ekiseera abantu bonna, nga mw’otwalidde ne bakkiriza bannange, bandibadde tebakyatufaako. Naye nkirabye nti bakkiriza bannange tebanjabulidde era bannyambye nnyo nga nfuba okukuliza abaana bange mu makubo ga Yakuwa.”

Ebyokulabirako ebyo bye tulabye waggulu biraga nti abantu abagattululwa oluusi bafuna endowooza eteri nnuŋŋamu. Bayinza okutandika okulowooza nti tebakyalina mugaso. Era bayinza n’okutandika okulowooza nti ab’oluganda mu kibiina tebabaagala era nti tebabafaako. Kyokka, ng’ekyokulabirako kya Stanisław ne Wanda bwe biraga bangi ku bo bakirabye nti bakkiriza bannaabwe babafaako nnyo. Mu butuufu, bakkiriza bannaabwe bafuba okubayamba wadde nga mu kusooka ekyo bayinza okuba nga tebakiraba.

BWE BABA BAWULIRA EKIWUUBAALO OBA NGA BAWULIRA NTI TEBAFIIBWAKO

Osaanidde okukijjukira nti ne bwe tukola kyonna ekisoboka okuyamba abo ababa bagattuluddwa mu bufumbo, ebiseera ebimu bayinza okuwulira ekiwuubaalo. Okusingira ddala bannyinaffe bayinza okuwulira nti abalala tebabafaako. Mwannyinaffe Alicja agamba nti: “Kati wayise emyaka munaana bukya tugattululwa mu bufumbo. Kyokka ebiseera ebimu mpulira ng’atalina mugaso. Mu biseera ng’ebyo, mba mpulira nga njagala kubeera nzekka era oluusi nkaaba n’amaziga.”

Wadde nga kya bulijjo omuntu aba agattuluddwa okuwulira bw’atyo, Bayibuli etukubiriza okwewala okweyawula ku balala. Bwe tulemererwa okukolera ku kubuulirira okwo, tujja kwesanga nga twesambye “amagezi” gonna amalungi. (Nge. 18:1) Kyokka kiba kya magezi oyo aba awulira ekiwuubaalo okwewala okuba nga buli kiseera agenda eri omuntu gw’atafaanaganya naye kikula okumubudaabuda. Ekyo kisobola okumuyamba okwewala okufuna okwegomba okutali kulungi.

Bakkiriza bannaffe ababa bagattuluddwa bayinza okuba nga beeraliikirira ebikwata ku biseera byabwe eby’omu maaso, nga bawulira ekiwuubaalo, oba nga bawulira nti tebafiibwako. Olw’okuba tukimanyi nti abantu ng’abo batera okufuna enneewulira ng’ezo era nti si kyangu kwolekagana nazo, tusaanidde okukoppa Yakuwa nga tukola kyonna ekisoboka okubayamba. (Zab. 55:22; 1 Peet. 5:6, 7) Bakkiriza bannaffe abo basiima nnyo ekyo kyonna kye tukola okubayamba. Bwe tufuba okubayamba, bajja kukiraba nti mu kibiina mwe muli mikwano gyabwe aba nnamaddala!Nge. 17:17; 18:24.

^ lup. 6 Amannya agamu gakyusiddwa.

Naye singa Omukristaayo agattululwa oluvannyuma lwa munne mu bufumbo okwenda, bakkiriza banne bafuba okumuyamba. Ab’oluganda mu kibiina bafuba okukoppa Yakuwa nga bakola kyonna ekisoboka okuyamba mukkiriza munnaabwe omwesigwa ayinza okuba ng’alina omwoyo “ogumenyese.”Zab. 34:15, 18, NW; Is. 41:10.