Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okyajjukira?

Okyajjukira?

Ofubye okusoma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ze tufunye mu myezi egyakayita? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:

Ku lunaku lwa Nisaani 14, omwana gw’endiga ogw’Okuyitako gwattibwanga ddi?

Bayibuli eraga nti omwana gw’endiga ogwo gwattibwanga ‘kawungeezi,’ kwe kugamba, ng’enjuba emaze okugwa naye ng’enzikiza tennakwata. (Kuv. 12:6)12/15, olupapula 18-19.

Misingi ki egya Bayibuli egisobola okuyamba abavubuka okusalawo obulungi?

Esatu ku gyo gye gino (1) Sooka onoonye obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe. (Mat. 6:19-34) (2) Okuweereza abalala kireeta essanyu. (Bik. 20:35) (3) Weereza Yakuwa ng’okyali muvubuka. (Mub. 12:1)1/15, olupapula 19-20.

Abeebagazi b’embalaasi abana ababaddewo okuva mu 1914 bakiikirira ki?

Yesu, omwebagazi w’embalaasi enjeru, yagoba Sitaani ne badayimooni mu ggulu. Omwebagazi w’embalaasi emmyufu akiikirira entalo ezikosezza ennyo abantu. Omwebagazi w’embalaasi enzirugavu akiikirira enjala. Omwebagazi w’embalaasi ensiiwuufu aleeta okufa ng’ayitira mu ndwadde ezitta abantu bukadde na bukadde. (Kub. 6:2-8)2/1, olupapula 6-7.

“Embaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga” eneebaawo ddi? (Kub. 19:7)

“Embaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga” ejja kubaawo oluvannyuma lwa Kabaka, Yesu Kristo, okumaliriza okuwangula kwe, kwe kugamba, oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kwa Babulooni ekinene era nga n’olutalo Kalumagedoni luwedde.2/15, olupapula 10.

Lwaki Abayudaaya mu kyasa ekyasooka baali “basuubira” okujja kwa Masiya? (Luk. 3:15)

Tewali bukakafu bulaga nti Abayudaaya abaaliwo mu kyasa ekyasooka baali bategeera bulungi obunnabbi bwa Danyeri obukwata ku Masiya nga ffe bwe tubutegeera. (Dan. 9:24-27) Wadde kiri kityo, bayinza okuba nga baawulira ku ebyo bamalayika bye baagamba abasumba oba ebyo nnabbi omukazi, Ana, bye yayogera ng’alabye ku Yesu ng’atwaliddwa ku yeekaalu ng’akyali muwere. Era abalaguzisa emmunyeenye bajja nga banoonya ‘kabaka w’Abayudaaya eyali azaaliddwa.’ (Mat. 2:1, 2) Nga wayise ekiseera, Yokaana Omubatiza yakiraga nti Kristo yali anaatera okulabika.2/15, olupapula 26-27.

Tuyinza tutya okulaba nti ekigambo kyaffe tekiba Yee ate oluvannyuma ne kiba Nedda? (2 Kol. 1:18)

Ekituufu kiri nti ebiseera ebimu embeera eziteebeereka ziyinza okutulemesa okutuukiriza ekyo kye tuba tusuubizza. Kyokka singa tusuubiza okukola ekintu oba singa tweyama okukola ekintu, tusaanidde okukola kyonna ekisoboka okukituukiriza.3/15, olupapula 32.

Kiki ekinaakuyamba okwewala okulaba ebifaananyi eby’obuseegu?

Ebintu bino ebisatu bisobola okukuyamba (1) Amaaso go bwe gagwa ku kifaananyi eky’obuseegu, gaggyeyo mu bwangu. (2) Fuga ebirowoozo byo ng’olowooza ku bintu ebirungi era ng’osaba Katonda akuyambe. (3) Weewale firimu oba emikutu gya Intaneeti okuli ebifaananyi eby’obuseegu.4/1, olupapula 10-12.

Biki ebiyinza okuvaamu singa Omukristaayo alekawo ab’omu maka ge n’agenda okukolera mu nsi endala?

Abazadde bombi bwe baba tebabeera wamu na baana baabwe, abaana baabwe basobola okwennyamira n’okwonooneka empisa. Bayinza n’okukyawa muzadde waabwe oba bazadde baabwe. Ate era omwami n’omukyala bwe baba tebabeera wamu basobola okukemebwa ne bagwa mu bwenzi.4/15, olupapula 19-20.

Lwaki abamenyi b’amateeka abaakomererwanga ku muti baamenyebwanga amagulu?

Abaruumi baakomereranga abamenyi b’amateeka abamu ku muti. Abayudaaya baasaba amagulu g’abamenyi b’amateeka abaakomererwa awamu ne Yesu gamenyebwe. Ekyo kyandibaleetedde okulemererwa okussa obulungi, ne kibaviirako okufa amangu. Bwe kityo, kyandibadde tekyetaagisa bamenyi b’amateeka abo kusula ku miti kwe baali bakomereddwa. (Ma. 21:22, 23)5/1, olupapula 11.

Bibuuzo ki ebina bye tusaanidde okwebuuza nga tukola omulimu gw’okubuulira?

Baani be ŋŋenda okubuulira? Wa gye nnaabasanga? Ddi lwe nnyinza okubabuulira? Nnyinza ntya okwogera nabo?5/15, olupapula 12-15.

Bantu bameka abafa olw’okunywa ssigala?

Mu kyasa ekyayita, kwaviirako abantu nga 100,000,000 okufa. Leero, abantu nga 6,000,000 be bafa buli mwaka olw’okunywa ssigala.6/1, olupapula 3.