Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Oteekwa Okwagala Muntu Munno nga Bwe Weeyagala Wekka”

“Oteekwa Okwagala Muntu Munno nga Bwe Weeyagala Wekka”

“[Etteeka] ery’okubiri eririfaanana lye lino, ‘Oteekwa okwagala muntu munno nga bwe weeyagala wekka.’”MAT. 22:39.

1, 2. (a) Yesu yagamba nti etteeka ery’okubiri ekkulu lye liruwa? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwetegereza?

OMUFALISAAYO omu bwe yali agezesa Yesu, yamubuuza nti: “Omuyigiriza, tteeka ki erisinga obukulu mu Mateeka?” Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, Yesu yamuddamu nti ‘etteeka erisinga obukulu mu gonna era erisooka’ lye lino: “Oteekwa okwagala Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.” Yesu yagattako nti: “Ery’okubiri eririfaanana lye lino: ‘Oteekwa okwagala muntu munno nga bwe weeyagala wekka.’”Mat. 22:34-39.

2 Yesu yagamba nti tuteekwa okwagala muntu munnaffe nga bwe tweyagala ffekka. Naye ekyebuuzibwa kiri nti: Muntu munnaffe y’ani? Tuyinza tutya okulaga nti twagala bantu bannaffe?

MUNTU MUNNAFFE Y’ANI?

3, 4. (a) Lugero ki Yesu lwe yakozesa okuddamu ekibuuzo: “Muntu munnange y’ani”? (b) Omusamaliya omu yayamba atya Omuyudaaya eyagwa mu banyazi, ne bamukuba, era ne bamuleka ng’abulako katono okufa? (Laba ekifaananyi waggulu.)

3 Lowooza ku ebyo Yesu bye yagamba omusajja eyali yeetwala okuba omutuukirivu, eyamubuuza nti: “Muntu munnange y’ani?” Bwe yali amuddamu, Yesu yamugerera olugero lw’Omusamaliya omulungi. (Soma Lukka 10:29-37.) Mu lugero olwo, Yesu yayogera ku Muyudaaya omu eyagwa mu banyazi, ne bamukuba, era ne bamuleka ng’abulako katono okufa. Kabona Omuisiraeri awamu n’Omuleevi, be wandisuubidde nti bandimuyambye, baamulaba naye ne bamuyitako buyisi. Mu kifo ky’ekyo Omusamaliya ye yamuyamba, kyokka ng’ate mu kiseera ekyo Abayudaaya baali tebakolagana na Basamaliya.Yok. 4:9.

4 Omusamaliya oyo omulungi yafuka amafuta n’omwenge ku biwundu by’Omuyudaaya oyo. Era yakwata ddinaali bbiri n’aziwa oyo alabirira ennyumba omusula abatambuze asobole okulabirira Omuyudaaya oyo. Ddinaali ebbiri omuntu yazifunanga oluvannyuma lw’okumala ennaku bbiri ng’akola. (Mat. 20:2) Bwe tulowooza ku ebyo byonna Omusamaliya oyo bye yakola okuyamba Omuyudaaya oyo, kiba kyangu okulaba ani ddala eyali muntu munne. Ebyo ebiri mu lugero lwa Yesu olwo biraga nti tusaanidde okufaayo ku bantu aba buli ngeri era tusaanidde okubaagala.

Abaweereza ba Yakuwa booleka okwagala okwa nnamaddala eri bantu bannaabwe (Laba akatundu 5)

5. Akatyabaga bwe kaagwa mu kitundu ekimu, abaweereza ba Yakuwa baakiraga batya nti baagala bantu bannaabwe?

5 Tuli mu “nnaku ez’oluvannyuma” era abantu abasinga obungi beefaako bokka. Abantu bangi tebaagala ba luganda, bakambwe, era tebaagala bulungi. (2 Tim. 3:1-3) Ng’ekyokulabirako, mu Okitobba 2012 omuyaga ogw’amaanyi gwayita mu kibuga New York era ne guleka abantu bangi nga bali mu mbeera mbi. Mu kitundu ekimu ekyakosebwa ennyo, amasannyalaze gaavaako era abantu baali tebakyalina bintu ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo. Mu kifo ky’okudduukirira abantu abaali bakoseddwa, abantu abamu baatandika kubba bubbi bintu byabwe. Kyokka obutafaananako bantu abo, Abajulirwa ba Yakuwa baakola enteekateeka okuyamba bakkiriza bannaabwe n’abantu abalala abaali mu kitundu ekyo. Abakristaayo bakola ebintu ng’ebyo olw’okuba baagala bantu bannaabwe. Biki ebirala bye tuyinza okukola okulaga nti twagala bantu bannaffe?

ENGERI GYE TUYINZA OKUKIRAGA NTI TWAGALA BANTU BANNAFFE

6. Omulimu gwaffe ogw’okubuulira gulaga gutya nti twagala bantu bannaffe?

6 Okuyamba abantu mu by’omwoyo. Kino tukikola nga tukozesa Ebyawandiikibwa okubabudaabuda. (Bar. 15:4) Tukiraga nti twagala bantu bannaffe nga tubabuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (Mat. 24:14) Mu butuufu, nkizo ya maanyi okubuulira abalala amawulire ago amalungi agava eri “Katonda awa essuubi”!Bar. 15:13.

7. Bigambo ki Yesu bye yayogera ebiri mu Matayo 7:12, era mikisa ki gye tufuna bwe tukolera ku bigambo ebyo?

7 Okuyisa abalala nga bwe twandyagadde batuyise. Bwe yali ayigiriza abantu ku Lusozi, Yesu yagamba nti: “Ebintu byonna bye mwagala abalala okubakolanga, nammwe mubibakolenga; mu butuufu, kino Amateeka n’ebigambo bya Bannabbi kye bitegeeza.” (Mat. 7:12) Bwe tukolera ku bigambo bya Yesu ebyo nga tukolagana n’abalala, tuba tukiraga nti tukolera ku misingi egiri mu ‘Mateeka’ (okuva ku Olubereberye okutuuka ku Ekyamateeka) ne ku ‘bigambo bya Bannabbi’ (ebitabo by’obunnabbi ebiri mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya). Amateeka n’ebigambo bya bannabbi biraga nti Katonda awa omukisa abo abaagala abalala. Ng’ekyokulabirako, okuyitira mu nnabbi Isaaya, Yakuwa yagamba nti: “Mube benkanya era mukole eby’obutuukirivu . . . Alina essanyu omuntu akola bw’atyo.” (Is. 56:1, 2, NW) Bwe twagala bantu bannaffe era ne tubayisa nga bwe twandyagadde batuyise, tufuna emikisa mingi.

8. Lwaki tusaanidde okwagala abalabe baffe, era bwe tubaagala birungi ki ebiyinza okuvaamu?

8 Okwagala abalabe baffe. Yesu yagamba nti: “Mwawulira bwe kyagambibwa nti, ‘Olina okwagala munno naye okyawe omulabe wo.’ Naye mbagamba nti: Mweyongere okwagala abalabe bammwe era n’okusabira abo ababayigganya; mulyoke mubeere abaana ba Kitammwe ali mu ggulu.” (Mat. 5:43-45) Omutume Pawulo naye yagamba nti: “Omulabe wo bw’aba alumwa enjala, muwe eky’okulya; bw’aba alumwa ennyonta muwe eky’okunywa.” (Bar. 12:20; Nge. 25:21) Okusinziira ku Mateeka ga Musa, omuntu bwe yalabanga ensolo y’omulabe we ng’eri mu kabi yalina okugiyamba. (Kuv. 23:5) Okukola ekyo oluusi kyayambanga abantu abaali batakolagana bulungi okufuuka ab’omukwano. Ng’Abakristaayo ab’amazima, bwe tukiraga nti twagala abalabe baffe kiyinza okubaleetera okukyusa endowooza yaabwe. Mu butuufu, abamu ku bo bayinza n’okukkiriza amazima!

9. Kiki Yesu kye yayogera ku ky’okuba mu mirembe ne bakkiriza bannaffe?

9 Okufuba “okuba mu mirembe n’abantu bonna.” (Beb. 12:14) Mu bantu bonna mwe muli ne bakkiriza bannaffe, kubanga Yesu yagamba nti: “Bw’oba oleeta ekirabo kyo ku kyoto n’ojjukira nti muganda wo alina ky’akwemulugunyaako, leka ekirabo kyo mu maaso g’ekyoto, ogende otabagane ne muganda wo, oluvannyuma okomewo, oweeyo ekirabo kyo.” (Mat. 5:23, 24) Singa tukiraga nti twagala bakkiriza bannaffe era ne twanguwa okugonjoola obutategeeragana bwe tuba tufunye nabo, Katonda ajja kutuwa emikisa.

10. Lwaki tusaanidde okwewala okunoonya ensobi mu balala?

10 Okwewala okunoonya ensobi mu balala. Yesu yagamba nti: “Mulekere awo okusalira abalala omusango nammwe guleme okubasalirwa; kubanga nga bwe musala emisango, nammwe bwe mulisalirwa; ekipimo kye mukozesa okupimira abalala, nammwe kye balikozesa okubapimira. Kati olwo, lwaki otunuulira akasubi akali mu liiso lya muganda wo naye n’otofaayo ku kisiki ekiri ku liiso lyo? Oba, oyinza otya okugamba muganda wo nti, ‘Leka nkuggyeko akasubi ku liiso lyo’; ate nga ggwe olina ekisiki ku liiso lyo? Munnanfuusi ggwe! Sooka oggye ekisiki ku liiso lyo, olyoke olabe bulungi bw’onoggya akasubi ku liiso lya muganda wo.” (Mat. 7:1-5) Ebigambo ebyo biraga nti tusaanidde okwewala okunoonya ensobi mu balala, kubanga naffe emirundi mingi tukola ensobi!

ENGERI ESINGAYO OBULUNGI GYE TUYINZA OKULAGA NTI TWAGALA BANTU BANNAFFE

11, 12. Engeri esingayo obulungi gye tuyinza okukiraga nti twagala bantu bannaffe y’eruwa?

11 Twagala okulaga abalala okwagala mu ngeri esingayo obulungi. Okufaananako Yesu, tufuba okubuulira abalala amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (Luk. 8:1) Yesu yalagira abagoberezi be ‘okufuula abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa.’ (Mat. 28:19, 20) Bwe tukolera ku kiragiro kya Yesu ekyo, tusobola okuyamba abantu abalala okuva mu kkubo eddene eridda mu kuzikirira ne badda mu kkubo efunda eridda mu bulamu. (Mat. 7:13, 14) Tewali kubuusabuusa nti bwe tukola bwe tutyo, Yakuwa ajja kutuwa emikisa.

12 Okufaananako Yesu, tuyamba abantu okumanya obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo. (Mat. 5:3) Abo abasiima obubaka bwaffe tufuba okukola ku byetaago byabwe eby’omwoyo nga tubabuulira “amawulire amalungi aga Katonda.” (Bar. 1:1) Abo abakkiriza obubaka bw’Obwakabaka, batabagana ne Katonda okuyitira mu Yesu Kristo. (2 Kol. 5:18, 19) Mu butuufu engeri esingayo obulungi gye tuyinza okulaga nti twagala bantu bannaffe kwe kubabuulira amawulire amalungi.

13. Eky’okuyigiriza abantu ebikwata ku Yakuwa okitwala otya?

13 Bwe tufuba okuddayo eri abo abasiima obubaka bwaffe era ne tubayigiriza Bayibuli, tusobola okubayamba okukola Katonda by’ayagala. Abamu ku bo baba beetaaga okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwabwe. (1 Kol. 6:9-11) Naye kitusanyusa nnyo okulaba engeri Katonda gy’ayambamu abo abalina “endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo” okukola enkyukyuka ezeetaagisa ne basobola okufuna enkolagana ennungi naye. (Bik. 13:48) Abantu bwe bayiga Bayibuli, bafuna essuubi era batandika okwesiga Yakuwa. Nga kitusanyusa nnyo okulaba ng’abapya bakulaakulana mu by’omwoyo! Mu butuufu, okubuulira abalala amawulire amalungi tugitwala nga nkizo ya maanyi.

ENGERI PAWULO GYE YANNYONNYOLAMU OKWAGALA

14. Mu bigambo byo, nokolayo ebimu ku ebyo Pawulo bye yayogera ku kwagala mu 1 Abakkolinso 13:4-8.

14 Bwe tukolera ku ebyo Pawulo bye yayogera ku kwagala nga tukolagana n’abalala, tusobola okwewala ebizibu bingi, tusobola okufuna essanyu mu bulamu, era tusobola okusanyusa Katonda. (Soma 1 Abakkolinso 13:4-8.) Kati ka twetegereze ebyo Pawulo bye yayogera ku kwagala era tulabe n’engeri gye tuyinza okubikolerako nga tukolagana n’abalala.

15. (a) Lwaki tusaanidde okwoleka obugumiikiriza n’ekisa? (b) Lwaki tusaanidde okwewala amalala n’okukwatirwa abalala obuggya?

15 “Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa.” Nga Katonda bw’ayoleka obugumiikiriza ng’akolagana n’abantu abatatuukiridde, naffe tusaanidde okwoleka obugumiikiriza n’ekisa ng’abalala bakoze ensobi oba nga boogedde ebintu ebitatusanyusa. “Okwagala tekukwatibwa buggya.” Bwe tuba nga ddala twagala bakkiriza bannaffe, tetujja kubakwatirwa bujja olw’ebyo bye balina oba olw’enkizo ze balina mu kibiina. Ate era bwe tuba nga twagala bannaffe, tujja kwewala okwoleka amalala oba okubeewaanirako. Bayibuli egamba nti Yakuwa akyawa abo abalina “amaaso ageegulumiza n’omutima ogw’amalala.”Nge. 21:4.

16, 17. Tuyinza tutya okukolera ku bigambo ebiri mu 1 Abakkolinso 13:5, 6?

16 Okwagala “tekweyisa mu ngeri etasaana.” Bwe tuba nga ddala twagala bantu bannaffe, tetujja kubalimba, kubabba, oba kukola kintu kyonna ekimenya amateeka ga Katonda n’emisingi gye. Era bwe tuba nga ddala twagala bannaffe tetujja kufaayo ku byaffe byokka wabula tujja kufaayo ne ku by’abalala.Baf. 2:4.

17 Okwagala okwa nnamaddala tekunyiiga mangu era “tekusiba kiruyi.” (1 Bas. 5:15) Bwe tusiba ekiruyi, tetusobola kusanyusa Katonda. Mu butuufu, bwe tusiba ekiruyi tuba ng’abakoleezezza akasubbaawa ne tukasuzaako ekiro nga kaaka, ekintu ekiyinza okuviirako ennyumba okukwata omuliro ne gutwokya era ne gwokya n’abalala. (Leev. 19:18) Okwagala “tekusanyukira bitali bya butuukirivu” naye “kusanyukira wamu n’amazima.” Singa omuntu atatwagala ayisibwa mu ngeri eteri ya bwenkanya, ekyo tekitusanyusa.Soma Engero 24:17, 18.

18. Ebigambo ebiri mu 1 Abakkolinso 13:7, 8 bituyigiriza ki ku kwagala?

18 Lowooza ku kintu ekirala Pawulo kye yayogera ku kwagala. Yagamba nti okwagala “kugumira ebintu byonna.” Omuntu bw’atunyiiza naye n’atusaba okumusonyiwa, okwagala kutukubiriza okumusonyiwa. Okwagala “kukkiriza ebintu byonna” ebiri mu Kigambo kya Katonda era kutuleetera okusiima emmere ey’eby’omwoyo gye tufuna mu kibiina kya Yakuwa. Okwagala “kusuubira ebintu byonna” ebiri mu Bayibuli era kutukubiriza okubuulira abalala ebikwata ku ssuubi lyaffe. (1 Peet. 3:15) Ate era bwe tufuna ebizibu, tusaba Katonda atuyambe era ne tusuubira nti ajja kutuyamba. Okwagala “kugumiikiriza ebintu byonna,” omuli ensobi abalala ze batukola n’okuyigganyizibwa. Ate era, “okwagala tekulemererwa.” Abo abagondera Yakuwa bajja kwoleka okwagala eri bantu bannaabwe emirembe gyonna.

WEEYONGERE OKWAGALA BANTU BANNO NGA BWE WEEYAGALA WEKKA

19, 20. Byawandiikibwa ki ebiraga nti tulina okweyongera okwagala bantu bannaffe?

19 Bwe tukolera ku magezi agali mu Bayibuli, tujja kusobola okweyongera okwagala bantu bannaffe, nga mw’otwalidde n’abo abatali ba ggwanga lyaffe. Bulijjo tusaanidde okujjukira ebigambo bya Yesu bino: “Oteekwa okwagala muntu munno nga bwe weeyagala wekka.” (Mat. 22:39) Katonda ne Yesu batusuubira okwagala bantu bannaffe. Bwe twesanga mu mbeera nga tetumanyi kya kukola okulaga nti twagala bantu bannaffe, tusaanidde okusaba Katonda atuwe obulagirizi obwetaagisa okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu. Bwe tunaakola bwe tutyo, Yakuwa ajja kutuwa emikisa era ajja kutuyamba okwagala bantu bannaffe.Bar. 8:26, 27.

20 Etteeka eritulagira okwagala bantu bannaffe nga bwe tweyagala ffekka liyitibwa “etteeka ekkulu ennyo.” (Yak. 2:8) Oluvannyuma lw’okwogera ku Mateeka agamu agaaweebwa Abaisiraeri, Pawulo yagamba nti: “[Amateeka] amalala gonna, gagattibwa mu bigambo bino: ‘Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.’ Omuntu alina okwagala takola munne kibi; n’olwekyo okwagala kutuukiriza amateeka.” (Bar. 13:8-10) Mu butuufu, tulina okweyongera okwagala bantu bannaffe.

21, 22. Lwaki tusaanidde okwagala Katonda ne bantu bannaffe?

21 Yesu era yalaga ensonga lwaki tulina okwagala abantu bonna bwe yagamba nti Kitaawe “omusana gwe agwakiza abalungi n’ababi era enkuba ye agitonyeseza abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” (Mat. 5:43-45) N’olwekyo tulina okwagala abantu bonna, ka babe nga batuukirivu oba nga si batuukirivu. Nga bwe twalabye, engeri esingayo obulungi gye tuyinza okulaga nti twagala bantu bannaffe kwe kubuulira amawulire amalungi. Singa abantu bakolera ku ebyo bye bayiga mu Bayibuli, bajja kufuna emikisa mingi.

22 Mu butuufu, waliwo ensonga nnyingi ezituleetera okwagala ennyo Yakuwa. Era waliwo n’engeri nnyingi gye tuyinza okukiraga nti twalaga bantu bannaffe. Bwe twagala Katonda ne bantu bannaffe, tuba tulaga nti tugondera amateeka abiri agasingayo obukulu Yesu ge yawa. Ate era bwe tukola bwe tutyo, tuba tusanyusa Yakuwa, Katonda waffe ow’okwagala.