Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Oteekwa Okwagala Yakuwa Katonda Wo”

“Oteekwa Okwagala Yakuwa Katonda Wo”

“Oteekwa okwagala Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.”MAT. 22:37.

1. Lwaki Yesu ne Katonda baagalana nnyo?

OMWANA wa Yakuwa, Yesu Kristo, yagamba nti: “Njagala Kitange.” (Yok. 14:31) Ate era yagamba nti: “Kitaawe w’omwana ayagala Omwana.” (Yok. 5:20) Ekyo tekisaanidde kutwewuunyisa kubanga Yesu bwe yali tannajja ku nsi yamala emyaka butabalika ng’akolera wamu ne Kitaawe. (Nge. 8:30) Ekyo kyayamba Yesu okwetegereza engeri za Kitaawe ennungi era bw’atyo ne yeeyongera okumwagala. Mu butuufu, ekiseera ekyo Yesu ne Katonda kye baamala nga bali wamu kyabaleetera okwongera okwagalana.

2. (a) Okwagala omuntu omulala kizingiramu ki? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya mu kitundu kino?

2 Okwagala omuntu omulala kizingiramu okuba n’enneewulira ey’amaanyi era ey’omukwano eri omuntu oyo. Omuwandiisi wa Zabbuli Dawudi yagamba nti: “Nkwagala ggwe, Ai Mukama, amaanyi gange.” (Zab. 18:1) Naffe tusaanidde okwagala ennyo Katonda. Bwe tugondera Katonda, naye ajja kutwagala. (Soma Ekyamateeka 7:12, 13.) Naye ddala tusobola okwagala Katonda wadde nga tetusobola kumulaba? Okwagala Yakuwa kitegeeza ki? Lwaki tulina okwagala Yakuwa? Era tuyinza tutya okulaga nti tumwagala?

LWAKI TUSOBOLA OKWAGALA KATONDA?

3, 4. Lwaki tusobola okwagala Yakuwa?

3 Tetusobola kulaba Katonda kubanga “Katonda Mwoyo.” (Yok. 4:24) Wadde kiri kityo, tusobola okwagala Yakuwa era Ebyawandiikibwa bitulagira okumwagala. Ng’ekyokulabirako, Musa yagamba Abaisiraeri nti: “[Oteekwa okwagala] Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, n’amaanyi go gonna.”Ma. 6:5.

4 Lwaki tusobola okwagala Katonda? Tusobola okumwagala kubanga yatutonda nga tulina obwetaavu obw’eby’omwoyo era nga tulina obusobozi obw’okwoleka okwagala. Ebyetaago byaffe eby’omwoyo bwe bikolebwako, okwagala kwe tulina eri Yakuwa kweyongera era ekyo kituleetera essanyu lingi. Yesu yagamba nti: “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bwabwe.” (Mat. 5:3) Mu kitabo kye ekiyitibwa Man Does Not Stand Alone, omuwandiisi w’ebitabo ayitibwa A. C. Morrison yagamba nti: “Kyewuunyisa okulaba nti okuva edda n’edda abantu babadde banoonya Katonda era nga baagala okumusinza.” Okufaananako omuwandiisi oyo, bangi bakyetegerezza nti abantu bazaalibwa nga balina obwetaavu obw’okumanya Katonda.

5. Lwaki tusobola okumanya Katonda?

5 Ddala tusobola okumanya Katonda? Yee, tusobola okumumanya kubanga ayagala tumumanye. Kino tukirabira mu ebyo omutume Pawulo bye yagamba abantu abaali bakuŋŋaanidde mu Aleyopaago, ekiri okumpi ne yeekaalu ya Asena, katonda omukazi abantu b’omu Asene gwe baasinzanga. Kuba akafaananyi nga naawe owuliriza Pawulo ng’ayogera ku “Katonda eyakola ensi n’ebintu byonna ebigirimu” era ng’alaga nti “[Katonda] tabeera mu yeekaalu zikolebwa bantu.” Omutume Pawulo yagattako nti: “[Katonda] yakola okuva mu muntu omu amawanga gonna ag’abantu okubeera ku nsi yonna, era yabateerawo ebiseera ebigere n’ensalo ez’ebitundu omw’okubeera, basobole okunoonya Katonda, bamuwammante, era bamuzuule, wadde nga tali wala wa buli omu ku ffe.” (Bik. 17:24-27) Mu butuufu, abantu basobola okumanya Katonda. Leero Abajulirwa ba Yakuwa abasukka mu bukadde omusanvu n’ekitundu basobodde okumumanya, era bamwagala nnyo.

OKWAGALA KATONDA KITEGEEZA KI?

6. Tteeka ki erisinga obukulu era erisooka mu mateeka gonna?

6 Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kusaanidde okuviira ddala ku mutima. Ekyo tukirabira mu bigambo Yesu bye yagamba Omufalisaayo omu eyamubuuza nti: “Omuyigiriza, tteeka ki erisinga obukulu mu Mateeka?” Yesu yamuddamu nti: “‘Oteekwa okwagala Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.’ Lino lye tteeka erisinga obukulu mu gonna era lye lisooka.”Mat. 22:34-38.

7. Kitegeeza ki okwagala Katonda (a) ‘n’omutima gwaffe gwonna’? (b) ‘n’obulamu bwaffe bwonna’? (c) ‘n’amagezi gaffe gonna’?

7 Kitegeeza ki okwagala Katonda ‘n’omutima gwaffe gwonna, n’obulamu bwaffe bwonna, n’amagezi gaffe gonna’? Okwagala Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna kitegeeza nti okwagala kwe tulina gy’ali kulina okweyolekera mu ebyo bye twagala ne mu nneewulira zaffe. Okwagala Yakuwa ‘n’obulamu bwaffe bwonna’ kitegeeza nti okwagala kwe tulina gy’ali kulina okweyolekera mu buli kimu kye tukola mu bulamu bwaffe. Ate okwagala Yakuwa ‘n’amagezi gaffe gonna’ kitegeeza nti okwagala kwe tulina gy’ali kulina okweyolekera mu ngeri gye tulowoozaamu ne mu ebyo bye tulowoozaako. Mu bufunze, tulina okwagala Yakuwa mu bujjuvu, nga tetwerekaamu.

8. Tuyinza tutya okukiraga nti ddala twagala Katonda?

8 Bwe tuba nga ddala twagala Katonda n’omutima gwaffe gwonna, n’obulamu bwaffe bwonna, n’amagezi gaffe gonna, tujja kunyiikirira okusoma Ekigambo kye, okukola by’ayagala, n’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (Mat. 24:14; Bar. 12:1, 2) Okukola ebintu ebyo kijja kutuyamba okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. (Yak. 4:8) Kya lwatu nti tetusobola kumenya nsonga zonna zandituleetedde kwagala Katonda, naye ka tulabeyo ezimu ku zo.

LWAKI TUSAANIDDE OKWAGALA YAKUWA?

9. Lwaki oyagala nnyo Yakuwa?

9 Yakuwa ye yatutonda era y’atulabirira. Omutume Pawulo yagamba nti: “Ku bw’oyo tuli balamu, tutambula, era weetuli.” (Bik. 17:28) Yakuwa ye yatuwa ensi eno kwe tuli. (Zab. 115:16) Era Yakuwa y’atuwa emmere n’ebintu ebirala bye twetaaga okusobola okuba abalamu. Eyo ye nsonga lwaki Pawulo yagamba abantu b’omu Lusitula abaali basinza ebifaananyi nti: “Katonda omulamu . . . yeewaako obujulirwa olw’ebintu ebirungi bye yakola, ng’abawa enkuba okuva mu ggulu n’ebiro eby’okubaliramu emmere, ng’abawa emmere mu bungi era ng’ajjuza emitima gyammwe essanyu.” (Bik. 14:15-17) Ekyo kyanditukubiriza okwagala Yakuwa, Omutonzi waffe ow’Ekitalo.Mub. 12:1.

10. Okuba nti Yakuwa yawaayo Omwana we ng’ekinunulo kyandituleetedde kukola ki?

10 Katonda ajja kuggyawo ekibi n’okufa bye twasikira okuva ku Adamu. (Bar. 5:12) Bayibuli egamba nti: “Katonda atulaga okwagala kwe, kubanga bwe twali nga tukyali boonoonyi, Kristo n’atufiiririra.” (Bar. 5:8) Twagala nnyo Yakuwa kubanga yawaayo omwana we ne kiba nti bwe twenenya ebibi byaffe era ne tukkiririza mu kinunulo ky’Omwana we tusobola okusonyiyibwa ebibi byaffe.Yok. 3:16.

11, 12. Ssuubi ki Yakuwa ly’atuwadde?

11 Yakuwa ‘atuwadde essuubi eritujjuza essanyu n’emirembe.’ (Bar. 15:13) Essuubi Katonda ly’atuwadde litusobozesa okwaŋŋanga embeera enzibu. Abaafukibwako amafuta abanaasigala nga ‘beesigwa okutuukira ddala okufa, bajja kuweebwa engule ey’obulamu’ mu ggulu. (Kub. 2:10) Abaweereza ba Katonda abeesigwa abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna beesunga emikisa emingi gye banaafuna mu Lusuku lwa Katonda. (Luk. 23:43) Essuubi lye tulina lituleetera kuwulira tutya? Lituleetera essanyu, okuwulira emirembe, era lituleetera okwongera okwagala Oyo atuwa “buli kirabo ekirungi na buli kitone ekituukiridde.”Yak. 1:17.

12 Katonda atuwadde essuubi ery’okuzuukira. (Bik. 24:15) Kyo kituufu nti tuwulira bubi nnyo nga tufiiriddwa omuntu waffe, naye olw’okuba tulina essuubi ery’okuzuukira, ‘tetunakuwala ng’abalala abatalina ssuubi.’ (1 Bas. 4:13) Olw’okuba Yakuwa ye Katonda ow’okwagala, yeesunga nnyo okuzuukiza abantu abaafa, naddala abaweereza be abeesigwa nga Yobu. (Yob. 14:15) Lowooza ku ssanyu erinaabaawo ng’abantu bazuukiziddwa era nga bazzeemu okuba awamu n’ab’eŋŋanda zaabwe ne mikwano gyabwe. Tewali kubuusabuusa nti essuubi ery’okuzuukira lituleetera okwongera okwagala Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu!

13. Kiki ekiraga nti Katonda atufaako nnyo?

13 Yakuwa atufaako nnyo. (Soma Zabbuli 34:6, 18, 19; 1 Peetero 5:6, 7.) Okukimanya nti Katonda waffe ow’okwagala mwetegefu okuyamba abaweereza be abeesigwa, kituleetera okuwulira nga tulina obukuumi obwa nnamaddala. (Zab. 79:13) Ate era ebintu Katonda by’ajja okutukolera okuyitira mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, nabyo biraga nti Katonda atwagala nnyo. Yesu Kristo, Kabaka Katonda gwe yalonda, bw’anaamala okuggyawo ebikolwa byonna ebibi, abantu abeesigwa bajja kufuna emirembe era bajja kufuna ebintu byonna bye beetaaga okusobola okunyumirwa obulamu. (Zab. 72:7, 12-14, 16) Okufumiitiriza ku bintu ebyo, kituleetera okwagala Katonda n’omutima gwaffe gwonna, n’obulamu bwaffe bwonna, n’amaanyi gaffe gonna, n’amagezi gaffe gonna.Luk. 10:27.

14. Nkizo ki ey’ekitalo Katonda gy’atuwadde?

14 Yakuwa atuwadde enkizo ey’ekitalo okuba Abajulirwa be. (Is. 43:10-12) Twagala nnyo Katonda kubanga atuwadde enkizo okuwagira obufuzi bwe n’okuyamba abantu ababonaabona okufuna essuubi. Okugatta ku ekyo, ebintu bye tubuulira abalala tubikkiririzaamu era tubyekakasa kubanga biva mu Kigambo kya Katonda ow’amazima, Oyo atuukiriza buli kimu ky’aba asuubizza. (Soma Yoswa 21:45; 23:14.) Kya lwatu nti emikisa Yakuwa gy’atuwa n’ebintu ebituleetera okumwagala tetusobola kubimenya ne tubimalayo. Naye ekyebuuzibwa kiri nti tuyinza tutya okukiraga nti tumwagala?

TUYINZA TUTYA OKULAGA NTI TWAGALA KATONDA?

15. Okusoma Ekigambo kya Katonda n’okukikolerako kituganyula kitya?

15 Okunyiikirira okusoma Ekigambo kya Katonda n’okukikolerako. Bwe tukola tutyo, tuba tulaga nti twagala Yakuwa era nti twagala Ekigambo kye okuba ‘omusana eri ekkubo lyaffe.’ (Zab. 119:105) Bwe tuba mu mbeera enzibu, tubudaabudibwa nnyo bwe tusoma ku bigambo nga bino: “Omutima ogumenyese era oguboneredde, Ai Katonda, toogugayenga.” “Okusaasira kwo, ggwe Mukama, ne kumpanirira. Mu birowoozo byange ebingi ebiri mu nze [okubudaabuda] kwo kumpoomera emmeeme yange.” (Zab. 51:17; 94:18, 19) Yakuwa alumirirwa abo ababonaabona, era ne Yesu abalumirirwa. (Is. 49:13; Mat. 15:32) Okusoma Bayibuli kituyamba okukiraba nti Yakuwa atwagala nnyo, era ekyo kitukubiriza okwongera okumwagala.

16. Okunyiikirira okusaba kiyinza kitya okutuleetera okwongera okwagala Katonda?

16 Okusaba Katonda obutayosa. Okusaba kutuyamba okunyweza enkolagana yaffe n’Oyo “awulira okusaba.” (Zab. 65:2) Bwe tukiraba nti Katonda addamu essaala zaffe, ekyo kituleetera okwongera okumwagala. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okuba nga tukirabye nti Katonda tasobola kutuleka kukemebwa kusukka ku ekyo kye tusobola okugumira. (1 Kol. 10:13) Bwe tuba n’ekintu ekitweraliikiriza era ne twegayirira Yakuwa atuyambe, tufuna “emirembe gya Katonda egisingira ewala ebirowoozo byonna.” (Baf. 4:6, 7) Oluusi tuyinza okusaba essaala mu kasirise, nga Nekkemiya bwe yakola, era ne tukiraba nti Yakuwa azzeemu essaala yaffe. (Nek. 2:1-6) Bwe ‘tunyiikirira okusaba’ era ne tulaba engeri Yakuwa gy’addamu okusaba kwaffe, kituleetera okwongera okumwagala n’okuba abakakafu nti ajja kutuyamba okwolekagana n’ebigezo ebirala bye tuyinza okufuna mu biseera eby’omu maaso.Bar. 12:12.

17. Bwe tuba nga ddala twagala Katonda, okubaawo mu nkuŋŋaana tusaanidde kukitwala tutya?

17 Okubaawo mu nkuŋŋaana ennene n’entono obutayosa. (Beb. 10:24, 25) Abaisiraeri bakuŋŋaananga okuwuliriza n’okuyiga ebikwata ku Yakuwa basobole okumutya n’okukwata Amateeka ge. (Ma. 31:12) Bwe tuba nga ddala twagala Katonda tekijja kutuzibuwalira kukola by’ayagala. (Soma 1 Yokaana 5:3.) N’olwekyo, tetusaanidde kukkiriza kintu kyonna kutuleetera kulagajjalira nkuŋŋaana zaffe. Mu butuufu, tetwagala kukkiriza kintu kyonna kuleetera kwagala kwe tulina eri Yakuwa kukendeera.Kub. 2:4.

18. Okwagala kwe tulina eri Katonda kutukubiriza kukola ki?

18 Okubuulira “amawulire amalungi” n’obunyiikivu. (Bag. 2:5) Okwagala kwe tulina eri Katonda kutukubiriza okubuulira abalala ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Ku Kalumagedoni, Kabaka Yesu Kristo, ajja ‘kwebagala embalaasi awangule olw’amazima.’ (Zab. 45:4; Kub. 16:14, 16) Nga kitusanyusa nnyo okwenyigira mu mulimu ogw’okufuula abantu abayigirizwa nga tubayamba okumanya ebikwata ku kwagala kwa Katonda n’ensi empya gye yasuubiza!Mat. 28:19, 20.

19. Lwaki tusaanidde okulaga nti tusiima enteekateeka Katonda gye yateekawo ey’okulunda ekisibo kye?

19 Okukiraga nti tusiima enteekateeka Katonda gye yateekawo ey’okulunda ekisibo kye. (Bik. 20:28) Yakuwa atuteereddewo abakadde mu kibiina era abakadde abo batufaako nnyo. Abakadde balinga “ekifo eky’okwekwekamu eri empewo, n’ekiddukiro eri kibuyaga; ng’emigga gy’amazzi mu kifo ekikalu, ng’ekisiikirize ky’olwazi olunene mu nsi ekooyesa.” (Is. 32:1, 2) Ffenna kitusanyusa nnyo okufuna ekifo eky’okwekwekamu nga kibuyaga azze! Ate era singa omusana guba gwaka nnyo, tuwulira bulungi singa tufuna ekisiikirize ky’olwazi olunene ne twewogomamu. Ekyawandiikibwa ekyo kiraga nti abakadde batuyamba nnyo mu by’omwoyo era batuzzaamu nnyo amaanyi. Bwe tugondera abakadde mu kibiina, tuba tulaga nti tusiima ‘ebirabo ebyo mu bantu’ Katonda bye yatuwa, era kiba kiraga nti twagala nnyo Katonda ne Kristo, Omutwe gw’ekibiina.Bef. 4:8; 5:23; Beb. 13:17.

Yakuwa atuwadde abasumba abafaayo ennyo ku kisibo (Laba akatundu 19)

WEEYONGERE OKWAGALA KATONDA

20. Bw’oba nga ddala oyagala Katonda, kiki ky’olina okukola?

20 Abantu abalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, baba ‘bakozi ba kigambo, so si bawulizi buwulizi.’ (Soma Yakobo 1:22-25.) ‘Omukozi w’ekigambo’ aba n’okukkiriza okw’amaanyi okumukubiriza okuba omunyiikivu mu mulimu gw’okubuulira n’okwenyigira mu nkuŋŋaana obutayosa. Bw’oba nga ddala oyagala Yakuwa Katonda, olina okugondera ‘etteeka lye eryatuukirira.’ Etteeka eryo bye bintu byonna Yakuwa by’atwetaagisa okukola.Zab. 19:7-11.

21. Essaala eziviira ddala ku mutima zigeraageranyizibwa ku ki?

21 Okwagala kw’olina eri Yakuwa Katonda kusaanidde okukukubiriza okunyiikirira okusaba essaala eziviira ddala ku mutima. Ng’ageraageranya essaala ze ku bubaane obwayokebwanga buli lunaku mu Isiraeri ey’edda, omuwandiisi wa Zabbuli Dawudi yagamba nti: “Okusaba kwange ka kube ng’obubaane obuteekeddwateekeddwa mu maaso go. Emikono gyange egiyimusiddwa ka gibe ng’ekiweebwayo eky’akawungeezi eky’emmere ey’empeke.” (Zab. 141:2, NW; Kuv. 30:7, 8) Okufaananako Dawudi, naawe fuba okulaba nti okusaba kwo okw’okwegayirira, okutendereza, n’okwebaza kube ng’obubaane obuwunya akaloosa, obukiikirira essaala ezikkirizibwa mu maaso ga Katonda.Kub. 5:8.

22. Kiki kye tujja okwetegereza mu kitundu ekiddako?

22 Yesu yagamba nti tulina okwagala Katonda ne muntu munnaffe. (Mat. 22:37-39) Okwagala Yakuwa n’emisingi gye, kijja kutukubiriza okwagala bantu bannaffe. Ekitundu ekiddako kijja kutuyamba okulaba kye kitegeeza okwagala muntu munnaffe.