Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yamba Abalala Okukozesa Obusobozi Bwabwe mu Bujjuvu

Yamba Abalala Okukozesa Obusobozi Bwabwe mu Bujjuvu

“Nja kukubuulirira ng’eriiso lyange likuliko.”ZAB. 32:8, NW.

1, 2. Yakuwa atwala atya abaweereza be abali ku nsi?

ABAZADDE bwe beetegereza abaana baabwe nga bazannya, batera okukiraba nti abaana baabwe balina obusobozi okukola ebintu ebitali bimu. Ekyo naawe okyetegerezza? Abaana abamu balina ekitone mu by’emizannyo, ate abalala balina ekitonde mu kukuba ebifaananyi oba mu bintu ebirala. Abaana ka babe nga balina busobozi bwa ngeri ki, bazadde baabwe bafuba okubayamba okukozesa obusobozi bwabwe obwo mu bujjuvu.

2 Okufaananako omuzadde, Yakuwa naye yeetegereza abaweereza be abali ku nsi era abatwala ‘ng’ebyegombebwa amawanga gonna.’ (Kag. 2:7) Abatwala nga ba muwendo olw’okuba balina okukkiriza okw’amaanyi era olw’okuba bamwemaliddeko. Kyokka naawe oyinza okuba ng’okyetegerezza nti bakkiriza banno balina ebitone ebitali bimu. Abamu ku bo bawa bulungi emboozi, ate abalala balina ekitone mu kuteekateeka obulungi ebintu. Bannyinaffe bangi kibanguyira okuyiga ennimi ez’enjawulo, bwe batyo ne basobola okubuulira abantu aboogera ennimi ezo. Ate abalala bamanyi bulungi engeri y’okuzzaamu abalala amaanyi n’okujjanjaba abalwadde. (Bar. 16:1, 12) Mu butuufu, kitusanyusa nnyo okubeera mu kibiina omuli baganda baffe ne bannyinaffe ng’abo.

3. Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya mu kitundu kino?

3 Abakristaayo abamu, naddala abo ababa bakyali abato oba abo ababa baakabatizibwa, bayinza okukisanga nga kizibu okumanya ekifo kye balina mu kibiina. Tuyinza tutya okuyamba baganda baffe ne bannyinaffe ng’abo okukozesa obusobozi bwabwe mu bujjuvu? Lwaki tusaanidde okukoppa Yakuwa nga tufuba okunoonya ebirungi mu bakkiriza bannaffe?

YAKUWA ALABA EBIRUNGI MU BAWEEREZA BE

4, 5. Ebyo ebiri mu Ekyabalamuzi 6:11-16 biraga bitya nti Yakuwa alaba obusobozi abaweereza be bwe balina?

4 Bayibuli eraga nti Yakuwa alaba ebirungi mu baweereza be era nti alaba n’obusobozi bwabwe. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa bwe yalonda Gidiyoni okununula abantu be okuva mu mukono gw’Abamidiyaani, Gidiyoni yawulira ng’atalina busobozi kutuukiriza buvunaanyizibwa obwo. N’olwekyo, Gidiyoni ateekwa okuba nga yeewuunya nnyo okuwulira malayika ng’amugamba nti: ‘Yakuwa ali naawe, ggwe omulwanyi ow’amaanyi.’ Wadde nga Gidiyoni yali awulira nga tasobola kununula bantu ba Katonda, ye Yakuwa yali alaba obusobozi Gidiyoni bwe yalina era ng’akimanyi nti yali asobola okumukozesa okununula abantu be.Soma Ekyabalamuzi 6:11-16.

5 Okuva bwe kiri nti Yakuwa yali alabye obusobozi Gidiyoni bwe yalina, yali mukakafu nti Gidiyoni yali asobola okununula Abaisiraeri. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yali alabye engeri Gidiyoni gye yali awuulamu eŋŋaano n’amaanyi ge gonna. Ate era mu kiseera ekyo abalimi baateranga okuwuula eŋŋaano n’okugiwewa nga bali wabweru. Naye ye Gidiyoni bwe yali awuula eŋŋaano yali mu ssogolero. Ekyo kyandimuyambye okugikweka amangu ng’Abamidiyaani babalumbye ne balema kugibba. Yakuwa yakiraba nti Gidiyoni yali musajja munyiikivu era nga wa magezi. Mu butuufu, Yakuwa yalaba obusobozi Gidiyoni bwe yalina era n’amuyamba okubukozesa mu bujjuvu.

6, 7. (a) Engeri Yakuwa gye yali atwalamu nnabbi Amosi yayawukana etya ku ngeri Abaisiraeri abamu gye baali bamutwalamu? (b) Kiki ekiraga nti mu kulonda Amosi, Yakuwa yali takoze nsobi?

6 Mu ngeri y’emu, Yakuwa yalaba obusobozi nnabbi Amosi bwe yalina, wadde ng’Abaisiraeri abamu bayinza okuba nga baali bamutwala ng’omuntu eyali tasobola kuba nnabbi. Amosi kennyini yagamba nti yali mulunzi wa ndiga era nga musalizi wa misukomooli, emiti egyavangako ebibala ebyateranga okuliibwa abaavu. N’olwekyo, Yakuwa bwe yalonda Amosi okulangirira obubaka bwe obw’omusango eri abantu abaali mu bwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi abaali bavudde ku kusinza okw’amazima, Abaisiraeri abamu bayinza okuba nga baalowooza nti omuntu Yakuwa gwe yali alonze teyali mutuufu.Soma Amosi 7:14, 15.

7 Wadde nga Amosi yakulira mu kyalo, yali amanyi bulungi ebikwata ku mawanga agatali gamu n’obuwangwa bw’abantu ab’omu kiseera kye. Era yali amanyi bulungi ebigenda mu maaso mu Isiraeri ne mu mawanga amalala, oboolyawo olw’okuba yali akolagana n’abasuubuzi abaavanga mu mawanga agatali gamu. (Am. 1:6, 9, 11, 13; 2:8; 6:4-6) Abeekenneenya Bayibuli abamu bagamba nti Amosi yali muwandiisi mulungi nnyo. Yakozesanga ebigambo ebyangu okutegeera era nga bituukira ddala ku mutima. Mu butuufu, obuvumu Amosi bwe yayoleka ng’anenya kabona omubi Amaziya, bwalaga nti omuntu Yakuwa gwe yali alonze yali mutuufu. Yakuwa yalaba obusobozi Amosi bwe yalina wadde ng’abantu abamu mu kusooka baali tebabulaba.Am. 7:12, 13, 16, 17.

8. (a) Kiki Yakuwa kye yagamba Dawudi? (b) Lwaki ebigambo ebiri mu Zabbuli 32:8 bizzaamu amaanyi abo abayinza okuba nga beenyooma oba nga tebalina bumanyirivu?

8 Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa amanyi obusobozi bwa buli omu ku baweereza be. Yagamba Kabaka Dawudi nti yali ajja kumuwa obulagirizi ‘ng’eriiso lye limuliko.’ (Soma Zabbuli 32:8.) Ekyo kituzzaamu nnyo amaanyi. Wadde nga tuyinza okuba nga twenyooma, Yakuwa amanyi bulungi obusobozi bwaffe era asobola okutuyamba okukola ebintu bye tutalowoozanganako nti tusobola okubikola. Ng’omusomesa omulungi bw’akuumira eriiso lye ku muyizi atalina bumanyirivu asobole okumuwa obulagirizi obwetaagisa, ne Yakuwa atukuumirako eriiso lye asobole okutuwa obulagirizi obunaatuyamba okukulaakulana mu by’omwoyo. Ate era Yakuwa asobola okukozesa bakkiriza bannaffe okutuyamba okukozesa obusobozi bwaffe mu bujjuvu. Mu ngeri ki?

NOONYA EBIRUNGI MU BALALA

9. Tuyinza tutya okukiraga nti ‘tufaayo’ ku by’abalala?

9 Pawulo yakubiriza Abakristaayo bonna ‘okufaayo’ ku by’abalala. (Soma Abafiripi 2:3, 4.) Mu kwogera ebigambo ebyo, Pawulo yali atukubiriza okunoonya ebirungi mu balala era n’okubasiima. Tuwulira tutya singa wabaawo omuntu atusiima olw’ekintu kye tuba tukoze ekiraga nti tweyongedde okukulaakulana mu by’omwoyo? Ekyo kituzzaamu amaanyi ne kitukubiriza okwongera okukulaakulana. Mu ngeri y’emu, singa tukiraga nti bakkiriza bannaffe tubatwala nga ba muwendo, ekyo kisobola okubakubiriza okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo.

10. Okusingira ddala baani abeetaaga okufiibwako?

10 Okusingira ddala baani abeetaaga okufiibwako? Kya lwatu nti ffenna twetaaga okufiibwako. Naye, bakkiriza bannaffe abato oba abo abaakabatizibwa beetaaga okufiibwako ennyo. Ekyo kisobola okubayamba okuwulira nti ba mugaso mu kibiina. Ku luuyi olulala, singa tetufaayo ku bakkiriza bannaffe ng’abo, kiyinza okubamalamu amaanyi ne kibalemesa okuluubirira enkizo mu kibiina, so ng’ate ekyo Ekigambo kya Katonda kye kibakubiriza okukola.1 Tim. 3:1.

11. (a) Omukadde omu yayamba atya Julien okuggwaamu ensonyi? (b) Ekyo kituyigiriza ki?

11 Ludovic, omukadde mu kibiina eyaganyulwa ennyo mu ky’okuba nti bakkiriza banne baamufaako nnyo ng’akyali muto, agamba nti: “Bw’okiraga nti ofaayo ku w’oluganda, akulaakulana mangu mu by’omwoyo.” Ng’ayogera ku muvubuka omu ayitibwa Julien eyalina ensonyi, Ludovic agamba nti: “Olw’okuba Julien yali yeenyooma, oluusi yeeyisanga mu ngeri eteri ya bulijjo. Naye nnakiraba nti yali wa kisa era ng’ayagala nnyo okuyamba abalala mu kibiina. N’olwekyo, mu kifo ky’okussa essira ku ebyo bye yali takola bulungi, essira nnalissa ku ebyo bye yali akola obulungi, era ne nfuba okumuzzaamu amaanyi.” Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, Julien yafuuka omuweereza mu kibiina era kati aweereza nga payoniya owa bulijjo.

BAYAMBE OKUKOZESA OBUSOBOZI BWABWE MU BUJJUVU

12. Kiki kye tulina okukola okusobola okuyamba bakkiriza bannaffe okukozesa obusobozi bwabwe mu bujjuvu? Waayo ekyokulabirako.

12 Bwe tuba ab’okuyamba abalala okukozesa obusobozi bwabwe mu bujjuvu, tulina okuba abantu abeetegereza. Nga bwe kyali ku Julien, mu kifo ky’okutunuulira obunafu omuntu bw’alina, tusaanidde okussa essira ku ngeri ennungi z’alina n’obusobozi bw’alina era ne tumuyamba okubukozesa mu bujjuvu. Ekyo kyennyini Yesu kye yakola. Wadde ng’ebiseera ebimu Peetero yalabika ng’ateesigika, Yesu yamutuuma Keefa, ekitegeeza olwazi. Ekyo kiraga nti Yesu yali akirabye nti mu biseera eby’omu maaso Peetero yandibadde munywevu ng’olwazi.Yok. 1:42.

13, 14. (a) Balunabba yatwala atya Makko? (b) Omukadde omu yayamba atya Alexandre? (Laba ekifaananyi ku lupapula 28.)

13 Ate lowooza ku ebyo bye tusoma ku Balunabba ne Makko. (Bik. 12:25) Pawulo bwe yali agenda ku lugendo lwe olw’obuminsani olwasooka ng’ali wamu ne Balunabba, Makko yagenda nabo asobole okubaweereza. Kyokka bwe baatuuka e Panfuliya, Makko yabaabulira. Pawulo ne Balunabba beeyongerayo nga bali bokka ne bayita mu kitundu ekyalimu abanyazi. (Bik. 13:5, 13) Kyokka Balunabba essira teyalissa ku nsobi eyo Makko gye yakola wabula yalissa ku ngeri ennungi ze yalina. Oluvannyuma yeeyongera okumutendeka era ekyo kyayamba nnyo Makko okukula mu by’omwoyo. (Bik. 15:37-39) Nga wayise emyaka mingi, Pawulo bwe yali mu kkomera e Rooma, Makko yali wamu naye. Era Pawulo bwe yali awandiikira Abakkolosaayi ebbaluwa, yayogera bulungi ku Makko. (Bak. 4:10) Lowooza ku ssanyu Balunabba ly’ayinza okuba nga yafuna bwe yawulira nga Pawulo asabye bamuweereze Makko okuba omuweereza we.2 Tim. 4:11.

14 Alexandre, kati aweereza ng’omukadde mu kibiina, ajjukira engeri ow’oluganda omu gye yamuyambamu. Agamba nti: “Bwe nnali nkyali muto, kyanzibuwaliranga nnyo okukulemberamu abalala mu kusaba. Omukadde omu yandaga engeri gye nnyinza okweteekateeka obulungi nga sinnakulembera balala mu kusaba n’engeri gye nnyinza okuba omuvumu. Mu kifo ky’okulekera awo okumpa akakisa okukulembera abalala mu kusaba, omukadde oyo yateranga okunnonda okusaba mu lukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, nnaggwaamu okutya.”

15. Pawulo yakiraga atya nti yali asiima bakkiriza banne olw’engeri ennungi ze baalina?

15 Bwe tulaba engeri ennungi bakkiriza bannaffe ze balina, tufuba okubasiima olw’okwoleka engeri ezo? Mu Abaruumi essuula 16, Pawulo yayogera ku bakkiriza banne abasukka mu 20 era n’ayogera ne ku ngeri ennungi ze baalina. (Bar. 16:3-7, 13) Ng’ekyokulabirako, Pawulo yakiraga nti Anduloniiko ne Yuniya baali bamaze ekiseera kiwanvu mu mazima okumusinga era n’abasiima olw’okwoleka obugumiikiriza. Pawulo era yayogera bulungi ku maama wa Luufo, oboolyawo ng’ajjukira engeri gye yamulabiriramu obulungi.

Frédéric (ku kkono) yayamba Rico okuba omumalirivu okuweereza Yakuwa (Laba akatundu 16)

16. Birungi ki ebiyinza okuvaamu singa tusiima abo abakyali abato?

16 Bwe tusiima abalala olw’ebirungi bye bakola kitera okuvaamu ebirungi. Lowooza ku Rico, omulenzi omuto abeera mu Bufalansa era nga kitaawe si muweereza wa Yakuwa. Rico yaggwaamu amaanyi olw’okuba kitaawe yali tayagala abatizibwe. Rico yatandika okulowooza nti yali tasobola kubatizibwa okutuusa ng’awezezza emyaka 18. Ate era kyamunakuwazanga nnyo bayizi banne bwe baamusekereranga olw’enzikiriza ye. Naye omukadde omu ayitibwa Frédéric yeebaza nnyo Rico olw’okugumira okuyigganyizibwa okwo era n’akiraga nti okuba nti Rico yali ayigganyizibwa kyali kiraga nti yali abuulira n’obunyiikivu era nti yali muvumu. Ekyo kyazzaamu nnyo Rico amaanyi era n’amalirira okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo. Enkolagana ye ne kitaawe yeeyongera okutereera era bwe yali wa myaka 12, Rico yabatizibwa.

Jérôme (ku ddyo) yayamba Ryan okufuuka omuminsani (Laba akatundu 17)

17. (a) Tuyinza tutya okuyamba bakkiriza bannaffe okukulaakulana mu by’omwoyo? (b) Omuminsani omu ayambye atya abavubuka okukulaakulana, era biki ebivuddemu?

17 Bwe tusiima bakkiriza bannaffe olw’ebirungi bye bakola, kisobola okubayamba okuweereza Yakuwa mu bujjuvu. Mwannyinaffe Sylvie, * amaze emyaka emingi ng’aweereza ku Beseri y’omu Bufalansa, yagamba nti bannyinaffe nabo balina kinene kye bayinza okukola okusiima bakkiriza bannaabwe. Yagamba nti ebiseera ebimu waliwo ebintu abakazi bye balaba naye ng’abasajja tebabiraba. Bwe kityo “ebigambo ebizzaamu amaanyi bannyinaffe bye boogera bisobola okujjuuliriza ebyo ab’oluganda bye boogera.” Yagattako nti: “Mpulira nga kinkakatako okusiima abalala.” (Nge. 3:27) Jérôme, omuminsani aweereza mu Guiana, ayambye abavubuka bangi okukulaakulana ne bafuuka abaminsani. Agamba nti: “Nkirabye nti bwe nsiima abavubuka nga baliko ekintu ekirungi kye bazzeemu mu nkuŋŋaana oba nga baliko ekintu ekirungi kye bakoze nga babuulira, kibaleetera okwongera okukulaakulana.”

18. Lwaki kikulu okukolerako awamu n’ab’oluganda abakyali abato?

18 Ate era tusobola okuyamba bakkiriza bannaffe okukulaakulana mu by’omwoyo nga tukolerako wamu nabo. Ng’ekyokulabirako, omukadde ayinza okusaba omuvubuka alina obumanyirivu mu kukozesa kompyuta abeeko ebintu by’aggya ku mukutu gwaffe ogwa jw.org ebisobola okuzzaamu amaanyi bannamukadde abayinza okuba nga tebalina kompyuta. Oba bw’oba olina omulimu gw’ogenda okukola ku Kizimbe ky’Obwakabaka, lwaki tobaako abavubuka b’oyita n’okolerako wamu nabo? Ekyo kisobola okukuwa akakisa okwongera okumanya obusobozi bwabwe, okubasiima, n’okumanya ebyo bye balowooza.Nge. 15:23.

YAMBA ABALALA OKUKULAAKULANA MU BY’OMWOYO

19, 20. Lwaki tusaanidde okuyamba abalala okukulaakulana mu by’omwoyo?

19 Yakuwa bwe yalonda Yoswa okukulembera Abaisiraeri, yalagira Musa okugumya Yoswa n’okumuzzaamu amaanyi. (Soma Ekyamateeka 3:28.) Buli lukya abantu bangi beeyongera okwegatta ku kibiina kya Yakuwa. Abakristaayo bonna abakuze mu by’omwoyo basobola okubaako kye bakolawo okuyamba bakkiriza bannaabwe abakyali abato n’abo abaakabatizibwa okukozesa obusobozi bwabwe mu bujjuvu. Bwe bakola batyo, basobola okuyamba ab’oluganda bangi okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna n’okukulaakulana ne basobola “okuba n’ebisaanyizo by’okuyigiriza abalala.”2 Tim. 2:2.

20 Ka tube nga tuli mu kibiina ekyakulaakulana edda, oba nga tuli mu kibinja ekitono oba ekyakatandikibwawo, tusaanidde okuyamba abalala okukulaakulana mu by’omwoyo. Ekyo tusobola okukikola singa tukoppa Yakuwa ne tufuba okunoonya ebirungi mu bakkiriza bannaffe.

^ lup. 17 Amannya gakyusiddwa.