Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Beewaayo Kyeyagalire—Mu Micronesia

Beewaayo Kyeyagalire—Mu Micronesia

KATHERINE yakulira mu Amerika, era bwe yali wa myaka 16 yabatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Yali munyiikivu nnyo mu mulimu gw’okubuulira, naye mu kitundu kye yali abuuliramu abantu abasinga obungi baali tebasiima bubaka bwaffe. Agamba nti: “Nnasomanga ku bantu abaasabanga Katonda abasindikire omuntu abayambe okumumanya. Nnawuliranga nga nange njagala okusanga abantu ng’abo naye nga si basanga.”

Oluvannyuma lw’okumala emyaka mingi ng’abuulira mu kitundu ekyo, Katherine yatandika okulowooza ku ky’okusengukira mu kitundu awali abantu abaagala okuyiga ebikwata ku Bwakabaka. Kyokka yali yeebuuza obanga ekyo anaasobola okukikola. Ekyo kiri kityo kubanga yali tamanyidde kuva waka, era omulundi gwokka gwe yavaako awaka n’amala wiiki bbiri nga taliiwo yawuliranga ekiwuubaalo eky’amaanyi buli lunaku. Kyokka Katherine yali ayagala nnyo okufuna ku ssanyu eriva mu kuyamba abantu okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Oluvannyuma lw’okulowooza ku bitundu ebitali bimu gye yali ayinza okugenda, yawandiikira ofiisi y’ettabi ey’omu Guam n’emutegeeza ebisingawo. Mu Jjulaayi 2007, nga wa myaka 26, Katherine yagenda mu Saipan, ekizinga ekiri ku Nnyanja Pacific, ekyesudde mayiro 6,000 okuva ewaabwe. Biki ebyavaamu?

ESSAALA BBIRI ZIDDIBWAMU

Katherine bwe yali yakatuuka e Saipan, yasisinkana omukyala ayitibwa Doris, eyalina emyaka nga 45, era n’akkiriza okuyiga Bayibuli. Oluvannyuma lw’okusoma naye essuula essatu ezisooka mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza, waliwo ekintu Katherine kye yatandika okulowoozaako. Agamba nti: “Doris yali muyizi mulungi, era nnali njagala yeeyongere okukulaakulana. Nnali sifunangako muyizi wa Bayibuli mulungi ng’oyo, bwe kityo nnawulira nti Doris yeetaaga omubuulizi alina obumanyirivu okumuyigiriza, oboolyawo oyo bwe benkanya emyaka.” Katherine yasaba Yakuwa amuyambe okufuna omubuulizi omutuufu gwe yandisobodde okukwasa Doris. Oluvannyuma yasalawo okutegeeza Doris ku nkyukakyuka eyo gye yali ayagala okukola.

Katherine agamba nti: “Bwe nnali sinnategeeza Doris ku nkyukakyuka eyo, yaŋŋamba nti yalina ekizibu kye yali ayagala okuntegeezaako. Oluvannyuma lw’okumuwuliriza obulungi, nnamubuulira ku ngeri Yakuwa gye yali annyambye okwolekagana n’ekizibu ekifaananako ng’ekyo kye yalina. Yanneebaza nnyo.” Oluvannyuma Doris yagamba Katherine nti: “Yakuwa ayitira mu ggwe okunnyamba. Ku lunaku lwe wasooka okuggya ewange, nnali nsomye Bayibuli okumala essaawa eziwerako. Nnali nkaaba era nga nsaba Katonda ansindikire omuntu annyambe okuyiga Bayibuli. Mu kiseera ekyo kyennyini wakonkona ku luggi lwange. Yakuwa yaddamu essaala yange!” Katherine bw’aba anyumya ku kyokulabirako ekyo akulukusa amaziga. Agamba nti: “Ebyo Doris bye yaŋŋamba byandaga nti Yakuwa yali azzeemu essaala yange. Yakuwa yandaga nti nnali nsobola okweyongera okuyigiriza Doris Bayibuli.”

Doris yabatizibwa mu 2010, era kati naye alina abantu abawerako b’ayigiriza Bayibuli. Katherine agamba nti: “Ndi musanyufu nnyo okuba nti nnasobola okubaako omuntu gwe nnyamba okufuuka omuweereza wa Yakuwa, ekintu kye nnali mmaze ebbanga nga nsaba Yakuwa!” Leero, Katherine aweereza nga payoniya ow’enjawulo mu Kosrae, ekizinga ekiri ku Nnyanja Pacific.

OKUSOOMOOZEBWA OKW’EMIRUNDI ESATU

Ab’oluganda abasukka mu 100 (abali wakati w’emyaka 19 ne 79) be baweereza mu Micronesia, awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Ebyo Erica, eyagenda okuweereza mu Guam mu 2006 nga wa myaka 19, bye yayogera biraga engeri abo bonna abaagenda okuweereza mu Micronesia gye bawuliramu. Agamba nti: “Okuweereza nga payoniya mu kitundu omuli abantu abayaayaanira amazima, kireeta essanyu lingi. Ndi musanyufu nnyo okuba nti Yakuwa yannyamba okuweereza mu ngeri eno. Eno ye ngeri esingayo obulungi gye nnyinza okukozesaamu obulamu bwange!” Mu kiseera kino, Erica aweereza nga payoniya ow’enjawulo mu Ebeye ekiri ku kizinga ky’e Marshall. Kya lwatu nti, okuweereza mu nsi endala kirimu okusoomooza okutali kumu. Kati ka tulabeyo okusoomoozebwa kwa mirundi esatu abo abaweereza mu Micronesia kwe boolekagana nakwo n’engeri gye basobodde okukwaŋŋanga.

Erica

Embeera y’obulamu. Oluvannyuma lw’okutuuka ku kizinga ky’e Palau mu 2007, Simon, nga mu kiseera ekyo yali wa myaka 22, yeesanga nga ssente z’asobola okufuna ntono nnyo bw’ozigeraageranya ku ezo ze yali afuna ewaabwe e Bungereza. Agamba nti: “Nnalina okuyiga okugula ebyo byokka bye nneetaaga. Kati simala gagula buli mmere gye njagala era nfuba okunoonya gye bataseera. Ekintu bwe kinnyonoonekako, ŋŋenda gye batunda ebikadde ne ngulayo sipeeya ne nfuna omuntu n’akinkanikira.” Okukekkereza n’okubaako ebintu bye yeerekereza kiyambye kitya Simon? Agamba nti: “Kinnyambye okumanya ebintu ebisinga obukulu mu bulamu n’engeri y’okukozesaamu obulungi ssente entono ze nfuna. Nkirabye nti Yakuwa annyamba. Mu myaka omusanvu gye mmaze nga mpeereza wano, sibulwangako kya kulya na wa kusula.” Mu butuufu, Yakuwa ayamba abo bonna abafuba okwerekereza okusobola okukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwabwe.Mat. 6:32, 33.

Ekiwuubaalo. Erica agamba nti: “Njagala nnyo okubeera awamu n’ab’omu maka gange, era nnali ndowooza nti ekiwuubaalo kijja kunnemesa okubuulira mu bitundu ebyesudde.” Kiki kye yakola okusobola okweteekateeka? Agamba nti: “Bwe nnali sinnagenda, nnasoma ebitundu mu Omunaala gw’Omukuumi ebikwata ku kwolekagana n’ekiwuubaalo. Ekyo kyannyamba okuteekateeka omutima gwange. Mu kimu ku bitundu bye nnasoma, maama omu yagamba muwala we nti, ‘Yakuwa ajja kukulabirira bulungi n’okusinga nze bwe mbadde nkulabirira.’ Ebigambo ebyo nange byanzizaamu nnyo amaanyi.” Hannah n’omwami we, Patrick, baweereza mu Majuro ekisangibwa ku kizinga ky’e Marshall. Hannah asobodde okwolekagana n’ekiwuubaalo ng’ebirowoozo bye abissa ku b’oluganda mu kibiina gye baweereza. Agamba nti: “Nneebaza nnyo Yakuwa olw’okutuwa baganda baffe ne bannyinaffe mu nsi yonna kubanga mbatwalira ddala ng’ab’omu maka gange. Awatali buyambi bwabwe, sandisobodde kuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako.”

Simon

Okufuna emikwano. Simon agamba nti: “Bw’ogenda mu nsi endala, osanga kumpi buli kimu kya njawulo. Oluusi mpulira nga bwe njogera n’abantu tebantegeera bulungi era oluusi kinzibuwalira n’okusaaga nabo.” Erica agamba nti: “Mu kusooka nnawulira nga sigya mu bantu, naye nnajjukira ensonga lwaki nnali ŋŋenze mu kitundu ekyo. Saagenda kwenoonyeza byange, wabula okuweereza Yakuwa mu ngeri esingawo.” Agattako nti: “Oluvannyuma lw’ekiseera, nnafuna emikwano mingi.” Simon yafuba okuyiga olulimi Olupalawu, era ekyo kyamuyamba okufuna emikwano mu kibiina. (2 Kol. 6:13) Ab’oluganda bwe baakiraba nti afuba okuyiga olulimi lwabwe, beeyongera okumwagala. Mu butuufu, ab’oluganda ababa bagenze okuweereza awali obwetaavu obusingako awamu n’abo be basangayo bwe bakolera awamu, bafuuka ba mukwano. Mikisa ki emirala abo abagenda okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako gye bafuna?

‘BAKUNGULA BINGI’

Omutume Pawulo yagamba nti: “Oyo asiga ensigo ennyingi alikungula bingi.” (2 Kol. 9:6) Abo abafuba okugaziya ku buweereza bwabwe, balabye obutuufu bw’ebigambo ebyo. Bibala ki abo abaweereza mu Micronesia bye ‘bakungula mu bungi’?

Patrick ne Hannah

Mu Micronesia mulimu abantu bangi abaagala okuyiga Bayibuli era abeetegefu okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe okusobola okukulaakulana mu by’omwoyo. Patrick ne Hannah era baabuulirako ne mu Angaur, ekizinga ekitono ekiriko abantu nga 320. Oluvannyuma lw’okumala emyezi ebiri nga babuulira ku kizinga ekyo, balina omukazi gwe baasanga era n’akkiririzaawo okutandika okuyiga Bayibuli. Omukazi oyo yakola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwe. Hannah agamba nti: ‘Buli lwe twamalanga okusomesa omukazi oyo, twebazanga Yakuwa olw’okutuwa omuyizi omulungi bw’atyo.’ Agattako nti: “Nkimanyi nti Yakuwa yali asobola okuyamba omukazi oyo okumumanya ng’ayitira mu ngeri endala, naye olw’okuba twasalawo okugenda okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako, Yakuwa yasalawo okukozesa ffe okumuyamba. Ekyo kye kimu ku bintu ebikyasinze okutuleetera essanyu mu bulamu bwaffe!” Nga Erica bwe yagamba, “bw’oyamba omuntu okutegeera Yakuwa, ofuna essanyu eritagambika!”

NAAWE OSOBOLA OKUGAZIYA KU BUWEEREZA BWO?

Mu nsi nnyingi, waliwo obwetaavu bwa maanyi obw’ababuulizi b’Obwakabaka. Osobola okuba omu ku abo abagenda okuweereza awali obwetaavu obusingako? Saba Yakuwa akuyambe okulaba engeri gy’oyinza okugaziya ku buweereza bwo. Yogerako n’abakadde mu kibiina, omulabirizi w’ekitundu, oba n’abo abaweerezzaako mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Bw’oba oteekateeka okugenda, wandiikira ofiisi y’ettabi erabirira omulimu gw’okubuulira mu kitundu gy’oyagala okugenda, bakubuulire ebisingawo. Kyokka, mu kifo ky’okuweereza ebbaluwa yo butereevu ku ofiisi y’ettabi, giwe abakadde b’omu kibiina kyo, babeeko ebirala bye boongerezaako nga tebannagiweereza. * Oboolyawo, naawe oyinza okwegatta ku nkumi n’enkumi z’ab’oluganda, abato n’abakulu, abafumbo n’abatali bafumbo, abeewaayo kyeyagalire era abafunye ku ssanyu eriva mu ‘kukungula ebingi.’

^ lup. 17 Laba ekitundu ekirina omutwe “Osobola ‘Okugenda e Makedoni’?” mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Agusito 2011.