Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Nfiirwa Taata—Nzuula Taata

Nfiirwa Taata—Nzuula Taata

TAATA wange yazaalibwa mu Graz, Austria, mu 1899, era mu kiseera kya Ssematalo I yali akyali muvubuka. Ssematalo II bwe yabalukawo mu 1939, taata yayingizibwa mu ggye lya Bugirimaani. Yattibwa mu 1943 bwe baali balwanira mu Russia. Bwe ntyo bwe nnafiirwa taata wange nga nkyali wa myaka ebiri gyokka. N’olwekyo, saafuna kakisa kutegeera taata, era kyampisanga bubi obutaba na taata ng’ate baana bannange ku ssomero bo baalina bataata baabwe. Kyokka bwe nnali mu myaka gyange egy’obutiini, nnasanyuka nnyo bwe nnayiga ku Kitaffe ow’omu ggulu, oyo atasobola kufa.Kaab. 1:12.

NNALIKO OMUSIKAWUTU

Nga nkyali muto

Bwe nnali wa myaka musanvu, nnayingira ekibiina kya Basikawutu. Ekibiina ekyo kyatandikibwawo omu ku bakungu mu ggye lya Bungereza ayitibwa Robert Stephenson Smyth Baden-Powell mu 1908. Mu 1916, yatandikawo ekibiina kya Basikawutu eky’abaana ab’obulenzi abato.

Nnanyumirwanga okuba mu nkambi ze twakubanga mu byalo, okusula mu weema, okwambala yunifoomu zaffe, n’okukumbira ku ŋŋoma. Ate era nnanyumirwanga nnyo okubeera awamu ne Basukawutu bannange. Twakumanga omuliro ne tuyimba nga tugwetooloodde era twazannyanga n’emizannyo mu bibira. Twayiga bingi ebikwata ku butonde era ekyo kyandeetera okusiima Omutonzi waffe olw’ebintu eby’ekitalo bye yatonda.

Abasikawutu bakubirizibwa okubaako ekintu ekirungi kye bakola buli lunaku. Bwe twabanga tubuuzaganya twagambanga nti “Beera Mwetegefu Buli Kiseera.” Ekyo nnakyagalanga nnyo. Mu kibinja mwe nnali, twalimu abalenzi abasukka mu 100. Ekitundu nga kimu kya kubiri baali Bakatuliki, kimu kya kubiri nga Bapolotesitante, ate ng’omu wa Bbuda.

Okuva mu 1920, wabaddengawo enkuŋŋaana ennene ez’Abasikawutu ez’ensi yonna. Nnagenda mu lukuŋŋaana ng’olwo olw’omulundi ogw’omusanvu olwali mu Bad Ischl, Austria, mu Agusito 1951. Era nnagenda ne mu lukuŋŋaana olw’omulundi ogw’omwenda olwali mu Sutton Park, okumpi ne Birmingham, Bungereza, olwaliwo mu Agusito 1957. Olukuŋŋaana olwo olw’omwenda lwaliko Abasikawutu nga 33,000 okuva mu nsi 85. Ate era kwaliko n’abagenyi nga 750,000, ng’omwo mwe mwali ne Nnaabakyala Elizabeth owa Bungereza. Okubeera omu ku Basikawutu abo kyandeeteranga okuwulira nti nnalina oluganda olw’ensi yonna. Naye nnali sikimanyi nti mu kiseera ekitali kya wala nnandizudde oluganda olw’ensi yonna olusingira ewala olwo, nga luno lwe luganda olw’eby’omwoyo.

OMULUNDI GWE NNASOOKA OKWOGERAKO N’OMUJULIRWA WA YAKUWA

Rudi Tschiggerl ye yasooka okumpa obujulirwa

Mu 1958, bwe nnali nnaatera okumaliriza okutendekebwa ng’omuweereza mu wooteeri ya Grand Hotel Wiesler ey’omu Graz, Austria, mukozi munnange ayitibwa Rudolf Tschiggerl, yambuulirako ku bubaka obuli mu Bayibuli. Ogwo gwe mulundi gwe nnasooka okuwulira ku mazima. Yasooka kwogera ku njigiriza ey’obusatu n’agamba nti enjigiriza eyo si ya mu Bayibuli. Nnamuwakanya era ne ngezaako okumulaga nti by’ayogera si bituufu. Nnali njagala nnyo Rudolf era nga njagala mmusendesende akomewo mu Bukatoliki.

Rudolf, gwe twayitanga Rudi, yali ayagala kumpa Bayibuli. Nnamugamba nti njagala eyo Abakatoliki gye bakozesa era n’aginfunira. Bwe nnatandika okugisoma, nnasangamu katulakiti akaakubibwa Watchtower Society Rudi ke yali anteereddemu. Nnagaana okukasoma olw’okuba nnali ndowooza nti obupapula ng’obwo ababuwandiika oluusi bateekamu ebintu ebirabika ng’ebituufu naye nga si bituufu. Kyokka nnali njagala okweyongera okukubaganya naye ebirowoozo ku Bayibuli. Rudi yayoleka amagezi n’ataddamu kumpa kintu kyonna kiri mu buwandiike. Okumala emyezi ng’esatu, twakubaganyanga ebirowoozo ku Bayibuli, oluusi nga tumala eyo mu matumbi budde.

Oluvannyuma lw’okumaliririza okutendekebwa mu Grand Hotel ey’omu Graz, maama yantwala okweyongera okusoma mu ssomero eritendeka abakozi b’omu wooteeri eryali mu Bad Hofgastein. Essomero eryo lyali likolagana ne Grand Hotel ey’omu Bad Hofgastein, era oluusi nnagendanga okukolerako mu wooteeri eyo nsobole okwongera okufuna obumanyirivu.

BANNYINAFFE ABAMINSANI BABIRI BANKYALIRA

Ilse Unterdörfer ne Elfriede Löhr baatandika okunjigiriza Bayibuli mu 1958

Rudi yaweereza endagiriro yange ku ofiisi y’ettabi ey’omu Vienna, era ofiisi y’ettabi eyo nayo n’egiweereza bannyinaffe babiri abaminsani, Ilse Unterdörfer ne Elfriede Löhr. * Lumu, omusajja ayaniriza abagenyi ku wooteeri yampita n’aŋŋamba nti waliwo abakyala babiri abaali mu mmotoka abaali baagala okwogerako nange. Ekyo kyanneewuunyisa nnyo kubanga nnali sibamanyi. Naye nnagenda ne njogera nabo. Nga wayise ekiseera, nnakitegeerako nti be bamu ku Bajulirwa abaakukusanga ebitabo mu kiseera ky’Abanazi, omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa bwe gwali guwereddwa nga Ssematalo II tannatandika. Olutalo olwo bwe lwali terunnatandika, poliisi ya Bugirimaani (Gestapo) yabakwata n’ebasindika mu nkambi y’abasibe ey’e Lichtenburg. Olutalo olwo bwe lwali lugenda mu maaso, baatwalibwa mu nkambi y’e Ravensbrück, eyali okumpi n’ekibuga Berlin.

Bannyinaffe abo baali mu myaka gye gimu ng’egya maama wange, bwe kityo nnali mbassaamu ekitiibwa. Eyo ye nsonga lwaki nnali saagala kwonoona biseera byabwe nga nkubaganya nabo ebirowoozo ate oluvannyuma mbagambe nti sikyayagala kuyiga nabo. N’olwekyo, nnabasaba bandeetere ebyawandiikibwa ebikwata ku njigiriza y’Ekikatoliki egamba nti Bappaapa basika b’omutume Peetero. Nnabagamba nti nnali ŋŋenda kutwala ebyawandiikibwa ebyo eri omusaseredooti tubikubaganyeeko ebirowoozo. Nnali ndowooza nti ekyo kyandinnyambye okutegeera ekituufu.

NJIGA EBIKWATA KU KITAFFE OW’OMU GGULU OMUTUKUVU ERA OW’AMAZIMA

Ekkereziya Katolika eyigiriza nti omutume Peetero ye yali ppaapa eyasooka era nti bappaapa bonna abazze baddawo babadde basika ba Peetero. (Ekkereziya Katolika etegeera bubi ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 16:18, 19) Ekkereziya Katolika era egamba nti ppaapa, Abakatuliki gwe bayita Kitaabwe Omutukuvu, tasobola kukola nsobi bwe kituuka ku njigiriza z’eddiini. Ekyo Abakatoliki bangi bakkiririzaamu nnyo. Ekyo nange nnali nkikkiriza era nga ŋŋamba nti ppaapa bw’agamba nti Katonda ali mu busatu, kiteekwa okuba nga kituufu. Naye bwe kiba nti ppaapa asobola okukola ensobi, olwo nno enjigiriza ey’obusatu eyinza okuba nga si ntuufu. N’olwekyo tekyewuunyisa nti Abakatoliki bangi, enjigiriza gye batwala ng’esingayo obukulu y’eyo egamba nti ppaapa musika wa Peetero. Ekyo kiri kityo kubanga obutuufu oba obukyamu bw’enjigiriza z’Abakatoliki endala bwesigamye ku njigiriza eyo!

Bwe nnagenda ew’omusaseredooti, yalemererwa okuddamu ebibuuzo byange, naye yampa ekitabo ekikwata ku njigiriza eyo. Nnakitwala eka ne nkisoma kyokka ne nzirayo nga nnina ebibuuzo ebirala bingi. Okuva bwe kiri nti yali tasobola kuddamu bibuuzo byange, yaŋŋamba nti: “Sisobola kukumatiza, ate naawe tosobola kummatiza. . . . Weeraba!” Omusaseredooti oyo yali takyayagala kuddamu kukubaganya nange birowoozo ku nsonga yonna.

Mu kiseera ekyo, nnali mwetegefu okutandika okuyiga Bayibuli ne Ilse ne Elfriede. Banjigiriza bingi ebikwata ku Kitaffe ow’omu ggulu, Omutukuvu era ow’amazima, Yakuwa Katonda. (Yok. 17:11) Mu kiseera ekyo, tewaaliwo kibiina kyonna mu kitundu ekyo, era bannyinaffe abo ababiri be baakubirizanga enkuŋŋaana mu maka g’omuyizi wa Bayibuli omu. Abantu abaabangawo mu nkuŋŋaana baabanga batonotono. Okuva bwe kiri nti tewaaliwo wa luganda mubatize kutwala bukulembeze, ebintu ebisinga mu nkuŋŋaana bannyinaffe abo baabyekolerangako. Oluusi n’oluusi, waabangawo ab’oluganda abatali bamu abajjanga okuwa emboozi ya bonna, mu kifo ekyabanga kipangisiddwa.

NTANDIKA OKUBUULIRA

Ilse ne Elfriede baatandika okunjigiriza Bayibuli mu Okitobba 1958, era oluvannyuma lw’emyezi esatu nnabatizibwa mu Jjanwali 1959. Bwe nnali sinnabatizibwa, nnababuuza obanga nnali nsobola okubawerekerako nga bagenda okubuulira nnyumba ku nnyumba nsobole okulaba engeri omulimu gw’okubuulira gye gukolebwamu. (Bik. 20:20) Oluvannyuma lw’okubuulirako nabo omulundi ogusooka, nnababuuza obanga nsobola okufuna ekitundu ekyange ku bwange eky’okubuuliramu. Bampa ekyalo kiramba, era nnagendangayo nzekka ne mbuulira nnyumba ku nnyumba era ne nzirangayo eri abo abaabanga basiimye obubaka bwaffe. Ow’oluganda gwe nnasooka okubuulirako naye nnyumba ku nnyumba yali mulabirizi wa kitundu, oluvannyuma eyatukyalira.

Mu 1960, oluvannyuma lw’okumaliriza emisomo gyange, nnaddayo ewaffe nsobole okuyamba ab’eŋŋanda zange okuyiga amazima. N’okutuusa leero, tewali n’omu ku bo eyali afuuse omuweereza wa Yakuwa, naye abamu ku bo balaga nti basiima amazima.

NNYINGIRA OBUWEEREZA OBW’EKISEERA KYONNA

Nga ndi mu myaka 20

Mu 1961 waliwo amabaluwa okuva ku ofiisi y’ettabi agaasomebwa mu bibiina nga gakubiriza ab’oluganda okuweereza nga bapayoniya. Nnali bwannamunigina era nga ndi mulamu bulungi, n’olwekyo nnali sirina kinnemesa kuweereza nga payoniya. Nnayogerako n’omulabirizi w’ekitundu, Kurt Kuhn, ne mubuuza kiki kye yali alowooza ku ky’okuba nti nnali njagala okweyongerayo okukola okumala emyezi mitonotono nsobole okugula emmotoka eyandinnyambye nga mpeereza nga payoniya. Yambuuza: “Yesu n’abatume be baamala kugula mmotoka ne balyoka bayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna?” Ekyo kyannyamba okusalawo obulungi. Nnasalawo okutandika okuweereza nga payoniya amangu ddala nga bwe kisoboka. Naye okuva bwe kiri nti ku wooteeri gye nnali nkolera baali banneetaagisa okukola okumala essaawa 72 buli wiiki, nnalina okusooka okubaako enkyukakyuka ze nkola.

Nnasaba mukama wange obanga asobola okunzikiriza okukolanga okumala essaawa 60 buli wiiki. Yanzikiriza era n’asigala ng’ansasula omusaala gwe gumu. Nga wayise akaseera katono, nnaddayo ne musaba anzikirize okukola okumala essaawa 48 buli wiiki. Ne ku mulundi guno yanzikiriza era n’asigala ng’ansasula omusaala gwe gumu. Ate era nnaddayo ne musaba anzikirize okukolanga okumala essaawa 36 buli wiiki, oba okukolanga essaawa 6 buli lunaku, ennaku 6 buli wiiki, era n’ekyo n’akikkiriza. Ekyanneewuunyisa, yasigala ansasula omusaala gwe gumu! Kirabika mukama wange yali tayagala ŋŋende. Bwe nnakiraba nti kati nnalina ebiseera ebiwerako, nnatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Mu kiseera ekyo, payoniya owa bulijjo yalinanga okuwaayo essaawa ezitakka wansi wa 100.

Oluvannyuma lw’emyezi ena, nnalondebwa okuweereza nga payoniya ow’enjawulo era ng’omuweereza w’ekibiina mu kibiina ky’e Carinthia, mu kabuga akayitibwa Spittal an der Drau. Mu kiseera ekyo, payoniya ow’enjawulo yalinanga okuwaayo essaawa ezitakka wansi wa 150 buli mwezi. Saalina payoniya mulala gwe nkola naye, naye waliwo mwannyinaffe ayitibwa Gertrude Lobner gwe nnateranga okubuulira naye, era eyali aweereza ng’omuyambi w’omuweereza w’ekibiina. *

ENKYUKAKYUKA EZ’OMUDDIRIŊŊANWA

Mu 1963, nnalondebwa okuweereza ng’omulabirizi w’ekitundu. Ebiseera ebimu bwe nnabanga nva mu kibiina ekimu okugenda mu kirala, nnakozesanga ggaali ya mukka era nnabanga n’ensawo ezizitowa. Ab’oluganda abasinga obungi tebaalina mmotoka, n’olwekyo tewaaliwo n’omu eyali asobola kunkimako ku ggaali y’omukka. Olw’okuba nnali saagala “kweraga,” saapangisanga mmotoka kuntwala gye nnabanga ŋŋenda okusula; nnatambuzangawo bigere.

Mu 1965, nga nkyali bwannamunigina, nnayitibwa okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 41. Bangi ku bayizi bannange nabo baali bwannamunigina. Kyanneewuunyisa nnyo okuba nti oluvannyuma lw’essomero, nnasindikibwa okuddayo mu nsi yange mu Austria nneeyongere okuweereza ng’omulabirizi w’ekitundu. Kyokka, bwe nnali sinnava mu Amerika, nnasabibwa okuwerekerako omulabirizi w’ekitundu omu ng’akyalira ebibiina okumala wiiki nnya. Kyansanyusa nnyo okukolerako awamu ne Anthony Conte, ow’oluganda eyali afaayo ennyo ku balala era eyali omunyiikivu ennyo mu mulimu gw’okubuulira. Nnaweerereza wamu naye mu kitundu eky’e Cornwall eky’omu New York.

Ku lunaku lwe twagattibwa

Bwe nnatuuka mu Austria, nnasindikibwa okuweereza mu kitundu ekimu gye nnasisinkanira Tove Merete, mwannyinaffe eyali obwannamunigina era ng’alabika bulungi nnyo. Bwe yali wa myaka etaano, bazadde be baayiga amazima era baamuyamba okukulira mu mazima. Ab’oluganda bwe batubuuza engeri gye twalabaganamu, mu ngeri ey’okusaaga tutera okubagamba nti, “Ofiisi y’ettabi ye yakitegeka.” Oluvannyuma lw’omwaka gumu, twafumbiriganwa, mu Apuli 1967, era ne nneeyongera okukyalira ebibiina.

Mu mwaka ogwaddako, nnakizuula nti olw’ekisa kya Yakuwa eky’ensusso, yali annonze okufuuka omwana we ow’omwoyo. Bwe kityo, nnatandika okuba n’enkolagana ey’enjawulo ne Kitange ow’omu ggulu awamu n’abo bonna okusinziira ku Abaruumi 8:15, ‘aboogerera waggulu nti, “Abba, Kitaffe!”’

Nze ne Merete tweyongera okukyalira ebibiina ne disitulikiti okutuuka mu mwaka gwa 1976. Oluusi mu biseera by’obutiti, twasulanga mu nnyumba omutali kyoto kibugumya nnyumba, kyokka ng’obudde bunnyogovu nnyo. Lumu twazuukuka ku makya ng’emitwetwe ku bulangiti yaffe kukutte omuzira! Twasalawo okufunayo akuuma k’amasannyalaze akatono akabugumya ennyumba ne tutambulanga nako. Mu bitundu ebimu, okusobola okugenda mu buyumba obukyamirwamu oba mu binaabiro, twalinanga okufuluma ebweru ekiro, kyokka nga wakutte omuzira. Ate era okuva bwe kiri nti tetwalina wa kusula waffe ku bwaffe, bwe twakyaliranga ekibiina, we twasulanga twabeerangawo okutuusa ku Bbalaza, olwo ku Lw’okubiri ne tulyoka tuvaawo ne tugenda okukyalira ekibiina ekirala.

Ndi musanyufu nnyo okuba nti mu myaka gino gyonna, mukyala wange omwagalwa ampagidde nnyo. Ayagala nnyo omulimu gw’okubuulira, era sijjukira mulundi na gumu lwe nnali mukubirizza okugenda okubuulira. Ayagala nnyo ab’oluganda mu kibiina era afaayo nnyo ku balala. Ekyo kinnyambye nnyo.

Mu 1976 twayitibwa okugenda okuweereza ku ofiisi y’ettabi ey’omu Austria mu Vienna, era nnalondebwa okubeera ku Kakiiko k’Ettabi. Mu kiseera ekyo, ofiisi y’ettabi ey’omu Austria ye yali erabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi eziwerako eza Bulaaya ow’ebuvanjuba era ng’ekola enteekateeka okulaba nti ebitabo byaffe bituuka ku b’oluganda mu nsi ezo. Ow’oluganda Jürgen Rundel ye yali atwala obukulembeze mu mulimu ogwo, era yali mutetenkanya nnyo. Nnafuna enkizo okukolerako awamu naye era oluvannyuma nnalondebwa okukulira omulimu gw’okuvvuunula ebitabo mu nnimi kkumi ezoogerwa mu nsi za Bulaaya ow’ebuvanjuba. Mu kiseera kino, Jürgen ne mukyala we, Gertrude, baweereza nga bapayoniya ab’enjawulo mu Bugirimaani. Mu 1978, ettabi ly’omu Austria lyatandika okukuba magazini mu nnimi mukaaga. Era twasindikanga ne magazini mu nsi endala eri abantu abaabanga baziragirizza. Otto Kuglitsch ye yali akulira omulimu gw’okukuba ebitabo, era kati ye ne mukyala we, Ingrid, baweereza ku ofiisi y’ettabi mu Bugirimaani.

Bwe nnali mu Austria, nneenyigiranga mu ngeri ezitali zimu ez’okubuulira, omwali n’okubuulira ku nguudo

Ab’oluganda mu Bulaaya ow’ebuvanjuba nabo baakubanga ebitabo nga bakozesa engeri ezitali zimu. Wadde kyali kityo, beetaaganga obuyambi okuva mu nsi endala. Yakuwa yawa omukisa omulimu ogwo baganda baffe abo gwe baali bakola, era tweyongera okwagala baganda baffe abo abaali bamaze emyaka mingi nga baweerereza mu mbeera enzibu era nga n’omulimu gwaffe guwereddwa.

OKUKYALA OKW’ENJAWULO MU ROMANIA

Mu 1989, nnafuna enkizo okuwerekerako Ow’oluganda Theodore Jaracz, eyali ku Kakiiko Akafuzi, ng’agenda okukyalira Romania. Ekigendererwa ky’okukyala okwo kwali kuyamba ekibinja ky’ab’oluganda abamu okuddamu okutambulira awamu n’ekibiina. Okutandika n’omwaka gwa 1949, olw’ensonga ezitali zimu, ab’oluganda abo beekutula ku kibiina ne bakola ebibiina ebyabwe ku bwabwe. Kyokka beeyongera okubuulira n’okubatiza abantu. Era okufaananako ab’oluganda abaali mu bibiina ebyali bifuna obulagirizi okuva ku kitebe kyaffe ekikulu, ab’oluganda abo baasigala nga tebaliiko ludda lwe bawagira mu bya bufuzi ne batuuka n’okusibibwa mu makomera. We twagendera e Romania omulimu gwaffe gwali gukyawereddwa, bwe kityo nze, Ow’oluganda Jaracz, awamu n’ab’oluganda abaali ku Kakiiko k’Ensi ak’omu Romania twasisinkana abakadde bana abaali bakiikiridde ekibinja ekyali kyekutudde ku kibiina, era twali mu maka g’Ow’oluganda Pamfil Albu. Twatwala Rolf Kellner okuva mu Austria, okukola ng’omutaputa.

Ku lunaku olw’okubiri, Ow’oluganda Albu yakubiriza bakadde banne abana okukkiriza okuddamu okutambulira awamu n’ekibiina. Yabagamba nti, “Bwe tutakikola kati, tuyinza obutaddamu kufunayo kakisa kalaIa.” N’ekyavaamu, ab’oluganda nga 5,000 beegatta ku kibiina. Ng’obwo bwali buwanguzi bwa maanyi nnyo eri Yakuwa, era nga Sitaani yaswala nnyo!

Omwaka gwa 1989 bwe gwali gunaatera okuggwaako, era ng’obufuzi bwa nnaakalyako ani mu Bulaaya ow’ebuvanjuba bunaatera okukoma, Akakiiko Akafuzi kaatuyita, nze ne mukyala wange, okugenda okutandika okuweerereza ku kitebe kyaffe ekikulu mu New York. Ekyo kyatwewuunyisa nnyo. Twatandika okuweereza ku Beseri y’omu Brooklyn mu Jjulaayi 1990. Mu 1992, nnalondebwa okuba omuyambi ku Kakiiko k’Obuweereza akakolera wansi w’Akakiiko Akafuzi, era okuva mu Jjulaayi 1994, mbadde n’enkizo okuweereza ku Kakiiko Akafuzi.

NDOWOOZA KU BYAYITA NE KU EBYO EBIJJA

Nga ndi ne mukyala wange mu Brooklyn, New York

Wayise ekiseera kiwanvu bukya ndekera awo okugabula emmere mu wooteeri. Kati nnina enkizo okwenyigira mu kuteekateeka emmere ey’eby’omwoyo n’okugigabula eri ab’oluganda mu nsi yonna. (Mat. 24:45-47) Bwe ndowooza ku myaka 50 gye mmaze mu buweereza obw’ekiseera kyonna, kindeetera okweyongera okusiima Yakuwa olw’emikisa emingi gy’awadde abaweereza be mu nsi yonna. Nnyumirwa nnyo okubeera ku nkuŋŋaana ennene ez’ensi yonna, kubanga ku nkuŋŋaana ng’ezo tuyiga bingi ebikwata ku Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa, era tuyiga n’ebintu ebirala bingi okuva mu Bayibuli.

Nsaba Yakuwa yeeyongere okuyamba abantu bangi okuyiga Bayibuli, bakkirize amazima, era bamuweereze nga bali wamu n’abaweereza be mu nsi yonna. (1 Peet. 2:17) Era nneesunga nnyo okuyima mu ggulu ndabe abantu nga bazuukira ku nsi, era nsobole n’okulaba ku taata wange. Nsuubira nti taata, maama, n’ab’eŋŋanda zange abalala bajja kwagala okuweereza Yakuwa mu Nsi Empya.

Nneesunga nnyo okuyima mu ggulu ndabe abantu nga bazuukira ku nsi, era nsobole n’okulaba ku taata wange

^ lup. 15 Laba ebibakwatako mu Watchtower eya Noovemba 1, 1979.

^ lup. 27 Leero mu kifo ky’okuba n’omuweereza w’ekibiina n’omuyambi w’omuweereza w’ekibiina, mu bibiina mubaamu akwanaganya akakiiko k’abakadde n’omuwandiisi w’ekibiina.