OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Agusito 2014

Magazini eno erimu ebitundu ebirina okusomebwa mu kibiina wakati wa Ssebutemba 29 ne Okitobba 26, 2014.

Ofuna ‘Emmere mu Kiseera Ekituufu’?

Omuntu okusobola okusigala nga munywevu mu by’omwoyo alina kuba ng’alina ebintu byonna omuddu omwesigwa by’atuwa?

Ekifo ky’Abakazi mu Kigendererwa kya Yakuwa

Laba engeri obujeemu obwaliwo mu lusuku Adeni gye bukutte ku bakazi. Laba abamu ku bakazi abaaliwo mu biseera by’edda abaali abeesigwa. Era laba engeri abakazi Abakristaayo leero gye bayambye mu kukola omulimu gwa Katonda.

Kozesa Ekigambo kya Katonda—Kubanga Kiramu!

Abajulirwa ba Yakuwa bonna baagala okutuuka ku mitima gy’abantu nga babuulira. Laba engeri gye tuyinza okukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda awamu ne tulakiti nga tubuulira.

Engeri Yakuwa gy’Atusembereramu

Twetaaga okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Laba engeri ekinunulo ne Bayibuli gye biraga nti Yakuwa ayagala tumusemberere.

Wuliriza Eddoboozi lya Yakuwa Wonna w’Obeera

Laba ensonga lwaki kikulu okuwuliriza eddoboozi lya Yakuwa n’okuba n’enkolagana ennungi naye. Ekitundu kino kijja kutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okwewala Sitaani n’obutali butuukirivu bwaffe okutulemesa okuwuliriza eddoboozi lya Yakuwa.

Komawo ‘Onyweze Baganda Bo’

Ow’oluganda eyaweerezaako ng’omukadde osobola okuddamu ‘okuluubirira omulimu gw’obulabirizi’?

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Yesu bwe yagamba nti abo abanaazuukizibwa “tebaliwasa era tebalifumbirwa,” yali ayogera kw’abo abanaazuukizibwa okubeera ku nsi?

OKUVA MU TTEREKERO LYAFFE

Firimu ya “Eureka Drama” Yayamba Bangi Okuzuula Amazima

Firimu ya “Photo-Drama of Creation” eyali ennyangu okutwala buli wamu yali esobola n’okulagibwa mu byalo awatali masannyalaze.