Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kozesa Ekigambo kya Katonda—Kubanga Kiramu!

Kozesa Ekigambo kya Katonda—Kubanga Kiramu!

“Ekigambo kya Katonda kiramu, kya maanyi.”BEB. 4:12.

1, 2. Mulimu ki Yakuwa gwe yawa Musa, era kiki kye yamukakasa?

WANDIWULIDDE otya singa ogambibwa okugenda mu maaso g’omufuzi asingayo okuba ow’amaanyi ku nsi okukiikirira abantu ba Yakuwa? Oboolyawo wandiwulidde ng’otidde era ng’owulira nti tolina bisaanyizo kwogera. Wandyeteeseteese otya nga tonnagenda mu maaso g’omufuzi ng’oyo? Kiki kye wandikoze okusobola okulaba nti oyogera ng’oyo akiikiridde Katonda omuyinza w’ebintu byonna?

2 Musa yaliko mu mbeera ng’eyo. Lumu Yakuwa yagamba Musa, omusajja eyali ‘omuwombeefu ennyo okusinga abantu bonna abaali ku nsi,’ okugenda eri Falaawo anunule Abaisiraeri okuva mu buddu e Misiri. (Kubal. 12:3) Kyokka Falaawo yali musajja wa malala, nga mukambwe, era nga tassa kitiibwa mu muntu yenna. (Kuv. 5:1, 2) Wadde kyali kityo, Yakuwa yali ayagala Musa agende alagire Falaawo okuleka Abaisiraeri bave mu Misiri! Ekyo kituyamba okulaba ensonga lwaki Musa yagamba Yakuwa nti: “Nze ani agenda eri Falaawo mbaggyeyo abaana ba Isiraeri mu Misiri?” Musa ayinza okuba nga yali awulira nti talina bisaanyizo kukola mulimu ogwo, naye Yakuwa yamukakasa nti: “Ndibeera wamu naawe.”Kuv. 3:9-12.

3, 4. (a) Bintu ki ebyali byeraliikiriza Musa? (b) Mu ngeri ki ebyo bye tusoma ku Musa gye biri eby’omuganyulo gye tuli?

3 Bintu ki ebyali byeraliikiriza Musa? Musa yali akimanyi nti wadde nga Yakuwa ye yali amutumye, Falaawo teyandimuwulirizza. Ate era yali tasuubira Baisiraeri banne kukkiriza nti Yakuwa yali amulonze okubakulembera nga bava mu Misiri. N’olw’ensonga eyo, Musa yagamba Yakuwa nti: “Naye, laba, tebalinzikiriza so tebaliwulira ddoboozi lyange: kubanga balyogera nti Mukama teyakulabikira.”Kuv. 3:15-18; 4:1.

4 Ebyo Yakuwa bye yaddamu Musa n’ebintu ebyaddirira ffenna bisobola okubaako ekintu ekikulu kye bituyigiriza. Kyo kituufu nti oyinza obutasabibwa kugenda mu maaso ga mukungu wa gavumenti yenna. Naye wali okaluubiriddwako okubuulira n’abantu aba bulijjo ebikwata ku Katonda ne ku Bwakabaka bwe? Bwe kiba kityo, laba ekyo ky’oyinza okuyigira ku Musa.

“KIKI EKIRI MU MUKONO GWO?”

5. Kiki ekyali mu mukono gwa Musa, era Yakuwa yakikozesa atya okumuyamba okuggwaamu okutya? (Laba ekifaananyi ekiri ku lupapula 11.)

5 Musa bwe yagamba Yakuwa nti abantu tebandimukkirizza, Yakuwa yabaako ky’akolawo okumuteekerateekera embeera eyo. Bayibuli egamba nti: “Mukama [n’agamba Musa] nti Kiki ekiri mu mukono gwo? N’ayogera nti Muggo. N’ayogera nti Gusuule wansi. N’agusuula wansi, ne gufuuka omusota: Musa n’adduka mu maaso gaagwo. Mukama n’agamba Musa nti Golola omukono gwo, ogukwate akawuuwo: (n’agolola omukono gwe, n’agukwata, ne gufuuka omuggo mu mukono gwe:) Balyoke bakkirize nti Mukama Katonda . . . akulabikidde.” (Kuv. 4:2-5) Okuyitira mu muggo ogwo, Yakuwa Katonda yandiyambye Musa okukakasa abalala nti obubaka bwe yali abaleetedde bwali buvudde eri Yakuwa. Mu ngeri ey’ekyamagero, Katonda yafuula omuggo ogwali mu mukono gwa Musa ne guba omusota! Tewali kubuusabuusa nti ekyamagero ekyo kyandiyambye abantu okukakasa nti Yakuwa ye yali atumye Musa! N’olw’ensonga eyo, Yakuwa yagamba Musa nti: “Olitwala omuggo guno mu mukono gwo, gw’olikoza obubonero.” (Kuv. 4:17) Ekyamagero ekyo Yakuwa kye yakola kiteekwa okuba nga kyanyweza Musa, bw’atyo n’afuna obuvumu okukiikirira Katonda ow’amazima eri abantu be n’eri Falaawo.Kuv. 4:29-31; 7:8-13.

6. (a) Kiki ekisaanidde okuba mu mukono gwaffe nga tubuulira, era lwaki? (b) Mu ngeri ki ‘ekigambo kya Katonda gye kiri ekiramu’ era gye kiri ‘eky’amaanyi.’

6 Bwe tuba tubuulira, kiki kye tusaanidde okuba nakyo mu mukono gwaffe? Tusaanidde okuba ne Bayibuli mu mukono gwaffe, nga tuli beetegefu okugikozesa. Wadde ng’abantu abamu bayinza okuba nga Bayibuli bagitwala ng’ekitabo obutabo, kikulu okukijjukira nti mu Bayibuli Yakuwa mw’ayitira okwogera naffe. (2 Peet. 1:21) Mu Bayibuli mulimu ebisuubizo bya Katonda awamu n’ebintu Obwakabaka bwe bye bujja okukola. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Ekigambo kya Katonda kiramu, kya maanyi.” (Soma Abebbulaniya 4:12.) Ekigambo kya Katonda kiramu mu ngeri nti ebintu byonna Yakuwa by’asuubiza bituukirira. (Is. 46:10; 55:11) Ekyo omuntu bw’akimanya, olwo nno ebyo by’asoma mu Bayibuli bisobola okukwata ku bulamu bwe.

7. Tuyinza tutya ‘okukwata ekigambo eky’amazima mu ngeri entuufu’?

7 Yakuwa atuwadde Ekigambo kye ekiramu ekisobola okutuyamba okulaga abantu nti obubaka bwe tubuulira bwa mazima era nti buva eri ye. Eyo ye nsonga lwaki Pawulo yakubiriza Timoseewo ‘okufuba okukwata ekigambo eky’amazima mu ngeri entuufu.’ (2 Tim. 2:15) Tuyinza tutya okukolera ku bigambo bya Pawulo ebyo? Tuyinza okubikolerako nga tusomera abo ababa batuwuliriza ebyawandiikibwa ebituukirawo ebisobola okukwata ku mitima gyabwe. Tulakiti ezaafulumizibwa mu 2013 zisobola bulungi okutuyamba mu nsonga eyo.

SOMA EKYAWANDIIKIBWA EKITUUKIRAWO!

8. Kiki omulabirizi w’obuweereza omu kye yayogera ku tulakiti zaffe empya?

8 Tulakiti empya zaategekebwa mu ngeri y’emu. N’olwekyo, bwe tuyiga okukozesa emu ku tulakiti ezo tuba tuyize n’okukozesa endala zonna. Tulakiti ezo nnyangu okukozesa? Omulabirizi w’obuweereza omu mu Hawaii, Amerika yagamba nti: “Tulakiti zaffe empya nnyangu okukozesa nga tubuulira nnyumba ku nnyumba oba nga tubuulira mu bifo ebya lukale.” Ow’oluganda oyo akirabye nti tulakiti ezo zikifuula kyangu eri abantu okubaako kye boogera, era zikifuula kyangu okutandika okwogera nabo, kubanga ziriko ebibuuzo n’ebimu ku by’okuddamu omuntu by’ayinza okuwa. Zireetera omuntu obutatya kubaako ky’addamu, oboolyawo ng’atya okuddamu ekintu ekikyamu.

9, 10. (a) Tulakiti zaffe empya zituyamba zitya okukozesa Bayibuli nga tubuulira? (b) Tulakiti ki ezisinze okukwanguyira okukozesa, era lwaki?

9 Buli emu ku tulakiti ezo erimu ekyawandiikibwa ekituukirawo kye tusobola okusomera omuntu. Ng’ekyokulabirako, watya singa oba okozesa tulakiti Okubonaabona Kuliggwaawo? Ka kibe nti omuntu azzeemu “yee,” “nedda,” oba “oboolyawo,” bikkula tulakiti eyo omugambe nti “Laba Bayibuli ky’egamba.” Oluvannyuma soma Okubikkulirwa 21:3, 4.

10 Mu ngeri y’emu, singa obadde okozesa tulakiti Bayibuli Ogitwala Otya? era omuntu n’addamu ekimu ku by’okuddamu ebisatu ebiweereddwa, bikula tulakiti omugambe nti, “Bayibuli egamba nti ‘buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda.’” Oyinza okugattako nti, “Ekyawandiikibwa kino kirina ebintu ebirala ebikulu bye kyogerako.” Oluvannyuma bikkula Bayibuli osome 2 Timoseewo 3:16, 17.

11, 12. (a) Oyinza otya okwongera okufuna essanyu mu kukozesa tulakiti ng’obuulira? (b) Tulakiti ziyinza zitya okukuyamba nga weeteekateeka okuddayo eri omuntu?

11 Engeri omuntu gw’oyogera naye gye yeeyisaamu eyinza okukuyamba okumanya bintu byenkana wa ebiri mu tulakiti by’oyinza okwogerako naye. Kyokka, ng’oggyeko okugaba tulakiti, okubaako ekyawandiikibwa ky’osomera omuntu, ne bwe kiba kimu oba bibiri ku mulundi gw’oba osoose okwogera naye, kisobola okukuleetera essanyu lingi. Omulundi omulala muyinza okweyongera okukubaganya ebirowoozo.

12 Emabega wa buli tulakiti waliwo ekibuuzo wansi w’omutwe “Ky’Oyinza Okulowoozaako” n’ebyawandiikibwa bye tuyinza okukubaganyaako ebirowoozo n’omuntu nga tuzzeeyo okumulaba. Ng’ekyokulabirako ku tulakiti Olowooza Ki ku Biseera eby’Omu Maaso? ekibuuzo kiri nti “Katonda anaatereeza atya ensi?” era Matayo 6:9, 10 ne Danyeri 2:44 bye byawandiikibwa ebiweereddwa. Ku tulakiti Ddala Abafu Basobola Okuddamu Okuba Abalamu? ekibuuzo ekiweereddwa kiri nti “Lwaki tukaddiwa ne tufa?” era Olubereberye 3:17-19 ne Abaruumi 5:12 bye byawandiikibwa ebiweereddwa.

13. Oyinza otya okukozesa tulakiti zaffe okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli?

13 Tulakiti zisobola n’okutuyamba okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli. Omuntu bw’akozesa code eri emabega wa tulakiti, emutwala ku kitundu ekimu ekiri ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti ekiyinza okumuleetera okwagala okuyiga Bayibuli. Tulakiti zaffe era ziriko ekifaananyi kya brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! era zikubiriza omuntu okusoma erimu ku masomo agali mu brocuwa eyo. Ng’ekyokulabirako, tulakiti Ddala Ani Afuga Ensi? ekubiriza omuntu okusoma essomo 5. Ate tulakiti Kiki Ekisobozesa Amaka Okubaamu Essanyu? ekubiriza omuntu okusoma essomo 9. Bw’onookozesa tulakiti zaffe obulungi, kijja kukuyamba okukozesa Bayibuli ku mulundi gw’oba osoose okwogera n’omuntu era ne bw’oba ng’ozzeeyo eri omuntu oyo. Ekyo kiyinza okukuyamba okufuna abayizi ba Bayibuli abawerako. Kiki ekirala ky’oyinza okukola okusobola okukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda ng’obuulira?

YOGERA KU NSONGA ERI KU BIROWOOZO BY’ABANTU

14, 15. Oyinza otya okukoppa omutume Pawulo ng’obuulira?

14 Pawulo yafubanga nnyo okumanya endowooza z’abantu abatali bamu be yasanganga ng’abuulira. (Soma 1 Abakkolinso 9:19-23.) Bayibuli eraga nti Pawulo yali ayagala “okufuna Abayudaaya . . . , okufuna abo abali wansi w’amateeka . . . , okufuna abo abatalina mateeka . . . , [n’okufuna] abanafu.” Mu butuufu, Pawulo yali ayagala okuyamba ‘abantu aba buli ngeri asobole okulokola abamu.’ (Bik. 20:21) Tuyinza tutya okukoppa Pawulo nga tweteekateeka okubuulira “abantu aba buli ngeri” abali mu kitundu mwe tubuulira?1 Tim. 2:3, 4.

15 Waliwo ennyanjula ezitali zimu ezifulumira mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka buli mwezi. Kikulu okukozesa ennyanjula ezo. Naye singa osanga abantu nga balina ebintu ebirala bye balowoozaako, kiba kirungi okutuukanya ennyanjula yo n’ebintu ebyo. Lowooza ku mbeera y’omu kitundu ky’obuuliramu, ku bantu abali mu kitundu ekyo, era n’ebintu ebiyinza okuba nga bibeeraliikiriza. Oluvannyuma lowooza ku kyawandiikibwa ky’oyinza okukozesa okuyamba abantu abo. Ng’ayogera ku ngeri ye ne mukyala we gye bafuba okukozesaamu Bayibuli nga babuulira, omulabirizi w’ekitundu omu yagamba nti: “Emirundi egisinga, abantu batukkiriza okubasomerayo ekyawandiikibwa bwe tuba mu bufunze era ne tutuukira ku nsonga. Tulamusa abantu ng’eno bwe tukutte Bayibuli zaffe embikkule mu ngalo, era ne tubasomerayo ekyawandiikibwa.” Kati ka tulabeyo ezimu ku nsonga, ebibuuzo, n’ebyawandiikibwa bye tuyinza okukozesa nga tubuulira.

Okozesa bulungi Bayibuli ne tulakiti ng’obuulira? (Laba akatundu 8-13)

16. Oyinza otya okukozesa Isaaya 14:7 ng’obuulira?

16 Bwe kiba nti ekitundu mw’obeera emirembe gitera okutabanguka, oyinza okubuuza omuntu nti: “Olowooza ekiseera kirituuka abantu buli wamu ne baba nga boogera ebigambo bino: ‘Ensi yonna kaakano ewummudde, terina kigitawaanya. Abantu boogerera waggulu olw’essanyu’? Ekyo Bayibuli ky’eyogera mu Isaaya 14:7 (NW). Mu butuufu, Bayibuli erimu ebisuubizo bya Katonda bingi ebiraga nti ensi ejja kubaamu emirembe mu biseera eby’omu maaso.” Oluvannyuma mubuuze obanga yandyagadde omusomereyo ekimu ku bisuubizo ebyo.

17. Oyinza otya okukozesa Matayo 5:3 ng’obuulira?

17 Mu kitundu kyo abantu kibazibuwalira okweyimirizaawo? Bwe kiba kityo, oyinza okukozesa ennyanjula eno: “Olowooza omuntu yeetaaga kuba ng’afuna ssente mmeka amaka ge okusobola okubaamu essanyu?” Wuliriza bulungi ng’omuntu addamu, era omugambe nti: “Waliwo abantu bangi abafuna ssente ezisingako ne ku ezo, naye ng’amaka gaabwe tegaliimu ssanyu. Kati olwo kiki ekisobozesa amaka okubaamu essanyu?” Oluvannyuma soma Matayo 5:3 era omubuuze obanga yandyagadde okuyiga Bayibuli.

18. Oyinza otya okukozesa Yeremiya 29:11 okubudaabuda abalala?

18 Waliwo akatyabaga akaagwaawo ne kakosa abantu mu kitundu kyo? Oyinza okukozesa ennyanjula eno: “Nzize okukubudaabuda. (Soma Yeremiya 29:11.) Olabye ekyo Katonda ky’atwagaliza? Atwagaliza emirembe n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Tekikusanyusa okulaba nti Katonda ayagala tube n’obulamu obulungi? Naye ekyo kinaasoboka kitya?” Oluvannyuma mutwale mu ssomo erituukirawo mu brocuwa Amawulire Amalungi.

19. Oyinza otya okukozesa Okubikkulirwa 14:6, 7 ng’obuulira abantu abaagala ennyo okunyumya ku by’eddiini?

19 Abantu mu kitundu kyo baagala nnyo okunyumya ku by’eddiini? Bwe kiba kityo, oyinza okukozesa ennyanjula eno: “Singa malayika ayogera naawe, wandiwulirizza ky’akugamba? (Soma Okubikkulirwa 14:6, 7.) Okuva bwe kiri nti malayika oyo atugamba ‘okutya Katonda,’ olowooza tekyandibadde kikulu okumanya Katonda ki gw’ayogerako? Malayika oyo yalaga nti yali ayogera ku Katonda, ‘eyakola eggulu, n’ensi.’ Katonda oyo y’ani?” Oluvannyuma soma Zabbuli 83:18, awagamba nti: “Balyoke bategeerenga nga ggwe wekka, erinnya lyo Yakuwa, Oli waggulu nnyo ng’ofuga ensi yonna.” Mubuuze obanga yandyagadde okweyongera okuyiga ebisingawo ebikwata ku Yakuwa Katonda.

20. (a) Oyinza otya okukozesa Engero 30:4 okuyamba omuntu okumanya erinnya lya Katonda? (b) Waliwo ekyawandiikibwa ekirala ky’otera okukozesa?

20 Bw’oba oyogera n’omuvubuka, oyinza okukozesa ennyanjula eno: “Nnandyagadde okukusomera ekyawandiikibwa ekirimu ekibuuzo ekikulu ennyo. (Soma Engero 30:4.) Tewali kubuusabuusa nti ekyawandiikibwa kino kyogera ku Mutonzi waffe. * Wa we tuyinza okusanga erinnya lye? Njagala kulikulaga mu Bayibuli.”

KOZESA EKIGAMBO KYA KATONDA NG’OBUULIRA

21, 22. (a) Okusoma ekyawandiikibwa ekituukirawo kiyinza kitya okukwata ku muntu? (b) Kiki ky’omaliridde okukola ng’obuulira?

21 Toyinza kumanyira ddala ngeri muntu gy’ayinza kukwatibwako ng’omusomedde ekyawandiikibwa ekituukirawo. Ng’ekyokulabirako, Abajulirwa ba Yakuwa babiri ab’omu Australia baakonkona ku luggi lw’omukyala omu. Omu ku bo yamubuuza nti, “Omanyi erinnya lya Katonda?” era oluvannyuma n’amusomera Zabbuli 83:18. Omukyala oyo agamba nti: “Ekyo kyanneewuunyisa nnyo! Bwe baavaawo, nnavuga olugendo lwa mayiro 35 ne ŋŋenda mu tterekero ly’ebitabo erimu ne nkebera erinnya eryo mu nkyusa za Bayibuli ezitali zimu era ne ndisomako ne mu nkuluze emu. Bwe nnakikakasa nti erinnya lya Katonda ye Yakuwa, nnakiraba nti waliwo ebintu bingi bye nnali simanyi.” Omukyala oyo n’omusajja oluvannyuma eyafuuka omwami we, baatandika okuyiga Bayibuli era oluvannyuma lw’ekiseera ne babatizibwa.

22 Ekigambo kya Katonda kikyusa obulamu bw’abo abakisoma era ne bakkiririza mu bisuubizo bya Yakuwa. (Soma 1 Abasessaloniika 2:13.) Obubaka obuli mu Bayibuli bwa maanyi nnyo okusinga ebigambo byonna bye tuyinza okwogera nga twagala okutuuka ku mitima gy’abantu. N’olwekyo, tusaanidde okuba abamalirivu okukozesanga Ekigambo kya Katonda nga tubuulira, kubanga kiramu!

^ lup. 20 Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Watchtower eya Jjulaayi 15, 1987, olupapula 31.