Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ofuna ‘Emmere mu Kiseera Ekituufu’?

Ofuna ‘Emmere mu Kiseera Ekituufu’?

TULI mu kiseera ekizibu ennyo. (2 Tim. 3:1-5) Buli lunaku, twolekagana n’ebintu ebiyinza okutulemesa okweyongera okwagala Yakuwa n’okunywerera ku mitindo gye egy’obutuukirivu. Yesu yali akimanyi nti ekiseera kino kyandibadde kizibu nnyo. Bw’atyo, yasuubiza abagoberezi be nti bandifunye obuyambi bwe beetaaga okusobola okugumiikiriza okutuukira ddala ku nkomerero. (Mat. 24:3, 13; 28:20) Okusobola okulaba nti bafuna obuyambi obwo, Yesu yasigira omuddu omwesigwa “ab’omu nju ye okubawa emmere yaabwe mu kiseera ekituufu.”Mat. 24:45, 46.

Omuddu omwesigwa yasigirwa “ab’omu nju” ya Yesu mu 1919. Okuva olwo, obukadde n’obukadde bw’abantu bakuŋŋanyiziddwa mu kibiina kya Katonda era baliisibwa emmere ey’eby’omwoyo mu nnimi nnyingi. (Mat. 24:14; Kub. 22:17) Wadde kiri kityo, ennimi ezimu zirina ebitabo bingi okusinga ennimi endala. Ate era si buli muntu nti asobola okukozesa kompyuta ne Intaneeti okufuna ebitabo byaffe. Ng’ekyokulabirako, bangi tebasobola kulaba vidiyo oba okusoma ebitundu ebifulumira ku mukutu gwa jw.org kwokka. Ekyo kitegeeza nti Abakristaayo abamu tebafuna mmere yonna ey’eby’omwoyo gye beetaaga okusobola okusigala nga banywevu mu by’omwoyo? Okusobola okufuna eky’okuddamu, ka twetegereze ebibuuzo ebikulu bina.

1. Kirungo ki ekikulu ekiri mu mmere Yakuwa gy’atuwa?

Sitaani bwe yakema Yesu okufuula amayinja emmere, Yesu yamugamba nti: “Omuntu taba mulamu na mmere yokka, naye na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Yakuwa.” (Mat. 4:3, 4) Ebigambo bya Yakuwa biri mu Bayibuli. (2 Peet. 1:20, 21) N’olwekyo, Bayibuli kye kirungo ekikulu ekiri mu mmere Yakuwa gy’atuwa.2 Tim. 3:16, 17.

Ekibiina kya Yakuwa kivvuunudde Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu mu bulambalamba oba mu bitundutundu mu nnimi ezisukka mu 120, era kyeyongera okugivvuunula ne mu nnimi endala nnyingi buli mwaka. Ng’oggyeko Enkyusa ey’Ensi Empya, waliwo Bayibuli buwumbi na buwumbi ez’enkyusa endala ezikubiddwa mu bulambalamba oba mu bitundutundu mu nnimi nnyingi. Ekyo kiraga nti Yakuwa ayagala “abantu aba buli ngeri okulokolebwa era bategeerere ddala amazima.” (1 Tim. 2:3, 4) Ate era, olw’okuba ‘tewali kitonde kyonna ekitalabika mu maaso ga Yakuwa,’ tuli bakakafu nti ajja kuyamba abo bonna “abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo” okujja mu kibiina kye asobole okubawa mmere ey’eby’omwoyo.Beb. 4:13; Mat. 5:3, 6; Yok. 6:44; 10:14.

2. Ebitabo byaffe bituyamba bitya okufuna emmere ey’eby’omwoyo?

Omuntu okusobola okuba n’okukkiriza okunywevu, talina kukoma bukomi ku kusoma Bayibuli. Alina okutegeera obulungi ebyo by’asoma era n’abikolerako. (Yak. 1:22-25) Ekyo kyennyini Omwesiyopiya omulaawe eyaliwo mu kyasa ekyasooka kye yalina okukola. Firipo, omubuulizi w’enjiri, bwe yamulaba ng’asoma Ekigambo kya Katonda, yamubuuza nti: “Otegeera by’osoma?” Omulaawe yamuddamu nti: “Ddala nnyinza ntya okubitegeera okuggyako nga waliwo andagiridde?” (Bik. 8:26-31) Firipo yayamba omulaawe oyo okufuna okumanya okutuufu okuli mu Kigambo bya Katonda. Ebyo omulaawe bye yayiga byamukwatako nnyo, n’asalawo okubatizibwa. (Bik. 8:32-38) Mu ngeri y’emu, ebitabo byaffe bituyambye okutegeera amazima agali mu Kigambo kya Katonda. Ebyo bye tuyiga bitukwatako nnyo, ne kitukubiriza okwagala okubikolerako.Bak. 1:9, 10.

Okuyitira mu bitabo, abaweereza ba Yakuwa bafuna eby’okulya n’eby’okunywa bingi eby’omwoyo. (Is. 65:13) Ng’ekyokulabirako, Omunaala gw’Omukuumi ogukubibwa mu nnimi ezisukka mu 210, gunnyonnyola obunnabbi bwa Bayibuli, gutuyamba okwongera okutegeera ebintu eby’ebuziba ebiri mu Kigambo kya Katonda, era gutukubiriza okukolera ku misingi gya Bayibuli. Magazini ya Awake! ekubibwa mu nnimi nga 100, etuyamba okwongera okutegeera ebikwata ku butonde bwa Yakuwa era etuyamba okutegeera engeri y’okukolera ku magezi agali mu Bayibuli. (Nge. 3:21-23; Bar. 1:20) Omuddu omwesigwa akuba ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli mu nnimi ezisukka mu 680! Ofuba okusoma Bayibuli buli lunaku? Ofuba okusoma magazini zonna ezifuluma awamu n’ebitabo byonna ebifulumizibwa mu lulimi lwo?

Ng’oggyeko okukuba ebitabo, ekibiina kya Yakuwa kiteekateeka ebiwandiiko by’emboozi ezeesigamiziddwa ku Bayibuli eziweebwa mu nkuŋŋaana z’ekibiina ne mu nkuŋŋaana ennene. Onyumirwa emboozi, emizannyo, ebyokulabirako, n’ebibuuzo ebibuuzibwa mu nkuŋŋaana ezo? Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa atuwa emmere ey’eby’omwoyo mu bungi!Is. 25:6.

3. Bwe kiba nti ebitabo byaffe byonna tebikubibwa mu lulimi lwo, ekyo kitegeeza nti emmere ey’eby’omwoyo gy’ofuna temala?

Eky’okuddamu kiri nti nedda. Mu butuufu eky’okuba nti abaweereza ba Yakuwa abamu oluusi bafuna emmere ey’eby’omwoyo nnyingi okusinga ku balala tekisaanidde kutwewuunyisa. Lwaki? Lowooza ku batume. Baafuna obulagirizi bungi okusinga abayigirizwa abalala abaaliwo mu kyasa ekyasooka. (Mak. 4:10; 9:35-37) Wadde kyali kityo, n’abayigirizwa abalala tebaalumwanga njala mu by’omwoyo; baafunanga emmere ey’eby’omwoyo ebamala.Bef. 4:20-24; 1 Peet. 1:8.

Ate era kikulu okukijjukira nti si buli kimu Yesu kye yayogera oba kye yakola ng’ali ku nsi nti kyawandiikibwa mu bitabo by’Enjiri. Omutume Yokaana yawandiika nti: “Mu butuufu, waliwo ebintu ebirala bingi Yesu bye yakola era singa byawandiikibwa byonna, ndowooza nti ensi teyandisobodde kugyamu mizingo egyandiwandiikiddwa.” (Yok. 21:25) Wadde ng’abagoberezi ba Yesu abaaliwo mu kyasa ekyasooka baali bamanyi ebintu bingi ebikwata ku Yesu okutusinga, ekyo tekitegeeza nti emmere ey’eby’omwoyo gye tufuna temala. Yakuwa atuwadde byonna ebyetaagisa okusobola okutegeera obulungi Yesu, tusobole okutambulira mu bigere bye.1 Peet. 2:21.

Ate lowooza ku mabaluwa abatume ge baawandiikiranga ebibiina mu kyasa ekyasooka. Waliwo ebbaluwa Pawulo gye yawandiika naye nga teyateekebwa mu Bayibuli. (Bak. 4:16) Tugambe nti emmere ey’eby’omwoyo gye tulina temala olw’okuba tetumanyi bintu ebyali mu bbaluwa eyo? Nedda. Yakuwa amanyi ebyetaago byaffe era atuwadde byonna bye twetaaga okusobola okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo.Mat. 6:8.

Yakuwa amanyi ebyetaago byaffe era atuwadde byonna bye twetaaga okusobola okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo

Leero, abaweereza ba Yakuwa abamu balina ebitabo bingi mu nnimi zaabwe okusinga ku balala. Kyandiba nti waliwo ebitabo bitono nnyo ebiri mu lulimi lwo? Bwe kiba kityo, kimanye nti Yakuwa akufaako nnyo. Soma ebitabo ebyo, era bwe kiba kisoboka, genda mu nkuŋŋaana eziri mu lulimu lw’otegeera obulungi. Bw’onookola bw’otyo, Yakuwa ajja kukuyamba okusigala ng’olina enkolagana ey’oku lusegere naye.Zab. 1:2; Beb. 10:24, 25.

4. Bwe kiba nti tosobola kufuna mukutu gwaffe ogwa jw.org, ekyo kitegeeza nti onoonafuwa mu by’omwoyo?

Ku mukutu gwaffe, kuliko magazini n’ebitabo byaffe ebirala ebinnyonnyola Bayibuli. Era kuliko ebintu ebiyamba ennyo abafumbo, abavubuka, n’abo abalina abaana abato. Ab’omu maka baganyulwa nnyo mu kukozesa ebintu ebyo mu kusinza kw’amaka. Okugatta ku ekyo, ku mukutu gwaffe kubaako alipoota ezikwata ku bintu ebirala, gamba ng’amatikkira ga Gireyaadi, olukuŋŋaana olubaawo buli mwaka, obutyabaga obuba bukosezza abantu ba Yakuwa, awamu n’emisango egibakwatako. (1 Peet. 5:8, 9) Ate era omukutu gwaffe gukola kinene nnyo mu kutuusa amawulire amalungi ku bantu bangi, nga mw’otwalidde n’abo abali mu nsi omulimu gwaffe gye guziyizibwa oba gye gwawerebwa.

K’obe ng’osobola okufuna omukutu gwaffe oba nedda, osobola okusigala ng’oli munywevu mu by’omwoyo. Omuddu omwesigwa akoze kyonna ekisoboka okukuba ebitabo ebimala okuyamba ab’omu nju bonna okuliisibwa obulungi mu by’omwoyo. N’olwekyo, tekikukakatako kugula ssimu oba kompyuta olw’okwagala okukozesa omukutu gwaffe ogwa jw.org. Ab’oluganda abamu bayinza okusalawo okuggya ebintu ebimu ku mukutu gwaffe ne babiwa abo abatasobola kugugendako, kyokka tekyetaagisa kibiina kukola nteekateeka ng’eyo.

Tuli basanyufu nnyo okuba nti Yesu atuukirizza ekisuubizo kye okutulabirira mu by’omwoyo. N’olwekyo, nga bwe tweyongera okusemberera enkomerero, ka tube bakakafu nti Yakuwa ajja kweyongera okutuwa ‘emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu.’