Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Wuliriza Eddoboozi lya Yakuwa Wonna w’Obeera

Wuliriza Eddoboozi lya Yakuwa Wonna w’Obeera

“Amatu go ganaawuliranga ekigambo ekikuvaako ennyuma nga kyogera nti Lino lye kkubo.”IS. 30:21.

1, 2. Yakuwa awa atya abaweereza be obulagirizi?

OKUVA edda n’edda, Yakuwa abadde awa abantu be obulagirizi ng’ayitira mu ngeri ezitali zimu. Abamu yayogeranga nabo ng’ayitira mu bamalayika, mu kwolesebwa, oba mu birooto, n’abayamba okutegeera ebintu ebyandibaddewo mu biseera eby’omu maaso oba n’abawa emirimu egitali gimu. (Kubal. 7:89; Ez. 1:1; Dan. 2:19) Abalala baafunanga obulagirizi okuva eri Yakuwa okuyitira mu bantu be yalondanga okumukiikirira. K’ebe ngeri ki Yakuwa gye yayitirangamu okuwa abantu be obulagirizi, abo abaabukolerangako baafunanga emikisa mingi.

2 Leero, Yakuwa awa abantu be obulagirizi ng’ayitira mu Bayibuli, mu mwoyo gwe omutukuvu, ne mu kibiina. (Bik. 9:31; 15:28; 2 Tim. 3:16, 17) Obulagirizi Yakuwa bw’atuwa butegeerekeka bulungi ne kiba nti kiringa gy’obeera amatu gaffe gawulira ekigambo ekituvaako ennyuma nga kyogera nti: “Lino lye kkubo, mulitambuliremu.” (Is. 30:21) Ng’omutwe gw’ekibiina, Yesu naye atuwa obulagirizi obuva eri Yakuwa ng’ayitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Mat. 24:45) Tusaanidde okutwala obulagirizi obwo nga bukulu nnyo kubanga okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo, tulina okukolera ku bulagirizi obwo.Beb. 5:9.

3. Bintu ki ebiyinza okutulemesa okukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa? (Laba ekifaananyi waggulu.)

3 Sitaani Omulyolyomi akola kyonna ekisoboka okutulemesa okukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa. Ate era ‘omutima gwaffe omulimba’ nagwo gusobola okutulemesa okukolera ku bulagirizi obumu Yakuwa bw’atuwa. (Yer. 17:9) Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri gye tuyinza okuziyiza ebintu ebiyinza okutulemesa okuwuliriza eddoboozi lya Katonda. Ate era tugenda kulaba engeri okuwuliriza Yakuwa n’okwogera naye okuyitira mu kusaba gye kiyinza okutuyamba okunyweza enkolagana yaffe naye, ka tubeere mu mbeera ki.

WEEWALE OKULIMBIBWA SITAANI

4. Sitaani abuzaabuza atya abantu?

4 Sitaani agezaako okubuzaabuza abantu ng’abunyisa ebintu eby’obulimba. (Soma 1 Yokaana 5:19.) Leero abantu bangi okwetooloola ensi bafuna obubaka okuyitira mu mpapula z’amawulire, mu bitabo, ku leediyo, ku ttivi, ne ku Intaneeti. Wadde ng’ebintu ebyo biyinza okubaamu oba okubaako ebintu eby’omugaso, emirundi mingi bitumbula ebikolwa ebikontana n’emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu. (Yer. 2:13) Ng’ekyokulabirako, ku mikutu gy’empuliziganya kutera okubaako abantu abawagira obufumbo bw’abantu ab’ekikula ekimu. Ekyo kireetedde abantu bangi mu nsi yonna obutafaayo ku ebyo Bayibuli by’eyogera ku kulya ebisiyaga.1 Kol. 6:9, 10.

5. Tuyinza tutya okwewala okulimbibwa Sitaani?

5 Abo abaagala emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu bayinza batya okwewala okulimbibwa Sitaani? Era bayinza batya okwawula ekirungi ku kibi? Basobola okukikola ‘nga beegendereza ng’ekigambo kya Katonda bwe kiri.’ (Zab. 119:9) Ekigambo kya Katonda kituyamba okwawula ekituufu ku kikyamu. (Nge. 23:23) Yesu yagamba nti twetaaga “buli kigambo ekiva mu kamwa ka Yakuwa.” (Mat. 4:4) Tusaanidde okumanya engeri gye tuyinza okukolera ku misingi egiri mu Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, Yusufu, eyaliwo emyaka mingi nga Musa tannawandiika tteeka lya Yakuwa erikwata ku bwenzi, yakiraba nti okwegatta ne muka Potifaali kyandibadde kibi kya maanyi mu maaso ga Katonda. Wadde nga muka Potifaali yamala ekiseera kiwanvu ng’amusendasenda okukola ekibi, Yusufu yagaana okujeemera Yakuwa. (Soma Olubereberye 39:7-9.) Yusufu yasalawo okuwuliriza eddoboozi lya Katonda mu kifo ky’okuwuliriza eddoboozi lya muka Potifaali. Naffe bwe tuba ab’okwawula ekituufu ku kikyamu, tulina okuwuliriza eddoboozi lya Yakuwa n’okwewala okuwuliriza obulimba bwa Sitaani.

6, 7. Tuyinza tutya okwewala okutwalirizibwa amagezi amabi agava eri Sitaani?

6 Leero waliwo enjigiriza nnyingi ez’amadiini, era ekyo kireetedde abantu bangi okulowooza nti tekisoboka kumanya ddiini ya mazima. Naye bwe tuba abeetegefu okuwuliriza Yakuwa, asobola okutuyamba okutegeera amazima. Okuva bwe kiri nti kizibu nnyo okuwuliriza amaloboozi abiri omulundi ogumu, tusaanidde okusalawo ani gwe tunaawuliriza. Tulina ‘okumanya’ eddoboozi lya Yesu era tusaanidde okumuwuliriza. Yakuwa yalonda Yesu okulabirira endiga ze.Soma Yokaana 10:3-5.

7 Yesu yagamba nti: “Musseeyo omwoyo ku ebyo bye muwulira.” (Mak. 4:24) Amagezi agava eri Yakuwa matuufu era gategeerekeka bulungi. Naye bwe gaba ag’okutuganyula, tulina okussaayo omwoyo n’okuba abeetegefu okugakolerako. Bwe tuteegendereza, tuyinza okwesanga nga tuwulirizza amagezi amabi agava eri Sitaani mu kifo ky’okuwuliriza amagezi amalungi agava eri Katonda. N’olwekyo, tusaanidde okwewala ennyimba, vidiyo, programu za ttivi, n’ebitabo ebikubiriza omwoyo gw’ensi, era tusaanidde n’okwewala okutambuliza obulamu bwaffe ku magezi agaweebwa abantu abatamanyi Yakuwa.Bak. 2:8.

8. (a) Omutima gwaffe guyinza gutya okutuleetera okulimbibwa Sitaani? (b) Kiki ekiyinza okututuukako singa tetubaako kye tukolawo nga waliwo ekiraga nti omutima gwaffe gutandise okwonooneka?

8 Sitaani akimanyi nti tetutuukiridde era nti tulina obunafu obutali bumu. Ayagala nnyo okukozesa obunafu bwaffe okutulumba kubanga akimanyi nti bw’akola bw’atyo, kiyinza okutubeerera ekizibu okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa. (Yok. 8:44-47) Kiki kye tuyinza okukola okumuziyiza? Lowooza ku muntu asalawo okwemalira ku by’amasanyu g’ensi n’atuuka n’okukola ekintu ekibi ky’atalowoozanganako nti asobola okukikola. (Bar. 7:15) Kiki ekiyinza okuleetera omuntu okutuuka mu mbeera ng’eyo? Ayinza okuba nga yagenda alekera awo okussaayo omwoyo ku ddoboozi lya Yakuwa. Kiyinzika okuba nti yalemererwa okulaba ebyo ebyali biraga nti omutima gwe ogw’akabonero gwali gutandise okwonooneka, oba nga yasalawo okubibuusa amaaso. Ng’ekyokulabirako, omuntu oyo ayinza okuba nga yalekera awo okusaba, nga yagenda addirira mpolampola mu mulimu gw’okubuulira, oba nga yatandika okwosaayosa enkuŋŋaana. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, yatwalirizibwa okwegomba kwe okubi n’akola ekintu kye yali amanyidde ddala nti kikyamu. Tusobola okwewala embeera ng’eyo okututuukako singa bulijjo tubaako kye tukolawo mu bwangu nga tulabye ekintu kyonna ekiraga nti omutima gwaffe gutandise okwonooneka. Ate era okuwuliriza eddoboozi lya Yakuwa kijja kutuyamba okwewalira ddala endowooza za bakyewaggula.Nge. 11:9.

9. Lwaki kikulu nnyo okumanya obunafu bwaffe we buli nga bukyali?

9 Obulwadde omuntu bw’alina bwe buzuulibwa amangu kiyinza okutaasa obulamu bwe. Mu ngeri y’emu, bwe tumanya obunafu bwaffe we buli nga bukyali, kiyinza okutuyamba okwewala okugwa mu bikemo. Nga tumaze okumanya obunafu bwaffe we buli, tusaanidde okubaako kye tukolawo mu bwangu nga Sitaani tannatukwasa alyoke atukozese by’ayagala. (2 Tim. 2:26) Kiki kye tusaanidde okukola bwe tukiraba nti, mu ngeri emu oba endala, tutandise okuva ku ebyo Yakuwa by’atwetaagisa okukola? Tusaanidde okudda eri Yakuwa mu bwangu, okunoonya obulagirizi bwe, n’okufuba okubukolerako. (Is. 44:22) Kikulu okukijjukira nti bwe tusalawo obubi kiyinza okutuleetako enkovu ey’amaanyi eyinza obutavaawo mu nteekateeka eno ey’ebintu. N’olwekyo, kikulu nnyo okwewalira ddala ekintu kyonna ekiyinza okutuleetera okuva ku Yakuwa.

Okuba n’enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo kiyinza kitya okutuyamba okwewala okugwa mu mitego gya Sitaani? (Laba akatundu 4-9)

WEEWALE AMALALA N’OMULULU

10, 11. (a) Bintu ki ebiraga nti omuntu alina amalala? (b) Ebyo ebyatuuka ku Koola, Dasani, ne Abiraamu bituyigiriza ki?

10 Kikulu okukijjukira nti omutima gwaffe gusobola okutuleetera okuva ku Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okufuna amalala oba omululu. Lowooza ku ngeri amalala n’omululu gye biyinza okulemesa omuntu okuwuliriza eddoboozi lya Yakuwa, ekyo ne kimuleetera okukola ensobi ez’amaanyi. Omuntu ow’amalala aba alowooza nti wa waggulu ku balala era nti wa ddembe okukola kyonna ky’ayagala awatali amukuba ku mukono. Ayinza okuwulira nti teyeetaaga muntu yenna kumubuulira kya kukola, ka babe Bakristaayo banne oba abakadde mu kibiina. Ayinza n’okugaana obulagirizi obutuweebwa mu kibiina kya Katonda. Okuva bwe kiri nti omuntu ng’oyo aba avudde ku Yakuwa, aba takyawulira ddoboozi lye.

11 Abaisiraeri bwe baali mu ddungu, Koola, Dasani, ne Abiraamu baajeemera Musa ne Alooni. Olw’okuba baalina amalala, abajeemu abo baakola enteekateeka ezaabwe ku bwabwe okusinza Yakuwa. Kiki Yakuwa kye yakolawo? Yabatta. (Kubal. 26:8-10) Waliwo ekintu ekikulu kye tuyigira ku ebyo ebyaliwo. Okujeemera Yakuwa kivaamu ebizibu bingi. Era tusaanidde okukijjukiranga nti “amalala gakulembera okuzikirira.”Nge. 16:18; Is. 13:11.

12, 13. (a) Waayo ekyokulabirako ekiraga nti omululu gusobola okuleetera omuntu ebizibu eby’amaanyi. (b) Nnyonnyola engeri omululu gye gusobola okukula amangu singa omuntu tayanguwa kuguziyiza.

12 Omululu nakyo kintu kya kabi nnyo. Omuntu ow’omululu ebiseera ebisinga aba awulira nti obulagirizi Yakuwa bw’atuwa tebumukwatako, era aba alowooza nti wa ddembe okutwala n’ebintu ebitali bibye. Naamani, omukulu w’eggye lya Busuuli, yalina ebigenge. Yagenda eri nnabbi Erisa n’amuwonya. Naamani yawa Erisa ebirabo naye Erisa n’abigaana. Kyokka omuweereza wa Erisa, Gekazi, yeegomba ebirabo ebyo era n’agamba nti: ‘Nga Mukama bw’ali omulamu, nja kudduka ngoberere Naamani, mbeeko kye muggyako.’ Nga tasoose kubuulira Erisa, Gekazi yadduka n’asanga Naamani n’amulimbalimba asobola okumuwa “talanta ya ffeeza n’emiteeko gy’ebyambalo ebiri.” Kiki ekyatuuka ku Gekazi olw’okuba n’omululu? Ebigenge bya Naamani byamukwata!2 Bassek. 5:20-27.

13 Omuntu ayinza okutandika empolampola okuba n’omululu, naye bw’atayanguwa kuguziyiza, gusobola okukula amangu ne gutandika okumufuga. Ebyo Bayibuli by’eyogera ku Akani biraga ekyo ekiyinza okubaawo singa omuntu taziyiza mululu. Akani yagamba nti: “Bwe nnalaba mu munyago ekyambalo ekirungi ekya Sinaali, n’esekeri ez’effeeza ebikumi bibiri, n’olulimi olwa zaabu ekigero kyalwo esekeri amakumi ataano, ne ndyoka mbiyaayaanira, ne mbitwala.” Mu kifo ky’okuziyiza okwegomba okwo okubi, Akani yasalawo okubba ebintu ebyo n’abikweka mu weema ye. Ekibi kya Akani bwe kyazuulibwa, Yoswa yamugamba nti Yakuwa yali agenda kumutuusaako akabi. Akani n’ab’omu maka ge baakubibwa amayinja ne bafa ku lunaku olwo lwennyini. (Yos. 7:11, 21, 24, 25) Okufaananako Akani, naffe tusobola okufuna omululu. Eyo ye nsonga lwaki tulina ‘okwekuuma okwegomba okwa buli ngeri.’ (Luk. 12:15) Wadde ng’oluusi tuyinza okufuna ekirowoozo okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu oba ekirowoozo ekirala kyonna ekibi, tusaanidde okufuga ebirowoozo byaffe bireme kutuleetera kukola kibi.Soma Yakobo 1:14, 15.

14. Kiki kye tusaanidde okukola singa tukiraba nti tutandise okufuna amalala oba omululu?

14 Amalala n’omululu byombi bisobola okusuula omuntu mu kabi. Okufumiitiriza ku bizibu ebiyinza okuva mu kukola ekintu ekibi kisobola okutuyamba okuwuliriza eddoboozi lya Yakuwa buli kiseera. (Ma. 32:29) Mu Bayibuli, Katonda aw’amazima atubuulira emiganyulo egiri mu kutambulira mu kkubo ettuufu awamu n’ebizibu ebiva mu kukwata ekkubo ekkyamu. Singa tukiraba nti amalala oba omululu byagala okutuleetera okukola ekintu ekikyamu, kiba kya magezi okulowooza ku bizibu ebiyinza okuvaamu. Tusaanidde okulowooza ku ngeri ekyo gye kiyinza okutukwatako, gye kiyinza okukwata ku balala, n’okusingira ddala gye kiyinza okukwata ku nkolagana yaffe ne Yakuwa.

FUBA OKUWULIRIZA YAKUWA N’OKWOGERA NAYE

15. Kiki kye tuyigira ku Yesu?

15 Yakuwa ayagala tube mu bulamu obusingayo obulungi. (Zab. 1:1-3) Atuwa obulagirizi obwetaagisa mu kiseera ekituufu. (Soma Abebbulaniya 4:16.) Wadde nga Yesu yali atuukiridde, yafubanga okwogera ne Yakuwa obutayosa ng’ayitira mu kusaba. Yakuwa yayamba Yesu era n’amuwa obulagirizi mu ngeri ez’enjawulo. Yasindika bamalayika ne bamuweereza, yamuwa omwoyo gwe omutukuvu okumuyamba, era yamuwa obulagirizi ng’alonda abatume be 12. Era ng’asinziira mu ggulu, Yakuwa yakiraga nti yali awagira Yesu era nti yali amusiima. (Mat. 3:17; 17:5; Mak. 1:12, 13; Luk. 6:12, 13; Yok. 12:28) Okufaananako Yesu, naffe tusaanidde okusaba Katonda obutayosa okuviira ddala ku ntobo y’omutima gwaffe. (Zab. 62:7, 8; Beb. 5:7) Okusaba kusobola okutuyamba okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa n’okweyisa mu ngeri emuweesa ekitiibwa n’ettendo.

16. Yakuwa atuyamba atya okuwuliriza eddoboozi lye?

16 Wadde nga Yakuwa mwetegefu okutuwa obulagirizi bwe, tatukaka kubukolerako. Twetaaga okumusaba atuwe omwoyo gwe omutukuvu, era bwe tumusaba, ajja kugutuwa. (Soma Lukka 11:10-13.) Bayibuli etukubiriza ‘okussaayo omwoyo ku ngeri gye tuwulirizaamu.’ (Luk. 8:18) Ng’ekyokulabirako, kiba kikolwa kya bunnanfuusi okusaba Yakuwa okutuyamba okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu ate nga mu kiseera kye kimu tulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Tulina okufuba okulaba nti buli kiseera ebifo bye tubaamu oba embeera gye tubaamu etusobozesa okufuna omwoyo gwa Yakuwa. Okubeera mu nkuŋŋaana z’ekibiina kitusobozesa okufuna omwoyo gwa Yakuwa. Abaweereza ba Yakuwa bangi basobodde okwewala ebizibu bingi olw’okuba bawuliriza Yakuwa nga bali mu nkuŋŋaana. Bwe bakiraba nti batandise okufuna okwegomba okubi, babaako kye bakolawo mu bwangu okutereeza amakubo gaabwe.Zab. 73:12-17; 143:10.

WEEYONGERE OKUWULIRIZA EDDOBOOZI LYA YAKUWA

17. Lwaki kya kabi nnyo okwesigama ku magezi gaffe?

17 Waliwo ekintu ekikulu ennyo kye tuyigira ku Kabaka Dawudi owa Isiraeri ey’edda. Dawudi bwe yeesiganga Yakuwa, Yakuwa yamuyambanga. Bwe yali akyali muto, Dawudi yawangula Goliyaasi, Omufirisuuti eyali ow’amaanyi ennyo. Nga wayise ekiseera, yafuuka omusirikale era oluvannyuma n’afuuka kabaka. Yalina obuvunaanyizibwa okulwanirira eggwanga lya Isiraeri n’okulisalirawo ku nsonga ezitali zimu. Kyokka Dawudi bwe yeesigama ku magezi ge, omutima gwe gwamulimba n’atuuka n’okukola ekibi eky’amaanyi. Yayenda ku Basuseba, era n’akola olukwe okutta Uliya, bba wa Basuseba. Naye Yakuwa bwe yamukangavvula, Dawudi yawuliriza, n’akkiriza ensobi ye, era n’addamu okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa.Zab. 51:4, 6, 10, 11.

18. Kiki ekinaatuyamba okweyongera okuwuliriza eddoboozi lya Yakuwa?

18 Tusaanidde okufuba okukolera ku magezi agali mu 1 Abakkolinso 10:12. Ekyo kijja kutuyamba okwewala okwekakasa ekisukkiridde. Okuva bwe kiri nti tetusobola kuluŋŋamya ‘bigere byaffe,’ tulina okusalawo obanga tunaawuliriza ddoboozi lya Yakuwa oba lya Sitaani. (Yer. 10:23) N’olwekyo, ka tufube okusaba Yakuwa obutayosa, okukolera ku bulagirizi bw’omwoyo gwe, n’okweyongera okuwuliriza eddoboozi lye.