Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Engeri Yakuwa gy’Atusembereramu

Engeri Yakuwa gy’Atusembereramu

“Musemberere Katonda naye anaabasemberera.”YAK. 4:8.

1. Kiki buli muntu kye yeetaaga, era ani gwe tusaanidde okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye?

BULI muntu yeetaaga okuba n’enkolagana ennungi n’abalala. Abantu abalina enkolagana ey’oku lusegere, baba baagalana era nga bamanyiganye bulungi. Ffenna kitusanyusa nnyo okubeerako awamu n’ab’eŋŋanda zaffe ne mikwano gyaffe abatwagala, abatutegeera obulungi, era abatutwala nga tuli ba muwendo. Kyokka twetaaga okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’Omutonzi waffe ow’ekitalo okusinga omuntu omulala yenna.Mub. 12:1.

2. Kiki Yakuwa ky’atusuubiza, naye lwaki abantu abasinga obungi balowooza nti ekyo tekisoboka?

2 Okuyitira mu Kigambo kye, Yakuwa atukubiriza ‘okumusemberera,’ era atusuubiza nti ekyo bwe tukikola, naye ‘ajja kutusemberera.’ (Yak. 4:8) Ekyo kituzzaamu nnyo amaanyi. Wadde kiri kityo, abantu bangi tebakkiriza nti Katonda ayinza okwagala okubasemberera; bawulira nti tebasaana mu maaso ge oba nti ali wala nnyo ne kiba nti tebasobola kumusemberera. Naye ddala kisoboka okusemberera Yakuwa?

3. Kiki kye tusaanidde okumanya ku Yakuwa?

3 Ekituufu kiri nti Yakuwa “tali wala wa buli” muntu ayagala okumuzuula; kisoboka okumanya Yakuwa. (Soma Ebikolwa 17:26, 27; Zabbuli 145:18.) Katonda waffe ayagala n’abantu abatatuukiridde okumusemberera, era mwetegefu okubafuula mikwano gye. (Is. 41:8; 55:6) Ng’asinziira ku ebyo bye yali ayiseemu, omuwandiisi wa Zabbuli yayogera bw’ati ku Yakuwa: “Ai ggwe awulira okusaba, bonna abalina omubiri balijja gy’oli. Alina omukisa oyo gw’olonda, era gw’osembeza gy’oli.” (Zab. 65:2, 4) Kati ka tulabe engeri Kabaka Asa gye yafuba okusemberera Katonda, era n’engeri Katonda gye yamusembereramu. *

YIGIRA KU MUWEEREZA WA KATONDA OW’EDDA

4. Kyakulabirako ki Kabaka Asa kye yateerawo abantu ba Yuda?

4 Kabaka Asa yawagira nnyo okusinza okw’amazima. Yaggyawo obwa malaaya mu yeekaalu n’okusinza ebifaananyi okwali kusimbye amakanda mu nsi ye. (1 Bassek. 15:9-13) Bwe kityo, yali asobola okukubiriza abalala “okunoonya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n’okukwata amateeka n’ebiragiro.” Yakuwa yawa Asa emikisa mu myaka ekkumi egyasooka egy’obufuzi bwe, era ensi yalimu emirembe. Kiki ekyavaako emirembe egyo? Asa yagamba abantu nti: “Ensi ekyali mu maaso gaffe, kubanga tunoonyezza Mukama Katonda waffe; tumunoonyezza, naye atuwadde okuwummula enjuyi zonna.” (2 Byom. 14:1-7) Kiki ekyaddirira?

5. Mbeera ki eyaliwo Asa mwe yalagira nti yali yeesiga Katonda, era biki ebyavaamu?

5 Kati weeteeke mu bigere bya Asa. Zeera Omwesiyopiya azze wamu n’abasajja 1,000,000 n’amagaali 300 okulwanyisa Yuda. (2 Byom. 14:8-10) Kiki kye wandikoze ng’olabye eggye eddene ng’eryo nga lizze okulumba obwakabaka bwo, kyokka ng’ate eggye lyo lirimu abasajja nga 580,000 bokka? Okuba nti buli musajja wo 1 alina okulwana n’abasajja nga 2 ab’omulabe wo, kyandikuleetedde okutandika okwebuuza ensonga lwaki ekyo Katonda akikkiriza okubaawo? Wandisazeewo okwesigama ku magezi go okusobola okuvvuunuka ekizibu ekyo? Ekyo Asa kye yasalawo okukola kyalaga nti yali yeesiga Yakuwa. Yeegayirira Yakuwa ng’agamba nti: “Tuyambe, Ai Mukama Katonda waffe; kubanga tukwesiga, ne mu linnya lyo mwe tutabaalidde ekibiina kino. Ai Mukama, ggwe Katonda waffe; omuntu aleme okukusinga.” Katonda yaddamu atya essaala ya Asa? Yakuwa yawangula Abaesiyopya. Tewali n’omu ku balabe ba Asa eyawonawo!2 Byom. 14:11-13.

6. Tuyinza tutya okukoppa Asa?

6 Kiki ekyayamba Asa okwesiga Yakuwa? Bayibuli egamba nti ‘Asa yakola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi’ era nti ‘omutima gwe gwali gutuukiridde eri Mukama.’ (1 Bassek. 15:11, 14) Naffe tulina okuweereza Yakuwa n’omutima ogutuukiridde. Ekyo tulina okukikola bwe tuba ab’okuba n’enkolagana ennungi naye mu kiseera kino era ne mu biseera eby’omu maaso. Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti Yakuwa alina ky’akozeewo okutuyamba okufuna n’okunyweza enkolagana yaffe naye! Laba engeri bbiri ekyo gy’akikozeemu.

YAKUWA ATUYAMBYE OKUMUSEMBERERA NG’AYITIRA MU KINUNULO

7. (a) Kiki Yakuwa ky’akoze okutuyamba okumusemberera? (b) Engeri esingayo obukulu Katonda gy’atuyambamu okumusemberera y’eruwa?

7 Yakuwa yakiraga nti ayagala nnyo abantu ng’atonda ensi eno erabika obulungi. Ne leero, akiraze nti atufaako nnyo ng’atuwa ebintu bye twetaaga okusobola okuba abalamu. (Bik. 17:28; Kub. 4:11) N’ekisinga byonna, Yakuwa akola ku byetaago byaffe eby’omwoyo. (Luk. 12:42) Ate era bwe tumusaba, awulira essaala zaffe. (1 Yok. 5:14) Kyokka, engeri esingayo obukulu Katonda gy’atuyambamu okumusemberera kwe kuyitira mu kinunulo. (Soma 1 Yokaana 4:9, 10, 19.) Yakuwa yasindika ku nsi “Omwana we eyazaalibwa omu yekka” tusobole okununulibwa okuva mu kibi n’okufa.Yok. 3:16.

8, 9. Kifo ki Yesu ky’alina mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda?

8 Yakuwa asobozesa n’abantu abaaliwo nga Kristo tannajja ku nsi okuganyulwa mu kinunulo. Yakuwa bwe yamala okwogera obunnabbi obukwata ku oyo gwe yandiyitiddemu okulokola abantu, mu maaso ge ekinunulo kyalinga ekimaze okusasulibwa. Ekyo kiri kityo, kubanga yali mukakafu nti ekigendererwa kye tekisobola kulema kutuukirira. (Lub. 3:15) Nga wayise ebyasa bingi, omutume Pawulo yeebaza Katonda ‘olw’ekinunulo Kristo Yesu kye yasasula.’ Yagattako nti: “Kino Katonda yakikola asobole okulaga nti yali mutuukirivu mu kusonyiwa ebibi eby’emabega bwe yali ng’ayoleka obugumiikiriza.” (Bar. 3:21-26) Nga Yesu alina ekifo kikulu nnyo mu kutuyamba okusemberera Katonda!

9 Engeri yokka abantu abawombeefu gye basobola okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa kwe kuyitira mu Yesu. Pawulo yawandiika nti: “Katonda atulaga okwagala kwe, kubanga bwe twali nga tukyali boonoonyi, Kristo n’atufiiririra.” (Bar. 5:6-8) Yakuwa yatuwa ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu, si lwa kuba nti twali tukisaanira, naye lwa kuba nti atwagala nnyo. Yesu yagamba nti: “Tewali muntu ayinza kujja gye ndi okuggyako nga Kitange eyantuma y’amusise.” Ate era yagamba nti: “Tewali ajja eri Kitange okuggyako ng’ayitidde mu nze.” (Yok. 6:44; 14:6) Yakuwa akozesa omwoyo gwe omutukuvu okuleeta abantu gy’ali ng’ayitira mu Yesu era abayamba okwekuumira mu kwagala kwe basobole okufuna obulamu obutaggwaawo. (Soma Yuda 20, 21.) Kati ka tulabeyo engeri endala Yakuwa gy’atuyambamu okumusemberera.

YAKUWA ATUYAMBA OKUMUSEMBERERA NG’AYITIRA MU KIGAMBO KYE

10. Bayibuli etuyamba etya okusemberera Katonda?

10 We tutuukidde ku katundu kano, twakalaba ebyawandiikibwa okuva mu bitabo eby’enjawulo 14 ebya Bayibuli. Awatali Bayibuli, twandisobodde tutya okumanya nti tusobola okusemberera Omutonzi waffe? Era awatali Bayibuli, twandisobodde tutya okuyiga ebikwata ku kinunulo era nti tusobola okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa okuyitira mu Yesu? Okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu, Yakuwa yawandiisa Bayibuli era okuyitira mu yo tusobola okuyiga ebikwata ku ngeri ze ennungi n’ebigendererwa bye eby’ekitalo. Ng’ekyokulabirako, mu Okuva 34:6, 7, Yakuwa yagamba Musa nti ye “Katonda ajjudde okusaasira era ow’ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n’amazima amangi; ajjukira okusaasira eri abantu enkumi n’enkumi, asonyiwa obutali butuukirivu n’okwonoona n’ekibi.” Ani atandyagadde kusemberera Katonda ng’oyo? Yakuwa akimanyi nti bwe tweyongera okuyiga ebimukwatako okuyitira mu Bayibuli, yeeyongera okuba owa ddala gye tuli era nti kituyamba okweyongera okumusemberera.

11. Lwaki tusaanidde okuyiga ebikwata ku ngeri za Katonda n’amakubo ge? (Laba ekifaananyi ku lupapula 16.)

11 Ng’eyogera ku ngeri gye tuyinza okufunamu enkolagana ennungi ne Katonda, ennyanjula y’akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa egamba nti: ‘Omukwano gwonna gwe tukola, gwesigama ku kumanya omuntu n’okusiima engeri ze ennungi. N’olwekyo, kikulu okuyiga ebikwata ku ngeri za Katonda n’amakubo ge nga bwe biragibwa mu Bayibuli.’ Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okuba nti Yakuwa yawandiisa Ekigambo kye mu ngeri abantu gye basobola okutegeera obulungi!

12. Lwaki Yakuwa yakozesa abantu okuwandiika Bayibuli?

12 Yakuwa yali asobola okukozesa bamalayika okuwandiika Bayibuli. Bamalayika batufaako nnyo era bafaayo ne ku ebyo bye tukola. (1 Peet. 1:12) Tewali kubuusabuusa nti bamalayika bandisobodde bulungi okuwandiika obubaka Katonda bw’ayagala abantu bamanye. Naye ddala bamalayika bandisobodde okutunuulira ebintu ng’abantu bwe babitunuulira? Bandisobodde bulungi okutegeera ebyetaago byaffe, obunafu bwaffe, n’enneewulira zaffe? Nedda. Yakuwa yali akimanyi nti bamalayika baawukana nnyo ku bantu. Okuba nti Yakuwa yakozesa abantu okuwandiika Bayibuli, obubaka obugirimu busobola bulungi okutuuka ku mitima gy’abantu. Tusobola bulungi okutegeera endowooza n’enneewulira abo abaawandiika Bayibuli awamu n’abalala aboogerwako mu Bayibuli ze baalina. Era tusobola bulungi okutegeera ebintu ebyabamalangamu amaanyi, ebyabaleeteranga okubuusabuusa, ebyabeeraliikirizanga, ensobi ze baakolanga, ebintu ebyabanakuwazanga, awamu n’ebyo ebyabasanyusanga. Okufaananako nnabbi Eriya, abo bonna abaawandiika Bayibuli ‘baali bantu nga ffe.’Yak. 5:17.

13. Essaala ya Yona ekuleetera kuwulira otya?

13 Olowooza malayika yandisobodde okuggyayo obulungi enneewulira ya nnabbi Yona bwe yali ng’agezaako okwebalama omulimu Katonda gwe yali amulagidde okukola? Nga kirungi okuba nti Yakuwa yalonda Yona kennyini okuwandiika ku ebyo ebyaliwo, nga mw’otwalidde n’essaala gye yasaba ng’ali mu buziba bw’ennyanja! Yona yagamba nti: “Emmeeme yange bwe yazirika mu nze, ne nzijukira Mukama.”Yon. 1:3, 10; 2:1-9.

Engeri Yakuwa gye yakolaganamu ne Yona awamu ne Peetero ekuyamba etya okwongera okumusemberera? (Laba akatundu 13, 15)

14. Lwaki tusobola bulungi okutegeera ebyo Isaaya bye yawandiika ebimukwatako?

14 Ate era lowooza ku ebyo nnabbi Isaaya bye yawandiika oluvannyuma lw’okufuna okwolesebwa n’alaba ekitiibwa kya Katonda. Yakiraba nti yali tatuukiridde, era n’agamba nti: “Zinsanze! kubanga nfudde; kubanga ndi muntu wa mimwa egitali mirongoofu, era ntuula wakati mu bantu ab’emimwa egitali mirongoofu: kubanga amaaso gange galabye Kabaka, Mukama ow’eggye.” (Is. 6:5) Malayika ki eyandisobodde okwogera ebigambo ng’ebyo? Naye Isaaya yabyogera. Okufaananako Isaaya, naffe tetutuukiridde era tusobola bulungi okutegeera engeri gye yali awuliramu.

15, 16. (a) Lwaki tusobola bulungi okutegeera enneewulira z’abantu bannaffe? Waayo ebyokulabirako. (b) Kiki ekisobola okutuyamba okusemberera Yakuwa?

15 Bamalayika bandisobodde okugamba nti ‘tebasaanira,’ nga Yakobo bwe yagamba, oba nti ‘boonoonyi’ nga Peetero bwe yagamba? (Lub. 32:10; Luk. 5:8) Bamalayika ‘banditidde nnyo,’ ng’abayigirizwa ba Yesu bwe baakola, era bandibadde beetaaga ‘okufuna obuvumu’ okusobola okubuulira amawulire amalungi nga bayigganyizibwa, nga bwe kyali eri Pawulo n’abayigirizwa ba Yesu abalala? (Yok. 6:19; 1 Bas. 2:2) Nedda. Bamalayika batuukiridde era balina amaanyi n’obusobozi obusingira ewala obw’abantu. Kyokka abantu abatatuukiridde bwe booleka enneewulira ng’ezo, kitwanguyira okubategeera olw’okuba naffe tuli bantu buntu abatatuukiridde. Mu butuufu, bwe tuba tusoma Ekigambo kya Katonda, tusobola ‘okusanyuka n’abo abasanyuka n’okukaaba n’abo abakaaba.’Bar. 12:15.

16 Bwe tufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yakolaganamu n’abaweereza be abeesigwa abaaliwo mu biseera by’edda, tujja kuyiga ebintu bingi ebikwata ku Katonda waffe, n’engeri gye yayolekamu obugumiikiriza n’okwagala ng’ayamba abantu abatatuukiridde okumusemberera. Ekyo kijja kutuleetera okwongera okutegeera Yakuwa n’okumwagala. Era kijja kutuyamba okwongera okumusemberera.Soma Zabbuli 25:14.

NYWEZA ENKOLAGANA YO NE YAKUWA

17. (a) Magezi ki amalungi Azaliya ge yawa Asa? (b) Mu ngeri ki Asa gye yalemererwa okukolera ku magezi Azaliya ge yamuwa, era biki ebyavaamu?

17 Kabaka Asa bwe yamala okuwangula eggye ly’Abaesiyopiya, nnabbi wa Katonda Azaliya yawa Asa n’abantu be amagezi gano amalungi: “Mukama ali nammwe bwe munaabanga naye; era bwe munaamunoonyanga, munaamulabanga; naye bwe munaamuvangako, anaabavangako mmwe.” (2 Byom. 15:1, 2) Eky’ennaku kiri nti oluvannyuma lw’ekiseera, Asa yalemererwa okukolera ku magezi ago. Eggye ly’obwakabaka bwa Isiraeri bwe lyajja okumulumba, Asa obuyambi yabunoonyeza mu Basuuli. Mu kifo ky’okuddamu okusaba Yakuwa amuyambe, yasalawo okukola endagaano n’abantu abataali baweereza ba Yakuwa. Eyo ye nsonga lwaki Asa yagambibwa nti: “Okoze eky’obusirusiru; olw’ekyo okuva leero ojja kubanga n’entalo.” Emyaka gyonna egy’obufuzi bwa Asa egyasembayo gyali gya ntalo. (2 Byom. 16:1-9) Ekyo kituyigiriza ki?

18, 19. (a) Singa tukizuula nti waliwo ekintu kyonna ekitandise okutwawukanya ku Katonda, kiki kye tusaanidde okukola? (b) Tuyinza tutya okweyongera okusemberera Yakuwa?

18 Tetusaanidde kukkiriza kintu kyonna kutuggya ku Yakuwa. Singa tukizuula nti waliwo engeri yonna gye tutandise okuva ku Yakuwa, tusaanidde okukolera ku bigambo ebiri mu Koseya 12:6, awagamba nti: “Kyukira Katonda wo: okwatanga okusaasira n’omusango, omulindiriranga Katonda wo ennaku zonna.” N’olwekyo, ka bulijjo tweyongere okusemberera Yakuwa nga tufumiitiriza ku kirabo eky’ekinunulo kye yatuwa era nga tufuba okusoma Ekigambo kye, Bayibuli.Soma Ekyamateeka 13:4.

19 Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: ‘Kirungi nze okusemberera Katonda.’ (Zab. 73:28) Ka ffenna tweyongere okuyiga ebisingawo ebikwata ku Yakuwa. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kweyongera okumwagala. Bwe tuneeyongera okusemberera Yakuwa, naye ajja kweyongera okutusemberera mu kiseera kino era n’emirembe n’emirembe!

^ lup. 3 Laba ekitundu ekikwata ku Asa ekirina omutwe “Omulimu Gwammwe Guliweebwa Empeera,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Agusito 15, 2012.