Jjukira Abo Abali mu Buweereza obw’Ekiseera Kyonna
“Bulijjo tujjukira omulimu gwe mukola oguva mu kukkiriza kwammwe.”
1. Pawulo yatwalanga atya abo abaaweerezanga Yakuwa n’obunyiikivu?
OMUTUME Pawulo yatwalanga abo abaakolanga ennyo mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi nga ba muwendo. Yagamba nti: “Bulijjo tujjukira omulimu gwe mukola oguva mu kukkiriza kwammwe, n’okufuba kwammwe okukubirizibwa okwagala, n’obugumiikiriza bwe mulina olw’essuubi lye mutadde mu Mukama waffe Yesu Kristo mu maaso ga Katonda era Kitaffe.” (1 Bas. 1:3) Mu butuufu, ne Yakuwa ajjukira ebyo byonna abantu be abeesigwa bye bakola nga bamuweereza, ka kibe nti embeera yaabwe ebasobozesa kukola bingi oba bitono.
2. Kiki kye tugenda okwetegereza mu kitundu kino?
2 Okuviira ddala mu kyasa ekyasooka, Abakristaayo bangi baliko ebintu bingi bye beefiirizza okusobola okuweereza Yakuwa mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Mu kitundu kino, tugenda kwetegereza engeri Abakristaayo abamu gye baaweerezaamu Yakuwa mu kyasa ekyasooka. Era tugenda kwetegereza obuweereza obw’ekiseera kyonna obw’enjawulo n’engeri gye tuyinza okukiraga nti tujjukira bakkiriza bannaffe abali mu buweereza obwo.
ABAKRISTAAYO MU KYASA EKYASOOKA
3, 4. (a) Abakristaayo abamu mu kyasa ekyasooka baaweereza batya Yakuwa? (b) Baafunanga batya ebyetaago byabwe eby’omubiri?
3 Nga wayise ekiseera kitono oluvannyuma lw’okubatizibwa, Yesu Luk. 3:21-23; 4:14, 15, 43) Oluvannyuma lwa Yesu okufa, abatume be beeyongera okutwala obukulembeze mu mulimu ogwo. (Bik. 5:42; 6:7) Abakristaayo abamu baaweereza ng’abaminsani. Ng’ekyokulabirako, Firipo yabuulira mu bitundu bya Palesitayini ebitali bimu. (Bik. 8:5, 40; 21:8) Pawulo n’abalala nabo baagenda mu nsi endala okubuulira. (Bik. 13:2-4; 14:26; 2 Kol. 1:19) Abalala gamba nga Siruvano (Siira), Makko, ne Lukka baakolanga ng’abakoppolozi oba abawandiisi ba Bayibuli. (1 Peet. 5:12) Bannyinaffe Abakristaayo baakoleranga wamu n’ab’oluganda abo abeesigwa. (Bik. 18:26; Bar. 16:1, 2) Kituleetera essanyu lingi okusoma ku bakkiriza bannaffe ng’abo mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani. Ebyo ebibakwatako biraga nti Yakuwa atwala abaweereza be nga ba muwendo era afaayo ku byetaago byabwe.
yatandikawo omulimu ogw’okubuulira, ogwandikoleddwa ku kigero eky’ensi yonna. (4 Abo abaali mu buweereza obw’ekiseera kyonna mu kyasa ekyasooka baafunanga batya ebyetaago byabwe eby’omubiri? Oluusi, Bakristaayo bannaabwe baabasembezanga mu maka gaabwe oba ne babawa obuyambi obw’engeri endala. Naye tebaakitwalanga nti kya tteeka Bakristaayo bannaabwe okubawa obuyambi obwo. (1 Kol. 9:11-15) Ate oluusi ebibiina oba ab’oluganda kinnoomu baabawanga obuyambi. (Soma Ebikolwa 16:14, 15; Abafiripi 4:15-18.) Pawulo ne banne baakolanga emirimu egitali gya kiseera kyonna okusobola okweyimirizaawo.
OBUWEEREZA OBW’EKISEERA KYONNA MU KISEERA KYAFFE
5. Kiki ow’oluganda omu ne mukyala we kye baayogera ku kiseera kye bamaze mu buweereza obw’ekiseera kyonna?
5 Ne leero, bangi basazeewo okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. (Laba akasanduuko “ Obuweereza obw’Ekiseera Kyonna.”) Bakkiriza bannaffe abo bawulira batya olw’okusalawo okukozesa obulamu bwabwe mu ngeri eyo? Osobola okubabuuza ekibuuzo ekyo, era ebyo bye banaakuddamu bijja kukuganyula nnyo. Ow’oluganda omu eyaweerezaako nga payoniya owa bulijjo, nga payoniya ow’enjawulo, ng’omuminsani, era nga kati aweereza ku Beseri, agamba nti: “Okusalawo okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna kye kintu ekisingayo obulungi kye nnali nsazeewo okukola. Bwe nnali wa myaka 18, nnalina okusalawo ekimu ku bino: okugenda ku yunivasite, okufuna omulimu ogw’ekiseera kyonna, oba okuweereza nga payoniya. Ebyo bye mpiseemu bindaze nti Yakuwa tasobola kwerabira ebyo byonna bye twefiiriza okusobola okumuweereza ekiseera kyonna. Nsobodde okukozesa obusobozi bwange mu ngeri gye sandisobodde kubukozesa singa nnali nsazeewo okwefunira omulimu ogw’ekiseera kyonna.” Mukyala we agamba nti: “Buli nkizo gye nfunye mu kibiina kya Yakuwa ennyambye okukulaakulana mu by’omwoyo. Yakuwa atukuumye era atuwadde obulagirizi mu ngeri nnyingi, ekintu ekitandisobose singa twasalawo okwenoonyeza ebyaffe. Nneebaza nnyo Yakuwa olw’okutusobozesa okuba mu buweereza obw’ekiseera kyonna.” Naawe wandyagadde okukozesa obulamu bwo mu ngeri eyo?
6. Yakuwa atwala atya ebyo bye tukola nga tumuweereza?
6 Kya lwatu nti ab’oluganda abamu embeera yaabwe, mu kiseera kino, tebasobozesa kuba mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Naye tuli bakakafu nti Yakuwa asiima nnyo ebyo byonna bye bakola nga bamuweereza n’omutima gwabwe gwonna. Ng’ekyokulabirako, mu Firemooni 1-3, Pawulo yatumira ab’oluganda bonna mu kibiina ky’e Kkolosaayi, n’ayogera n’amannya g’abamu ku bo. (Soma.) Pawulo yasiima bye baali bakola era ne Yakuwa yali abisiima. Mu ngeri y’emu, Yakuwa asiima ebyo byonna by’okola okumuweereza. Naye oyinza otya okuyamba abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna?
OKUYAMBA BAPAYONIYA
7, 8. Okuweereza nga payoniya kizingiramu ki, era abalala mu kibiina bayinza batya okuyamba bapayoniya?
7 Okufaananako ababuulizi abanyiikivu abaaliwo mu kyasa ekyasooka, ne leero bapayoniya
bazzaamu nnyo abalala mu kibiina amaanyi. Bangi ku bo batera okumala essaawa ezitakka wansi wa 70 buli mwezi nga babuulira. Oyinza otya okubayamba?8 Payoniya omu ayitibwa Shari yagamba nti: “Olw’okuba bapayoniya babuulira kumpi buli lunaku, balabika ng’ab’amaanyi. Kyokka, nabo beetaaga okuzzibwamu amaanyi.” (Bar. 1:11, 12) Ng’ayogera ku bapayoniya abali mu kibiina kye, mwannyinaffe omu amazze ebbanga ng’aweereza nga payoniya agamba nti: “Bapayoniya banyiikivu nnyo. Abalala bwe babatwalako nga bagenda okubuulira, bwe babasembeza ku kijjulo mu maka gaabwe, bwe babawaayo ssente ez’entambula, oba obuyambi obulala bwonna mu by’ensimbi, basiima nnyo. Kibaleetera okuwulira nti bakkiriza bannaabwe babafaako.”
9, 10. Kiki abamu kye bakoze okuyamba bapayoniya mu bibiina byabwe?
9 Wandyagadde okuyamba bapayoniya mu buweereza bwabwe? Payoniya omu ayitibwa Bobbi yagamba nti: “Twetaaga nnyo obuwagizi mu buweereza bw’ennimiro nnaddala wakati mu wiiki.” Payoniya omulala yagamba nti: “Kizibu nnyo okufuna omuntu ow’okubuulira naye olw’eggulo.” Mwannyinaffe omu nga kati aweereza ku Beseri mu Brooklyn agamba nti: “Bwe nnali nkyaweereza nga payoniya, muganda wange omu eyalina emmotoka yaŋŋamba nti, ‘Buli lw’oba tolina muntu wa kubuulira naye, onkubiranga essimu ne nzija ne tubuulira ffembi.’ Mu butuufu, yannyamba nnyo.” Ate mwannyinaffe ayitibwa Shari yagamba nti: “Oluvannyuma lw’okubuulira, bapayoniya bangi abali obwannamunigina baba bokka. Oluusi n’oluusi, oyinza okubaaniriza mu maka go mu kusinza kwammwe okw’amaka. Okukolerako awamu nabo ebintu ebirala nakyo kibayamba okusigala nga banywevu mu by’omwoyo.”
10 Ng’ayogera ku ngeri ye ne banne abaali obwannamunigina gye baayambibwamu nga baweereza nga bapayoniya, mwannyinaffe omu amaze emyaka nga 50 mu buweereza obw’ekiseera kyonna agamba nti: “Abakadde mu kibiina kyaffe baateranga okukyalira bapayoniya. Baatubuuzanga ebikwata ku bulamu bwaffe, ku mirimu gyaffe, ne ku bizibu bye twabanga nabyo. Baafubanga okumanya ebyetaago byaffe. Mu butuufu, baatufangako nnyo.” Abakadde abo n’abalala abakola bwe batyo batujjukiza Onesifolo, ssemaka omu eyali abeera mu Efeso, eyayamba ennyo Pawulo.
11. Kiki ekizingirwa mu kuweereza nga payoniya ow’enjawulo?
11 Ebibiina ebimu birina bapayoniya ab’enjawulo. Bangi ku bo bamala essaawa ezitakka wansi wa 130 buli mwezi nga babuulira. Okuva bwe kiri nti bamala ebiseera bingi nga babuulira era nga bakola emirimu emirala egy’ekibiina, tekiba kyangu kufuna budde kukola mirimu egyandibayambye okweyimirizaawo. N’olwekyo, ofiisi y’ettabi ebawaayo ssente entonotono okukola ku byetaago byabwe, kibayambe okwemalira ku buweereza bwabwe.
12. Abakadde n’abalala mu kibiina bayinza batya okuyamba bapayoniya ab’enjawulo?
12 Tuyinza tutya okuyamba bapayoniya ab’enjawulo? Omukadde omu aweereza ku ofiisi y’ettabi era ng’atera okukolagana ne bapayoniya ab’enjawulo agamba nti: “Abakadde basaanidde okwogeranga nabo, okutegeera obulungi embeera yaabwe, n’okumanya engeri gye bayinza okubayambamu. Ab’oluganda abamu balowooza nti olw’okuba bapayoniya ab’enjawulo baweebwa ssente okukola ku byetaago byabwe, tebalina kirala kyonna kye beetaaga. Naye waliwo engeri nnyingi ab’oluganda mu kibiina gye basobola okubayambamu.” Okufaananako bapayoniya aba bulijjo, bapayoniya ab’enjawulo nabo beetaaga obuwagizi mu buweereza bw’ennimiro. Olina ky’osobola okukola okubayamba?
OKUYAMBA ABALABIRIZI ABAKYALIRA EBIBIINA
13, 14. (a) Tuyinza tutya okuyamba abalabirizi abakyalira ebibiina? (b) Olowooza kiki ky’oyinza okukola okuyamba abo abakola omulimu gw’okukyalira ebibiina?
13 Abalabirizi abakyalira ebibiina ne bakyala baabwe baba Bakristaayo abakulu mu by’omwoyo era abalina okukkiriza okw’amaanyi. Wadde kiri kityo, nabo beetaaga okuzzibwamu amaanyi, okuwagirwa mu buweereza bw’ennimiro, era beetaaga okusanyukirako awamu ne bakkiriza bannaabwe. Watya singa balwala era ne baweebwa ekitanda, oboolyawo nga beetaaga okulongoosebwa? Kibazzaamu nnyo amaanyi bakkiriza bannaabwe bwe bakiraga nti babafaako era ne bafuba okukola ku byetaago byabwe. Lukka, “omusawo omwagalwa,” yafangayo nnyo ku byetaago bya Pawulo n’ab’oluganda abalala abaakyaliranga ebibiina.
14 Abalabirizi abakyalira ebibiina ne bakyala baabwe baagala nnyo okuba n’emikwano. Omulabirizi w’ekitundu omu yagamba nti: “Mikwano gyange bamanyi ddi lwe mba nneetaaga okuzzibwamu amaanyi. Batera okumbuuza ebibuuzo mu ngeri ey’amagezi, era ekyo kinnyamba okubabuulira ekindi ku mutima. Ne bwe bampuliriza obuwuliriza, nakyo kinzizzaamu nnyo amaanyi.” Abalabirizi abakyalira ebibiina ne bakyala baabwe kibasanyusa nnyo bakkiriza bannaabwe bwe bakiraga nti babafaako.
OKUYAMBA ABO ABAWEEREZA KU BESERI
15, 16. Mirimu ki abo abaweereza ku Beseri ne ku Bizimbe Ebituuza Enkuŋŋaana Ennene gye bakola, era tuyinza tutya okubayamba?
15 Abo abaweereza ku Beseri ne ku Bizimbe Ebituuza Enkuŋŋaana Ennene bakola kinene nnyo mu kuwagira omulimu gw’Obwakabaka. Bwe kiba nti mu kibiina kyo oba mu kitundu kyo mulimu Ababeseri, oyinza otya okubajjukira?
16 Ab’oluganda bwe baba baakagenda ku Beseri, oluusi bawulira ekiwuubaalo olw’okuba baba balese ab’eŋŋanda zaabwe ne mikwano gyabwe. Kyokka kibasanyusa nnyo Babeseri bannaabwe n’ab’oluganda mu kibiina bwe babafuula mikwano gyabwe! (Mak. 10:29, 30) Emirimu gye bakola ku Beseri gibasobozesa okubaawo mu nkuŋŋaana n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira buli wiiki. Naye ebiseera ebimu Ababeseri baba n’emirimu emirala gye baba balina okukola ku Beseri. Kikulu nnyo ab’oluganda mu kibiina okutegeera ensonga eyo era ne bakiraga nti basiima emirimu Ababeseri gye bakola.
OKUYAMBA ABO ABALI MU BUWEEREZA OBW’EKISEERA KYONNA ABAVA MU NSI ENDALA
17, 18. Mirimu ki abo abasindikibwa okugenda okuweereza mu nsi endala gye bakola?
17 Abo abasindikibwa okugenda okuweereza mu nsi endala oluusi bakisanga nti ebintu
gamba ng’emmere, olulimi, empisa, n’embeera z’obulamu bya njawulo nnyo ku ebyo bye baali bamanyidde. Mirimu ki abo abasindikibwa okuweereza mu nsi endala gye bakola?18 Abamu ku bo baminsani era bamala ebiseera bingi nga babuulira. Ekyo kiyamba bangi okuganyulwa mu bumanyirivu bwe balina. Ofiisi y’ettabi ebasasulira aw’okusula era ebawaayo ssente entonotono okukola ku byetaago byabwe. Abalala abasindikibwa okuweereza mu nsi endala, baweereza ku Beseri, oba bayambako mu kuzimba ofiisi z’amatabi, ofiisi awavvuunulirwa ebitabo, Ebizimbe Ebituuza Enkuŋŋaana Ennene, oba Ebizimbe by’Obwakabaka. Ab’oluganda abo baweebwa eby’okulya, aw’okusula, n’ebintu ebirala ebyetaagisa mu bulamu. Okufaananako Ababeseri, nabo emirimu gye bakola gibasobozesa okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira nga bakolera wamu n’ebibiina mwe bakuŋŋaanira. Mu butuufu, ab’oluganda abo baganyula ebibiina mu ngeri nnyingi.
19. Oyinza otya okuyamba abaweereza ab’ekiseera kyonna ababa bazze okuweereza mu nsi yo?
19 Oyinza otya okuyamba ab’oluganda ng’abo? Kijjukire nti mu kusooka kiyinza obutabanguyira kulya mmere gye batamanyidde. Bw’oba oyagala okubaaniriza okuliirako awamu nabo emmere, oyinza okubabuuza emmere gye bandyagadde okulya oba gye bandyagadde okugezaako. Bagumiikirize nga bayiga olulimi olupya n’empisa z’omu kitundu. Genda ng’obayamba mpolampola okwatula obulungi ebigambo, kubanga baagala okuyiga.
20. Tuyinza tutya okuyamba abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna ne bazzadde baabwe?
20 Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, bazadde b’abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna bagenda bakaddiwa. Abazadde abo bwe baba Abajulirwa ba Yakuwa, ekintu kye baba basinga okwagala kwe kulaba ng’abaana baabwe basigala mu buweereza obw’ekiseera kyonna. (3 Yok. 4) Kya lwatu nti abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna bafuba okukola kyonna ekisoboka okulabirira bazadde baabwe ababa beetaaga okulabirirwa era bafuba okubakyalirako. Wadde kiri kityo, abo ababeera okumpi ne bazadde baabwe bayinza okubaako kye bakolawo okubayamba mu kulabirira bazadde baabwe. Tusaanidde okukijjukira nti abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna bakola kinene nnyo mu mulimu gw’okubuulira, nga guno gwe mulimu ogusingayo obukulu ogulina okukolebwa mu kiseera kino. (Mat. 28:19, 20) Olina ky’oyinza okukolawo okuyamba bazadde b’oyo ali mu buweereza obw’ekiseera kyonna bwe kiba kyetaagisa?
21. Abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna bawulira batya abalala bwe babayamba era ne babazzaamu amaanyi?
21 Abo abayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna, bakikola olw’okuba baagala okuwa Yakuwa ekisingayo obulungi n’okuyamba abalala, so si lwa kwagala kubaako bye beefunira. Ab’oluganda abo basiima nnyo ekyo kyonna ky’osobola okukola okubayamba. Mwannyinaffe omu aweereza mu nsi endala agamba nti: “Mukkiriza munno ne bw’akuwandiikira obuwandiikizi akabaluwa ng’akusiima, kiba kiraga nti akulowoozaako era nti asiima ebyo by’okola.”
22. Obuweereza obw’ekiseera kyonna obutwala otya?
22 Okuweereza Yakuwa mu buweereza obw’ekiseera kyonna ye ngeri esingayo obulungi omuntu yenna gy’ayinza okukozesaamu obulamu bwe. Okuweereza mu ngeri eyo, kiyamba omuntu okufuna engeri ennungi ezeetaagisa kati era ezijja n’okwetaagisa mu nsi empya. Nga bwe tulindirira ensi empya, ka ffenna ‘tweyongere okujjukira omulimu’ abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna gwe bakola.