Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

‘Oluubirira’ Enkizo mu Kibiina?

‘Oluubirira’ Enkizo mu Kibiina?

FERNANDO * yawulira ng’atiddemu. Abakadde babiri baali bamugambye nti baagala kwogerako naye. Okumala ekiseera, buli luvannyuma lw’okukyala kw’omulabirizi w’ekitundu, abakadde baali bamusisinkana ne bamubuulira by’alina okukola okusobola okuweebwa enkizo ezisingawo mu kibiina. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, Fernando yatandika okwebuuza obanga ddala lumu yandirondeddwa okuweereza ng’omukadde. Kati, omulabirizi w’ekitundu yali yaakamala okukyalira ekibiina kye. Fernando yali yeebuuza kiki abakadde kye baali bagenda okumugamba?

Fernando yawuliriza bulungi ng’omu ku bakadde ayogera naye. Ow’oluganda yayogera ku 1 Timoseewo 3:1 era n’amugamba nti yali alondeddwa okuweereza ng’omukadde. Fernando yeewuunya nnyo n’abuuza omukadde nti, “Ogambye ki?” Ow’oluganda yaddamu kye yali ayogedde, era mu kiseera ekyo Fernando n’ateekako akamwenyumwenyu. Bwe baalanga mu kibiina nti Fernando yali alondeddwa okuweereza ng’omukadde, ab’oluganda bonna baasanyuka.

Kiba kikyamu okwagala okufuna enkizo mu kibiina? Nedda. Okusinziira ku 1 Timoseewo 3:1, “singa omuntu yenna aluubirira omulimu gw’obulabirizi, aba yeegomba omulimu omulungi.” Waliwo abasajja bangi Abakristaayo abakoledde ku bigambo ebyo ne bafuba okutuukiriza ebisaanyizo okuweebwa enkizo mu kibiina. N’ekivuddemu, abantu ba Katonda bafunye abasajja nkumi na nkumi abasobola okuweereza ng’abakadde oba abaweereza mu kibiina. Naye olw’okuba waliwo abantu bangi abeeyongera okwegatta ku kibiina, waliwo obwetaavu bwa maanyi obw’ab’oluganda okwetikka obuvunaanyizibwa mu kibiina. Naye, omuntu ayinza atya okuluubirira enkizo mu kibiina? Era abo abaagala okuweereza ng’abakadde bandibadde buli kiseera balowooza ku ddi lwe banaafuna enkizo eyo?

KITEGEEZA KI ‘OKULUUBIRIRA’ ENKIZO MU KIBIINA?

Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa ‘okuluubirira’ kitegeeza okwagala ennyo ekintu, oba okukunukkiriza. Ekyo kiyinza okugeraageranyizibwa ku muntu ayagala okulya ekibala ekiri ku muti bw’atyo n’akunukkiriza okulaba nti akinoga. Kyokka omuntu aluubirira “omulimu gw’obulabirizi” tasaanidde kukikola ng’alina ebiruubirirwa ebikyamu. Omuntu ayagala okuweereza ng’omukadde alina kuba ng’ayagala kukola “omulimu omulungi,” so si kwefunira bitiibwa.

Ebisaanyizo ebisinga obungi ow’oluganda by’alina okutuukiriza nga tannalondebwa kuba mukadde biragibwa mu 1 Timoseewo 3:2-7 ne Tito 1:5-9. Ng’ayogera ku bisaanyizo ebyo, Raymond emaze emyaka emingi ng’aweereza ng’omukadde agamba nti: “Nkirabye nti ekisinga obukulu ky’ekyo kye tuli. Wadde nga kirungi okuwa emboozi ennungi n’okuyigiriza obulungi, kikulu nnyo omukadde okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, ng’alina empisa ezisaana, ng’alina endowooza ennuŋŋamu, ng’alina enkola ennuŋŋamu, ng’asembeza abagenyi, era nga si mukakanyavu.”

‘Luubirira enkizo’ ng’oweereza Yakuwa n’obunyiikivu

Ow’oluganda aba aluubirira enkizo akiraga nti taliiko kya kunenyezebwa, nga yeewala obutali bwesigwa n’obutali bulongoofu obwa buli ngeri. Aba n’empisa ezisaana, endowooza ennuŋŋamu, enkola ennuŋŋamu, era taba mukakanyavu. Bwe kityo, bakkiriza banne baba bamwesiga nti asobola bulungi okubakulembera n’okubayamba nga balina ebizibu. Ow’oluganda oyo bw’aba n’omwoyo ogw’okusembeza abagenyi, aba asobola okuzzaamu amaanyi abato n’abapya mu mazima. Olw’okuba aba ayagala obulungi, aba asobola okubudaabuda abalwadde ne bannamukadde. Akulaakulanya engeri ezo, si lwa kwagala kwefunira nkizo, naye lwa kwagala kuyamba balala. *

Wadde ng’abakadde basobola okuwabula n’okuzzaamu amaanyi ow’oluganda aluubirira enkizo mu kibiina, ow’oluganda oyo y’asaanidde okufuba okutuukiriza ebisaanyizo ebiri mu Byawandiikibwa. Henry, ow’oluganda amaze emyaka emingi ng’aweereza ng’omukadde, agamba nti: “Bw’oba oluubirira enkizo mu kibiina, fuba nnyo okulaba nti otuukiriza ebisaanyizo.” Ng’ayogera ku Omubuulizi 9:10, agamba nti: “‘Buli kintu omukono gwo kye gulaba okukola, kikole n’amaanyi go gonna.’ Fuba okukola obulungi buli mulimu abakadde gwe bakuwa. Yagala emirimu gyonna gy’oweebwa mu kibiina, ka kube kwera. Ekiseera bwe kinaagenda kiyitawo, kijja kweyoleka nti osaanira okuweebwa enkizo.” Bwe kiba nti oyagala okuweereza ng’omukadde, beera munyiikivu era mwesigwa mu bintu byonna ebikwatagana n’okusinza okw’amazima. Osaanidde okukyoleka mu bulamu bwo nti tolina malala.Mat. 23:8-12.

WEEWALE ENDOWOOZA N’EBIKOLWA EBIKYAMU

Abamu ku abo abaagala okufuna enkizo mu kibiina, bayinza okwogera ebigambo ebiraga nti baagala okufuuka abakadde oba bayinza okugezaako okusendasenda abakadde okubasemba. Abalala bayinza okunyiiga ng’abakadde babawabudde. Abantu ng’abo basaanidde okwebuuza, ‘Nneenoonyeza byange, oba njagala kulabirira ndiga za Yakuwa?’

Abo abaluubirira enkizo mu kibiina tebasaanidde kwerabira nti abo abaagala okuweereza ng’abakadde balina ‘okuba ekyokulabirako eri ekisibo.’ (1 Peet. 5:1-3) Ow’oluganda ateekawo ekyokulabirako ekirungi yeewala endowooza n’ebikolwa ebikyamu. Afuba okwoleka obugumiikiriza k’abe ng’aweereza ng’omukadde oba nedda. Kyokka okuweereza ng’omukadde tekifuula muntu kuba ng’atuukiridde. (Kubal. 12:3; Zab. 106:32, 33) Ow’oluganda ayinza okuba nga ‘tamanyiiyo kintu kyonna kimuvunaanibwa,’ naye ate ng’abalala balaba nti aliko ekimuvunaanibwa. (1 Kol. 4:4) N’olwekyo, singa abakadde bakuwabula nga bakozesa Ebyawandiikibwa, bawulirize era tobanyiigira. Era fuba okukolera ku magezi ge baba bakuwadde.

OWULIRA NG’OLUDDEWO OKUWEEBWA ENKIZO?

Waliwo ab’oluganda bangi abawulira nti bamaze ekiseera kiwanvu nga tebalondebwa kuweereza ng’abakadde. Bwe kiba nti naawe omaze emyaka mingi ‘ng’oluubirira omulimu gw’obulabirizi,’ oluusi owulira ng’oweddemu amaanyi? Bwe kiba kityo, lowooza ku bigambo bino: “Essuubi erirwawo lisinduukiriza emmeeme: naye ekyegombebwa bwe kijja kiba muti gwa bulamu.”Nge. 13:12.

Omuntu bw’alwawo okufuna ekintu ky’ayagala ennyo, oluusi kiyinza okumuleetera okuwulira ng’aweddemu amaanyi. Ekyo kyennyini kye kyatuuka ku Ibulayimu. Yakuwa yamusuubiza omwana, naye waayitawo emyaka mingi nga ye ne Saala tebannazaala mwana. (Lub. 12:1-3, 7) Bwe yalaba ng’akaddiye, Ibulayimu yagamba Yakuwa nti: “Ai Mukama Katonda, onompa ki, kubanga ntambula nga sirina mwana . . . Tompadde zadde.” Yakuwa yamukakasa nti ekisuubizo kye eky’okumuwa omwana ow’obulenzi kyali kya kutuukirira. Wadde kyali kityo, waayitawo emyaka emirala nga 14 Katonda n’atuukiriza ekisuubizo kye ekyo.Lub. 15:2-4; 16:16; 21:5.

Ibulayimu bwe yali alindirira ekisuubizo ekyo okutuukirira, yaggwebwako essanyu ng’aweereza Yakuwa? Nedda. Teyabuusabuusa obanga Katonda yandituukirizza ekisuubizo ekyo; yeeyongera okuba n’essuubi. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Ibulayimu bwe yamala okwoleka obugumiikiriza, yafuna ekisuubizo ekyo.” (Beb. 6:15) Oluvannyuma lw’ekiseera, Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna yawa Ibulayimu omukisa n’okusinga bwe yali asuubira. Kiki ky’oyinza okuyigira ku Ibulayimu?

Bw’oba ng’oyagala okuweereza ng’omukadde naye ng’owulira nti wayiseewo ekiseera kiwanvu nga tonnaweebwa nkizo eyo, weeyongere okwesiga Yakuwa. Weeyongere okuweereza Yakuwa n’essanyu. Warren, omukadde ayambye ab’oluganda abawerako okukulaakulana mu by’omwoyo, alaga ensonga lwaki ekyo kikulu. Agamba nti: “Kyetaagisa ekiseera okuyitawo okulaba obanga ddala ow’oluganda asaanidde okulondebwa okuba omukadde. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, endowooza y’ow’oluganda n’obusobozi bwe byeyolekera mu ngeri gye yeeyisaamu n’engeri gy’atuukirizaamu obuvunaanyizibwa bwe mu kibiina. Ab’oluganda abamu balowooza nti bwe balondebwa okuba abakadde oba bwe bafuna enkizo endala yonna mu kibiina, olwo nno baba batuuse ku buwanguzi mu bulamu. Naye endowooza ng’eyo si ntuufu. Okutuuka ku buwanguzi mu bulamu tekisinziira ku nkizo ki gy’olina oba wa gy’oweerereza Yakuwa, wabula kisinziira ku bwesigwa bwo gy’ali.”

Ow’oluganda omu yamala emyaka egisukka mu kkumi ng’aluubirira enkizo ey’okufuuka omukadde. Ow’oluganda oyo alina kye yayiga mu ebyo ebyogerwako mu Ezeekyeri essuula 1. Yagamba nti: “Yakuwa avuga eggaali lye, ekibiina kye, ku sipiidi gy’ayagala. Ekisinga obukulu kwe kuleka Yakuwa okukola ebintu mu kiseera kye. Ne bwe kituuka ku kulondebwa okuweereza ng’omukadde, ekikulu si ky’ekyo kye njagala oba ekyo kye nnandyagadde okuba, kubanga ekyo kye njagala, Yakuwa ayinza okuba ng’alaba nti si kye nneetaaga.”

Bw’oba oyagala okuweereza ng’omukadde, baako ky’okolawo okuyamba ekibiina kyo okubaamu essanyu. Bw’oba owulira nti oluddewo okufuna enkizo gy’oyagala, ekyo tokikkiriza kukumalamu maanyi era fuba okwoleka obugumiikiriza. Raymond, eyayogeddwako waggulu, agamba nti: “Okululunkanira ekintu kiyinza okukulemesa okuba omumativu. Abo abalulunkanira enkizo, tebatera kuba basanyufu nga baweereza Yakuwa.” Fuba okukulaakulanya engeri eziri mu kibala ky’omwoyo, nnaddala obugumiikiriza. Fuba okweyongera okukula mu by’omwoyo, nga weesomesa Bayibuli. Fuba okwongera ku biseera by’omala ng’obuulira amawulire amalungi n’okuyigiriza abantu Bayibuli. Fuba okuyamba ab’omu maka go okwenyigira mu bintu eby’omwoyo n’okuba n’okusinza kw’amaka. Yagala nnyo okubeera awamu ne bakkiriza banno. Bw’onookola bw’otyo, ojja kunyumirwa obuweereza bwo nga bw’olindirira okutuuka ku nkizo gy’oyagala.

Yakuwa ayagala abantu be okuluubirira enkizo mu kibiina, era Yakuwa awamu n’ekibiina kye tebaagala abo abaluubirira enkizo mu kibiina kuggweebwako ssanyu wadde okuggwaamu amaanyi nga bamuweereza. Katonda ayamba abo bonna abamuweereza mu bwesimbu era abawa emikisa. Emikisa gyonna Yakuwa gy’agaba ‘tagiggattako buyinike.’Nge. 10:22.

Ka kibe nti omaze ebbanga ddene ng’olina enkizo gy’oluubirira, olina bingi by’osobola okukola okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo. Bw’onoofuba okukulaakulanya engeri ennungi, okunyiikirira okukola emirimu egikuweebwa mu kibiina, ate nga tosudde muguluka amaka go, Yakuwa tajja kwerabira ebyo byonna by’okola ng’omuweereza. Bulijjo weeyongere okuweereza Yakuwa n’essanyu, k’obe ng’olina nkizo ki mu kibiina.

^ lup. 2 Amannya mu kitundu kino gakyusiddwa.

^ lup. 8 Emisingi egiragiddwa mu kitundu kino gikwata ne ku abo abaagala okuba abaweereza mu kibiina. Ebisaanyizo bye balina okutuukiriza biri mu 1 Timoseewo 3:8-10, 12, 13.