Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebigambo bya Dawudi ebiri mu Zabbuli 37:25 n’ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 6:33 bitegeeza nti Yakuwa tasobola kuleka Mukristaayo n’aba nga talina mmere emumala?

Dawudi yagamba nti yali ‘talabangako mutuukirivu ng’alekeddwa, newakubadde ezzadde lye nga basaba emmere.’ Dawudi yayogera ebigambo ebyo ng’asinziira ku ebyo bye yali ayiseemu. Yali akimanyi bulungi nti Katonda afaayo nnyo ku baweereza be. (Zab. 37:25) Kyokka, ebigambo bye ebyo tebitegeeza nti tewali muweereza wa Yakuwa eyali abuliddwa ku mmere oba nti ekyo tekisobola kubaawo.

Ebiseera ebimu ne Dawudi kennyini yayolekagana n’embeera enzibu. Lumu bwe yali adduka Sawulo, emmere gye yalina yakendeera bw’atyo n’asaba emmere, ye n’abo abaali naye gye bandiridde. (1 Sam. 21:1-6) N’olwekyo ku mulundi ogwo, Dawudi ‘yasaba emmere.’ Naye ne bwe yali mu mbeera enzibu, yali akimanyi nti Yakuwa tasobola kumwabulira. Era tewali wonna Bayibuli w’eragira nti Dawudi yatuuka okusabiriza emmere.

Mu Matayo 6:33, Yesu yalaga nti Katonda akola ku byetaago by’abaweereza be abeesigwa abakulembeza Obwakabaka mu bulamu bwabwe. Yagamba nti: “Musooke munoonyenga obwakabaka n’obutuukirivu bwe, era ebintu ebirala byonna [omuli eby’okulya, eby’okunywa, n’eby’okwambala] biribongerwako.” Naye era Yesu yalaga nti okuyigganyizibwa kwandiviiriddeko “baganda” be okulumwa enjala. (Mat. 25:35, 37, 40) Ekyo kyennyini kye kyatuuka ku mutume Pawulo. Ebiseera ebimu yabulwanga eby’okulya n’eby’okunywa.2 Kol. 11:27.

Bayibuli eraga nti abaweereza ba Katonda bandiyigganyiziddwa mu ngeri ezitali zimu. Yakuwa asobola okutuleka okubulwa ebintu ebimu ng’ayagala okulaga nti ebyo Sitaani bye yayogera byali bya bulimba. (Yob. 2:3-5) Ng’ekyokulabirako, abamu ku Bakristaayo bannaffe abaasibibwa mu nkambi z’Abanazi, baayigganyizibwa nnyo. Oluusi baagaananga n’okubawa emmere emala nga baagala balekere awo okuba abeesigwa eri Yakuwa. Abajulirwa ba Yakuwa bangi baasigala nga beesigwa eri Yakuwa era teyabaabulira. Nga Yakuwa bw’asobola okuleka Omukristaayo yenna okufuna ebizibu ebitali bimu, n’ab’oluganda abo yabaleka okuyita mu kugezesebwa okwo. Naye tewali kubuusabuusa nti Yakuwa ayamba abo bonna ababonaabona olw’erinnya lye. (1 Kol. 10:13) Bulijjo tusaanidde okujjukira ebigambo ebiri mu Abafiripi 1:29, awagamba nti: “Mwaweebwa enkizo, si ey’okukkiriza Kristo yokka naye era n’ey’okubonaabona ku lulwe.”

Yakuwa asuubiza okuyamba abaweereza be. Isaaya 54:17 wagamba nti: “Tewaabenga kyakulwanyisa kye baliweesa okulwana naawe ekiriraba omukisa.” Ekisuubizo ekyo n’ebirala ebiri ng’ebyo biraga nti Yakuwa tasobola kukkiriza baweereza be ng’ekibiina kusaanyizibwawo. Wadde kiri kityo, buli omu ku Bakristaayo ayinza okwolekagana n’okugezesebwa okw’amaanyi ennyo, oboolyawo n’atuuka n’okuttibwa.