Beewaayo Kyeyagalire—Mu Taiwan
OW’OLUGANDA Choong Keon ne mukyala we Julie, abali mu myaka 30, baali baweereza nga bapayoniya aba bulijjo mu Sydney, Australia. Choong Keon agamba nti: “Twalina omulimu ogutaali gwa kiseera kyonna era twali bulungi mu by’enfuna. Gye twali tubeera embeera y’obudde yali nnungi nnyo. Twali tubeera kumpi n’ab’eŋŋanda zaffe ne mikwano gyaffe.” Wadde kyali kityo, Choong Keon ne Julie baali bawulira ng’omuntu waabwe ow’omunda tateredde bulungi. Lwaki? Kubanga baali bakimanyi nti embeera yaabwe yali ebasobozesa okugaziya ku buweereza bwabwe naye ng’ekyo tebannakikola.
Bwe baali ku lukuŋŋaana olunene olwaliwo mu 2009, waliwo emboozi eyaweebwa eyabakwatako ennyo. Ebigambo ow’oluganda eyawa emboozi eyo bye yayogera byali byolekezeddwa abo abasobola okugaziya ku buweereza bwabwe. Yagamba nti: “Mulowooze ku kino: Omuvuzi w’emmotoka okusobola okuweta emmotoka n’edda ku mukono ogwa kkono oba ogwa ddyo emmotoka eyo erina okuba ng’etambula. Mu ngeri y’emu, Yesu asobola okutuyamba okugaziya ku buweereza bwaffe singa tuba tutambula, kwe kugamba, nga tulina kye tukolawo okutuuka ku biruubirirwa byaffe.” * Choong Keon ne Julie baawulira nga gy’obeera omwogezi yali agamba bo. Ku lukuŋŋaana olwo lwennyini, waliwo omwami n’omukyala abaweereza ng’abaminsani mu Taiwan abaabuuzibwa ebibuuzo. Baayogera ku ssanyu lye bafunye mu buweereza bwabwe era ne bakiraga nti waaliwo obwetaavu bwa maanyi obw’ababuulizi mu nsi eyo. Choong Keon ne Julie baawulira ng’ebigambo ebyo nabyo ebyali byolekezeddwa bo.
Julie agamba nti: “Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olwo, twasaba Yakuwa atuyambe okufuna obuvumu tusobole okugenda okuweereza mu Taiwan.” Agattako nti: “Kyokka twawulira nga tutiddemu. Twawulira ng’omuntu atawugangako agenda okubuuka agwe mu kidiba eky’amazzi amawanvu.” Ekyawandiikibwa ekyabayamba okugwamu okutya ky’ekyo ekiri mu Omubuulizi 11:4, awagamba nti: “[Atunuulira] embuyaga talisiga; n’oyo atunuulira ebire talikungula.” Choong Keon agamba nti: “Twasalawo okulekera awo ‘okutunuulira embuyaga n’ebire’ ne tutandika ‘okusiga n’okukungula.’” Baasaba nnyo Yakuwa, baasoma ebikwata ku baminsani abatali bamu, beebuuza ku abo abaali baatandika edda okuweereza mu Taiwan, baatunda emmotoka ze baalina n’ebintu byabwe eby’omu nnyumba, era oluvannyuma lw’emyezi esatu baagenda e Taiwan.
ESSANYU ERIVA MU MULIMU GW’OKUBUULIRA
Baganda baffe ne bannyinaffe abasukka mu 100 okuva mu Australia, Bungereza, Canada, Bufalansa, Japan, Korea, Spain, ne Amerika be baweereza mu Taiwan awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Ab’oluganda abo bali wakati w’emyaka 21 ne 73. Mu bo mulimu bannyinaffe abali obwannamunigina abasukka mu 50. Kiki ekiyambye baganda baffe ne bannyinaffe abo okugenda okuweereza mu nsi endala? Ka tulabe.
Laura, mwannyinaffe ali obwannamunigina eyava mu Canada, aweereza nga payoniya mu bugwanjuba bwa Taiwan. Kyokka emyaka nga kkumi emabega, yali tayagala mulimu gwa kubuulira. Laura agamba nti: “Olw’okuba nnamalanga ekiseera kitono nga mbuulira sanyumirwanga mulimu gwa kubuulira era saalina bumanyirivu.” Lumu mikwano gye ab’omu Canada baamusaba agendeko nabo mu Mexico babuulire okumala omwezi gumu. Laura agamba nti: “Ogwo gwe mulundi gwe nnasooka okumala ekiseera ekiwanvu nga mbuulira era nnanyumirwa nnyo!”
Essanyu Laura lye yafuna lyamuleetera okwagala okuweereza mu kibiina ekyogera olulimi olulala mu Canada. Yatandika okuyiga Olucayina, ne yeegatta ku kibinja eky’Olucayina, era ne yeeteerawo ekiruubirirwa eky’okugenda okuweereza mu Taiwan. Ekiruubirirwa ekyo yakituukako mu Ssebutemba 2008. Laura agamba nti: “Kyantwalira omwaka nga gumu okumanyiira embeera y’omu Taiwan, naye kati mpulira nga saagala na kuddayo Canada.” Laura atwala atya omulimu gw’okubuulira? Agamba nti: “Kati nnyumirwa nnyo okubuulira. Okuyamba abantu okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’okulaba nga bakola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe, kireeta essanyu lingi. Okuweereza mu Taiwan kindeetedde essanyu eritagambika.”
OBUTAMANYA BULUNGI LULIMI
Brian ne mukyala we Michelle, abalina emyaka nga 35, baava mu Amerika ne bagenda okuweereza mu Taiwan era nga kati bamazeeyo emyaka nga munaana. Mu kusooka baawulira ng’abatalina kya maanyi kye bakola mu mulimu gw’okubuulira. Naye omuminsani omu yabagamba nti: “Ne bw’oba ng’owadde buwi muntu tulakiti, kiyinza okuba nti ogwo gwe mulundi ogusoose omuntu oyo okufuna obubaka obukwata ku Yakuwa. N’olwekyo, mulina kinene kye mukola mu mulimu gw’okubuulira!” Ebigambo ebyo byayamba Brian ne Michelle obutalekulira. Ow’oluganda omulala yabagamba nti: “Okusobola okwewala okuggwaamu amaanyi nga muyiga Olucayina, temwepimira ku ebyo bye muba muyize buli lunaku wabula mwepimire ku ebyo bye muba muyize okuva ku lukuŋŋaana olunene okutuuka ku lulala.” Mu butuufu, Brian ne Michelle beeyongera okuyiga Olucayina era kati bapayoniya balungi nnyo.
Kiki ekiyinza okukukubiriza okuyiga olulimi olulala? Gezaako okugendako mu nsi endala gy’oyagala okuweerereza, obeereko mu nkuŋŋaana zaabwe, ofube okubeerako awamu n’ab’oluganda ab’omu kitundu, era ofube okubuulirako awamu nabo. Brian agamba nti: “Bw’onookiraba nti abantu bangi baagala okuwulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka era n’olaba okwagala okw’amaanyi ab’oluganda kwe balina, ojja kwagala okugenda okuweereza mu nsi endala.”
EMIRIMU
Bangi ku abo abaagenda okuweereza mu Taiwan basobodde okweyimirizaawo nga basomesa Olungereza. Kristin ne Michelle bo batunda byennyanja. Kristin agamba nti: “Nnali sikolangako mulimu guno, naye gunsobozesa okweyimirizaawo nga mpeereza mu nsi eno.” Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, Kristin yafuna bakasitoma ab’enkalakkalira. Omulimu ogwo ogutali gwa kiseera kyonna gusobozesa Kristin okweyimirizaawo ne mukyala we, era gubasobozesa okuba n’ebiseera ebimala okuweereza nga bapayoniya, nga bavuba abantu.
MUNYUMIRWE OBUWEEREZA BWAMMWE
William ne mukyala we Jennifer, abaava mu Amerika, bamaze emyaka nga musanvu nga baweereza mu Taiwan. William agamba nti: “Okuyiga olulimi olulala, okuweereza nga bapayoniya, okukola emirimu egitali gimu mu kibiina, awamu n’okunoonya ssente okweyimirizaawo oluusi kinkooya nnyo.” Kiki ekibayambye okweyongera okuweereza n’essanyu? Beeteerawo ebiruubirirwa bye basobola okutuukako. Ng’ekyokulabirako, olw’okuba baali tebasuubira kuyiga Lucayina mangu nnyo, kyabayamba obutaggwaamu maanyi nga baluyiga.
William ajjukira ebigambo bino omulabirizi w’ekitundu bye yamugamba: “Munyumirwe obuweereza bwammwe.” Mu ngeri endala yali akiraga nti bwe tumala okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo, tusaanidde okunyumirwa ebyo byonna bye tukola okutuuka ku biruubirirwa ebyo. William agamba nti okukolera ku magezi ago kyamuyamba ye ne mukyala we obutaba bakakanyavu, okukolera ku magezi abakadde b’omu kitundu ge babawa, n’okukola enkyukakyuka ezeetaagisa okusobola okukola obulungi omulimu gw’okubuulira mu nsi eyo. Agattako nti: “Ekyo kyatuyamba okufunangayo ebiseera okunyumirwa okutunuulira ebitonde ebirabika obulungi ebiri ku kizinga kwe tuli.”
Okufaananako William ne Jennifer, Megan, mwannyinaffe ali obwannamunigina aweereza nga payoniya eyava mu Amerika, naye anyumirwa obuweereza bwe ng’eno bw’afuba okuyiga Olucayina. Buli wiikendi Megan agenda n’ababuulizi abalala okubuulira e Kaohsiung, omwalo ogusingayo obunene mu Taiwan. Megan asobodde okutuusa amawulire amalungi ku bantu abatali bamu ababa ku mmeeri era asobodde okubuulira abavubi abava mu Bangladesh, India, Indonesia, Philippines, Thailand, ne Vanuatu. Agamba nti: “Okuva bwe kiri nti abavubi bamala ekiseera kitono ku mwalo, tutandikirawo okubayigiriza Bayibuli. Okusobola okutuuka ku bantu bangi nga bwe kisoboka, ntera okuyigiriza abantu nga bana oba bataano omulundi gumu.” Kati Megan atuuse wa mu kuyiga Olucayina? Agamba nti: “Wadde nga nnandyagadde okuyiga Olucayina ku sipiidi, ntera okujjukira ebigambo ow’oluganda omu bye yaŋŋamba, ‘Kola kyonna ky’osobola, ebirala obirekere Yakuwa.’”
GYE BASOBOLA OKUWEEREREZA OBULUNGI
Cathy, enzaalwa ya Bungereza, bwe yali tannagenda kuweereza mu nsi ndala, yasooka kunoonyereza asobole okumanya nsi ki omukazi ali obwannamunigina gy’asobola okuweerereza obulungi. Ensonga eyo yagitegeezaako Yakuwa era ne yeebuuza ku ofiisi z’amatabi ezitali zimu. Oluvannyuma lw’okwetegereza ebyo byonna bye baamuddamu, yakiraba nti Taiwan ye nsi gye yali asobola okugenda okuweerereza.
Mu 2004, nga wa myaka 31, Cathy yagenda okuweereza mu Taiwan. Cathy agamba nti: “Nnasaba ab’oluganda okundagirira gye batunda ebibala n’eby’okulya ebirala eby’ebbeeyi entonotono. Ekyo kyannyamba okukekkereza ssente.” Agattako nti: “Ntera okusaba Yakuwa annyambe okuba omumativu n’emmere gye nfuna awamu n’engoye ezitali za bbeeyi ze nnina. Nkirabye nti Yakuwa azzeemu essaala zange kubanga annyambye okumanya ebyo ddala bye nneetaaga mu bulamu n’okuba omumativu n’ebyo bye nnina.” Cathy era agamba nti: “Nnyumirwa okuba mu bulamu buno kubanga bunsobozesa okwemalira ku bintu eby’omwoyo.”
Obulamu Cathy bw’alimu bumusanyusa nnyo. Lwaki? Agamba nti: “Mu kitundu mwe mbuulira mulimu abantu bangi abaagala okuwulira amawulire amalungi, era ekyo kindeetera essanyu lingi!” We yatuukira mu Taiwan ekibuga mw’aweerereza mwalimu ebibiina by’Olucayina bibiri byokka naye kati mulimu ebibiina musanvu. Cathy agamba nti: “Okulaba engeri amazima gye gazze gakulamu mu kitundu kino, kindeetedde essanyu lingi!”
“NANGE BAALI BANNEETAAGA!”
Choong Keon ne Julie, ebintu bibagendedde bitya? Okuva bwe kiri nti mu kusooka Choong Keon yali tamanyi bulungi Lucayina, yali awulira nga si wa mugaso nnyo mu kibiina. Naye bo ab’oluganda baali balaba nga wa mugaso nnyo. Choong Keon agamba nti: “Ekibiina kyaffe bwe kyayawulwamu ebibiina bibiri, nnaweebwa obuvunaanyizibwa bungi wadde nga nnali nkyali muweereza. Mu kiseera ekyo, nnawulira nga ddala ndi mu kitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Ekyo kyandeetera okuwulira nti nange baali banneetaaga!” Leero Choong Keon aweereza ng’omukadde mu kibiina. Julie agamba nti: “Tuwulira essanyu lye tutawulirangako. Twajja wano kuyamba naye tuwulira nti ffe tuyambiddwa. Twebaza nnyo Yakuwa olw’okutukkiriza okumuweerereza wano!”
Mu nsi nnyingi wakyaliyo obwetaavu bwa maanyi obw’ababuulizi. Onootera okumaliriza emisomo gyo era nga weebuuza engeri gy’onookozesaamu obulamu bwo? Oli bwa nnamunigina era ng’oyagala okweyongera okuba ow’omugaso mu kibiina kya Yakuwa? Wandyagadde ab’omu maka go babe n’ebintu bingi bye bannajjukira mu biseera eby’omu maaso ebikwata ku buweereza bwabwe eri Yakuwa? Wawummula ku mulimu, era ng’osobola okutendeka abalala mu bintu ebitali bimu? Ba mukakafu nti bw’onoogaziya ku buweereza bwo ng’oweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako, ojja kufuna emikisa mingi.
^ par. 3 Laba ekitabo “Bearing Thorough Witness” About God’s Kingdom, essuula 16, akatundu 5-6.