Tulina Okuba Abatukuvu mu Nneeyisa Yaffe Yonna
“Mubeerenga batukuvu mu nneeyisa yammwe yonna.”—1 PEET. 1:15.
1, 2. (a) Kiki Yakuwa ky’asuubira mu bantu be? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?
OMUTUME Peetero yajuliza ebyo ebiri mu kitabo ky’Eby’Abaleevi n’akiraga nti Abakristaayo balina okuba abatukuvu mu nneeyisa yaabwe. (Soma 1 Peetero 1:14-16.) Yakuwa, Katonda “Omutukuvu,” asuubira abaafukibwako amafuta ‘n’ab’endiga endala’ okukola kyonna ekisoboka okuba abatukuvu mu nneeyisa yaabwe yonna.—Yok. 10:16.
2 Okwetegereza ebintu ebirala ebiri mu kitabo ky’Eby’Abaleevi kijja kutuganyula nnyo. Era okukolera ku ebyo bye tunaayiga kijja kutuyamba okuba abatukuvu mu nneeyisa yaffe yonna. Mu kitundu kino, tugenda kufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bino: Tusaanidde kutwala tutya okwekkiriranya? Ebyo ebiri mu kitabo ky’Eby’Abaleevi bituyigiriza ki ku kuwagira obufuzi bwa Yakuwa? Kiki kye tuyigira ku ssaddaaka Abaisiraeri ze baawangayo?
WEEWALE OKWEKKIRIRANYA
3, 4. (a) Lwaki Abakristaayo balina okwewala okwekkiriranya bwe kituuka ku mateeka n’emisingi gya Bayibuli? (b) Lwaki tusaanidde okwewala okuwoolera eggwanga oba okusiba ekiruyi?
3 Okusobola okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa, tulina okunywerera ku mateeka ge n’emisingi gye, era ne twewala okwekkiriranya. Wadde nga tetuli wansi w’Amateeka ga Leev. 19:18.
Musa, ebyo ebigalimu bisobola okutuyamba okutegeera ekyo ekikkirizibwa n’ekyo ekitakkirizibwa mu maaso ga Katonda. Ng’ekyokulabirako, Abaisiraeri baagambibwa nti: “[Towooleranga] ggwanga, so tobanga na nge yonna eri abaana b’abantu bo, naye onooyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka: Nze Mukama.”—4 Yakuwa ayagala twewala okuwoolera eggwanga, era ayagala twewale okusiba ekiruyi. (Bar. 12:19) Singa tusambajja amateeka ga Katonda n’emisingi gye, kijja kusanyusa Sitaani era kiyinza n’okuleeta ekivume ku linnya lya Katonda. Ka kibe nti waliwo omuntu atukoze ekibi mu bugenderevu, tetusaanidde kusiba kiruyi. Katonda atuwadde enkizo okuba ‘ebibya eby’ebbumba’ omuli eby’obugagga, nga buno bwe buweereza bwaffe. (2 Kol. 4:1, 7) Tetwagala kukuumira busungu, obulinga asidi, mu bibya ebyo!
5. Kiki kye tuyigira ku ebyo ebyaliwo nga batabani ba Alooni bafudde? (Laba ekifaananyi ku lupapula 13.)
5 Eby’Abaleevi 10:1-11 woogera ku mbeera eyaleetawo ennaku ey’amaanyi mu maka ga Alooni. Yakuwa yasindika omuliro okuva mu ggulu ne gwokya batabani ba Alooni babiri, Nadabu ne Abiku, ku weema entukuvu. Oluvannyuma Yakuwa yalagira Alooni n’ab’omu maka ge obutakungubaga. Ng’ekyo kiteekwa okuba nga kyagezesa nnyo okukkiriza kwabwe. Naawe okiraga nti oli mutukuvu nga weewala okukolagana n’ab’eŋŋanda zo oba abantu abalala ababa bagobeddwa mu kibiina?—Soma 1 Abakkolinso 5:11.
6, 7. (a) Singa oyitibwa okubaawo ku mukolo gw’okugatta abagole mu kkanisa oba mu kkereziya, bintu ki ebikulu by’osaanidde okulowoozaako? (Laba obugambo obuli wansi.) (b) Tuyinza tutya okunnyonnyola ab’eŋŋanda zaffe abatali bakkiriza ennyimirira yaffe ku mikolo gy’okugatta abagole egiba mu kkanisa oba mu kkereziya?
6 Ffe tuyinza obutatuuka mu mbeera ng’eyo Alooni n’ab’omu maka ge gye baalimu. Naye watya singa tuyitibwa okugenda ku mukolo ng’omu ku b’eŋŋanda zaffe atali muweereza wa Yakuwa agenda kugattibwa mu bufumbo naye ng’omukolo gwa kuba mu kkanisa oba mu kkereziya? Kyo kituufu nti tewali tteeka mu Byawandiikibwa lyogera butereevu ku nsonga eyo, naye waliwo emisingi egisobola okutuyamba okusalawo obulungi ku nsonga eyo. *
7 Okunywerera ku misingi gya Yakuwa mu mbeera eyo kiyinza okuleetera ab’eŋŋanda zaffe abatali bakkiriza okusoberwa. (1 Peet. 4:3, 4) Kya lwatu nti tetwagala kubanyiiza. Bwe kityo tusaanidde okwogera nabo mu ngeri ey’ekisa era ne tubannyonnyola bulungi ennyimirira yaffe. Kiba kirungi okwogerako nabo ku nsonga eyo nga bukyali. Tuyinza okusooka okubeebaza olw’okutuyita ku mukolo ogwo. Oluvannyuma tusobola okubagamba nti twagala omukolo gwabwe gutambule bulungi era nti tetwagala kubaswaza mu maaso g’abagenyi baabwe nga tetwenyigidde mu mikolo gy’eddiini yaabwe. Okukola ekyo kiyinza okutuyamba okwewala okwekkiriranya.
WAGIRA OBUFUZI BWA YAKUWA
8. Ekitabo ky’Eby’Abaleevi kiraga kitya nti Yakuwa y’agwanidde okuba Omufuzi waffe?
8 Ekitabo ky’Eby’Abaleevi kiraga nti Yakuwa y’agwanidde okuba Omufuzi waffe. Emirundi egisukka mu 30, ekitabo ky’Eby’Abaleevi kiraga nti amateeka agakirimu gava eri Yakuwa. Ekyo Musa yali akimanyi bulungi era yakola byonna Yakuwa bye yalagira. (Leev. 8:4, 5) Naffe bulijjo tusaanidde okukola ebyo Omufuzi waffe, Yakuwa, by’ayagala tukole. Mu nsonga eyo, ekibiina kya Yakuwa kisobola okutuyamba. Wadde kiri kityo, okusingira ddala okukkiriza kwaffe kugezesebwa nga tuli ffekka, nga bwe kyali ne ku Yesu ng’ali mu ddungu. (Luk. 4:1-13) Bwe tuba nga ddala tuli bamalirivu okuwagira obufuzi bwa Katonda era nga tumwesiga, tetujja kukkiriza muntu yenna oba kintu kyonna, gamba ng’okutya, okutuleetera okwekkiriranya ne tumenya amateeka ga Katonda.—Nge. 29:25.
9. Lwaki abantu ba Katonda bakyayibwa mu mawanga gonna?
9 Olw’okuba tuli bagoberezi ba Kristo era nga tuli Bajulirwa ba Yakuwa, tuyigganyizibwa mu mawanga gonna. Ekyo tekyewuunyisa, kubanga Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Abantu balibawaayo mubonyaabonyezebwe, balibatta, era mulikyayibwa amawanga gonna ku lw’erinnya lyange.” (Mat. 24:9) Wadde kiri kityo, tweyongera okubuulira n’okukiraga nti tuli batukuvu mu maaso ga Yakuwa. Naye lwaki abantu abamu batukyawa, ate nga tuli bantu beesigwa, tweyisa bulungi, era nga tufuba okugondera ab’obuyinza? (Bar. 13:1-7) Batukyawa olw’okuba Yakuwa ye Mufuzi waffe! Yakuwa “ye yekka” gwe tusinza era tuli bamalirivu okunywerera ku mateeka ge n’emisingi gye.—Mat. 4:10.
10. Kiki ekyaliwo ow’oluganda omu bwe yekkiriranya mu kiseera kya Ssematalo II?
10 Ate era olw’okuba ‘tetuli ba nsi,’ tetwenyigira mu ntalo na mu bya bufuzi. (Soma Yokaana 15:18-21; Isaaya 2:4.) Kyokka waliwo abamu ku baweereza ba Katonda abekkiriranya bwe kituuka ku nsonga eyo. Bangi ku bo beenenya ne baddamu okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu era omusaasizi. (Zab. 51:17) Naye abamu ku bo tebeenenya. Ng’ekyokulabirako, mu kiseera kya Ssematalo II, waliwo bakkiriza bannaffe mu Hungary abaasibibwa mu makomera awatali musango. Oluvannyuma ab’obuyinza baalondamu bakkiriza bannaffe 160 abaali wansi w’emyaka 45 ne babalagira okuyingira amagye. Abasinga obungi ku bo baagaana okuyingira amagye, naye mwenda ku bo bakkiriza okugayingira. Oluvannyuma lw’emyaka ebiri, omu ku abo abekkiriranya yeesanga nga y’omu ku abo abaakwasibwa omulimu gw’okutta Abajulirwa ba Yakuwa abaali basigadde nga beesigwa. Mu abo abaalina okuttibwa mwalimu ne muganda we ow’omusaayi! Kyokka oluvannyuma eky’okutta Abajulirwa ba Yakuwa abo kyasazibwamu.
WA YAKUWA EKYO EKISINGAYO OBULUNGI
11, 12. Kiki kye tuyigira ku ssaddaaka ezaaweebwangayo mu Isiraeri?
11 Okusinziira ku Mateeka ga Musa, Abaisiraeri baalinanga okuwaayo ssaddaaka ezitali zimu. (Leev. 9:1-4, 15-21) Ssaddaaka ezo tezaalina kubaako kamogo olw’okuba zaali zisonga ku ssaddaaka ya Yesu etuukiridde. Kyokka waliwo ebintu ebyalinanga okugobererwa nga bawaayo ssaddaaka ezo. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ekyo omukazi eyabanga azadde omwana kye yalinanga okukola. Eby’Abaleevi 12:6 wagamba nti: “Awo ennaku ez’okutukuzibwa kwe bwe ziggwanga, ez’ow’obulenzi, oba za wa buwala, anaaleetanga omwana gw’endiga ogw’omwaka ogw’olubereberye okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n’ejjiba etto, oba kaamukuukulu, okuba ekiweebwayo olw’ekibi, ku mulyango gw’eweema ey’okusisinkaniramu, eri kabona.” Abo abaawangayo ssaddaaka, Katonda yalina ebintu bye yali abeetaagisa. Wadde kyali kityo teyali mukakanyavu. Singa omukazi eyabanga azadde yali tasobola kuwaayo ndiga, yakkirizibwanga okuwaayo amayiba amato abiri oba bukaamukuukulu bubiri. (Leev. 12:8) Wadde nga yabanga mwavu, Yakuwa yamwagalanga era yamusiimanga nga bwe yasiimanga abo abaawangayo endiga. Ekyo kituyigiriza ki?
12 Omutume Pawulo yakubiriza bakkiriza banne okuwaayo eri Katonda ‘ssaddaaka ey’okutendereza.’ (Beb. 13:15) Tusaanidde okukozesa emimwa gyaffe okwatula mu lujjudde erinnya lya Yakuwa ettukuvu. Baganda baffe ne bannyinaffe bakiggala batendereza Yakuwa nga bakozesa olulimi lwa bakiggala. Bakkiriza bannaffe abatasobola kuva waka batendereza Yakuwa nga babuulira abo ababakyalira, oba nga bakozesa amabaluwa n’amasimu. Ssaddaaka ez’okutendereza ze tuwaayo eri Yakuwa zisinziira ku mbeera y’obulamu bwaffe ne ku busobozi bwaffe. Naye kikulu okukijjukira nti ekyo kye tuwaayo eri Yakuwa, kirina okuba nga kye kisingayo obulungi.—Bar. 12:1; 2 Tim. 2:15.
13. Lwaki tusaanidde okuwaayo alipoota zaffe ez’obuweereza buli mwezi?
13 Ssaddaaka ez’okutendereza ze tuwaayo eri Yakuwa tuziwaayo kyeyagalire olw’okuba tumwagala. (Mat. 22:37, 38) Wadde kiri kityo, ffenna tusabibwa okuwaayo alipoota zaffe ez’obuweereza buli mwezi. Kati olwo eky’okuwaayo alipoota z’obuweereza twandikitutte tutya? Bwe tuwaayo alipoota buli mwezi kiraga nti twemalidde ku Katonda. (2 Peet. 1:7) Kya lwatu nti tetusaanidde kwekaka kumala biseera bingi nga tubuulira olw’okwagala obwagazi okufuna essaawa ennyingi ez’okuteeka ku alipoota y’obuweereza. Mu butuufu, singa omubuulizi tasobola kumala ssaawa nnyingi ng’abuulira olw’okuba akaddiye oba olw’okuba mulwadde, aba asobola n’okuwaayo eddakiika 15. Olw’okuba ekyo kye kiba kisingayo obulungi omubuulizi oyo ky’aba asobodde okuwaayo, Yakuwa akisiima nnyo. Ate era Yakuwa akimanyi nti abaweereza be bamwagala era baagala nnyo okuba Abajulirwa be. Okufaananako Abaisiraeri abaavu abaawangayo ebiweebwayo eri Yakuwa wadde nga tebaabanga na bingi, ne leero n’abo abalina obusobozi obutono basobola okuwaayo alipoota era ne baba basanyufu. Alipoota ze tuwaayo zigattibwa wamu era ekyo kiyamba ekibiina kya Yakuwa okuteekateeka obulungi omulimu ogw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna. Eyo ye nsonga lwaki ffenna tukubirizibwa okuwaayo alipoota zaffe ez’obuweereza buli mwezi.
OKWESOMESA NE SSADDAAKA EZ’OKUTENDEREZA
14. Lwaki tusaanidde okulowooza ennyo ku ngeri gye twesomesaamu?
14 Oluvannyuma lw’okwetegereza ebimu ku bintu eby’omuwendo ebiri mu kitabo ky’Eby’Abaleevi, oteekwa okuba nga kati otegeera ensonga lwaki ekitabo ekyo kyateekebwa mu Bayibuli. (2 Tim. 3:16) Oteekwa okuba ng’oli mumalirivu okusigala ng’oli mutukuvu olw’okuba Yakuwa ayagala osigale ng’oli mutukuvu era olw’okuba agwanidde okuweebwa ekyo ekisingayo obulungi. Ate era ebyo by’oyize mu kitabo ky’Eby’Abaleevi mu bitundu bino ebibiri biteekwa okuba nga bikuleetedde okwagala okwongera okwekenneenya Ebyawandiikibwa. (Soma Engero 2:1-5.) Kikulu okulowooza ennyo ku ngeri gye weesomesaamu. Kya lwatu nti oyagala ssaddaaka zo ez’okutendereza zisiimibwe mu maaso ga Yakuwa. Kyandiba nti okkirizza ttivi, Intaneeti, eby’emizannyo, oba ebintu ebirala okukulemesa okukulaakulana mu by’omwoyo? Bwe kiba kityo, osaanidde okufumiitiriza ku bigambo by’omutume Pawulo ebiri mu kitabo ky’Abebbulaniya.
15, 16. Lwaki Pawulo yayogera butereevu ku kizibu Abakristaayo Abebbulaniya kye baalina?
15 Bwe yali awandiikira Abakristaayo Abebbulaniya, Pawulo yayogera butereevu ku kizibu kye baalina. (Soma Abebbulaniya 5:7, 11-14.) Yabagamba nti baali bategeera “mpola,” kwe kugamba, baali bafuuse abatawulira bulungi. Lwaki Pawulo yakozesa ebigambo eby’amaanyi bwe bityo? Okufaananako Yakuwa, Pawulo naye yali ayagala nnyo Abakristaayo abo era nga mweraliikirivu olw’okuba baali bakyali ku mata ag’eby’omwoyo. Wadde nga kikulu nnyo okutegeera enjigiriza z’Ekikristaayo ezisookerwako, ffenna twetaaga okulya “emmere enkalubo” okusobola okukula mu by’omwoyo.
16 Mu kifo ky’okukulaakulana batuuke ku ssa ery’okuyigiriza abalala, Abebbulaniya baali bakyetaaga omuntu okubayigiriza. Lwaki? Olw’okuba baali tebaagala kulya ‘mmere nkalubo.’ Weebuuze: ‘Nnina endowooza ennuŋŋamu ku kulya emmere ey’eby’omwoyo enkalubo? Nfuba okugirya? Oba kyandiba nti nneewala okweyabiza Yakuwa mu kusaba n’okusoma ebintu eby’ebuziba ebiri mu Kigambo kya Katonda? Bwe kiba kityo, kyandiba nti obuzibu buva ku ngeri gye nneesomesaamu?’ Ng’oggyeko okubuulira abantu, tusaanidde okubayigiriza n’okubafuula abayigirizwa.—Mat. 28:19, 20.
17, 18. (a) Lwaki tusaanidde okweyongera okulya emmere ey’eby’omwoyo enkalubo? (b) Tusaanidde kutwala tutya eky’okunywa omwenge nga tetunnagenda mu nkuŋŋaana?
17 Kyo kituufu nti abamu ku ffe kiyinza okutuzibuwalira okwesomesa. Ate ne Yakuwa tatukaka kwesomesa. Kyokka ka tube nga tumaze ebbanga ddene nga tuweereza Yakuwa oba nga twakatandika okumuweereza, ffenna tusaanidde okweyongera okulya emmere ey’eby’omwoyo enkalubo. Okukola ekyo kijja kutuyamba okusigala nga tuli batukuvu mu maaso ga Katonda.
18 Okusobola okuba abatukuvu, tusaanidde okufumiitiriza ku Byawandiikibwa era ne tukola ebyo Katonda by’ayagala. Lowooza ku batabani ba Alooni Nadabu ne Abiku, abattibwa olw’okuwaayo omuliro ogutakkirizibwa, oboolyawo ng’ekyo kyava ku kuba nti baali batamidde. (Leev. 10:1, 2) Weetegereze ekyo Katonda kye yagamba Alooni oluvannyuma lwa batabani be okufa. (Soma Eby’Abaleevi 10:8-11.) Ekyo kitegeeza nti bwe tuba tugenda mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo, tetulina kukomba ku mwenge? Lowooza ku nsonga zino: Tetuli wansi wa Mateeka ga Musa. (Bar. 10:4) Mu nsi ezimu, bakkiriza bannaffe bwe baba balya emmere, banywerako omwenge omutonotono, ate ng’ekyo oluusi bakikola banaatera okugenda mu nkuŋŋaana. Ku mbaga y’Okuyitako ebikopo bina eby’envinnyo bye byakozesebwa. Bwe yali atandikawo omukolo gw’Ekijjukizo, Yesu yawa abatume be envinnyo ekiikirira omusaayi gwe. (Mat. 26:27) Bayibuli evumirira okunywa omwenge omungi n’okutamiira. (1 Kol. 6:10; 1 Tim. 3:8) Ate Abakristaayo abamu bawulira nti omuntu waabwe ow’omunda tabakkiriza kunywa ku mwenge nga bagenda okwenyigira mu buweereza obutukuvu obw’engeri yonna. Kyokka tusaanidde okukijjukira nti embeera zaawukana okusinziira ku nsi omuntu mw’ava. Ekikulu kwe kuba nti buli Mukristaayo ‘ayawula ebitukuvu ku bitali bitukuvu, n’ebirongoofu ku bitali birongoofu’ asobole okusigala nga mutukuvu mu maaso ga Katonda.
19. (a) Kiki kye tuyinza okukola okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu kusinza kw’amaka ne mu kwesomesa? (b) Oyinza otya okukiraga nti omaliridde okusigala ng’oli mutukuvu?
19 Waliwo ebintu bingi by’osobola okuzuula singa onyiikirira okusoma Ekigambo kya Katonda. Fuba okukozesa ebitabo ebituyamba okunoonyereza kikuyambe okuganyula mu bujjuvu mu kusinza kw’amaka ne mu kwesomesa. Weeyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’ekigendererwa kye. Weeyongere okusemberera Katonda. (Yak. 4:8) Naawe saba Yakuwa ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Onzibule amaaso gange, ndabe eby’ekitalo ebiva mu mateeka go.” (Zab. 119:18) Fuba okunywerera ku mateeka n’emisingi ebiri mu Bayibuli. Weeyongere okugondera etteeka lya Yakuwa, Katonda “Omutukuvu,” era nnyiikirira omulimu “omutukuvu ogw’okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Katonda.” (1 Peet. 1:15; Bar. 15:16) Kirage nti oli mutukuvu mu nnaku zino embi ez’enkomerero. Ka ffenna tweyongere okuba abatukuvu mu nneeyisa yaffe, bwe kityo tukirage nti tuwagira obufuzi bwa Yakuwa, Katonda omutukuvu.
^ lup. 6 Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjuuni 1, 2002.