Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ensonga Lwaki Tulina Okuba Abatukuvu

Ensonga Lwaki Tulina Okuba Abatukuvu

“Munaabanga batukuvu.”—LEEV. 11:45.

1. Ebyo ebiri mu kitabo ky’Eby’Abaleevi bituganyula bitya?

EKITABO ky’Eby’Abaleevi kyogera ku butukuvu emirundi mingi okusinga ekitabo ekirala kyonna ekya Bayibuli. Okwetegereza ebyo ebiri mu kitabo ky’Eby’Abaleevi kisobola okutuyamba okumanya engeri gye tuyinza okuba abatukuvu.

2. Ebimu ku bintu ebiri mu kitabo ky’Eby’Abaleevi bye biruwa?

2 Ekitabo ky’Eby’Abaleevi, ekyawandiikibwa nnabbi Musa, kye kimu ku ‘Byawandiikibwa’ ebigasa mu kuyigiriza. (2 Tim. 3:16) Okutwalira awamu erinnya lya Katonda, Yakuwa, lirabika emirundi nga kkumi mu buli ssuula y’ekitabo ekyo. Okutegeera ebyo ebiri mu kitabo ky’Eby’Abaleevi kijja kutuyamba okuba abamalirivu okwewala okukola ekintu kyonna ekiyinza okuleeta ekivume ku linnya lya Katonda. (Leev. 22:32) Ebigambo ‘Nze Yakuwa’ ebikozesebwa enfunda n’enfunda mu kitabo ekyo bituyamba okukiraba nti kikulu nnyo okugondera Katonda. Mu kitundu kino n’ekiddako, tugenda kwetegereza ebintu eby’omuwendo ebiri mu kitabo ky’Eby’Abaleevi ebijja okutuyamba okuba abatukuvu nga tusinza Katonda.

KIKULU NNYO OKUBA ABATUKUVU

3, 4. Okunaazibwa kwa Alooni ne batabani be kwali kukiikirira ki? (Laba ekifaananyi waggulu.)

3 Soma Eby’Abaleevi 8:5, 6Yakuwa yalonda Alooni okuba kabona wa Isiraeri asinga obukulu, era batabani be baali ba kuweereza nga bakabona mu Isiraeri. Alooni akiikirira Yesu Kristo ate batabani ba Alooni bakiikirira abagoberezi ba Yesu abaafukibwako amafuta. Kati olwo okunaazibwa kwa Alooni kwali kusonga ku kutukuzibwa kwa Yesu? Nedda. Yesu teyalina kibi era yali “taliiko kamogo.” N’olwekyo yali teyeetaaga kutukuzibwa. (Beb. 7:26; 9:14) Okutukuzibwa kwa Alooni kwali kulaga nti Yesu mulongoofu era mutuukirivu. Ate okunaazibwa kwa batabani ba Alooni kwali kukiikirira ki?

4 Okunaazibwa kwa batabani ba Alooni kwali kukiikirira okulongoosebwa kw’abo abagenda okuweereza nga bakabona mu ggulu. Waliwo akakwate konna wakati w’okubatizibwa kw’abaafukibwako amafuta n’okulongoosebwa kwa batabani ba Alooni? Nedda, kubanga okubatizibwa si kwe kuggyako omuntu ebibi; wabula, kabonero akalaga nti omuntu yeewaddeyo eri Yakuwa Katonda. Abaafukibwako amafuta banaazibwa “okuyitira mu kigambo,” era ekyo kiba kitegeeza nti balina okukolera ku ebyo byonna Kristo bye yayigiriza. (Bef. 5:25-27) Mu ngeri eyo batukuzibwa era balongoosebwa. Ate bo ‘ab’endiga endala’?—Yok. 10:16.

5. Lwaki tuyinza okugamba nti ab’endiga endala balongoosebwa okuyitira mu Kigambo kya Katonda?

5 Batabani ba Alooni tebakiikirira ‘ab’ekibiina ekinene’ eky’abagoberezi ba Yesu ab’endiga endala. (Kub. 7:9) Kati olwo ab’endiga endala nabo batukuzibwa okuyitira mu Kigambo kya Katonda? Yee. Abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi bwe bakkiririza mu ebyo Bayibuli by’eyigiriza ku ssaddaaka ya Yesu, kibakubiriza okuweereza Yakuwa “emisana n’ekiro.” (Kub. 7:13-15) Bulijjo abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala beeyongera okulongoosebwa, era ekyo kibayamba okusigala nga balina “empisa ennungi.” (1 Peet. 2:12) Nga kisanyusa nnyo Yakuwa okulaba abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala nga bayonjo, nga bali bumu, era nga bagondera Omusumba waabwe, Yesu!

6. Lwaki kikulu okwekebera bulijjo?

6 Okuba nti bakabona ba Isiraeri baalina okuba abayonjo kirina kye kiyigiriza abantu ba Yakuwa leero. Abayizi baffe aba Bayibuli batera okukiraba nti ebifo bye tusinzizaamu biba biyonjo era nti naffe tuba bayonjo era nga twambadde bulungi. Kyokka eky’okuba nti bakabona baabanga bayonjo kituyamba okukiraba nti abo bonna abambuka ku lusozi lwa Yakuwa olutukuvu balina okuba nga balina “omutima omulongoofu.” (Soma Zabbuli 24:3, 4; Is. 2:2, 3.) Tulina okuweereza Yakuwa nga tuli bayonjo mu birowoozo ne mu mutima era nga n’emibiri gyaffe miyonjo. Ekyo okusobola okukikola, tulina okwekeberanga bulijjo era ne tukola enkyukakyuka ezeetaagisa okusobola okuba abayonjo. (2 Kol. 13:5) Ng’ekyokulabirako, singa omuntu omubatize alaba ebifaananyi eby’obuseegu mu bugenderevu, aba alina okwebuuza, ‘Ddala nkiraga nti ndi mutukuvu?’ Oluvannyuma aba yeetaaga okufuna obuyambi obwetaagisa okusobola okulekayo omuze ogwo omubi.—Yak. 5:14.

KIRAGE NTI OLI MUTUKUVU NG’OBA MUWULIZE

7. Okusinziira ku ebyo ebiri mu Eby’Abaleevi 8: 22-24, kyakulabirako ki Yesu kye yateekawo?

7 Obwakabona bwe bwali buteekebwawo mu Isiraeri, omusaayi gw’endiga ennume gwasiigibwa ku kutu okwa ddyo, ku kigalo ekisajja ekya ddyo, ne ku kigere ekisajja ekya ddyo ebya Kabona Asinga Obukulu Alooni ne batabani be. (Soma Eby’Abaleevi 8:22-24.) Ekyo kyali kiraga nti bakabona bandifubye okuba abawulize nga bakola emirimu gyabwe. Mu ngeri y’emu, Kabona Asinga Obukulu Yesu yateekawo ekyokulabirako ekirungi eri abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala. Yateganga okutu asobole okuwuliriza obulagirizi bwa Katonda, emikono gye yagikozesanga okukola Katonda by’ayagala, era ebigere bye tebyawaba kuva mu kkubo ery’obutuukirivu.—Yok. 4:31-34.

8. Kiki abaweereza ba Yakuwa bonna kye balina okukola?

8 Abakristaayo abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala balina okuba abeesigwa nga Kabona Asinga Obukulu, Yesu. Abaweereza ba Yakuwa bonna balina okukolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda, baleme kunakuwaza omwoyo gwe omutukuvu. (Bef. 4:30) Balina ‘okutereeza amakubo g’ebigere byabwe.’—Beb. 12:13.

9. Biki ab’oluganda basatu abamaze emyaka mingi nga bakolera wamu n’ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi bye baayogera, era ebyo bye baayogera biyinza bitya okutuyamba okusigala nga tuli batukuvu?

9 Lowooza ku bigambo ab’oluganda basatu abalina essuubi ery’okubeera ku nsi era abamaze emyaka mingi nga bakolera wamu n’ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi bye baayogera. Omu ku bo yagamba nti: “Wadde ng’okukolera awamu n’ab’oluganda abo ebadde nkizo ya maanyi, okukolera awamu nabo kindaze nti, wadde nga baafukibwako amafuta, nabo tebatuukiridde. Wadde kiri kityo, bulijjo mbadde nfuba okugondera ab’oluganda abo abatwala obukulembeze.” Ow’oluganda ow’okubiri agamba nti: “Ebyawandiikibwa gamba nga 2 Abakkolinso 10:5, ebitukubiriza okuba ‘abawulize eri Kristo,’ binnyambye okuba omuwulize n’okuba omwetegefu okukolera awamu n’abo abatwala obukulembeze mu kibiina kya Yakuwa. Nfuba okwoleka obuwulize obuviira ddala ku mutima.” Ow’oluganda ow’okusatu agamba nti: “Bwe tuba ab’okwagala ebyo Yakuwa by’ayagala, okukyawa ebyo by’akyawa, okunoonya obulagirizi bwe, n’okukola ebimusanyusa, tuba tulina okuba abawulize n’eri abo baakozesa okutwala obukulembeze mu kitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kye.” Ow’oluganda oyo ajjukira ekyokulabirako ekirungi Nathan Knorr, oluvannyuma eyaweereza ku Kakiiko Akafuzi, kye yateekawo. Ow’oluganda Knorr yakkiriza ebyo ebyafulumira mu Watch Tower eya 1925 wansi w’omutwe “Okuzaalibwa kw’Eggwanga,” wadde ng’abamu baagaana okubikkiriza. Obuwulize Ow’oluganda Knorr bwe yayoleka bwakwata nnyo ku w’oluganda oyo. Okufumiitiriza ku bigambo ab’oluganda abo abasatu bye baayogera kisobola okutuyamba okuba abawulize eri Katonda, ne tusobola okusigala nga tuli batukuvu.

BA MUTUKUVU NG’OGONDERA ETTEEKA LYA KATONDA ERIKWATA KU MUSAAYI

10. Lwaki kikulu nnyo okugondera etteeka lya Katonda erikwata ku musaayi?

10 Soma Eby’Abaleevi 17:10. Yakuwa yalagira Abaisiraeri obutalya “musaayi gwonna gwonna.” Abakristaayo nabo balina okwewala omusaayi, ka gube gwa nsolo oba gwa bantu. (Bik. 15:28, 29) Tetwagala kukola kintu kyonna ekiyinza okunyiiza Katonda era ekiyinza okumuleetera okutuggya mu kibiina kye. Tumwagala nnyo era twagala okumugondera. Obulamu bwaffe ne bwe buba mu kabi, tuli bamalirivu obutakkiriza bantu abatamanyi Yakuwa era abatafaayo kumugondera kutuleetera kukola bintu bikyamu. Wadde ng’abalala bayinza okutuvuma olw’okwewala omusaayi, tusalawo okugondera Katonda. (Balam. 17, 18) Kiki ekinaatuyamba okuba abamalirivu obutalya musaayi oba obutakkiriza kuteekebwako musaayi?—Ma. 12:23.

11. Lwaki kikulu okulowooza ku ngeri omusaayi gye gwakozesebwangamu ku Lunaku olw’Okutangirirako ebibi?

11 Ekyo kabona wa Isiraeri Asinga obukulu kye yakolanga buli mwaka ku Lunaku olw’Okutangirirako ebibi, kituyamba okutegeera endowooza ya Katonda ku musaayi. Omusaayi gwakozesebwanga mu ngeri ya njawulo nnyo. Gwakozesebwanga okutangirira ebibi by’abo abaabanga baagala okusonyiyibwa Yakuwa. Omusaayi gw’ente ennume n’ogw’embuzi gwamansirwanga mu maaso g’entebe ey’okusaasira oba ekibikka eky’essanduuko y’endagaano. (Leev. 16:14, 15, 19) Ng’asinziira ku musaayi ogwo, Yakuwa yasonyiwanga ebibi by’Abaisiraeri. Ate era Yakuwa yagamba nti singa omuntu yenna yattanga ensolo okugirya, yalinanga okuyiwa omusaayi gwayo n’agubikkako enfuufu, “kubanga obulamu bw’ennyama yonna [buli mu musaayi gwayo].” (Leev. 17:11-14) Ddala kyali kikulu okukolera ku kiragiro ekyo? Yee. Engeri omusaayi gye gwakozesebwangamu ku Lunaku olw’Okutangirirako ebibi n’ekiragiro ekikwata ku kuyiwa omusaayi ku ttaka, bituukana bulungi n’ekiragiro Yakuwa kye yali yawa Nuuwa ne bazzukulu be ekikwata ku musaayi. (Lub. 9:3-6) Yakuwa Katonda yali yagaana abantu okulya omusaayi. Ekyo kikwata kitya ku Bakristaayo leero?

12. Ebbaluwa ya Pawulo eri Abebbulaniya eraga etya akakwate akali wakati w’omusaayi n’okusonyiyibwa ebibi?

12 Bwe yali awandiikira Abakristaayo Abebbulaniya ebbaluwa, Pawulo yalaga akakwate akali wakati w’omusaayi n’okusonyiyibwa ebibi. Yagamba nti: “Kyenkana ebintu byonna bitukuzibwa na musaayi okusinziira ku Mateeka, era awatali kuyiwa musaayi tewabaawo kusonyiyibwa.” (Beb. 9:22) Pawulo era yakiraga nti omusaayi gw’ensolo, wadde nga gwayambanga abantu okusonyiyibwa ebibi, gwajjukizanga Abaisiraeri nti baali boonoonyi era nti baali beetaaga ssaddaaka esingako ez’ensolo esobola okuggirawo ddala ebibi. Mu butuufu, Amateeka gaali ‘kisiikirize busiikirize eky’ebintu ebirungi ebigenda okujja, so si ebintu ebyo byennyini.’ (Beb. 10:1-4) Kati olwo abantu bandisobodde batya okusonyiyibwa ebibi?

13. Okuba nti Yesu yawaayo omuwendo gw’omusaayi gwe eri Yakuwa kikuganyula kitya?

13 Soma Abeefeso 1:7. Okufa kwa Yesu Kristo, ‘eyeewaayo ku lwaffe,’ kuganyula nnyo abo bonna abamwagala era abaagala Kitaawe. (Bag. 2:20) Wadde kiri kityo, ekyo kye yakola oluvannyuma lw’okufa kwe n’okuzuukira kwe, kye kitusobozesa okusonyiyibwa ebibi byaffe. Yesu yatuukiriza ekyo ekyabangawo ku Lunaku olw’Okutangirirako ebibi. Ku lunaku olwo, kabona asinga obukulu yatwalanga ogumu ku musaayi gw’ensolo eyaweebwangayo nga ssaddaaka mu Awasinga Obutukuvu n’aguwaayo eri Katonda. Bwe yayingiranga Awasinga Obutukuvu, yabanga ng’ali mu maaso ga Katonda. (Leev. 16:11-15) Mu ngeri y’emu, Yesu yayingira mu ggulu mwennyini n’awaayo omuwendo gw’omusaayi gwe eri Yakuwa. (Beb. 9:6, 7, 11-14, 24-28) Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti singa tukkiririza mu musaayi gwa Yesu, ebibi byaffe bisobola okusonyiyibwa era nti tusobola okuba n’omuntu ow’omunda omulungi!

14, 15. Lwaki kikulu okutegeera etteeka lya Yakuwa erikwata ku musaayi n’okulikolerako?

14 Kati otegeera bulungi ensonga lwaki Yakuwa atugaana okulya omusaayi ogw’engeri yonna? (Leev. 17:10) Olaba ensonga lwaki omusaayi Katonda agutwala okuba omutukuvu? Omusaayi Katonda agutwala okuba nga gukiikirira obulamu. (Lub. 9:4) Okiraba nti tulina okukkiriza endowooza Katonda gy’alina ku musaayi era ne tugondera ekiragiro kye eky’okugwewala? Bwe tuba ab’okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda tulina okukkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu n’okukitegeera nti omusaayi gwa muwendo nnyo mu maaso ga Katonda.—Bak. 1:19, 20.

15 Buli omu ku ffe ayinza okwesanga mu mbeera nga kimwetaagisa okusalawo ku nsonga y’okuteekebwako omusaayi. Ate era ab’eŋŋanda zaffe oba mikwano gyaffe bayinza okwesanga mu mbeera ng’eyo. Mu butuufu ebiseera ebimu kiyinza okutwetaagisa okusalawo ku bikwata ku butundutundu obuggibwa mu musaayi oba ku bujjanjabi obutali bumu. N’olwekyo, kikulu nnyo okunoonyereza n’okwetegekera ebigwa bitalaze. Bwe tukola tutyo era ne tusaba Yakuwa kijja kutuyamba okunywerera ku kituufu n’okwewala okwekkiriranya. Tetwagala kunyiiza Yakuwa nga tukola ekintu kyonna ekikontana n’Ekigambo kye! Abasawo bangi n’abantu abalala bangi batera okukubiriza abantu okuwaayo omusaayi basobole okutaasa obulamu bw’abalala. Kyokka abantu ba Yakuwa abatukuvu bakimanyi nti Omutonzi yekka y’asaanidde okusalawo engeri entuufu omusaayi gye gulina okukozesebwamu. Katonda atwala omusaayi ogwa buli ngeri okuba nga mutukuvu. Tulina okuba abamalirivu okugondera etteeka lye erikwata ku musaayi. Ate era bwe tweyisa obulungi tuba tukiraga nti tukkiririza mu musaayi gwa Yesu, nga guno gwe musaayi gwokka ogutusobozesa okusonyiyibwa ebibi n’okufuna obulamu obutaggwaawo.—Yok. 3:16.

Oli mumalirivu okugondera etteeka lya Yakuwa erikwata ku musaayi? (Laba akatundu 14, 15)

LWAKI YAKUWA ATUSUUBIRA OKUBA ABATUKUVU

16. Lwaki abantu ba Yakuwa balina okuba abatukuvu?

16 Katonda bwe yali anunula Abaisiraeri okuva mu buddu e Misiri yabagamba nti: “Nze ndi Mukama eyabalinnyisa okuva mu nsi y’e Misiri, okuba Katonda wammwe, kale mmwe munaabanga abatukuvu: kubanga nze ndi mutukuvu.” (Leev. 11:45) Abaisiraeri baalina okuba abatukuvu kubanga Yakuwa mutukuvu. Ng’Abajulirwa ba Yakuwa naffe tulina okuba abatukuvu. Ekyo tukirabira mu ebyo bye tusoma mu kitabo ky’Eby’Abaleevi.

17. Oganyuddwa otya mu ebyo bye tuyize mu kitabo ky’Eby’Abaleevi?

17 Tewali kubuusabuusa nti okwekenneenya ebimu ku ebyo ebiri mu kitabo ky’Eby’Abaleevi kituganyudde nnyo. Oteekwa okuba nga weeyongedde okutegeera ebimu ku bintu ebiri mu kitabo kya Bayibuli ekyo n’ensonga lwaki tulina okuba abatukuvu. Naye, bintu ki ebirala eby’omuwendo bye tuyinza okuyiga mu kitabo ky’Eby’Abaleevi? Ekitabo ekyo kiyinza kitya okutuyamba okuweereza Yakuwa nga tuli batukuvu? Ebibuuzo ebyo bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.