Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Kiki Yeremiya kye yali ategeeza bwe yagamba nti Laakeeri yali akaabira abaana be?
Yeremiya 31:15 wagamba nti: “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti Eddoboozi liwuliddwa mu Laama, okukungubaga n’okukaaba amaziga mangi, Laakeeri ng’akaabira abaana be; agaana okukubagizibwa olw’abaana be, kubanga tewakyali.”
Laakeeri ye yasooka abaana be ababiri okufa. N’olwekyo, ebigambo ebyo Yeremiya bye yawandiika emyaka nga 1,000 oluvannyuma lw’okufa kwa Laakeeri biyinza okulabika ng’ebitali bituufu.
Omwana wa Laakeeri omubereberye yali Yusufu. (Lub. 30:22-24) Oluvannyuma yazaala omwana ow’okubiri eyatuumibwa Benyamini. Kyokka Laakeeri yafa ng’azaala omwana oyo ow’okubiri. Kati ekyebuuzibwa kiri nti: Lwaki Yeremiya 31:15 wagamba nti Laakeeri yali akaabira abaana be kubanga baali ‘tebakyaliwo’?
Kikulu okukijjukira nti Yusufu yazaala Manase ne Efulayimu. (Lub. 41:50-52; 48:13-20) Oluvannyuma lw’ekiseera, ekika kya Efulayimu kyafuuka ekika ekisingayo amaanyi mu bwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi. Ekika ekirala ekyava mu mwana wa Laakeeri ow’okubiri, Benyamini, kye kimu ku bika ebibiri ebyali mu bwakabaka bwa Yuda. Bwe kityo, kiyinza okugambibwa nti Laakeeri yali akiikirira bamaama bonna ab’omu Isiraeri, ob’obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi n’ab’obwakabaka bwa Yuda.
Ekitabo kya Yeremiya we kyawandiikirwa, obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi bwali bwamala dda okuwambibwa Abaasuli era nga bangi ku bantu baamwo baatwalibwa dda mu buwambe. Kyokka, abamu ku bazzukulu ba Efulayimu bayinza okuba nga baddukira mu bitundu by’obwakabaka bwa Yuda. Mu 607 E.E.T., Abababulooni baawamba obwakabaka bwa Yuda era ne batwala abantu baabwo mu buwambe. Bangi ku abo abaatwalibwa baasooka kutwalibwa mu Laama, ekyali mayiro nga ttaano mu bukiikakkono bwa Yerusaalemi. (Yer. 40:1) Abamu bayinza okuba nga baabattira mu kitundu ekyo ekya Benyamini, Laakeeri gye yaziikibwa. (1 Sam. 10:2) N’olwekyo, Laakeeri okukaabira abaana be kiyinza okuba nga kyali kikwata ku nnaku ey’amaanyi eyaliwo ng’Ababenyamini battiddwa oba nga kyali kikwata ku bantu abattirwa mu Laama. Ku luuyi olulala, ebigambo ebyo biyinza okuba nga bikwata ku bamaama bonna ab’omu Isiraeri abaakaaba ng’abantu ba Katonda battiddwa oba nga batwaliddwa mu buwambe.
Ka kibe nti ebigambo bya Yeremiya ebyo byali bikwata ku ki, Laakeeri okukaabira abaana be bwali bunnabbi obwatuukirira nga wayiseewo emyaka mingi, mu kiseera obulamu bwa Yesu we bwabeerera mu kabi. Kabaka Kerode yalagira nti abaana bonna ab’obulenzi abaali baweza emyaka ebiri n’okukka wansi abaali mu Besirekemu battibwe. Lowooza ku miranga bamaama gye baakuba ng’abaana baabwe battiddwa. Abaana baabwe baali ‘tebakyaliwo’! Kyalinga gy’obeera eddoboozi lyabwe lyali liwulirwa mu Laama, ekitundu ekyali ewala ne Besirekemu.—Mat. 2:16-18.
Okukaaba kwa Laakeeri kwoleka bulungi ennaku bamaama Abayudaaya gye baayitamu, mu kiseera kya Yeremiya ne mu kiseera kya Yesu, oluvannyuma lw’abaana baabwe okuttibwa. Kya lwatu nti abo abaafa ne bagenda “mu nsi y’omulabe,” okufa, bayinza okukomawo ng’abafu bazuukizibwa.—Yer. 31:16; 1 Kol. 15:26.